Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Twandinyiikiridde Okusaba?

Lwaki Twandinyiikiridde Okusaba?

Lwaki Twandinyiikiridde Okusaba?

‘Munyiikirire okusaba. Mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna.’​—ABASESSALONIIKA 5:17, 18.

1, 2. Danyeri yalaga atya nti yali asiima enkizo ey’okusaba, era ekyo kyakola ki ku nkolagana ye ne Katonda?

NNABBI Danyeri yalina empisa ey’okusaba Katonda emirundi essatu buli lunaku. Yafukamiranga mu kisenge kye ekyali waggulu ekyalina amadirisa agatunudde e Yerusaalemi, n’asaba Katonda. (1 Bassekabaka 8:46-49; Danyeri 6:10) Wadde ng’etteeka lya kabaka lyagaana okusaba omuntu yenna okuggyako Daliyo, Kabaka w’Abameedi, Danyeri teyalekera awo kusaba n’omulundi ogumu. Ka kibe nti ekyo kyateeka obulamu bwe mu kabi, Danyeri yanyiikiriranga okusaba Yakuwa.

2 Yakuwa yatunuulira atya Danyeri? Malayika Gabulyeri bwe yajja okuddamu okusaba kwa Danyeri, yamwogerako nga “omwagalwa ennyo.” (Danyeri 9:20-23) Mu bunnabbi bwa Ezeekyeri, Yakuwa yayogera ku Danyeri ng’omusajja omutuukirivu. (Ezeekyeri 14:14, 20) Mu bulamu bwe bwonna, okusaba kwasobozesa Danyeri okubeera n’enkolagana ennywevu ne Katonda we, ekyo ne Daliyo kennyini yali akimanyi.​—Danyeri 6:16.

3. Nga bwe kirabikira mu ebyo ebyatuuka ku muminsani omu, okusaba kuyinza kutya okutuyamba okusigala nga tuli bagolokofu?

3 Okusaba Katonda obutayosa naffe kuyinza okutuyamba okwolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyatuuka ku Harold King, omuminsani mu China, eyasibibwa mu kkomera yekka okumala emyaka ettaano. Ow’oluganda King yayogera bw’ati ku ebyo ebyamutuukako: “Nnyinza okuggibwa ku bantu bange, naye tewali n’omu ayinza okunziggya ku Katonda. . . . Nga ndi mu kkomera nnafukamiranga emirundi essatu buli lunaku mu kifo buli eyali ayitawo we yali asobola okundabira ne nsaba mu ddoboozi ery’omwanguka, nga nzijjukira Danyeri, Baibuli gw’eyogerako. . . . Kirabika mu biseera ng’ebyo omwoyo gwa Katonda gwampa obulagirizi ne ntegeera ensonga ezaali ez’omuganyulo ennyo era ne kinsobozesa okukkakkana. Okusaba nga kwannyamba nnyo okunywera mu by’omwoyo era ne kumbudaabuda!”

4. Bibuuzo ki ebikwata ku kusaba bye tujja okwekenneenya mu kitundu kino?

4 Baibuli egamba: ‘Munyiikirirenga okusaba; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna.’ (1 Abasessaloniika 5:17, 18) Okusinziira ku kubuulirira okwo, ka twekenneenye ebibuuzo bino ebiddirira: Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku kusaba kwaffe? Lwaki twandinyiikidde okusaba Yakuwa? Era kiki kye twandikoze singa tuwulira nga tetusaanidde kusaba Katonda olw’ensobi zaffe?

