Twanditunuulidde Tutya Abantu ng’Olunaku lwa Yakuwa Lusembera?
Twanditunuulidde Tutya Abantu ng’Olunaku lwa Yakuwa Lusembera?
“Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, . . . naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.”—2 PEETERO 3:9.
1, 2. (a) Yakuwa atunuulira atya abantu leero? (b) Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
ABAWEEREZA ba Yakuwa balina omulimu ‘gw’okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna.’ (Matayo 28:19) Nga tutuukiriza omulimu guno era nga ‘tulindirira olunaku olukulu olwa Yakuwa,’ tulina okutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira. (Zeffaniya 1:14) Yakuwa atunuulira atya abantu? Omutume Peetero agamba: “[Yakuwa] talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Katonda atunuulira abantu ng’abalina obusobozi bw’okwenenya. ‘Ayagala abantu bonna okulokolebwa, era n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Yakuwa ng’asanyuka nnyo ‘omubi bw’akyuka n’ava mu kkubo lye ebbi n’abeera omulamu’!—Ezeekyeri 33:11.
2 Naffe kinnoomu tutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira? Okumufaananako, tutwala buli muntu okuva mu buli kikka n’eggwanga ng’oyo ayinza okufuuka ‘endiga ey’omu ddundiro lye’? (Zabbuli 100:3; Ebikolwa 10:34, 35) Ka twekenneenye ebyokulabirako bibiri ebiraga obukulu bw’okutunuulira abantu nga Katonda bw’abatunuulira. Mu byokulabirako byombi, okuzikiriza kwali kubindabinda, era abaweereza ba Yakuwa baali balabuddwa ng’ekyabulayo ekiseera. Ebyokulabirako ebyo bikulu nnyo naddala kati nga tulindirira olunaku olukulu olwa Yakuwa.
Ibulayimu Yatunuulira Abantu nga Yakuwa
3. Yakuwa yatunuulira atya abantu b’omu Sodomu ne Ggomola?
3 Ekyokulabirako ekisooka kizingiramu Ibulayimu jjajja w’abakkiriza n’ebibuga Sodomu ne Ggomola ebyali ebibi. Yakuwa bwe yawulira ‘ng’okukaaba okw’e Sodomu ne Ggomola kunene,’ teyazikiririzaawo mangu bibuga ebyo n’abantu baamu. Yasooka kunoonyereza. (Olubereberye 18:20, 21) Bamalayika babiri baatumibwa mu Sodomu, era ne basula mu nnyumba y’omusajja omutuukirivu Lutti. Ekiro ekyo bamalayika abo kye baatuukirako, “abasajja ab’omu kibuga . . . ne bazingiza ennyumba, abato era n’abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna,” nga baagala okwetaba ne bamalayika. Mazima ddala, obwonoonefu bw’empisa z’abantu b’omu kibuga ekyo, bwakakasa nti kyali kigwanira okuzikirizibwa. Kyokka, bamalayika baagamba Lutti: “Olina nate wano abalala? Mukoddomi wo, n’abaana bo, ab’obulenzi n’ab’obuwala, ne bonna b’olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno.” Yakuwa yassaawo enteekateeka okuwonyawo abamu ku abo abaali mu kibuga ekyo, naye ku nkomerero, Lutti yekka ne bawala be babiri be baawona okuzikirizibwa okwo.—Olubereberye 19:4, 5, 12, 16, 23-26.
4, 5. Lwaki Ibulayimu yeegayirira ku lw’abantu b’omu Sodomu, era endowooza ye ku bantu yali ekwatagana n’eya Yakuwa?
4 Kati, ka tuddeyo mu kiseera Yakuwa kye yabikkulirako ekiruubirirwa kye eky’okwetegereza ebyali bikolebwa mu bibuga Sodomu ne Ggomola. Mu kiseera ekyo, Ibulayimu yeegayirira: “Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n’otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu? Kitalo okole bw’otyo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, n’okwenkana abatuukirivu ne benkana n’ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w’ensi zonna talikola bya butuukirivu?” Ibulayimu yakozesa ekigambo “kitalo” emirundu ebiri. Ibulayimu yali akimanyi nti Yakuwa tayinza kuzikiriza batuukirivu wamu n’ababi. Yakuwa bwe yagamba nti yali tagenda kuzikiriza Sodomu singa mubaamu ‘abatuukirivu ataano,’ Ibulayimu yagenda akendeeza omuwendo ogwo okutuukira ddala ku kkumi.—Olubereberye 18:22-33.
