Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okugumira Ebizibu Kireetera Yakuwa Ettendo

Okugumira Ebizibu Kireetera Yakuwa Ettendo

Okugumira Ebizibu Kireetera Yakuwa Ettendo

‘Bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, era ne mugumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.’​—1 PEETERO 2:20.

1. Okuva Abakristaayo ab’amazima bwe baagala okutuukiriza okwewaayo kwabwe, kibuuzo ki ekirina okwekenneenyezebwa?

ABAKRISTAAYO beewaayo eri Yakuwa era baagala okukola by’ayagala. Okusobola okutuukiriza okwewaayo kwabwe okwo, bakola kyonna kye basobola okugoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo, era n’okuwa obujulirwa ku mazima. (Matayo 16:24; Yokaana 18:37; 1 Peetero 2:21) Kyokka, Yesu n’abalala abeesigwa baawaayo obulamu bwabwe era ne bafiiririra okukkiriza kwabwe. Kino kitegeeza nti Abakristaayo bonna basuubirwa okufiiririra okukkiriza kwabwe?

2. Abakristaayo batunuulira batya ebizibu n’okubonaabona?

2 Ng’Abakristaayo, tukubirizibwa okuba abeesigwa okutuukira ddala ku kufa, so si kufiiririra kukkiriza kwaffe kyokka. (2 Timoseewo 4:7; Okubikkulirwa 2:10) Kino kitegeeza nti wadde nga tuli beetegefu okubonaabona​—era bwe kiba kyetaagisa, n’okufiiririra okukkiriza kwaffe, tetusanyukira kubonaabona na kufa. Tetulina ssanyu lye tufuna mu kubonaabona, oba okuyisibwa obubi. Kyokka, olw’okuba ebizibu n’okuyigganyizibwa bisuubirwa, twetaaga okwekenneenya obulungi engeri gye tuyinza okweyisaamu mu mbeera ng’ezo.

Baasigala nga Beesigwa nga Bagezesebwa

3. Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga engeri y’okwaŋŋangamu okuyigganyizibwa by’oyinza okwogerako? (Laba akasanduuko “Engeri gye Beeyisaamu nga Bayigganyizibwa,” ku lupapula oluddako.)

3 Baibuli eyogera ku ngeri abaweereza ba Katonda ab’edda gye beeyisaamu nga boolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. Engeri ez’enjawulo ze beeyisaamu ziyamba Abakristaayo leero okulaba kye bayinza okukola singa boolekagana n’ebizibu ng’ebyo. Weekenneenye ebyo ebiri mu kasanduuko “Engeri gye Beeyisaamu nga Bayigganyizibwa,” era olabe ky’oyinza okuyigamu.

4. Kiki ekiyinza okwogerwa ku ngeri Yesu n’abaweereza abalala abaali abeesigwa gye beeyisaamu nga boolekaganye n’ebizibu?

4 Wadde nga Yesu n’abaweereza ba Katonda abeesigwa abalala beeyisa mu ngeri za njawulo nga bayigganyizibwa okusinziira ku mbeera ezaaliwo, kya lwatu nti, tebaamala gateeka bulamu bwabwe mu kabi. Bwe beesanga nga bali mu mbeera ez’akabi, baayolekanga obuvumu naye ate nga beegendereza. (Matayo 10:16, 23) Ekiruubirirwa kyabwe kyali kutumbula omulimu gw’okubuulira era n’okubeera abeesigwa eri Yakuwa. Engeri gye beeyisaamu mu mbeera ez’enjawulo ewa Abakristaayo leero eky’okukola aboolekagana n’ebizibu era n’okuyigganyizibwa.

