Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Yakuwa by’Atwetaagisa?

Biki Yakuwa by’Atwetaagisa?

Biki Yakuwa by’Atwetaagisa?

“Yakuwa akusaba ki wabula okwoleka obwenkanya n’okwagala ekisa era n’okubeera omuwombeefu mu kutambula ne Katonda wo?”​—MIKKA 6:8, NW.

1, 2. Lwaki abaweereza ba Yakuwa abamu bayinza okugwamu amaanyi, naye kiki ekiyinza okubayamba?

VERA Mukristaayo omwesigwa aweza emyaka nga 75 egy’obukulu era ng’alwalalwala nnyo. Agamba bw’ati: “Ebiseera ebimu, nnyima mu ddirisa ne nnengera baganda bange Abakristaayo nga babuulira nnyumba ku nnyumba. Kindeetera ebiyengeyenge mu maaso kubanga mba njagala kuba nabo, naye obulwadde bunnemesa okuweereza Yakuwa.”

2 Wali weewuliddeko bw’otyo? Kya lwatu, bonna abaagala Yakuwa baagala okutambulira mu linnya lye era n’okutuukiriza by’abeetaaza. Naye, kiba kitya singa tutera okulwalalwala, nga tukaddiye, oba nga tulina obuvunaanyizibwa bw’amaka? Tuyinza okuggwaamu amaanyi olw’okuba embeera ng’ezo ziyinza okutukugira okuweereza Katonda ng’omutima gwaffe bwe gwandyagadde. Eyo bw’eba nga ye mbeera gye tulimu, awatali kubuusabuusa kijja kutuzzaamu nnyo amaanyi okwekenneenya obunnabbi bwa Mikka obuli mu ssuula 6 ne 7. Essuula ezo ziraga nti Yakuwa by’atwetaagisa si bikakali era tusobola okubituukiriza.

Engeri Katonda gy’Ayisaamu Abantu Be

3. Yakuwa yayisa atya Abaisiraeri abajeemu?

3 Ka tusooke twekenneenye Mikka 6:3-5 tulabe engeri Yakuwa gy’ayisaamu abantu. Jjukira nti mu kiseera kya Mikka, Abayudaaya baali bajeemu. Wadde kiri bwe kityo, mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa abayita “abantu bange.” Abeegayirira: “Mmwe abantu bange, mujjukire.” Mu kifo ky’okubanenya mu ngeri ey’obukambwe, agezaako okutuuka ku mitima gyabwe ng’ababuuza nti, “Mbakoze ki?” Era abakubiriza ‘okumulumiriza.’

4. Ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okulaga ekisa kyanditukozeeko ki?

4 Nga Katonda atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Abantu abajeemu ab’omu Isiraeri ne Yuda abaaliwo mu kiseera kya Mikka, mu ngeri ey’ekisa yabayita “abantu bange,” era n’abeegayirira. Awatali kubuusabuusa, naffe twandyolesezza ekisa nga tukolagana n’abo abali mu kibiina. Kyo kituufu nti, abamu bayinza okubeera abazibu okukolagana nabo, oba bayinza okubeera abanafu mu by’omwoyo. Kyokka, bwe baba nga baagala Yakuwa, twandibayambye era ne tubalaga ekisa.

5. Nsonga ki enkulu eyogerwako mu Mikka 6:6, 7?

5 Kati ate ka twekenneenye Mikka 6:6, 7. Mikka abuuza ebibuuzo ebiwerako ng’agamba: “Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? [M]musemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa, ennyana ezaakamaze omwaka gumu? Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy’amafuta obukumi? [M]peeyo omwana wange omubereberye olw’okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’omu mmeeme yange?” Nedda, tekisoboka kusanyusa Yakuwa “n’endiga eza seddume enkumi oba emigga egy’amafuta obukumi.” Naye waliwo ekintu ekisobola okumusanyusa. Kye kiruwa?

Tuteekwa Okwoleka Obwenkanya

6. Katonda atwetaagisa bintu ki ebisatu ebiri mu Mikka 6:8?

6 Mu Mikka 6:8, tuyiga ebyo Yakuwa by’atwetaagisa. Mikka abuuza: “Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby’ensonga [“okwoleka obwenkanya,” NW], era okwagala ekisa era [ne] okutambula n’obuwombeefu ne Katonda wo?” Ebintu ebisatu by’atwetaagisa bizingiramu enneewulira yaffe, engeri gye tulowoozaamu, n’engeri gye tweyisaamu. Tuteekwa okuba nga twagala okwoleka engeri ezo, okulowooza ku ngeri gye tusobola okuzoolekamu, era n’okubaako kye tukolawo okuzooleka. Kati, ka twekenneenye ebintu ebyo ebisatu kinnakimu.

