Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri y’Okunywezaamu Obufumbo Bwo

Engeri y’Okunywezaamu Obufumbo Bwo

Engeri y’Okunywezaamu Obufumbo Bwo

KUBA ekifaananyi ky’ennyumba eri mu mbeera embi ennyo. Langi yaayo ebambulukuse, akasolya kagenda kugwa, n’oluggya lwonna luzise. Kirabika lwatu nti ekizimbe kino kyonoonese olwa kibuyaga era okumala emyaka mingi kibadde tekirabirirwa. Ekizimbe kino kimenyebwewo? Ekyo kiyinza obuteetaagisa. Singa omusingi n’ebisenge bibeera binywevu, ennyumba eyo eyinza okuddaabirizibwa.

Embeera y’ennyumba eyo ekujjukiza obufumbo bwo? Emyaka bwe gizze giyitawo, ebizibu ebiringa kibuyaga ow’amaanyi, biyinza okuba nga byonoonye obufumbo bwo. Oboolyawo omu ku mmwe oba mwembi mulagajjalidde obufumbo. Mwandiba muwulira nga Sandy. Oluvannyuma lw’okumala emyaka 15 mu bufumbo, yagamba: “Tetwalina kitugatta okuggyako okuba nti twali bafumbo. Naye ekyo ku bwakyo kyali tekimala.”

Ne bwe kiba nti obufumbo bwo bulinga obwo, toyanguyiriza kusalawo nti busaanidde okukomezebwa. Kyandiba nti obufumbo bwo busobola okulongoosebwa. Kijja kusinziira ku bumalirivu bwe mulina mwembi okutuukiriza obweyamo bwammwe. Obweyamo busobola okunyweza obufumbo naddala mu biseera ebizibu. Naye obweyamo kye ki, era Baibuli esobola etya okukuyamba okubunyweza?

Obweyamo Buleeta Obuvunaanyizibwa

Enkuluze emu ennyonnyola obweyamo nga “obuvunaanyizibwa oba okuwulira ng’ovunaanyizibwa.” Ebiseera ebimu, ekigambo ekyo kisobola okukozesebwa ku bintu ng’endagaano y’omulimu. Ng’ekyokulabirako, omuzimbi ayinza okuwulira ng’avunaanyizibwa okutuukiriza ebiri mu ndagaano y’okuzimba ekizimbe kye yapatana. Ayinza n’obutamanya nnanyini mulimu. Kyokka, awulira nga alina okutuukiriza ebiri mu ndagaano eyo.

Weewaawo obufumbo tebulinga ndagaano ya bya bizineesi, obweyamo obuzingirwamu buleeta obuvunaanyizibwa. Ggwe ne munno mu bufumbo mwalayira mu maaso ga Katonda n’abantu nti mujja kubeera wamu, ka kibeere kiki ekibaawo. Yesu yagamba: ‘Eyakola omusajja n’omukazi olubereberye yabatonda, era n’agamba nti Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeetaba ne mukazi we.’ Awo Yesu n’ayongerako: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” (Matayo 19:4-6) N’olwekyo ebizibu bwe bibalukawo, ggwe ne munno mu bufumbo mulina okufunvubira okutuukiriza obweyamo bwe mwakola. * Omukyala omu agamba bw’ati: “Obufumbo bwaffe bwatandika okulongooka kasita twalekera awo okulowooza ku kugattululwa ng’engeri y’okugonjoolamu ebizibu.”

Kyokka obumalirivu n’okwagala okunyweza obufumbo tekyandibadde mu ngeri ya kutuukiriza butuukiriza luwalo. Kiki ekirala ekizingirwamu?

Okukolera Awamu Kinyweza Obweyamo mu Bufumbo

Abafumbo okweyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe tekitegeeza nti bajja kukkiriziganya ku buli kintu. Obutakkaanya bwe bubalukawo, abafumbo basaanidde okubugonjoola si lwa kuba nti bavunaanyizibwa okukola bwe batyo kyokka, wabula n’okuba nti bali bumu mu bufumbo. Ku bikwata ku mwami n’omukyala, Yesu yagamba: ‘Tebakyali babiri, wabula bali omubiri gumu.’

Kitegeeza ki okubeera “omubiri gumu” ne munno mu mufumbo? Omutume Pawulo yawandiika nti ‘abasajja bagwanidde okwagalanga bakazi baabwe ng’emibiri gyabwe gyennyini.’ (Abaefeso 5:28, 29) Mu ngeri emu, okubeera “omubiri gumu” kitegeeza okufaayo ku bulungi bwa munno nga bw’ofaayo ku bubwo. Abafumbo beetaaga okukyusa endowooza yaabwe okuva ku “kyange” n’eba “kyaffe,” okuva ku “nze” n’eba “ffe.” Omuwi w’amagezi omu yawandiika: “Abafumbo bombi bateekwa okukomya okulowooza n’okweyisa ng’abatali bafumbo, ne batandika okulowooza n’okweyisa ng’abafumbo.”

