Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaweereza ba Yakuwa Balina Essuubi Ekkakafu

Abaweereza ba Yakuwa Balina Essuubi Ekkakafu

Abaweereza ba Yakuwa Balina Essuubi Ekkakafu

“Ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng’omusulo oguva eri Mukama . . . [ogu]talindirira muntu.”​—MIKKA 5:7.

1. Mu ngeri ki Isiraeri ey’omwoyo gy’eri ensibuko ezzaamu amaanyi?

YAKUWA ye yakola omusulo n’enkuba. Kikafuwe okusuubira nti abantu basobola okutuwa omusulo oba enkuba. Nnabbi Mikka yawandiika: “Ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n’abaana b’abantu tebazirwisaawo.” (Mikka 5:7) “Ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo” eky’omu kiseera kino kye kiruwa? Ye Isiraeri ey’eby’omwoyo, ensigalira ya “Isiraeri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16) “Abantu bangi” abali mu nsi, balinga “omusulo oguva eri Mukama” era balinga “empandaggirize ku muddo.” Yee, leero Katonda ataddewo Abakristaayo abaafukibwako amafuta bazzeemu abantu amaanyi. Ng’abalangirizi b’Obwakabaka, Yakuwa abakozesa okutegeeza abantu obubaka bwe obukwata ku ssuubi ekkakafu.

2. Lwaki tulina essuubi ekkakafu wadde nga tuli mu nsi eno erimu ebizibu?

2 Tekyanditwewuunyisizza okulaba nti ensi eno teriimu ssuubi kkakafu. Obutali butebenkevu mu by’obufuzi, obwonoonefu bw’empisa, obumenyi bw’amateeka, ebizibu mu by’enfuna, ebikolwa bya bannalukalala n’entalo​—byonna tubisuubira mu nsi eno efugibwa Setaani Omulyolyomi. (1 Yokaana 5:19) Bangi beeraliikirivu ku bikwata ku biseera eby’omu maaso. Kyokka, ffe ng’abantu abasinza Yakuwa, tetuli beeraliikirivu kubanga tulina essuubi ekkakafu. Essuubi lyaffe kkakafu olw’okuba lyesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. Tukkiririza mu Yakuwa ne mu Kigambo kye kubanga buli ky’ayogera kituukirira.

3. (a) Lwaki Yakuwa yali agenda okubonereza Isiraeri ne Yuda? (b) Lwaki ebigambo bya Mikka bikwata ku kiseera kyaffe?

3 Obunnabbi bwa Mikka obwaluŋŋamizibwa butusobozesa okutambulira mu linnya lya Yakuwa era butuwa kwe tusinziira okubeera n’essuubi ekkakafu. Mu kyasa eky’omunaana B.C.E., Mikka kye yalangiriramu obunnabbi, abantu ba Katonda ab’endagaano baali beeyawuddemu amawanga ga mirundi ebiri, erya Isiraeri n’erya Yuda, era gombi gaali gasuula muguluka endagaano ya Katonda. Ekyavaamu, empisa z’abantu zaayonoonekera ddala, ne beewaggula mu by’eddiini, era baatwalirizibwa nnyo omwoyo ogw’okwenoonyeza eby’obugagga. N’olwekyo, Yakuwa yabalabula nti yali agenda kubabonereza. Kya lwatu, Yakuwa yalabula abantu abo abaaliwo mu kiseera kya Mikka. Naye, embeera eriwo mu kiseera kyaffe efaananira ddala n’eyo eyaliwo mu kiseera kya Mikka ne kiba nti ebigambo bya Mikka bikwata ne ku kiseera kyaffe. Ekyo tujja kukitegeera bulungi nga twekenneenya ezimu ku nsonga enkulu eziri mu ssuula omusanvu ez’ekitabo kya Mikka.