7, 8. Kitegeeza ki ‘okwoleka obwenkanya’? (b) Bintu ki ebitali bya bwenkanya ebyali bicaase mu kiseera kya Mikka?

7 “Okwoleka obwenkanya” kitegeeza okukola ekituufu. Engeri Katonda gy’akolamu ebintu eyoleka obwenkanya. Naye abantu ab’omu kiseera kya Mikka tebaakolanga bya bwenkanya n’akamu. Mu ngeri ki? Weetegereze Mikka 6:10. Ku nkomerero y’olunyiriri olwo, abasuubuzi boogerwako ng’abakozesa “ekigera ekitatuuka eky’omuzizo,” kwe kugamba, ekipimo ekitawera. Olunyiriri 11 lugattako nti bakozesa “ebipima eby’obulimba.” Ate okusinziira ku lunyiriri 12, “olulimi lwabwe lwa bulimba.” Bwe kityo, ebipimo n’olulimi olw’obulimba byali bicaase nnyo mu by’obusuubuzi mu kiseera kya Mikka.

8 Obutali bwenkanya tebuli mu bya busuubuzi mwokka. Buli ne mu kkooti omuwozesebwa emisango. Mikka 7:3 wagamba nti “omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera.” Abalamuzi baweebwa enguzi basobole okusingisa omusango abo abatagulina. “Omukulu” oba omutuuze omwatiikirivu naye yeenyigira mu bikolwa ebyo ebibi. Mazima ddala, Mikka agamba nti omulangira, omulamuzi, n’omukulu ‘babirukira wamu,’ oba bakolaganira wamu mu kukola ebintu ebibi.

9. Abantu b’omu Yuda ne Isiraeri bayisibwa batya olw’obutali bwenkanya bw’abantu ababi?

9 Obutali bwenkanya abakulembeze ababi bwe boolesa, bulina kinene nnyo kye bukola ku Yuda ne Isiraeri yonna. Mikka 7:5 lulaga nti obutali bwenkanya buleetedde ab’omukwano n’abafumbo bennyini obuteesigaŋŋana. Olunyiriri 6 lulaga nti ekyo kiviiriddeko embeera okwonooneka ennyo ne kiba nti ab’eŋŋanda ab’oku lusegere, gamba ng’omulenzi ne kitaawe, omuwala ne nnyina, buli omu ayisaamu munne amaaso.

10. Abakristaayo beeyisa batya mu mbeera ey’obutali bwenkanya ecaase leero?

10 Naye ate, kiri kitya leero? Tetulaba embeera ezifaananako n’ezo? Nga bwe kyali mu kiseera kya Mikka, ne leero waliwo obutali bwenkanya, abantu tebeesigaŋŋana, era n’obulamu bw’amaka bwonoonese. Kyokka, ffe ng’abaweereza ba Katonda abali mu nsi eno ennyonoonefu, tetukkirizza mwoyo ogwo omubi oguli mu nsi okuyingira mu kibiina Ekikristaayo. Okwawukana ku ekyo, tufuba okubeera abeesigwa era abagolokofu, mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Mazima ddala, ‘twagala okubeeranga abeesigwa mu byonna.’ (Abaebbulaniya 13:18) Tokikkiriza nti bwe twoleka obwenkanya tufuna emiganyulo mingi olw’okuba baganda baffe beesigwa?

Abantu Bawulira Batya ‘Eddoboozi lya Yakuwa’?

11. Mikka 7:12 lutuukirizibwa lutya leero?

11 Mikka agamba nti wadde nga waliwo obutali bwenkanya, obwenkanya bujja kutuuka ku bantu bonna. Mikka alagula nti abantu bajja kukuŋŋaanyizibwa “okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi” bafuuke abasinza ba Yakuwa. (Mikka 7:12) Leero, mu kutuukirizibwa okusembayo okw’obunnabbi buno, si ggwanga limu lyokka lye liganyulwa mu bwenkanya bwa Katonda, naye abantu kinnoomu okuva mu mawanga gonna. (Isaaya 42:1) Kino kibaawo mu ngeri ki?

12. “Eddoboozi lya Yakuwa liwulirwa” litya leero?