Ggwe ne munno mweyisa “nga abafumbo”? Kisoboka okubeera awamu okumala emyaka mingi naye nga temuli ‘mubiri gumu’ mu ngeri eyo. Yee, ekyo kiyinza okubaawo, naye ekitabo Giving Time a Chance kigamba: “Obufumbo kitegeeza okukolera awamu, era abafumbo gye bakomya okukolera awamu, obufumbo bwabwe gye bujja okukoma okuba obulungi.”

Abafumbo abamu abatali basanyufu babeera wamu olw’abaana baabwe oba olw’obutasobola kweyimirizaawo mu by’enfuna. Abalala babeera wamu olw’okutya abalala kye banaabalowoozaako singa baawukana oba singa bagattululwa. Wadde ng’obufumbo nga buno buwangaala, ekintu ekikulu si kwe kubeera obubeezi mu bufumbo, wabula okubeera n’essanyu.

Ebikolwa eby’Obuteefaako Binyweza Obweyamo mu Bufumbo

Baibuli yalagula nti “mu nnaku ez’oluvannyuma” abantu bandibadde nga “beeyagala bokka.” (2 Timoseewo 3:1, 2) Ng’obunnabbi obwo bwe bwalagula, leero essira liteekeddwa nnyo ku kwefaako. Mu bufumbo bungi, okukolera omulala nga tosuubira kubaako ky’akuddiza kitwalibwa ng’obunafu. Kyokka, mu bufumbo obulungi, abafumbo bombi balaga omwoyo ogw’okwefiiriza. Naawe oyinza otya okulaga omwoyo ng’ogwo?

Mu kifo ky’okwebuuza nti, ‘Kiki kye nfuna mu bufumbo buno?’ weebuuze, ‘Kiki kye nkola okunyweza obufumbo bwange?’ Baibuli egamba nti Abakristaayo ‘basaanidde okutunuulira si buli muntu ebibye yekka, naye buli muntu eby’abalala.’ (Abafiripi 2:4) Ng’olowooza ku musingi guno ogwa Baibuli, fumiitiriza ku bye wakoze wiiki ewedde. Bikolwa bimeka bye wakoze okuganyula munno? Munno bwe yabadde ng’ayagala okunyumyako naawe, wawulirizza wadde nga wabadde toyagala kunyumya? Bintu ki bye wakoze ebyasanyusizza munno okusinga ggwe?

Ng’olowooza ku bibuuzo ebyo, teweeraliikirira nti ebikolwa byo ebirungi tebijja kulowoozebwako oba nti tebijja kusasulwa. Ekitabo ekimu kigamba: “Mu mikwano egisinga obungi, ebikolwa ebyoleka okwagala bireetera omulala okukulaga okwagala, n’olwekyo kubiriza munno okweyisa mu ngeri ennungi nga naawe kennyini weeyisa mu ngeri ennungi.” Ebikolwa eby’okwefiiriza binyweza obufumbo kubanga biba biraga nti obutwala nga bwa muwendo era ng’oyagala okubukuuma.

Okutunuulira Obufumbo nga obw’Olubeerera Kikulu

Yakuwa Katonda asiima nnyo obwesigwa. Mu butuufu, Baibuli egamba: “Eri omuntu omwesigwa naawe [Yakuwa] onoobanga mwesigwa.” (2 Samwiri 22:26, NW) Okubeera omwesigwa eri Katonda kyetaagisa okunywerera ku nteekateeka y’obufumbo gye yatandikawo.​—Olubereberye 2:24.

Singa ggwe ne munno mu mufumbo buli omu abeera mwesigwa eri munne, mujja kuwulira nti obufumbo bwammwe bwa lubeerera. Bw’olowooza ku biseera eby’omu maaso, okuba akafaananyi ng’oli wamu ne munno. Ekirowoozo eky’obutaba nga muli wamu mu bufumbo tekikujjira n’akamu era kino kireeta obukuumi mu bufumbo bwammwe. Omukyala omu agamba: “Ne bwe mbeera nga nnyiigidde nnyo bbaze seeraliikirira nti obufumbo bwaffe bugenda kukoma. Ndowooza ku ngeri gye tunaagonjoolamu ebizibu tuddewo nga bwe twali. Mba sirina kubuusabuusa kwonna nti ebintu bijja kutereera, okuggyako nti mu kiseera ekyo nnyinza obutamanya ngeri ki gye tunaabitereezaamu.”

