Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera Ebizibu

Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera Ebizibu

Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera Ebizibu

“Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.”​—ZABBULI 46:1.

1, 2. (a) Kyakulabirako ki ekiraga nti tekimala okugamba obugambi nti twesiga Katonda? (b) Lwaki twandikoze ekisingawo ku kugamba obugambi nti twesiga Yakuwa?

KYANGU okugamba nti twesiga Yakuwa naye si kyangu okukyoleka mu bikolwa. Ng’ekyokulabirako, ebigambo “Mu Katonda mwe Tutadde Obwesige Bwaffe” bibadde ku ssente z’Amerika okumala ekiseera kiwanvu. * Mu 1956, Olukiiko Olukulu olw’Amerika lwayisa etteeka erifuula ebigambo ebyo moto y’eggwanga. Kyokka, ng’oggyeko Amerika​—abantu bangi okwetooloola ensi​—beesiga ssente n’eby’obugagga okusinga Katonda.​—Lukka 12:16-21.

2 Ng’Abakristaayo ab’amazima, tulina ­okukola ekisingawo ku kugamba obugambi nti twesiga Yakuwa. ‘Ng’okukkiriza okutalina bikolwa bwe kuba okufu,’ n’okugamba nti twesiga Katonda nga tetukiraze mu bikolwa tekiba na makulu. (Yakobo 2:26) Mu kitundu ekivuddeko, twalabye nti obwesige bwe ­tulina mu Katonda bweyoleka nga tumutuukirira mu kusaba, nga tunoonya obulagirizi okuva mu Kigambo kye, era nga twesigama ku kibiina kye okutuwa obulagirizi. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okussa mu nkola ebintu ebyo ebisatu nga tuli mu biseera ebizibu.

Bw’Ofiirwa Omulimu oba ng’Enfuna Yo Njabayaba

3. Kunyigirizibwa kwa ngeri ki mu by’enfuna abaweereza ba Yakuwa kwe boolekaganye nakwo mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ era tumanya tutya nti Katonda mwetegefu okutuyamba?

3 Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ naffe Abakristaayo tunyigirizibwa mu by’enfuna. (2 Timoseewo 3:1) Tuyinza okwesanga nga tusaliddwako ku mulimu, oba okwesanga nga tulina okukola essaawa nnyingi kyokka ng’omusaala gwe tufuna mutono nnyo. Nga tuli mu mbeera ng’ezo, tuyinza okukisanga nga kizibu nnyo ‘okulabirira abantu baffe.’ (1 Timoseewo 5:8) Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna mwetegefu okutuyamba mu mbeera ng’ezo? Awatali kubuusabuusa! Kya lwatu, Yakuwa tatukuuma okuva ku buli kizibu ekiri mu nteekateeka eno ey’ebintu. Kyokka, bwe tumwesiga, ebigambo ebiri mu Zabbuli 46:1 bijja kutukwatako: “Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, omubeezi ddala atabula mu kulaba nnaku.” Naye tuyinza tutya okulaga nti twesigira ddala Yakuwa singa tunyigirizibwa mu by’enfuna?

4. Bwe tunyigirizibwa mu by’enfuna, kiki kye tuyinza okusaba, era Yakuwa ayanukula atya okusaba ng’okwo?

4 Engeri emu mwe tulagira nti twesiga Yakuwa kwe kumutuukirira mu kusaba. Naye biki bye tuyinza okusaba? Bwe tunyigirizibwa mu by’enfuna, tuba twetaaga nnyo amagezi okusinga ne bwe kyali kibadde. N’olwekyo, tumusabe agatuwe. Ekigambo kya Yakuwa kitukasa: “Oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.” (Yakobo 1:5) Yee, saba Yakuwa amagezi, kwe kugamba, obusobozi bw’okukozesa obulungi okumanya n’okutegeera osobole okusalawo mu ngeri ennungi era entuufu. Kitaffe omwagazi ow’omu ggulu atukakasa nti ajja kuwuliriza okusaba ng’okwo. Mwetegefu bulijjo okuluŋŋamya amakubo g’abo abamwesiga n’omutima gwabwe gwonna.​—Zabbuli 65:2; Engero 3:5, 6.