12 Okusobola okufuna eky’okuddamu, lowooza ku bigambo Mikka bye yayogera emabegako. Mikka 6:9 wagamba: “Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n’ow’amagezi aliraba erinnya lyo.” Abantu ab’amawanga gonna bawulira batya ‘eddoboozi lya Yakuwa’ era kino kikwataganyizibwa kitya n’engeri gye tuyinza okulagamu obwenkanya?Kyo kituufu nti, leero abantu tebawulira ddoboozi lya Katonda lyennyini. Kyokka, okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira mu nsi yonna, eddoboozi lya Yakuwa liwulirwa abantu aba buli kika mu mawanga gonna. N’ekivuddemu, abo abawulira, ‘batya erinnya lya Katonda,’ era ne baliwa ekitiibwa. Mazima ddala, tuba tulaga obwenkanya bwe tuweereza ng’abalangirizi b’Obwakabaka abanyiikivu. Bwe tumanyisa erinnya lya Katonda eri bonna awatali kusosola, tuba ‘tulaga obwenkanya.’

Tuteekwa Okwagala Ekisa

13. Njawulo ki eri wakati w’ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala n’okwagala?

13 Kati ate ka twekenneenye ekintu eky’okubiri kye tusaanidde okutuukiriza ekyogerwako mu Mikka 6:8. Yakuwa atusuubira “okwagala ekisa.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” era kiyinza okuvvuunulwa nga “ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala.” Ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala kwe kufaayo ku balala oba okubalumirirwa. Ekisa ng’ekyo kyawukana ku kwagala. Mu ngeri ki? Okwagala kigambo ekirina amakulu amagazi ennyo era kuyinza n’okulagibwa eri ebintu ebitalina bulamu. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku abo abaagala ‘omwenge n’amafuta’ era n’abo abaagala “amagezi.” (Engero 21:17; 29:3) Naye ate kyo ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala, tekiri bwe kityo, kyo kiragibwa eri bantu, naddala abo abaweereza Katonda. N’olwekyo, Mikka 7:20 woogera ku ‘kisa ekyalagibwa Ibulayimu’​—omusajja eyaweereza Katonda.

14, 15. Ekisa kiragibwa kitya, era kyakulabirako ki ekikwata ku kisa ekyogeddwako?

14 Okusinziira ku Mikka 7:18, nnabbi ono agamba nti Katonda ‘asanyukira ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala.’ Mikka 6:8, walaga nti ng’oggyeko ekisa ng’ekyo, tulina n’okukyagala. Kiki kye tuyiga okuva mu byawandiikibwa bino? Ekisa ng’ekyo kiragibwa kyeyagalire kubanga tuba twagala okukiraga. Okufaananako Yakuwa, tusanyukira okulaga ekisa abo abali mu bwetaavu.

15 Leero, ekisa ng’ekyo kabonero akaawulawo abantu ba Katonda. Lowooza ku kyokulabirako kimu kyokka. Mu Jjuuni 2001, waaliwo amataba ag’amaanyi ennyo mu ssaza lya Texas, ery’omu Amereka, agaayonoona enkumi n’enkumi z’amayumba, nga mw’otwalidde n’ag’Abajulirwa ba Yakuwa. Abajulirwa abawerera ddala 10,000 baawaayo kyeyagalire ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okusobola okuyamba baganda baabwe abo Abakristaayo abaali mu bwetaavu. Okumala ebbanga erisukka mu myezi mukaaga, bannakyewa abo baakola ­butaweera emisana n’ekiro era ne ku wiikendi nga baddamu okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka 8 n’amayumba agasukka mu 700 aga baganda baabwe Abakristaayo. Abo abataasobola kukola mirimu ng’egyo, baawaayo emmere, ssente, n’ebintu ebirala. Lwaki enkumi n’enkumi z’Abajulirwa abo baayamba baganda baabwe? Kubanga ‘baagala ekisa.’ Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti baganda baffe mu nsi yonna balaga ebikolwa ng’ebyo eby’ekisa! Yee, okutuukiriza ekisaanyizo ‘ky’okwagala ekisa’ si mugugu n’akatono, naye kuleeta essanyu!