Nyweza Omukwano ng’Oyitira mu Kusaba

5. Okusaba kutusobozesa kubeera na nkolagana ki ne Yakuwa?

5 Wandyagadde Yakuwa okukulowoozaako nga mukwano gwe? Yayita Ibulayimu mukwano gwe. (Isaaya 41:8; Yakobo 2:23) Yakuwa naffe ayagala tubeere mikwano gye. Mu butuufu atukubiriza okubeera n’enkolagana ennungi naye. (Yakobo 4:8) Okukubirizibwa okwo tekwandituleetedde kufumiitiriza ku nkizo ey’enjawulo ey’okusaba? Kiba kizibu nnyo okufuna olukusa okwogera n’omukungu omukulu owa gavumenti, naye ate kizibu nnyo n’okusingawo okufuuka mukwano gwe. Kyokka, Omutonzi ow’obutonde bwonna atukubiriza okumutuukirira mu kusaba, buli lwe tuwulira nga twagala oba nga twetaaga okumutuukirira. (Zabbuli 37:5) Bwe tunyiikirira okusaba, kitusobozesa okweyongera okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.

6. Ekyokulabirako kya Yesu kituyigiriza ki ku bwetaavu ‘obw’okusaba obutayosa’?

6 Kyokka, nga kyangu nnyo okulagajjalira okusaba! Okwemalira ku bizibu by’obulamu kuyinza okutwala ebirowoozo byaffe byonna ne kiba nti tetuyinza na kufuna kiseera kwogera ne Katonda. Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okunyiikirira okusaba,’ era naye kennyini bw’atyo bwe yakolanga. (Matayo 26:41) Wadde yalinanga bingi eby’okukola okuviira ddala ku makya okutuuka ekiro, yafunanga ekiseera okwogera ne Kitaawe ow’omu ggulu. Emirundi egimu, Yesu yazuukukanga “ku makya nnyo, nga bukyali kiro,” n’asaba. (Makko 1:35) Olulala, ku nkomerero y’olunaku yagendanga n’abeera yekka okusobola okwogera ne Yakuwa. (Matayo 14:23) Yesu yafunanga ekiseera okusaba, era naffe bwe tusaanidde okukola.​—1 Peetero 2:21.

7. Mbeera ki eziyinza okutuleetera okwogera ne Kitaffe ow’omu ggulu buli lunaku?

7 Emirundi mingi buli lunaku tufuna akakisa okusaba bwe twolekagana n’ebizibu, bwe tukemebwa era bwe tubaako bye tusalawo okukola. (Abaefeso 6:18) Bwe tunoonya obulagirizi bwa Katonda mu mbeera zonna ez’obulamu, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Singa abantu ababiri ab’omukwano baba n’ebizibu ne bayambagana okubigonjoola, omukwano gwabwe tegweyongera kunywera? (Engero 17:17) Era bwe kityo bwe kiba singa twesiga Yakuwa era ne tufuna obuyambi obuva gy’ali.​—2 Ebyomumirembe 14:11.

8. Okusinziira ku kyokulabirako kya Nekkemiya, Yesu, ne Kaana, kiki kye tuyiga ku buwanvu bw’okusaba kwaffe?

8 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda tatuteerawo kkomo ku mirundi emmeka na kiseera ki kye tulina kumutuukirira mu kusaba! Nekkemiya yasaba mu kasirise bwe yali nga tanneegayirira kabaka w’e Buperusi. (Nekkemiya 2:4, 5) Yesu naye yasaba mu bimpimpi ng’ayagala Yakuwa amuyambe okuzuukiza Lazaalo. (Yokaana 11:41, 42) Ku luuyi olulala, Kaana ‘yasaba Yakuwa okumala ekiseera ekiwerako,’ ng’amutegeeza ekimuli ku mutima. (1 Samwiri 1:12, 15, 16) Okusaba kwaffe kuyinza okubeera okumpi oba okuwanvu okusinziira ku kye twetaaga n’embeera gye tubaamu.