Ebiri mu Kitabo kya Mikka Kye Byoleka

4. Kiki kye tutegeezebwa okuva ku Mikka essuula 1 okutuuka ku ssuula 3?

4 Ka twekenneenye mu bufunze ebiri mu kitabo kya Mikka. Mu ssuula 1, Yakuwa ayanika obwewagguzi bwa Isiraeri ne Yuda. Olw’obujeemu bwabwe, Isiraeri ejja kuzikirizibwa ate kwo okubonerezebwa kwa Yuda kujja kutuuka ne ku wankaaki wa Yerusaalemi. Essuula 2 eraga nti abagagga n’ab’amaanyi banyigiriza abanafu. Wadde kiri bwe kityo, Katonda alina ky’asuubiza. Abantu ba Katonda bajja kukuŋŋaanyizibwa wamu. Essuula 3 etutegeeza ku musango Yakuwa gw’asalidde abakulembeze b’amawanga ne bannabbi abajeemu. Abakulembeze tebasala musango mu bwenkanya, ate bo bannabbi boogera bya bulimba. Wadde nga kiri bwe kityo, omwoyo omutukuvu guwa Mikka amaanyi okulangirira n’obuvumu omusango Yakuwa gw’asaze.

5. Bikulu ki ebiri mu Mikka essuula 4 ne 5?

5 Essuula 4 eragula nti mu nnaku ez’oluvannyuma, amawanga gonna galijja okuyigirizibwa ku lusozi olw’ennyumba ya Yakuwa olugulumiziddwa. Kyokka, ekyo nga tekinnabaawo, eggwanga lya Yuda lijja kuwaŋŋangusibwa e Babulooni, naye Yakuwa ajja kulinunula. Essuula 5 eraga nti Masiya ajja kuzaalibwa mu Besirekemu eky’omu Yuda. Ajja kulunda abantu be era abanunule okuva mu mawanga agabanyigiriza.

6, 7. Nsonga ki enkulu eziri mu ssuula 6 n’essuula 7 mu bunnabbi bwa Mikka?

6 Mikka essuula ey’omukaaga eraga engeri Yakuwa gy’awozesaamu abantu be. Kiki Yakuwa ky’akoze abantu be balyoke bamujeemere? Tewali. Ekituufu kiri nti, by’abeetaaza si bizibu. Ayagala abamusinza balage obwenkanya, balage ekisa, era babe bawombeefu nga batambula naye. Mu kifo ky’okukola ebyo, Isiraeri ne Yuda basazeewo okumujeemera era bajja kwolekagana n’ebyo ebinaavaamu.

7 Mu ssuula esembayo ey’obunnabbi bwe, Mikka avumirira ebikolwa ebibi eby’abantu b’omu kiseera kye. Kyokka, taggwaamu maanyi, kubanga mumalirivu ‘okulindirira’ Yakuwa. (Mikka 7:7) Ekitabo kikomekkereza n’ebigambo bya Mikka ebiraga obwesige bwe yalina nti Yakuwa ajja kusaasira abantu be. Ebyafaayo biraga nti essuubi Mikka lye yalina lyatuukirizibwa. Mu 537 B.C.E., Yakuwa ng’amaze okukangavvula abantu be, yakomyawo ensigalira ku butaka.

8. Oyinza kuwumbawumbako otya ebiri mu kitabo kya Mikka?

8 Nga Yakuwa abikkula obubaka obulungi ennyo okuyitira mu Mikka! Ekitabo kino ekyaluŋŋamizibwa kiraga engeri Yakuwa gy’ayisaamu abo abagamba nti bamuweereza kyokka nga si beesigwa. Kyogera ku bintu ebiriwo leero. Era, kirimu okubuulirira okuva eri Katonda okukwata ku ngeri gye tulina okweyisaamu mu biseera bino ebizibu ennyo okusobola okunyweza essuubi lyaffe.

Yakuwa Mukama Afuga Byonna Ayogera

9. Okusinziira ku Mikka 1:2, kiki Yakuwa kye yali agenda okukola?

9 Kati, ka twekenneenye ekitabo kya Mikka mu bujjuvu. Mu Mikka 1:2, tusoma: “Muwulire mmwe ab’amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n’ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abeere mujulirwa eri mmwe, Mukama ng’ayima mu yeekaalu ye entukuvu.” Singa waliwo mu kiseera kya Mikka, awatali kubuusabuusa ebigambo ebyo wandibissizzaako omwoyo. Mazima ddala, wandibissizzaako omwoyo kubanga Yakuwa ayogera ng’asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ate nga tayogera eri Isiraeri ne Yuda bokka, wabula eri abantu bonna. Mu kiseera kya Mikka, abantu baali basambazze ekigambo kya Yakuwa, Mukama Afuga Byonna okumala ekiseera ki­wanvu. Mangu ddala, ekyo kyali kigenda ­kukyuka. Yakuwa yali amaliridde okubaako ky’akolawo.