Beera Muwombeefu ng’Otambula ne Katonda

16. Kyakulabirako ki ekituyamba okulaba obwetaavu bw’okutambula ne Katonda mu buwombeefu?

16 Ekintu eky’okusatu kye tusaanidde okutuukiriza ekyogerwako mu Mikka 6:8, kwe ‘kubeera abawombeefu nga tutambula ne Katonda.’ Kino kitegeeza okumanya obusobozi bwaffe we bukoma n’okwesiga Katonda. Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba ekifaananyi ng’omuwala omuto anywezezza omukono gwa kitaawe nga batambulira mu muyaga ogw’amaanyi. Omuwala oyo akimanyi bulungi nti amaanyi ge galina we gakoma, naye yeesiga kitaawe. Okufaananako omuwala oyo, naffe tusaanidde okumanya obusobozi bwaffe we bukoma era twesige Kitaffe ow’omu ggulu. Tusobola tutya okubeera n’obwesige ng’obwo? Engeri emu, kwe kumanya nti kya magezi okubeera okumpi ne Yakuwa. Mikka atujjukiza ensonga ssatu: Yakuwa ye Mununuzi waffe, y’Atukulembera era y’Atukuuma.

17. Yakuwa yanunula atya, yakulembera atya era yakuuma atya abantu be mu biseera eby’edda?

17 Okusinziira ku Mikka 6:4, 5, Katonda agamba: “Nnakuggya mu nsi y’e Misiri.” Yee, Yakuwa ye Yanunula Isiraeri. Yakuwa era agamba: “Ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.” Musa ne Alooni baakozesebwa okukulembera eggwanga eryo, ate ye Miryamu yakulembera abakazi ba Isiraeri mu kuzina amazina olw’obuwanguzi. (Okuva 7:1, 2; 15:1, 19-21; Ekyamateeka 34:10) Yakuwa yabakulembera ng’akozesa abaweereza be. Mu lunyiriri 5, Yakuwa ajjukiza eggwanga lya Isiraeri nti yabakuuma okuva ku balabe baabwe, Balaki ne Balamu, era nti yabakuuma nga bali mu kitundu ekyasembayo eky’olugendo lwabwe okuva e Sittimu eky’omu Mowaabu okutuuka e Girugaali mu Nsi Ensuubize.

18. Mu ngeri Katonda gyali Omununuzi, Omukulembeze era Omukuumi waffe leero?

18 Bwe tutambula ne Katonda, atununula okuva mu nsi ya Setaani, atukulembera ng’akozesa Ekigambo kye n’entegeka ye, era atukuuma okuva ku balabe baffe ng’ekibiina. N’olwekyo, tulina buli nsonga yonna okunyweza omukono gwa Kitaffe ali mu ggulu nga tutambula naye okuyita mu kitundu ekisembayo eky’olugendo lwaffe olututwala mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu esinga Ensi Ensuubize ey’edda.

19. Obuwombeefu bukwataganyizibwa butya n’obusobozi bwaffe we bukoma?

19 Okubeera abawombeefu nga tutambula ne Katonda kituyamba okutegeerera ddala obulungi embeera yaffe. Kiri kityo kubanga okwoleka obuwombeefu kuzingiramu okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Obulwadde oba obukadde biyinza okutulemesa okukola ennyo mu buweereza bwa Yakuwa. Kyokka, mu kifo ky’okuleka ebyo okutumalamu amaanyi, kiba kirungi okujjukira nti Katonda akkiriza bye tukola era ne bye tuwaayo ‘okusinziira ku ebyo bye tulina, so si ku ebyo bye tutalina.’ (2 Abakkolinso 8:12) Mazima ddala, Yakuwa atusuubira okumuweereza n’emmeeme yaffe yonna, ng’embeera zaffe bwe zitusobozesa. (Abakkolosaayi 3:23) Bwe tufuba okukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwe, atuwa emikisa mingi nnyo.​—Engero 10:22.

Endowooza ey’Okulindirira Ereeta Emikisa

20. Kiki ekinaatuyamba okulaga obugumiikiriza nga Mikka?

20 Bwe tufuna emikisa gya Yakuwa kituleetera okukoppa endowooza Mikka gye yayoleka. Agamba: “N[n]aalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.” (Mikka 7:7) Ebigambo bino bikwata bitya ku kutambula ne Katonda mu buwombeefu? Bwe tulindirira Katonda, oba bwe tugumiikiriza, kituyamba obutaggwaamu maanyi olw’okuba olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka. (Engero 13:12) Awatali kubuusabuusa, ffenna twagala enkomerero y’ensi eno embi etuuke. Kyokka, bwe tumanya nti buli wiiki wabaawo enkumi n’enkumi z’abantu abalala abatandika obutandisi okutambula ne Katonda, kituwa ensonga ennungi ennyo ey’okulaga obugumiikiriza. Omujulirwa omu eyamala emyaka emingi ng’aweereza Yakuwa yagamba: “Bwe ntunula emabega mu myaka egisoba mu 55 gye mmaze nga nkola omulimu gw’okubuulira, ndi mukakafu nti sirina kintu kyonna kye nfiiriddwa olw’okulindirira Yakuwa. Kyokka, mponyezeddwa ebintu ebibi bingi.” Okkiriziganya n’ebigambo ebyo?