Okutunuulira obufumbo nga obw’olubeerera kikulu nnyo okusobola okutuukiriza obweyamo bwo eri munno mu mufumbo, naye eky’ennaku kiri nti endowooza eno teriiwo mu bufumbo bungi. Mu kusoowagana okw’amaanyi, omufumbo omu ayinza okugamba, “Ŋŋenda kunoba!” oba “Ŋŋenda kufunayo omulala ayinza okuntwala ng’ow’omuwendo!” Amazima gali nti emirundi mingi ayogedde ebigambo ebyo aba tabitegeeza. Wadde kiri kityo, Baibuli eraga nti olulimi lusobola okubeera nga “lujjudde obusagwa obutta.” (Yakobo 3:8) Okutiisatiisa ng’okwo kuba ng’okugamba nti: ‘Obufumbo bwaffe sibutwala nti buwangaazi. Nsobola okubuvaamu essaawa yonna.’ Endowooza ng’eyo esobola okwonoona obufumbo.

Bw’otwala obufumbo nga obw’olubeerera, oba osuubira okubeera ne munno wadde ne mu biseera ebizibu ennyo. Kino kya mugaso nnyo. Kijja kubasobozesa okukkiriza obunafu n’ensobi zammwe era n’okusonyiwagananga. (Abakkolosaayi 3:13) Ekitabo ekimu kigamba: “Wadde mu bufumbo obulungi muyinza okubaamu ensobi, kyokka obufumbo obwo busigala nga bunywevu.”

Bwe mwali mugattibwa, weeyama eri munno. Ensonga eno yandibadde na kinene nnyo ky’ekola ku ngeri gye weeyisaamu n’engeri gy’olowoozaamu ng’omufumbo. Tokikkiriza nti osaanidde okusigala ne munno mu mufumbo si lwa kuba nti okkiririza nnyo mu butukuvu bw’obufumbo kyokka naye era olw’okuba nti oyagala munno oyo bwe mwagattibwa?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 7 Singa embeera eba mbi nnyo, abafumbo basobola okwawukana. (1 Abakkolinso 7:10, 11; laba akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka, empapula 160 ne 161, akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.) Okugatta ku kino, Baibuli ekkiriza okugattululwa singa wabaawo obwenzi.​—Matayo 19:9.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ku lupapula 5]

Ekyo ky’Osobola Okukola Kati

Oli mumalirivu kwenkana wa okutuukiriza obweyamo bwo mu bufumbo? Oboolyawo okirabye nti waliwo ky’oyinza okulongoosaamu. Okusobola okubutuukiriza, gezaako bino wammanga:

● Sooka weekebere. Weebuuze: ‘Ddala nneeyisa ng’omufumbo, oba nkyalowooza era ne nneeyisa nga bwe nnali nga sinnayingira bufumbo?’ Buuza munno mu bufumbo akubuulire engeri gye weeyisaamu ku nsonga eno.

● Soma ebitundu bino ne munno mu bufumbo. Mu ngeri ey’obukkakkamu mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye musobola okunywezaamu obweyamo bwammwe mu bufumbo.

● Mukolere wamu ebintu ebinaabasobozesa okunyweza obweyamo bwammwe mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako: Mutunuulire ebifaananyi by’embaga yammwe n’ebyo ebibajjukiza emikolo emirala kwe mwali mwembi. Mukole ebintu ebyabanyumiranga nga mwogerezeganya oba mu myaka egyasooka egy’obufumbo bwammwe. Musomere wamu ebitundu bya Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebikwata ku bufumbo.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Obweyamo mu Bufumbo Buzingiramu . . .

Obuvunaanyizibwa ‘Bw’oneeyamanga obweyamo osasulanga. Waakiri oleme okweyama okusinga okweyama n’olema okusasula.’​—Omubuulizi 5:4, 5.

Okukolera Awamu ‘Ababiri basinga omu. Kubanga omu bw’agwa omulala ayimusa munne.’​—Omubuulizi 4:9, 10.

Okwefiiriza ‘Mu kugaba mulimu essanyu okusinga okufuna.’​—Ebikolwa 20:35.

Okutunuulira Obufumbo ng’Obw’Olubeerera “Okwagala kugumiikiriza . . . byonna.”​—1 Abakkolinso 13:4, 7.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Munno mu bufumbo bw’aba ayagala okwogera, owuliriza?