5, 6. (a) Lwaki twandinoonyezza obulagirizi mu Kigambo kya Katonda okusobola okwaŋŋanga obuzibu bw’eby’enfuna? (b) Kiki kye tuyinza okukola okukendeeza ku kweraliikirira bwe tufiirwa omulimu?

5 Okufuna obulagirizi okuva mu Kigambo kya Katonda ye ngeri endala mwe tuyinza okulagira ddala nti twesiga Yakuwa. Okujjukiza kwe okw’amagezi okuli mu Baibuli ddala ‘kwesigika.’ (Zabbuli 93:5) Wadde nga yamalirizibwa okuwandiikibwa emyaka egisukka mu 1,900 egiyise, ekitabo ekyo ekyaluŋŋamizibwa kirimu amagezi n’obulagirizi ebyesigika ebiyinza okutuyamba okwaŋŋanga obuzibu bw’eby’enfuna. Weekenneenye ebyokulabirako bino eby’amagezi agali mu Baibuli.

6 Emabega ennyo Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: “Otulo otw’omukozi w’emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw’omugagga tegumuganya kwebaka.” (Omubuulizi 5:12) Kitutwalira obudde n’essente okuddaabiriza, okuyonja, n’okukuuma ebintu byaffe. N’olwekyo, bwe tufiirwa omulimu, tuyinza okukozesa akakisa ako okuddamu okukebera engeri gye tukozesaamu ssente zaffe, tusobole okwawulawo ebintu ebikulu n’ebyo ebitali bikulu. Okusobola okukendeeza ku kweraliikirira kiyinza okuba eky’amagezi okukola enkyukakyuka. Ng’ekyokulabirako, kisoboka okugonza mu bulamu bwaffe, oboolyawo nga tudda mu nnyumba entonoko oba okweggyako ebintu ebiteetaagisa?​—Matayo 6:22.

7, 8. (a) Yesu yalaga atya ng’amanyi nti abantu abatatuukiridde batera okweraliikirira ekisukkiridde ku bikwata ku bintu? (Laba n’obugambo obutono obuli wansi.) (b) Magezi ki Yesu ge yawa agakwata ku kwewala okweraliikirira ekisukkiridde?

7 Mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Mulekere awo okweraliikirira nti mulirya ki, mulinywa ki, oba ebikwata ku mubiri gwammwe, nti mulyambala ki.” * (Matayo 6:25, NW) Yesu yali akimanyi nti kya mu butonde abantu abatatuukiridde okwagala okufuna ebyetaagibwa mu bulamu. Naye tusobola tutya ‘okulekera awo okweraliikirira’ ebintu ng’ebyo? ‘Musooke munoonyenga obwakabaka,’ bw’atyo Yesu bwe yagamba. Ka tubeere nga twolekaganye na bizibu ki mu bulamu, tusaanidde okweyongera okukulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, ebirala byonna bye twetaaga, Kitaffe ow’omu ggulu ajja ‘kubitwongerako.’ Mu ngeri emu oba endala, ajja kutusobozesa okufuna bye twetaaga.​—Matayo 6:33.

8 Yesu yeeyongera okuwa amagezi gano: “Temweraliikiriranga bya jjo: kubanga olunaku olwa jjo lulyeraliikirira ebyalwo.” (Matayo 6:34) Tekiba kya magezi okweraliikirira ekisukkiridde ebiyinza okubaawo enkya. Omwekenneenya omu yagamba: “Eby’omu kiseera eky’omu maaso byeraliikiriza okusinga embeera eriwo.” Okukolera ku magezi ga Baibuli ag’okukulembeza ebyo ebisinga obukulu era n’okutwala buli lunaku nga bwe luba luzze, kiyinza okutuyamba obuteeraliikirira ekisukkiridde.​—1 Peetero 5:6, 7.

9. Bwe tunyigirizibwa mu by’enfuna, buyambi ki bwe tuyinza okusanga mu bitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’?