9. Lwaki okusaba kwaffe kwandizingiddemu okutendereza n’okwebaza Yakuwa olw’ebyo by’atukolera?

9 Okusaba kungi okuli mu Baibuli kwoleka ekifo kya Yakuwa eky’oku ntikko awamu n’ebikolwa bye eby’ekitalo. (Okuva 15:1-19; 1 Ebyomumirembe 16:7-36; Zabbuli 145) Mu kwolesebwa, omutume Yokaana alaba abakadde 24, kwe kugamba, omuwendo omujjuvu ogw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta nga bali mu ggulu nga batendereza Yakuwa nga bagamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” (Okubikkulirwa 4:10, 11) Naffe ekyo kituleetera okutendereza Yakuwa buli kiseera. Abazadde nga basanyuka nnyo omwana waabwe bw’abeebaza okuviira ddala mu mutima gwe olw’ekintu kye baba bamukoledde! Bwe tufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekisa era ne tubisiima okuviira ddala ku mitima gyaffe, eyo eba ngeri nnungi nnyo ey’okulongoosaamu okusaba kwaffe.

Lwaki Kikulu ‘Okunyiikirira Okusaba’?

10. Okusaba kulina kifo ki mu kunyweza okukkiriza kwaffe?

10 Okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, kikulu nnyo okusaba obutayosa. Oluvannyuma lw’okulaga bwe “kigwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga,” Yesu yabuuza: “Omwana w’omuntu bw’alijja, aliraba okukkiriza ku nsi?” (Lukka 18:1-8) Okusaba okw’obwesimbu, kunyweza okukkiriza. Ibulayimu bwe yali agenda akaddiwa, kyokka nga tannaba kuzaala mwana, yayogera ne Katonda ku nsonga eyo. Mu kumuddamu, Yakuwa yasooka kumugamba ­atunuulire eggulu abale emmunyeenye eziriko, oba nga ddala yali ayinza okuzibala. Awo Katonda n’alyoka akakasa Ibulayimu: “Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.” Kiki ekyavaamu? Ibulayimu ‘n’akkiririza mu Yakuwa; n’amubala okuba obutuukirivu.’ (Olubereberye 15:5, 6) Singa tusaba Yakuwa okuviira ddala mu mitima gyaffe, ne tukkiriza obukakafu bw’atuwa okuyitira mu Baibuli, era ne tumugondera, ajja kunyweza okukkiriza kwaffe.

11. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okugonjoola ebizibu?

11 Okusaba era kuyinza okutuyamba okugonjoola ebizibu. Tulina ebizibu bingi mu bulamu? Baibuli etugamba: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga batuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” (Zabbuli 55:22) Bwe twolekagana n’eby’okusalawo ebizibu, tuyinza okukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Yasaba ekiro kyonna nga tannalonda batume be 12. (Lukka 6:12-16) Ne mu kiro nga tannaba kufa, Yesu yasaba nnyo “entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, nga gatonnya wansi.” (Lukka 22:44) Kiki ekyavaamu? ‘Yawulirwa olw’okutya Katonda.’ (Abaebbulaniya 5:7) Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutuyamba okwolekagana n’embeera enzibu.

12. Okusaba kulaga kutya nti Yakuwa atufaako kinnoomu?

12 Ensonga endala etuleetera okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa okuyitira mu kusaba kwe kuba nti, naye ajja kubeera mukwano gwaffe. (Yakobo 4:8) Bwe tutegeeza Yakuwa ebituli ku mutima okuyitira mu kusaba, tetukiraba nti atufaako? Kinnoomu tulaba okwagala kwa Yakuwa. Tewali muntu mulala yenna Yakuwa gw’awadde buvunaanyizibwa obw’okuwuliriza okusaba kw’abawereza be. (Zabbuli 66:19, 20; Lukka 11:2) Era atukubiriza ‘okumusindikiranga okweraliikirira kwaffe kwonna, kubanga ye atufaako.’​—1 Peetero 5:6, 7.

13, 14. Lwaki tulina okunyiikirira okusaba?

13 Okusaba kutusobozesa okunyiikirira omulimu gw’okubuulira era kusobola okutunyweza singa twolekagana n’abantu abateefiirayo oba okuziyizibwa. (Ebikolwa 4:23-31) Okusaba era kuyinza okutukuuma okuva eri “enkwe za Setaani.” (Abaefeso 6:11, 17, 18) Bwe twolekagana n’ebigezo ebya buli lunaku, tusobola okusaba Katonda buli kiseera okutunyweza. Mu kusaba Yesu kwe yayigiriza abatume be mulimu okwegayirira Yakuwa ‘okutulokola eri omubi,’ Setaani Omulyolyomi.​—Matayo 6:13.