10. Lwaki ebigambo ebiri mu Mikka 1:2 bikulu gye tuli?

10 Era bwe kityo bwe kiri ne mu kiseera kyaffe. Okubikkulirwa 14:18-20 walaga nti nate Yakuwa ayogerera mu yeekaalu ye entukuvu. Mangu ddala Yakuwa ajja kubaako eky’amaanyi ky’akolawo, era ekyo kijja kukankanya abantu bonna. Ku mulundi guno, ‘omuzabbibu omubi ogw’ensi yonna’ gujja kusuulibwa mu ssogolero ly’obusungu bwa Yakuwa, ekinaavaamu enteekateeka ya Setaani yonna ejja kuzikirizibwa.

11. Ebigambo ebiri mu Mikka 1:3, 4 bitegeeza ki?

11 Wulira Yakuwa ky’agenda okukola. Mikka 1:3, 4 wagamba: “Laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby’ensi. N’ensozi zirisaanuuka wansi we n’enkonko ziryatika ng’ebisenge by’enjuki mu maaso g’omuliro, ng’amazzi agayiikira awali ebbanga.” Yakuwa kennyini anaava mu ggulu gy’abeera atambulire ku bifo ebigulumivu ne mu nkonko z’Ensi Ensuubize? Nedda. Tekimwetaagisa kukola bw’atyo. Ajja kubaako ky’akolawo by’ayagala bituukirizibwe ku nsi. Ate era, ensi eno etuulibwamu si y’egenda okutuukibwako ebintu ebyo ebyogeddwako, wabula abantu abagirimu. Yakuwa bw’anaabaako kyakolawo, ebinaavaamu bijja kuba bya kabi nnyo eri abo abatali beesigwa; kijja kuba ng’olusozi olusaanuuse ng’ebisenge by’enjuki era ng’enkonko ezaasiddwamu olw’okukankana kw’ensi.

12, 13. Nga kituukagana ne 2 Peetero 3:10-12, kiki ekinyweza essuubi lyaffe?

12 Ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu Mikka 1:3, 4 biyinza okukujjukiza obunnabbi obulala obwaluŋŋamizibwa obulagula ebintu eby’akabi ebijja okubaawo ku nsi. Nga bwe kiri mu 2 Peetero 3:10, omutume Peetero yawandiika: “Olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n’okuwuuma okunene n’ebintu eby’obuwangwa birisaanuuka olw’okwokebwa okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu birisirikka.” Okufaananako n’obunnabbi bwa Mikka, Peetero aba tayogera ku nsi etulibwamu oba eggulu lyennyini ery’omu bbanga. Aba ayogera ku kibonyoobonyo ekinene ekigenda okutuuka ku nteekateeka y’ebintu eno embi.

13 Wadde nga wajja kubaawo ekibonyoobonyo ekyo, okufaananako Mikka, Abakristaayo balina essuubi ekakafu ku bikwata ku biseera eby’omu maaso. Mu ngeri ki? Nga bagoberera okubuulirira okuli mu nnyiriri eziddirira mu bbaluwa ya Peetero. Omutume agamba: “Mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda, nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Yakuwa okutuuka?” (2 Peetero 3:11, 12) Essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lijja kuba kkakafu singa tubeera n’omutima omuwulize wamu n’empisa ennungi era ne twemalira ku Katonda mu bulamu bwaffe. Okusobola okunyweza essuubi lyaffe, tuteekwa okujjukira nti olunaku lwa Yakuwa ddala lugenda kujja.