9 Era bwe tuba tunyigirizibwa mu by’enfuna, tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa nga tukebera mu bitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ okufuna obuyambi. (Matayo 24:45) Emirundi n’emirundi, magazini eyitibwa Awake! ebaddemu ebitundu ebirungi ebikwata ku ngeri y’okukola ku mbeera enzibu ey’eby’enfuna. Ekitundu ekigamba nti “Kiki ky’Oyinza Okukola ng’Ofiiriddwa Omulimu,” ekiri mu katabo ka Agusito 8, 1991, kyalaga ensonga munaana ennungi eziyambye bangi obutaba bubi nnyo mu by’essente era n’obutaterebuka mu kiseera nga tebalina mulimu. * Kya lwatu, esonga ezo tezirina kukulemesa kumanya mugaso ogw’essente. Kino kyayogerwako mu kitundu ekigamba “Eky’Omugaso Okusinga Essente,” ekyafulumira mu katabo ako ke kamu.​—Omubuulizi 7:12.

Bwe Twolekagana n’Obulwadde

10. Ekyokulabirako kya Kabaka Dawudi kiraga kitya nti kya magezi okwesiga Katonda ng’omuntu ayolekaganye n’obulwadde obw’amaanyi?

10 Kya magezi okwesiga Yakuwa nga twolekaganye n’obulwadde obw’amaanyi? Yee! Yakuwa afaayo ku bantu be abalwadde. Era mwetegefu okubayamba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Dawudi. Kyandiba nti ye kennyini yali mulwadde nnyo we yayogerera ku ngeri Katonda gy’atwalamu omulwadde amwesiga. Yagamba: “Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda: ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw’alwala.” (Zabbuli 41:1, 3, 7, 8) Obwesige Dawudi bwe yalina mu Katonda tebwakendeera, era mu nkomerero kabaka oyo yassuuka obulwadde bwe. Kati olwo, ffe tusobola tutya okwesiga Katonda nga twolekaganye n’obulwadde?

11. Singa tulwala, kiki kye tuyinza okusaba Kitaffe ow’omu ggulu?

11 Bwe tuba nga tuli balwadde, engeri emu mwe tulagira nti twesiga Yakuwa kwe kumutuukirira mu kusaba atuyambe tusobole okugumiikiriza. Tuyinza okumusaba atuyambe tukozese ‘amagezi’ tuleme kusuubira kuwona okusinga embeera yaffe bw’etusobozesa. (Engero 3:21) Era tuyinza okumusaba atuyambe okugumira obulwadde. N’ekisinga byonna, tuyinza okusaba Yakuwa okutuwanirira, okutuwa amaanyi tusobole okusigala nga tuli beesigwa gy’ali tuleme okuggwaamu amaanyi ka kibeere ki ekibaawo. (Abafiripi 4:13) Okubeera abeesigwa eri Katonda kikulu okusinga okuwonya obulamu obwa kaakano. Singa tusigala nga tuli beesigwa, Omugabi w’Empeera ajja kutuwa obulamu obutuukiridde emirembe gyonna.​—Abaebbulaniya 11:6.

12. Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egiyinza okutuyamba okusalawo obulungi ku by’enzijanjaba?

12 Era obwesige bwe tulina mu Yakuwa butukubiriza okunoonya obulagirizi bwe mu Kigambo kye Baibuli. Emisingi egiri mu Byawandiikibwa gisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri entuufu bwe kituuka ku ­by’enzijanjaba. Ng’ekyokulabirako, bwe tumanya nti Baibuli evumirira ‘eby’obusamize,’ twewala ezinjanjaba zonna ezizingiramu eby’obusamize. (Abaggalatiya 5:19-21; Ekyamateeka 18:10-12) Ekyawandiikibwa ekiddirira kiraga amagezi ga Baibuli amalala ageesigika: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.” (Engero 14:15) Bwe kityo nno, nga tulowooza ku kufuna obujjanjabi, kiba kya magezi okufuna obulagirizi obwesigika mu kifo ‘ky’okukkiriza buli kigambo.’ ‘Endowooza’ ng’eyo ennuŋŋamu esobola okutuyamba okwekenneenya obulungi ensonga ne tusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi.​—Tito 2:12.