5 Yakuwa yandiwulirizza okwegayirira kwa Ibulayimu singa kwali kwawukana ku ndowooza ye? Kya lwatu nedda. Nga “mukwano gwa Katonda,” Ibulayimu yali amanyi endowooza ya Yakuwa Yakobo 2:23) Yakuwa bwe yateeka ebirowoozo bye ku Sodomu ne Ggomola, yali mwetegefu okukolera ku kwegayirira kwa Ibulayimu. Lwaki? Kubanga Kitaffe ow’omu ggulu ‘tayagala muntu yenna kuzikirira wabula bonna batuuke ku kwenenya.’
era ng’atunuulira ebintu nga ye. (Engeri Yona Gye Yatunuuliramu Abantu Yali ya Njawulo
6. Abantu b’omu Nineeve baakolawo ki bwe baawulira okulangirira kwa Yona?
6 Kati, weekenneenye ekyokulabirako eky’okubiri, ekya Yona. Ku mulundi guno ekibuga ekyali kigenda okuzikirizibwa kyali Nineeve. Nnabbi Yona yagambibwa okulangirira nti obubi bw’ekibuga ekyo bwali ‘butuuse mu maaso ga Yakuwa.’ (Yona 1:2) Ng’otwaliddemu n’ebitundu ebyali ku njegoyego yaakyo, Nineeve kyali kibuga kinene, nga “kitwala olugendo lwa nnaku nga ssatu okukibuna.” Oluvannyuma Yona bwe yagondera Yakuwa n’agenda e Nineeve, yalangirira nti: “Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.” Bwe baawulira ekyo, “abantu ab’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu.” Ne Kabaka ow’e Nineeve naye yeenenya.—Yona 3:1-6.
7. Yakuwa yatunuulira atya abantu b’omu Nineeve abaali beenenyezza?
7 Nga engeri gye beeyisaamu yayawukanira ddala ku y’abantu b’omu Sodomu! Yakuwa yatunuulira atya abantu b’omu Nineeve abeenenya? Yona 3:10 wagamba: “Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n’atabubakola.” Yakuwa “yejjusa” mu ngeri nti yakyusa ekyo kye yali agenda okukola abantu b’omu Nineeve olw’okuba baakyusa amakubo gaabwe. Katonda teyakyusa misingi gye, naye yakyusa mu ekyo kye yali asazeewo okukola bwe yalaba abantu b’omu Nineeve nga beenenyezza.—Malaki 3:6.
8. Lwaki Yona yanyiikaala?
8 Yona bwe yamanya nti Nineeve kyali tekigenda kuzikirizibwa, ebintu yabitunuulira nga Yakuwa? Nedda, kubanga tutegeezebwa nti: “Naye Yona n’atasiima n’akatono n’anyiikaala.” Kiki ekirala Yona kye yakola? Ebyawandiikibwa bigamba: “N’asaba Mukama n’ayogera nti: Ai mukama, saayogera bwe ntyo nga nkyali mu nsi y’ewaffe. Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi; kubanga nategeera nti oli Katonda mulungi ajjudde okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubi.” (Yona 4:1, 2) Yona yali amanyi engeri za Yakuwa. Kyokka, mu kiseera ekyo, yanyiikaala era abantu b’omu Nineeve abaali beenenyezza teyabatunuulira nga Yakuwa.
9, 10. (a) Kya kuyiga ki Yakuwa kye yawa Yona? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti oluvannyuma Yona yafuna endowooza ya Yakuwa ku bantu b’omu Nineeve?
9 Awo Yona n’afuluma mu Nineeve, n’azimba ekisiisira n’atuula omwo mu kisiikirize “okutuusa bw’aliraba ekibuga bwe kiriba.” Yakuwa n’ategeka ekiryo n’akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe. Kyokka, ku lunaku olwaddako, ekiryo kyawotoka. Yona bwe yanyiiga olw’okuba ekiryo kyali kiwotose, Yakuwa yagamba: “Gwe okoze bulungi okusunguwala ku lw’ekiryo . . . Nange sandisaasidde Nineeve ekibuga ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n’okusukkirirawo abatayinza Yona 4:5-11) Nga Yona ateekwa okuba nga yafuna eky’okuyiga eky’amaanyi ku ngeri Yakuwa gy’atunuuliramu abantu!
kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n’omukono gwabwe ogwa kkono; era n’ensolo ennyingi?” (10 Ekyo Yona kye yakolawo ng’amaze okuwulira ebigambo bya Katonda ebiraga nti yali asaasidde abantu b’omu Nineeve, tekyawandiikibwa. Kyokka, kyeyoleka kaati nti Yona yakyusa endowooza ye ku bantu b’omu Nineeve abaali beenenyezza. Tugamba bwe tutyo olw’okuba Yakuwa yamukozesa okuwandiika ebyo ebyaliwo.