14. Lwaki Isiraeri ne Yuda byali bigwana okubonerezewa?

14 Yakuwa annyonnyola ensonga lwaki abantu be ab’edda baali basaanidde okubonerezebwa. Mikka 1:5 wagamba: “Olw’okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n’olw’ebibi eby’ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? Si Samaliya? [E]bifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? Si Yerusaalemi?” Isiraeri ne Yuda biriwo ku lwa Yakuwa. Kyokka, amawanga ago gamujeemedde, era obujeemu bwabwe butuukira ddala mu Samaliya, ekibuga ekikulu ekya Isiraeri, era ne mu Yerusaalemi, ekibuga ekikulu ekya Yuda.

Empisa Embi Zicaase

15, 16. Bikolwa ki ebibi ebyakolebwa abantu ab’omu kiseera kya Mikka?

15 Ekyokulabirako kimu ekiraga obubi bw’abantu abaaliwo mu kiseera kya Mikka, kiri mu Mikka 2:1, 2: “Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukya, babukola, kubanga buli mu buyinza bw’emikono gyabwe. N’abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n’ennyumba ye, era omuntu n’obusika bwe.”

16 Abantu ab’omululu tebeebaka kiro nga bayiiya engeri gye bayinza okunyagamu ennimiro n’amayumba ga baliraanwa baabwe. Bwe bukya banguwa mangu okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe. Bandibadde tebakola bintu ebyo ebibi singa bajjukira endagaano ya Yakuwa. Amateeka ga Musa gaalimu enteekateeka ey’okulabirira abaavu. Wansi w’amateeka ago, tewali maka gandibadde gafiirwa bya busika byago. Kyokka, abantu abo ab’omululu, ekyo bakisudde muguluka. Babuusa amaaso ebigambo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:18, awagamba: “Onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”

17. Kiki ekiyinza okubaawo singa abo abagamba nti baweereza Katonda bakulembeza eby’obugagga mu bulamu bwabwe?

17 Kino kiraga bulungi ekiyinza okubaawo singa abantu abagamba nti baweereza Katonda balekera awo okukulembeza ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo ne batandika okunoonya eby’obugagga. Pawulo yalabula Abakristaayo ab’omu kiseera kye: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.” (1 Timoseewo 6:9) Singa omuntu akulembeza okufuna ssente mu bulamu bwe, mu ngeri eyo, aba asinza katonda ow’obulimba​—Mamona, oba Obugagga. Katonda oyo ow’obulimba tayinza kuwa muntu yenna ssuubi kkakafu ery’omu biseera eby’omu maaso.​—Matayo 6:24.

18. Kiki ekyali kigenda okutuuka ku bantu ab’omu kiseera kya Mikka abaali baagala ennyo eby’obugagga?

18 Bangi mu kiseera kya Mikka baamala kufuna bizibu ne balyoka bakitegeera nti okwesiga eby’obugagga, butaliimu. Okusinziira ku Mikka 2:4, Yakuwa agamba: “Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw’abantu bange; ng’akinzi[gg]yako! agabira abajeemu ebyalo byaffe.” Yee, abo abanyaga amayumba n’ennimiro, bajja kufiirwa eby’obusika byabwe. Bajja kuwaŋŋangusizibwa mu nsi endala, era ebintu byabwe bijja kutwalibwa “abajeemu,” oba ab’amawanga. Essuubi lyonna ery’okubeera obulungi mu biseera eby’omu maaso lijja kuba terikyaliwo.

19, 20. Kiki ekyatuuka ku Bayudaaya abeesiga Yakuwa?

19 Naye essuubi ly’abo abeesiga Yakuwa, lijja kutuukirizibwa. Yakuwa mwesigwa eri endagaano ze yakola ne Ibulayimu ne Dawudi, era alaga ekisa abo abalinga Mikka abamwagala era abanakuwala olw’abantu bannaabwe abavudde ku Katonda. Ku lw’abantu abatuukirivu, ekiseera kijja kutuuka Katonda abakomyewo ku butaka.

20 Ekyo kibaawo mu 537 B.C.E., Babulooni bwe kigwa era ensigalira y’Abayudaaya ne bazzibwayo ku butaka. Mu kiseera ekyo, ebigambo bya Mikka 2:12 bituukirizibwa omulundi ogusooka. Yakuwa agamba: “Sirirema kukuŋŋaanya ab’ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng’endiga eza Bozula; ng’ekisibo ekiri wakati w’eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi.” Yakuwa nga Katonda wa kwagala nnyo! Oluvannyuma lw’okukangavvula abantu be, akkiriza ensigalira okuddayo ku butaka bamuweereze mu nsi gye yawa bajja­jjaabwe.