13, 14. (a) Bitundu ki ebikwata ku by’obulwadde ebifulumidde mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!? (Laba akasanduuko ku lupapula 31.) (b) Magezi ki agaweebwa mu Awake! aka Jjanwali 22, 2001 agakwata ku kugumira obulwadde obw’olukonvuba?

13 Era tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa bwe tunoonyereza mu bitabo by’omuddu omwesigwa. Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! zibaddemu ebitundu ebirungi ebyogera ku bulwadde obutali bumu. * Emirundi egimu, magazini zino zoogedde ku bantu abasobodde okugumira obulwadde n’obuzibu obulala. Era, ebitundu ebimu bibaddemu Ebyawandiikibwa n’amagezi amalungi ku ngeri y’okugumiramu obulwadde obw’olukonvuba.

14 Ng’ekyokulabirako, Awake! aka Jjanwali 22, 2001, kaalimu ebitundu ebyayogera ku “Okubudaabuda Abalwadde.” Ebitundu ebyo byalaga emisingi gya Baibuli egiyamba era n’ebyo ebyayogerwa abo abasobodde okugumira obulwadde obw’amaanyi okumala emyaka mingi. Ekitundu ekigamba “Osobola Otya Okugumira Obulwadde bw’Olina?” kyawa amagezi gano: Yiga bingi nnyo nga bw’osobola ebikwata ku bulwadde obwo. (Engero 24:5) Weeteekerewo ebiruubirirwa ebisaanira, nga mw’otwalidde n’okuyamba abalala, naye kijjukire nti oyinza obutasobola kukola ng’abalala. (Ebikolwa 20:35; Abaggalatiya 6:4) Teweeyawula ku balala. (Engero 18:1) Abalala bwe bakukyalira, tobakaluubiriza. (Engero 17:22) N’ekisinga byonna, beera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’ekibiina. (Nakkumu 1:7; Abaruumi 1:11, 12) Tetuli basanyufu okuba nti Yakuwa atuwa obulagirizi obwesigika okuyitira mu kibiina kye?

Singa Obunafu bw’Omubiri Bukulemerako

15. Pawulo yasobola atya okuwangula obunafu bwe obw’omubiri, era tuyinza kuba na bukakafu ki?

15 ‘Mu mubiri gwange, temutuula kirungi kyonna,’ bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. (Abaruumi 7:18) Okusinziira ku ebyo ebyamutuukako, Pawulo yali amanyidde ddala obuzibu obuli mu kwaŋŋanga okwegomba n’obunafu bw’omubiri. Kyokka, Pawulo yali mukakafu nti asobola okutuuka ku buwanguzi. (1 Abakkolinso 9:26, 27) Mu ngeri ki? Nga yeesigira ddala Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba: “Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno? Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.” (Abaruumi 7:24, 25) Ate ffe? Naffe tulwanagana n’obunafu bw’omubiri. Nga tufuba okuvvuunuka obunafu ng’obwo, tuyinza okuggwaamu amaanyi nga tulowooza nti tetuyinza kutuuka ku buwanguzi. Mu kifo ky’okwesiga amaanyi gaffe, Yakuwa ajja kutuyamba singa okufaananako Pawulo tunaamwesigira ddala.

16. Singa obunafu bw’omubiri butulemerako, kiki kye tulina okusaba, era kiki kye twandikoze singa wabaawo kadda nnyuma?

16 Singa obunafu bw’omubiri butulemerako, tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa nga tumwegayirira mu kusaba. Tusaanidde okusaba oba okwegayirira Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Lukka 11:9-13) Tuyinza okumusaba atuyambe okwefuga, nga kino kimu ku kibala ky’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22, 23) Kiba kitya singa wabaawo akadda nnyuma? Tetusaanidde kulekulira. Ka tuleme kukoowanga kusaba Katonda waffe ow’ekisa, atusonyiwe era atuyambe. Yakuwa tayinza n’akamu kwesamba, oba okwebalama omutima ‘ogumenyese’ olw’okulumizibwa omuntu ow’omunda. (Zabbuli 51:17) Singa tumutuukirira mu bwesimbu, ajja kutuyamba okwaŋŋanga okukemebwa.​—Abafiripi 4:6, 7.

