Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli Esobola Okukuyamba mu Bufumbo Bwo

Baibuli Esobola Okukuyamba mu Bufumbo Bwo

Baibuli Esobola Okukuyamba mu Bufumbo Bwo

OBUFUMBO​—abamu, ekigambo ekyo kiba­sanyusa. Ate abalala, kibaleetera okuwulira ennaku. “Wadde nga tukyali bafumbo muli nneewulira nga tulinga abatali bafumbo,” bw’atyo omukyala omu bwe yagamba. “Mpulira nga sikyafiibwako era mbeera n’ekiwuubaalo ekiseera kyonna.”

Kiki ekireetera abantu ababiri abaalayira buli omu okwagala n’okufaayo ku munne okubeera nga tebakyafaŋŋanako? Ensonga emu ereetera ekyo bwe butamanya bufumbo kye butegeeza. “Tuyingira obufumbo nga tetulina kutendekebwa kwonna,” bw’atyo munnamawulire awandiika ku by’ekisawo bwe yagamba.

Okuba nga leero batono abalina kye bamanyi ku by’obufumbo, kyeyolekera mu kunoonyereza okwakolebwa Ekitongole Ekikwata ku by’Obufumbo, ekya Yunivaasite ya Rutgers mu New Jersey, Amereka. “Bangi ku baabuuzibwa mu kunoonyereza kuno baakuzibwa abazadde abataalina ssanyu mu bufumbo oba nga baagattululwa,” bwe batyo abali bakubiriza okunoonyereza kuno bwe baawandiika. “Bamanyi bulungi obufumbo obubi bwe bufaanana, naye tebamanyi bufumbo bulungi bwe bubeera. Abamu bayinza okunnyonnyola obufumbo obulungi ng’obwo ‘obutafaanana na bw’abazadde baabwe.’”

Abakristaayo bo tebafuna bizibu mu bufumbo? Babifuna. Mu butuufu, abamu ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali beetaaga okubuulirirwa ‘obutanoonyanga kusumululwa’ mu bufumbo. (1 Abakkolinso 7:27) Kya lwatu, obufumbo wakati w’abantu ababiri abatatuukiridde, busobola okubaamu ebizibu, naye tulina obuyambi. Abaami n’abakyala basobola okulongoosa enkolagana yaabwe nga bagoberera emisingi gya Baibuli.

Kyo kituufu, Baibuli teyogera ku bya bufumbo byokka. Naye, okuva bwe kiri nti yaluŋŋamizibwa oyo eyatandikawo obufumbo, tusobola okusuubira emisingi egirimu okuba egy’omuganyulo. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa Katonda yagamba bw’ati: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”​—Isaaya 48:17, 18.

Okwagala kwe mwalina wakati wo ne munno kati kutandise okukendeera? Owulira nti kati oli mu bufumbo omutali kwagala? Omukyala omu amaze emyaka 26 nga mufumbo yagamba: “Obulumi bw’owulira ng’oli mu bufumbo obw’ekika kino tebunnyonnyolekeka. Tebusalako.” Okusinga okumala geewaliriza n’obeera mu bufumbo obutakusanyusa, lwaki tomalirira okubaako ne ky’okolawo? Ekitundu ekiddako kijja kulaga abaami n’abakyala engeri emisingi gya Baibuli gye gisobola okubayamba okutuukirizamu obweyamo bwabwe mu bufumbo.