14 Singa tweyongera okusaba Yakuwa okutuyamba okufuga endowooza zaffe embi, tujja kufuna obuyambi bwe. Tulina obukakafu buno: “Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.” (1 Abakkolinso 10:13) Yakuwa yazzaamu Pawulo amaanyi mu mbeera ezitali zimu ze yayitamu. Yagamba: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:13; 2 Abakkolinso 11:23-29.

Munyiikirirenga Okusaba Wadde nga Musobezza

15. Kiki ekiyinza okubaawo singa empisa zaffe tezituukana na misingi gya Katonda?

15 Okusaba kwaffe okusobola okuwulirwa, tetuteekwa kusuula muguluka kubuulirirwa okuli mu Kigambo kya Katonda. Omutume Yokaana yawandiika: “Buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.” (1 Yokaana 3:22) Naye kiki ekiyinza okubaawo singa empisa zaffe ziba tezituukana na misingi gya Katonda? Adamu ne Kaawa beekweka oluvannyuma lw’okwonoona mu lusuku Adeni. Naffe tuyinza okugezaako okwekweka okuva ‘mu maaso ga Yakuwa’ ne tulekera awo okusaba. (Olubereberye 3:8) Klaus omulabirizi atambula alina obumanyirivu agamba: “Nneetegerezza nti kumpi buli kiseera, ensobi esooka okukolebwa abo abava ku Yakuwa n’ekibiina kye, kwe kulekera awo okusaba.” (Abaebbulaniya 2:1) Ekyo kye kyatuuka ku José Ángel. Agamba: “Okumala emyaka nga munaana, kumpi ssaasabanga Yakuwa. Nnali mpulira nga sisaanira kwogera naye, wadde nga nnali nkyamutwala okubeera Kitange ow’omu ggulu.”

16, 17. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri okunyiikirira okusaba gye kusobola okutuyamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.

16 Abamu ku ffe tuyinza okuwulira nti tetusaanidde kusaba olw’okuba tunnafuye mu by’omwoyo oba olw’okuba tugudde mu kibi. Naye, ekyo kyennyini kye kiba ekiseera ekituufu okukozesa enkizo eyo ey’okusaba. Yona yadduka okuva ku mulimu gwe yali aweereddwa okukola. Naye, ‘olw’ennaku gye yalina, Yona yakaabirira Yakuwa era n’amuddamu. Ng’ali mu lubuto lw’emagombe yakowoola Yakuwa okumuyamba era Yakuwa n’awulira eddoboozi lye.’ (Yona 2:2) Yona yasaba, Yakuwa yawulira okusaba kwe, era Yona yaddamu amaanyi mu by’omwoyo.

17 José Ángel naye yanyiikirira okusaba Yakuwa okumuyamba. Agamba: “Nnaggulawo omutima gwange ne nsaba Katonda okunsonyiwa. Era yannyamba. Sirowooza nti nnandisobodde okudda mu mazima singa tekwali kusaba. Kati nsaba buli lunaku, era nneesunga nnyo ekiseera eky’okusaba.” Tusaanidde okutuukirira Yakuwa mu kusaba buli kiseera awatali kutya nga tumutegeeza ensobi zaffe era nga tumusaba okutusonyiwa. Kabaka Dawudi bwe yayatula ebibi bye, Yakuwa yamusonyiwa. (Zabbuli 32:3-5) Yakuwa ayagala kutuyamba so si okutunenya. (1 Yokaana 3:19, 20) Era okusaba kw’abakadde mu kibiina kusobola okutuyamba mu by’omwoyo, kubanga okusaba kwabwe “kwa maanyi mangi.”​—Yakobo 5:13-16.