Gwe Otunuulira Otya Abantu?
11. Ibulayimu yanditunuulidde atya abantu abaliwo leero?
11 Leero, twolekaganye n’okuzikirizibwa okulala—okw’enteekateeka y’ebintu eno embi ejja okuzikirizibwa mu kiseera ky’olunaku olukulu olwa Yakuwa. (Lukka 17:26-30; Abaggalatiya 1:4; 2 Peetero 3:10) Singa Ibulayimu abadde mulamu leero, yanditunuulidde atya abantu abali mu nsi eno eri okumpi okuzikirizibwa? Awatali kubuusabuusa yandifuddeyo nnyo ku bantu abatannaba kuwulira ‘mawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 24:14) Enfunda n’enfunda, Ibulayimu yeegayirira Katonda ku bikwata ku batuukirivu abandibadde mu Sodomu. Naffe kinnoomu tufaayo ku bantu abayinza okulekayo amakubo g’ensi eno eri mu buyinza bwa Setaani singa bafuna omukisa okwenenya ne baweereza Katonda?—1 Yokaana 5:19; Okubikkulirwa 18:2-4.
12. Lwaki kyangu okuba n’endowooza ng’eya Yona ku bantu be tusanga mu buweereza, era kiki kye tuyinza okukolawo?
12 Tekiba kibi okwesunga enkomerero y’obubi. (Kaabakuuku 1:2, 3) Kyokka, kyangu nnyo okuba n’endowooza ng’eya Yona, ne tutafaayo ku bantu abayinza okwenenya. Kino kiyinza okuba bwe kityo naddala singa tweyongera okusanga abantu abateefiirayo, abatuziyiza oba abawakana ennyo nga tugenze mu maka gaabwe okubategeeza obubaka bw’Obwakabaka. Tuyinza okubuusa amaaso abo Yakuwa b’ajja okukuŋŋaanya okuva mu nteekateeka y’ebintu eno. (Abaruumi 2:4) Singa twekebera ne tulaba nga tulinamu endowooza nga Yona gye yalina okusooka ku bantu b’omu Nineeve, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okubeera n’endowooza ng’eyiye.
13. Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa afaayo ku bantu leero?
13 Yakuwa afaayo ku abo abatannatandika kumuweereza, era awuliriza okwegayirira kw’abantu be abeewaayo edda gy’ali. (Matayo 10:11) Ng’ekyokulabirako, ng’addamu okusaba kwabwe, ‘ajja kukakasa nti obwenkanya bubaawo.’ (Lukka 18:7, 8) Okugatta ku ekyo, Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye byonna n’ebigendererwa bye mu kiseera kye ekigereke. (Kaabakuuku 2:3) Kino kijja kuzingiramu okuggyawo obubi bwonna ku nsi nga bwe yazikiriza Nineeve olu vannyuma ng’abantu baamu bazzeemu okwonoona.—Nakkumu 3:5-7.
14. Kiki kye tulina okukola nga tulindirira olunaku olukulu olwa Yakuwa?
14 Okutuusa ng’enteekateeka y’ebintu eno embi eggiddwawo mu kiseera ky’olunaku olukulu olwa Yakuwa, tunaalindirira n’obugumiikiriza, nga bwe tunyiikirira okukola Katonda by’ayagala? Tetumanyi byonna ebizingirwa mu mulimu gw’okubuulira ogukyalina okukolebwa ng’olunaku lwa Yakuwa terunnaba kutuuka, naye tukimanyi nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gajja kubuulirwa mu nsi yonna nga Katonda bw’ayagala ng’enkomerero tennaba kutuuka. Era mazima ddala, tusaanidde okufaayo ennyo ku “bintu ebyegombebwa” ebikyalina okuleetebwa nga Yakuwa yeeyongera okujjuza ennyumba ye n’ekitiibwa kye.—Kaggayi 2:7.
