Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubudaabuda Abo Abeetaga Obuyambi

Okubudaabuda Abo Abeetaga Obuyambi

Okubudaabuda Abo Abeetaga Obuyambi

BAIBULI si kitabo ekijjanjaba abalwadde mu birowoozo. Kyokka, kitubudaabuda era ne kituyamba okutwala obulamu bwaffe nga bwa muwendo wadde nga tulina ebizibu by’etwolekagana nabyo. Mu butuufu, Ebyawandiikibwa bigamba: ‘omuntu azaalibwa omukazi tawangaala, era ajjudde obuyinike.’ (Yobu 14:1) Obutali butuukirivu bwaffe bwe buviirako ebizibu ebimu okututuukako. Naye, ani asinga okuvunaanyizibwa olw’okubonaabona kw’abantu?

Baibuli emwogerako ng’omwoyo omubi, Omulyolyomi era Setaani. Ye “mulimba w’ensi zonna” era aleeseewo ebizibu bingi abantu bye boolekaganye nabyo. Kyokka, Baibuli etutegeeza nti asigazza akaseera mpawekaaga. (Okubikkulirwa 12:9,12) Mangu ddala, Katonda ajja kukomya okubonaabona kwonna Setaani kw’aleetedde abatuula ku nsi. Okusinziira ku Baibuli, ensi empya ey’obutuukirivu eyasuubizibwa Katonda tejja kubaayo nnaku n’okweraliikirira.​—2 Peetero 3:13.

Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti okubonaabona okuliwo kati kwa kiyita mu luggya! Wansi w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, obufugibwa Yesu Kristo, obutali bwenkanya n’okubonaabona bijja kuggwaawo. Ebyawandiikibwa byogera bwe biti ku Kabaka eyalondebwa Katonda: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga. N’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, N’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima: N’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.”​—Zabbuli 72:12-14.

Ekiseera eky’okutuukirizibwa kw’ebigambo eby’obunnabbi buno kiri kumpi. Tusobola okunyumirwa obulamu obutaggwaawo mu lusuku olulungi mu mbeera ennungi ku nsi. (Lukka 23:43; Yokaana17:3) Okumanya ebisuubizo ebyo ebiri mu byawandiikibwa, kiwa essuubi era kibudaabuda abo abeetaga obuyambi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Omuwala omwennyamivu: Photo ILO/J. Maillard