18. Bukakafu ki abaweereza ba Katonda bwe basobola okuba nabwo ka babe nga boonoonye kwenkana wa?

18 Muzadde ki eyandibadde agoba omwana we ng’agenze gy’ali mu buwombeefu ng’ayagala okufuna obuyambi oba okuwabulwa oluvannyuma lw’okugwa mu nsobi? Olugero lw’omwana omujaajaamya lulaga nti ne bwe tuba nga twonoonye kwenkana wa, Kitaffe ow’omu ggulu asanyuka bwe tudda gy’ali. (Lukka 15:21, 22, 32) Yakuwa akubiriza bonna abagwa mu nsobi okudda gy’ali, “kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.” (Isaaya 55:6, 7) Wadde nga Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi bingi, yakaabirira Yakuwa ng’agamba: “Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange.” Era yagamba: “Akawungeezi n’enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: naye anaawuliranga eddoboozi lyange.” (Zabbuli 55:1, 17) Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi!

19. Lwaki tetwandirowoozezza nti okusaba kwaffe obutaddibwamu kitegeeza nti Katonda tatusiima?

19 Kiba kitya singa okusaba kwaffe tekuddibwamu mangu? Olwo nno, tuba tulina okukakasa nti okusaba kwaffe kutuukana n’ebyo Yakuwa by’ayagala era nti tusaba nga tuyitira mu linnya lya Yesu. (Yokaana 16:23; 1 Yokaana 5:14) Omutume Yakobo yayogera ku Bakristaayo abamu abaasabanga kyokka ne bataddibwamu olw’okuba ‘basabanga lwa biruubirirwa bikyamu.’ (Yakobo 4:3) Ku luuyi olulala, tetwandyanguye kulowooza nti okusaba okulabika ng’okutaddibwamu buba bujulizi obulaga nti Katonda tatusiima. Ebiseera ebimu Yakuwa ayinza okuleka abaweereza be abeesigwa okusaba okumala akaseera naye nga tabaddamu. Yesu yagamba: “Musabe[nga], muliweebwa.” (Matayo 7:7) N’olwekyo, tulina ‘okunyiikiriranga okusaba.’​—Abaruumi 12:12.

Saba Obutayosa

20, 21. (a) Lwaki twetaaga okunyiikirira okusaba mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’? (b) Kiki kye tunaafuna singa tutuukirira entebe ya Yakuwa ey’ekisa buli lunaku?

20 Ebizibu byeyongedde obungi mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma ez’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Era ebizibu ng’ebyo biyinza okutwala ebirowoozo byaffe byonna. Kyokka, okunyiikirira okusaba kujja kutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu eby’eby’omwoyo wadde nga tuyinza okuba n’ebizibu ebitasalako, okukemebwa era n’okuggwaamu amaanyi. Bwe tusaba Yakuwa obutayosa tuyinza okufuna obuyambi bwe twetaaga.

21 Yakuwa, “awulira okusaba,” aba mwetegefu okutuwuliriza ekiseera kyonna. (Zabbuli 65:2) Ka naffe tuleme kubulwa biseera bya kwogera naye. Ekintu eky’omuwendo ennyo kye tulina kwe kubeera mikwano gya Katonda. Ka tuleme kukibuusa maaso. “Kale tusemberenga n’obuvumu eri entebe ey’ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa [buli lwe tuba twetaaga okuyambibwa].”​—Abaebbulaniya 4:16.

Wandizzeemu Otya?

• Kiki kye tuyigira ku nnabbi Danyeri ku bikwata ku bukulu bw’okusaba?

• Tusobola tutya okunyweza omukwano gwaffe ne Yakuwa?

• Lwaki tulina okunyiikirira okusaba?

• Lwaki okwewulira nti tetusaanira tekyanditulemeseza kusaba Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Nekkemiya yasaba mu kasirise nga tannaba kwogera ne kabaka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Kaana ‘yasaba Yakuwa okumala ekiseera ekiwerako’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Yesu yasaba ekiro kyonna nga tannaba kulonda abatume 12

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

Buli lunaku tufuna akakisa okusaba