17. (a) Lwaki kya muganyulo okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu obunafu bwe tuba tulwanyisa? (b) Byawandiikibwa ki bye tuyinza okujjukira singa tuba tugezaako okufuga obusungu obw’ettumbiizi, okufuga olulimi lwaffe, okuziyiza okusikirizibwa okwesanyusaamu okutazimba?

17 Era tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa nga tunoonya obuyambi mu Kigambo kye. Nga tukozesa concordance oba Watch Tower Publications Index, tuyinza okufuna eky’okuddamu ku kibuuzo kino, ‘Yakuwa atunuulira atya obunafu buno bwe nnwanyisa?’ Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’abutunuuliramu kisobola okutukubiriza okufuba okumusanyusa. Bwe kityo, tutandika okuwulira nga ye, ne tukyawa ekyo ky’akyawa. (Zabbuli 97:10) Abamu bakisanze nga kya muganyulo okukwata bukusu ebyawandiikibwa ebimu ebikwata ku bunafu bwe balwanyisa. Tufuba okulwanyisa obusungu obw’ettumbiizi? Bwe kityo nno tuyinza okujjukira Engero 14:17 ne Abaefeso 4:31. Tukisanga nga kizibu okufuga olulimi lwaffe? Tuyinza okujjukira Engero 12:18 ne Abaefeso 4:29. Tusikirizibwa okwesanyusaamu okutazimba? Tuyinza okufuba okujjukira ebyawandiikibwa nga Abaefeso 5:3 ne Abakkolosaayi 3:5.

18. Lwaki tetwandireseeyo okusaba abakadde obuyambi okusobola okuvvuunuka obunafu bwaffe olw’okutya okuswala?

18 Okunoonya obuyambi bw’abakadde abalondeddwa omwoyo omutukuvu mu bibiina nayo ngeri ndala mwe tulagira nti twesiga Yakuwa. (Ebikolwa 20:28) Kiri bwe kityo, olw’okuba ‘ebirabo bino mu bantu’ biva eri Yakuwa okuyitira mu Kristo olw’okukuuma n’okulabirira endiga ze. (Abaefeso 4:7, 8, 11-14) Kyo kituufu nti kiyinza obutaba kyangu okusaba obuyambi okulwanyisa obunafu bwaffe. Tuyinza okutya okuswala, nga tulowooza nti abakadde tebajja kututunuulira bulungi. Naye abasajja bano abakuze mu by’omwoyo bajja kutussaamu ekitiibwa olw’okwoleka obuvumu ne tubasaba obuyambi. Era, abakadde bagezaako okukoppa engeri za Yakuwa nga bakolagana n’ekisibo. Engeri gye batubudaabudamu, era n’amagezi wamu n’obulagirizi okuva mu Kigambo kya Katonda biyinza okuba nga by’ebyo byennyini bye twetaaga okubeera abamalirivu okuvvuunuka obunafu bwaffe.​—Yakobo 5:14-16.

19. (a) Setaani agezaako atya okukozesa embeera enzibu mu nsi eno? (b) Obwesige buzingiramu ki, era twandimaliridde kukola ki?

19 Kijjukire nga Setaani amanyi nti ekiseera ky’asigazzaayo kimpi. (Okubikkulirwa 12:12) Ayagala okukozesa embeera enzibu mu nsi eno okutumalamu amaanyi era tulekulire. Ka twesigire ddala ebyo ebiri mu Abaruumi 8:35-39: “Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyiggayizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala? . . . Naye mu ebyo byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Ng’ebigambo ebyo byoleka obwesige bwa maanyi nnyo mu Yakuwa! Kyokka, obwesige obwo busingawo ku kubeera obubeezi n’enneewulira. Buzingiramu bye tusalawo mu bulamu bwaffe obwa bulijjo oluvannyuma lw’okufumiitiriza. N’olwekyo, ka ffenna tumalirire okwesigira ddala Yakuwa mu biseera ebizibu.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 1 Mu bbaluwa eyaweerezebwa ekkolero ly’essente mu Amerika, nga Noovemba 20, 1861, Salmon P. Chase, Omuwandiisi w’Omuwanika yagamba: “Tewali ggwanga lisobola kuba lya maanyi nga teryesiga Katonda, oba okuba n’obukuumi nga Katonda talikuumye. Obwesige abantu baffe bwe balina mu Katonda bulina okulagibwa ku ssente ez’ekyuma.” Ekyavaamu, ebigambo “Mu Katonda mwe Tutadde Obwesige Bwaffe,” byasooka okufulumira ku ssente z’Amerika ez’ekyuma mu 1864.