Engeri Gye Tutunuuliramu Abantu Yeeyolekera mu Bikolwa Byaffe
15. Kiki ekiyinza okutusobozesa okweyongera okutegeera obukulu bw’omulimu gw’okubuulira?
15 Oboolyawo tubeera mu kitundu abantu gye batayagala mulimu gwaffe ogw’okubuulira, ate nga tetusobola kugenda mu bifo obwetaavu bw’abalangirizi b’Obwakabaka gye businga obungi. Ka tugambe nti abantu kkumi bakyayinza okusangibwa mu kitundu kyaffe ng’enkomerero tennaba kujja. Tukitwala nti abo ekkumi kigwanira okubanoonya? Yesu “yasaasira” ebibiina “kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Bwe tusoma Baibuli era ne twekenneenya ebitundu ebiba mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, tuyinza okumanya ebisingawo ku kubonaabona okuli mu nsi eno. Era ekyo kiyinza okutuleetera okweyongera okutegeera obukulu bw’okubuulira amawulire amalungi. Ate era bwe tumanya omugaso gw’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebituweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” kiyinza okwongera okutukubiriza okukola mu bitundu ebikolwamu enfunda n’enfunda.—Matayo 24:45-47; 2 Timoseewo 3:14-17.
16. Tuyinza tutya okwongera okufuula obuweereza bwaffe okuba obw’amakulu?
16 Okufaayo ku abo abakyayinza okukkiriza obubaka bwa Baibuli obuwa obulamu, kutukubiriza okukyusa mu biseera bye tubuuliramu n’engeri ze tukozesa okubuulira abantu be tusanga mu buweereza. Tukisanga nti abantu bangi tebabeera mu maka gaabwe mu kiseera kye tugenderayo? Bwe kiba bwe kityo, tuyinza okufuula obuweereza bwaffe okuba obw’amakulu nga tukyusakyusa ebiseera n’ekifo kye tubuuliramu. Abavubi bagenda okuvuba mu biseera bye bayinza okukwatiramu ebyennyanja. Tusobola okukola ekifaananako n’ekyo mu mulimu gwaffe ogw’okuvuba ogw’eby’omwoyo? (Makko 1:16-18) Lwaki togezaako kubuulira mu biseera eby’olweggulo n’okubuulira ng’okozesa essimu bwe kiba kikkirizibwa? Abamu bakisanze nti ebifo awasimba emmotoka, ku matundiro g’amafuta ne ku madduuka, biba bifo birungi nnyo ‘eby’okuvubiramu.’ Bwe tubeera n’endowooza ng’eya Ibulayimu eri abantu, ejja kulabikira ku ngeri gye tukozesaamu emikisa gye tufuna okubuulira embagirawo.
17. Mu ngeri ki gye tuyinza okuzzaamu amaanyi abaminsani n’abalala abaweereza mu nsi endala?
17 Obukadde n’obukadde bw’abantu tebannaba kuwulira mawulire ag’Obwakabaka. Okugatta ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira, tusobola okulaga nti tufaayo ku bantu ng’abo wadde nga tuli mu maka gaffe mwennyini? Waliwo abaminsani oba ababuulizi ab’ekiseera kyonna be tumanyi abaweereza mu nsi endala? Bwe kiba kityo, tuyinza okubawandiikira amabaluwa agalaga nti tusiima omulimu gwabwe. Ekyo kiyinza kitya okulaga nti tufaayo ku bantu okutwalira awamu? Ebbaluwa zaffe ezizzaamu amaanyi era ezibasiima ziyinza okuleetera abaminsani okweyongera okunywerera mu buweereza bwabwe, era ekyo kibasobozesa okuyamba abantu abalala bangi okumanya amazima. (Ekyabalamuzi 11:40) Era tuyinza n’okusabira abaminsani awamu n’abo abali mu nsi endala abalumwa ennyonta ey’amazima. (Abaefeso 6:18-20) Engeri endala gye tuyinza okulagamu nti tusiima, kwe kubaako kye tuwaayo mu by’ensimbi okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogukolebwa mu nsi yonna.—2 Abakkolinso 8:13, 14; 9:6, 7.
Wandisobodde Okusenguka?