Engeri Ebintu Gye Bifaanagamu n’Eby’Omu Kiseera Kyaffe

21. Embeera eri mu nsi kaakano efaanagana etya n’eyo eyaliwo mu kiseera kya Mikka?

21 Nga twekenneenya ennyiriri zino mu ssuula ebbiri ezisooka ez’ekitabo kya Mikka, owuniikiridde olw’engeri ebintu ebyogerwako gye bifaananamu n’ebyo ebiriwo leero? Nga bwe kyali mu kiseera kya Mikka, abantu bangi leero bagamba nti baweereza Katonda. Kyokka, okufaananako ab’omu Yuda ne Isiraeri, beeyawuddeyawudde era balwanagana bokka na bokka. Abagagga bangi mu Kristendomu banyigiriza abaavu. Abakulembeze b’eddiini bangi battira ku liiso ebikolwa ebibi Baibuli by’evumirira. Tekyewuunyisa nti Yakuwa alagula nti mu kiseera ekitali kya wala, Kristendomu kijja kuzikirizibwa, awamu n’amadiini amalala gonna agali mu Babulooni Ekinene! (Okubikkulirwa 18:1-5) Kyokka, nga bwe kyali mu kiseera kya Mikka, ku nsi kujja kusigalako abantu abeesigwa abaweereza Yakuwa.

22. Baani abatadde essuubi lyabwe mu Bwakabaka bwa Katonda?

22 Mu 1919, Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta beeyawulira ddala ku Kristendomu era ne batandika okulangirira amawulire ­amalungi ag’Obwakabaka mu mawanga gonna. (Matayo 24:14) Okusookera ddala, baanoonya ensigalira ya Isiraeri wa Katonda. Oluva­nnyuma, “ab’endiga endala” ­baatandika okukuŋŋanyizibwa, era ebibinja byombi ne bifuuka “ekisibo kimu, omusumba omu.” (Yokaana 10:16) Wadde nga kati baweereza Katonda mu nsi 234, abasinza bano abeesigwa bonna bali “bumu.” Era kati, ekisibo ‘kirimu abantu bangi,’ kwe kugamba, abasajja, abakazi era n’abaana. Obwesige bwabwe ­tebuli mu nteekateeka y’ebintu eno, wabula buli mu Bwakabaka bwa Katonda, obujja okuleeta ­olusuku lwe ku nsi mu bbanga eritali lya wala.

23. Lwaki oli mukakafu nti essuubi ly’olina lijja kutuukirira?

23 Ku bikwata ku bantu abeesigwa abasinza Yakuwa, olunyiriri olusembayo mu Mikka essuula 2 lugamba: ‘Kabaka waabwe alibeera mu maaso gaabwe, nga Yakuwa y’abakulembedde.’ Naawe oli mu kibiina ky’abawanguzi abo, ng’ogoberera Kabaka wo, Yesu Kristo, era nga Yakuwa kennyini y’akulembedde? Bwe kiba bwe kityo, ba mukakafu nti ojja kutuuka ku buwanguzi era nti essuubi ly’olina kkakafu. Ekyo ojja kweyongera okukitegeera nga twekenneenya ensonga endala enkulu eziri mu bunnabbi bwa Mikka.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki Yakuwa yabonereza Yuda ne Isiraeri mu kiseera kya Mikka?

• Kiki ekiyinza okubaawo singa abo abagamba nti baweereza Katonda bakulembeza eby’obugagga mu bulamu bwabwe?

• Oluvannyuma lw’okwekenneenya Mikka essuula 1 ne 2, lwaki okakasa nti essuubi ly’olina lijja kutuukirira?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Obunnabbi bwa Mikka busobola okutunyweza mu by’omwoyo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Okufaananako ensigalira y’Abayudaaya abaaliwo mu 537 B.C.E., Isiraeri ey’omwoyo ne bannaabwe bawagira okusinza okw’amazima