^ lup. 7 Okweraliikirira okwogerwako wano kwe “kutya, okumalako omuntu essanyu lyonna ly’aba nalyo.” Enzivuunula ezimu zigamba “temweraliikiriranga.” Naye mu kugamba bwe zityo, ziba zitegeeza nti tetulina kutandika kweraliikirira. Ekitabo ekimu kigamba: “Ebigambo by’Oluyonaani ebikozesebwa bitegeeza okulekera awo okukola ekintu ekiba kigenda mu maaso.”

^ lup. 9 Ensonga omunaana ze zino: (1) Totya; (2) ba n’endowooza ennuŋŋamu; (3) beera mwetegefu okukola emirimu emirala; (4) tosussa nnyigiza yo​—togezaako kuvuganya na balala; (5) weegendereze amabanja; (6) amaka go gakuume nga gali bumu; (7) teweemalaamu kitiibwa; era (8) kola embalirira.

^ lup. 13 Magazini zino ezeesigamiziddwa ku Baibuli tezisemba oba teziwagira kika kya bujjanjabi kyonna olw’okuba kiri eri buli omu okwesalirawo. Kyokka ebitundu ebyogera ku bulwadde obutali bumu bigendera kumanyisa abasoma obutabo buno ebiba bimanyiddwa ku bulwadde obwo mu kiseera kino.

Ojjukira?

• Ngeri ki mwe tuyinza okulagira nti twesiga Yakuwa, bwe tunyigirizibwa mu by’enfuna?

• Bwe tulwala tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa?

• Singa obunafu bw’omubiri butulemerako, tuyinza tutya okulaga nti twesigira ddala Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 31]

Ojjukira Ebitundu Bino?

Bwe tunakuwala olw’okulwalalwala, kituzzaamu amaanyi bwe tusoma ku balala abasobodde okugumira obulwadde n’obuzibu obulala. Wammanga waliwo ebitundu ebifulumidde mu Watchtower ne Awake!

“Okwaŋŋanga Obunafu Bwange” ekyali kikwata ku kwaŋŋanga endowooza emalamu amaanyi n’okwenyamira.​—The Watchtower, Maayi 1, 1990.

“N’amawuggwe ag’Ekyuma Gaali Tegasobola Kumulemesa Kubuulira.”​—Awake!, Jjanwali 22, 1993.

“Essasi Lyakyusa Obulamu Bwange” nga kakwata ku kwaŋŋanga okusanyalala.​—Awake!, Okitobba 22, 1995.

“Tomanyi Bulamu bwo bwe Bunaaba Enkeera” kaayogera ku kwaŋŋanga obulwadde obumu.​—The Watchtower, Ddesemba 1, 2000.

“Loida Atandika Okuwuliziganya n’Abalala Oluvannyuma lw’Ekiseera Ekiwanvu” nga kaali kakwata ku kwaŋŋanga obulwadde bw’obwongo.​—Awake!, Maayi 8, 2000.

“Nnayolekagana n’Endwadde Eyitibwa Endometriosis.”​—Awake!, Jjulaayi 22, 2000.

“Okwaŋŋanga Obulwadde Obuyitibwa Scleroderma.”​—Awake!, Agusito 8, 2001.

“Nnawangula Olutalo lw’Okwennyamira.”​—Awake!, Jjulaayi 22, 2002.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Bwe tufiirwa omulimu, kyandibadde kirungi okuddamu okukebera engeri gye tukozesaamu ssente zaffe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Ebikwata ku Loida biraga engeri okwesiga Yakuwa gye kuyamba omuntu okugumiikiriza. (Laba akasanduuko ku lupapula 31)

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Tetwandikwatiddwa nsonyi okusaba obuyambi okusobola okuvvuunuka obunafu bwaffe