Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebigambo okuba “n’obulamu mu ye” bitegeeza ki?

Baibuli eyogera ku Yesu Kristo ng’alina “obulamu mu ye” era n’abagoberezi be ng’abalina ‘obulamu mu bo.’ (Yokaana 5:26; 6:53) Kyokka, ebyawandiikibwa bino ebibiri birina amakulu ga njawulo.

Yesu yagamba: “Nga Kitange bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye.” Nga tannaba kwogera bigambo bino ebikulu, Yesu yagamba: “Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n’akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo . . . Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, n’abo abaliwulira baliba balamu.” Wano Yesu yali ayogera ku maanyi ag’enjawulo Kitaawe ge yamuwa, kwe kugamba, okuyamba abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Okwongereza ku ekyo, Yesu asobola okuzuukiza abo abeebase mu kufa era n’okubawa obulamu. Yesu okuba nti alina “obulamu mu ye” kitegeeza nti aweereddwa obuyinza buno. Okufaananako Kitaawe, n’Omwana alina ‘mu ye ekirabo ky’obulamu.’ (Yokaana 5:24-26) Ate bo abagoberezi be?

Nga wayiseewo omwaka gumu, yagamba abamuwuliriza: “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.” (Yokaana 6:53, 54) Wano Yesu akwataganya ebigambo okuba ‘n’obulamu mu mmwe’ n’okufuna “obulamu obutaggwaawo.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani mulimu ebigambo ebirala ebifaanagana n’okuba ‘n’obulamu mu mmwe.’ Waliwo ebyokulabirako bibiri, “Mmwe mubeere n’omunnyo munda wammwe” ne ‘baweebwanga mu bo bokka empeera ebasaanira.’ (Makko 9:50; Abaruumi 1:27) Mu byawandiikibwa ebyo, ebigambo biba tebitegeeza busobozi bw’okugabira abalala omunnyo oba okusasula omuntu yenna ekimugwanira. Wabula, bitegeeza obujjuvu obw’omunda. N’olwekyo, ebigambo ‘obulamu mu mmwe’ ebikozesebwa mu Yokaana 6:53 bitegeeza okufuna obulamu obujjuvu.

Ng’ayogera ku bagoberezi be nti balina obulamu mu bo, Yesu yayogera ku mubiri ggwe n’omusaayi ggwe. Oluvannyuma, ng’atongoza Eky’Ekiro kya Mukama waffe, Yesu yaddamu okwogera ku mubiri gwe n’omusaayi gwe era n’alagira abagoberezi be abaali ab’okubeera mu ndagaano empya okulya ku bubonero bw’omugaati ogutaalimu kizimbulukusa n’enviinyo. Kino kitegeeza nti Abakristaayo bokka abaafukibwako amafuta, abali mu ndagaano empya ne Yakuwa Katonda, be bafuna obulamu obujjuvu? Nedda. Ekiseera Yesu we yayogerera ebigambo ebiri mu Yokaana 6:53, 54 era n’ekyo we yatongoleza eky’ekiro kya Mukama waffe, byali byesudde ebbanga lya mwaka gumu. Abo abaawulira ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 6:53, 54 baali tebamanyi bikwata ku mbaga eyandibaddewo buli mwaka ng’eriko obubonero obukiikirira omubiri n’omusaayi gwa Kristo.

Okusinziira ku Yokaana essuula 6, Yesu ageraageranya omubiri gwe n’emmaanu, ng’agamba: “Bajjajja bammwe baaliranga emmaanu mu ddungu, ne bafa. Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa. Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe.” Omubiri gwa Yesu, awamu n’omusaayi ggwe, byali bisingira wala emmaanu eya bulijjo. Mu ngeri ki? Mu ngeri nti omubiri gwe gwaweebwayo “olw’obulamu bw’ensi,” ne kisobozesa essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwaawo. * N’olwekyo, ebigambo okuba “n’obulamu mu bo” ebiri mu Yokaana 6:53 bikwata ku abo bonna abafuna obulamu obutaggwaawo​—mu ggulu oba ku nsi.​—Yokaana 6:48-51.

Ddi abagoberezi ba Kristo lwe bafuna obulamu mu bo, oba olwe bayingira mu bulamu obujjuvu? Eri abaafukibwako amafuta ab’okubeera abasika mu Bwakabaka, kino kibaawo nga bazuukizibwa okugenda mu ggulu ng’ebitonde eby’omwoyo ebitafa. (1 Abakkolinso 15:52, 53; 1 Yokaana 3:2) ‘Ab’endiga endala’ bafuna obulamu mu bujjuvu ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi. Mu kiseera ekyo, baliba bamaze ­okugezesebwa ne basangibwa nga beesigwa era ne babalibwa okuba abatuukirivu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 20:5, 7-10.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 7 Nga bali mu ddungu, Abaisiraeri awamu “n’ekibiina ekya bannaggwanga” baali beetaaga emmaanu okusobola okusigala nga balamu. (Okuva 12:37, 38; 16:13-18) Mu ngeri y’emu, okusobola okubeera abalamu emirembe gyonna, Abakristaayo bonna, ka babeere nga baafukibwako amafuta oba nedda, balina okulya emmaanu eva mu ggulu nga bakkiririza mu maanyi agalokola agali mu mubiri n’omusaayi ebyaweebwayo ng’ekinunulo.​—Laba Watchtower aka Febwali 1, 1988, empapula 30 ne 31.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Abakristaayo bonna ab’amazima basobola okuba ‘n’obulamu mu bo’