18. Biki Abakristaayo abamu bye bakoze okusobola okutumbula omulimu gw’Obwakabaka mu nsi gye babeera?
18 Abo abasengukidde mu bifo obwetaavu bw’abalangirizi b’Obwakabaka gye businga obungi, bafunye emikisa ntoko olw’okufuba kwabwe okw’okwerekereza. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa abalala bo basigadde mu nsi yaabwe, ne bayiga ennimi endala okusobola okuyamba mu by’omwoyo abantu abagwira. Okufuba ng’okwo kubadde kwa muganyulo nnyo. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa musanvu abayamba Abakyayina mu kibuga kya Texas, Amereka, baasobola okuyita abantu 114 ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe mu 2001. Abo abayamba abantu ng’abo bakizudde nti ebitundu bye babuuliramu bituuse okukungula.—Matayo 9:37, 38.
19. Kiki ekyandibadde eky’amagezi okukola bw’oba olowooza okusengukira mu nsi endala okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka?
19 Oboolyawo gwe n’ab’omu maka go muwulira nga musobola okusengukira mu kifo ekirala obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka gye businga obungi. Kyokka, kyandibadde kya magezi okusooka ‘okutuula wansi ne mubalirira byonna ebyetaagisa.’ (Lukka 14:28) Kino kikulu nnyo naddala omuntu bw’aba alowooza okusengukira mu nsi endala. Kyandibadde kirungi omuntu yenna alowooza okukola ekyo okusooka okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nnaasobola okuyimirizaawo ab’omu maka gange mu by’ensimbi? Nsobola okufuna ebiwandiiko ebyetaagisa? Nsobola okwogera olulimi olwogerwa mu nsi eyo, oba ndi mwetegefu okuluyiga? Ndowoozeza ku mbeera y’obudde n’engeri abantu gye beeyisaamu mu nsi eyo? Nnaasobola ‘okunyweza’ bakkiriza bannange ab’omu nsi eyo mu kifo ky’okubakaluubiriza?’ (Abakkolosaayi 4:10, 11) Okusobola okumanya obwetaavu obuli mu nsi eyo gy’olowooza okusengukira, kiba kirungi okuwandiikira ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa erabirira omulimu gw’okubuulira mu kitundu ekyo. *
20. Omukristaayo omu akozesezza atya amaanyi ge okuganyula bakkiriza banne era n’abalala mu nsi engwira?
20 Omukristaayo omu eyali yeenyigidde mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Japan, yamanya nti waaliwo obwetaavu bw’abakozi abalina obumanyirivu okuzimba ekizimbe eky’okusinzizaamu mu Paraguay. Olw’okuba teyali mufumbo ate ng’akyali muvubuka, yagenda mu nsi eyo era n’akolayo okumala emyezi munaana nga ye mukozi yekka ow’ekiseera kyonna ku mulimu ogwo. Ng’ali eyo, yayiga Olusipanisi era n’afuna n’abayizi ba Baibuli. Yasobola okulaba obwetaavu bw’abalangirizi b’Obwakabaka mu nsi eyo. Wadde nga yaddayo mu Japan, mangu ddala yakomawo mu Paraguay n’ayamba mu kukuŋŋaanya abantu mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyo kyennyini.
21. Kiki kye twandifuddeko ennyo era twandibadde na ndowooza ki nga tulindirira olunaku olukulu olwa Yakuwa?
21 Katonda ajja kukakasa nti omulimu gw’okubuulira gukolebwa mu bujjuvu nga bw’ayagala. Leero, ayanguya amakungula agasembayo ag’eby’omwoyo. (Isaaya 60:22) Nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa, ka twenyigire nnyo mu mulimu gw’amakungula era tutunuulire abantu nga Katonda ow’okwagala bw’abatunuulira.
^ lup. 19 Tekirina kye kiyamba okugenda ku lulwo mu nsi omulimu gw’okubuulira gye guwereddwa oba gye gukugirwa. Singa ogendayo, kiyinza n’okuleetera akabi ababuulizi b’Obwakabaka ababuulira mu ngeri y’obukalabakalaba mu nsi eyo.
Ojjukira?
• Nga tulindirira olunaku lwa Yakuwa, abantu tusaanidde kubatunuulira tutya?
• Ibulayimu yatunuulira atya abantu abatuukirivu abandibadde mu Sodomu?
• Yona yatunuulira atya abantu b’omu Nineeve abeenenya?
• Tusobola tutya okulaga nti tutunuulira abantu abatannaba kuwulira mawulire amalungi nga Yakuwa bw’abatunuulira?
[Ebibuuzo]
Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ibulayimu yatunuulira abantu nga Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yona oluvannyuma yatunuulira abantu b’omu Nineeve abaali beenenyezza nga Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Okufaayo ku bantu kutuviirako okukyusa mu biseera n’engeri ze tukozesa okubuulira amawulire amalungi