21, 22. Mikka 7:14 lutuukirizibwa lutya mu kiseera kyaffe?

21 Awatali kubuusabuusa okutambula ne Yakuwa kituviirako okufuna emiganyulo. Nga bwe tusoma mu Mikka 7:14, Mikka ageraageranya abantu ba Katonda ku ndiga eziri awamu n’omusumba waazo. Leero, mu kutuukirizibwa okusingawo okw’obunnabbi buno, ensigalira ya Isiraeri ey’omwoyo awamu ‘n’ab’endiga endala’ bafuna obukuumi okuva eri Omusumba waabwe gwe beesiga, Yakuwa. “Babeera bokka, mu kibira wakati,” nga beeyawudde ku nsi eno mu ngeri ey’eby’omwoyo.​—Yokaana 10:16; Ekyamateeka 33:28; Yeremiya 49:31; Abaggalatiya 6:16.

22 Abantu ba Yakuwa bali mu mbeera nnungi era nga Mikka 7:14 bwe lulaga. Ng’ayogera ku ndiga za Katonda oba abantu be, Mikka agamba: “Baliire mu Basani ne mu Gireyaadi.” Ng’endiga ez’omu Basani ne Gireyaadi bwe zaalyanga omuddo omulungi ennyo era ne zibeera mu mbeera ennungi, mu ngeri y’emu, abantu ba Katonda leero, bali mu mbeera nnungi mu by’omwoyo. Na guno mukisa mulala ogufunibwa abantu abatambula ne Katonda mu buwombeefu.​—Okubala 32:1; Ekyamateeka 32:14.

23. Kiki kye tuyiga bwe twekenneenya Mikka 7:18, 19?

23 Mu Mikka 7:18, 19, nnabbi aggumiza nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abo abeenenya. Olunyiriri 18 lugamba nti Yakuwa “asonyiwa obubi” era nti “ayita ku kwonoona.” Ate nga bwe kiragibwa mu lunyiriri 19, “alisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw’ennyanja.” Tuyiga ki mu ebyo? Tusobola okwebuuza obanga tukoppa Yakuwa mu ngeri eno. Tusonyiwa abalala ensobi ze batukola? Bwe beenenya era ne bakola ebikolwa ebiraga ekyo, tusaanidde okukoppa Yakuwa tubasonyiyire ddala.

24. Oganyuddwa otya mu bunnabbi bwa Mikka?

24 Tuganyuddwa tutya mu kwekenneenya obunnabbi bwa Mikka? Butujjukizza nti Yakuwa awa essuubi erya nnamaddala abo abamwesiga. (Mikka 2:1-13) Tukubirizziddwa okukola kyonna ekisoboka okuwagira okusinza okw’amazima tusobole okutambulira mu linnya lya Katonda emirembe gyonna. (Mikka 4:1-4) Era tukakasiddwa nti ka tube nga tuli mu mbeera ki, tusobola okutuukiriza Yakuwa by’atwetaagisa. Yee, obunnabbi bwa Mikka butusobozesa okutambulira mu linnya lya Yakuwa.

Wandizzeemu Otya?

• Okusinziira ku Mikka 6:8, kiki Yakuwa ky’atwetaagisa?

• Kiki ekyetaagisa bwe tuba ‘ab’okulaga obwenkanya’?

• Tusobola tutya okulaga nti ‘twagala ekisa’?

• Kiki ekizingirwa mu ‘kutambula ne Katonda mu buwombeefu’?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Wadde nga mu kiseera kye waaliwo obubi bungi, Mikka yatuukiriza ebyo Yakuwa bye yali amwetaaza. Naawe osobola okubituukiriza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Laga obwenkanya ng’obuulira abantu aba buli ngeri

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

Laga nti oyagala ekisa ng’okola ku bwetaavu bw’abalala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Kola ekyo ky’osobola ng’omanyi wa obusobozi bwo we bukoma