5. Kuyigganyizibwa kwa ngeri ki okwali mu Malawi mu myaka gya 1960, era Abajulirwa baakola ki?

5 Mu biseera bino, abaweereza ba Yakuwa boolekaganye n’embeera enzibu ennyo olw’entalo, okuwerebwa oba okuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gya 1960, Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi baayigganyizibwa mu ngeri ey’obukambwe ennyo. Ebizimbe byabwe eby’Obwakabaka, emmere yaabwe, ne bizineesi zaabwe​—kumpi byonna bye baalina, byayonoonebwa. Baakubibwanga era ne banyagibwako ebyabwe. Ab’oluganda abo beeyisa batya? Enkumi n’enkumi baalina okudduka okuva mu maka gaabwe. Bangi baddukira mu nsiko, ate abalala baanoonya obubudamu mu Mozambique. Wadde nga abeesigwa bangi baafiirwa obulamu bwabwe, abalala baasalawo okuva mu bifo ebyo ebyali eby’akabi, era ng’ekyo kye kyali eky’amagezi okukola mu mbeera ng’ezo. Mu kukola ekyo, ab’oluganda baagoberera ekyokulabirako kya Yesu ne Pawulo.

6. Kiki ab’oluganda ab’omu Malawi kye bataalekera awo kukola wadde nga baali bayigganyizibwa mu ngeri ey’obukambwe?

6 Wadde nga ab’oluganda ab’omu Malawi baalina okuva mu maka gaabwe oba okwekweka, baagoberera obulagirizi bwa teyokulase era beeyongera okukola omulimu gw’Ekikristaayo mu nkukutu. Kiki ekyavaamu? Baatuuka ku ntikko y’ababuulizi 18,519 nga tebannawerebwa mu 1967. Wadde ng’okuwerebwa kwali kukyaliwo era nga bangi baali baddukidde Mozambique, omwaka 1972 we gwatuukira, baali batuuse ku ntikko y’ababuulizi empya 23,398. Okutwalira awamu, buli mwezi buli omu yali awaayo essaawa 16. Awatali kubuusabuusa, bye baakola byaweesa Yakuwa ettendo, era ab’oluganda abo abeesigwa baalina omukisa gwa Yakuwa mu biseera ebyo byonna ebyali ebizibu. *

7, 8. Lwaki abamu basalawo okusigala mu nsi yaabwe, wadde nga bafuna ebizibu olw’okuziyizibwa?

7 Ku ludda olulala, mu nsi okuziyizibwa gye kuleetera ab’oluganda ebizibu, abamu ku bo bayinza okusalawo obutava mu nsi eyo, wadde nga bandisobodde okugivaamu. Okuva mu nsi ng’eyo kiyinza okubayamba okugonjoola ebizibu ebimu, naye ate oboolyawo kiyinza ­okuleetawo ebizibu ebirala. Ng’ekyokulabirako, banaasobola okusigala nga bali bumu ne baganda baabwe Abakristaayo era ne bateeyawula mu by’omwoyo? Nga bagenze mu nsi endala, oboolyawo eri obulungi mu by’enfuna oba ebasobozesa okufuna ebintu bingi, ­banaasobola okweyongera okugoberera enteekateeka yaabwe ey’eby’omwoyo?​—1 Timoseewo 6:9.

8 Abalala basalawo obutava mu nsi yaabwe olw’okuba bafaayo ku mbeera ey’eby’omwoyo eya baganda baabwe. Basalawo okusigala ne boolekagana n’embeera eyo basobole okweyongera okubuulira mu nsi yaabwe era n’okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. (Abafiripi 1:14) Olw’okusalawo mu ngeri eyo, abamu bakoze kinene mu kuwandiisa omulimu gwaffe mu mateeka mu nsi yaabwe. *

9. Nsonga ki omuntu z’ateekwa okulowoozaako ng’asalawo okusigala oba okuva mu kitundu ky’alimu olw’okuyigganyizibwa?

9 Kiri eri buli muntu okwesalirawo okusigala mu kitundu ky’alimu oba okukivaamu. Kya lwatu, okusalawo ng’okwo kulina kutuukibwako nga tumaze okufuna obulagirizi bwa Yakuwa okuyitira mu kusaba. Kyokka, ka kibe ki kye tuba tusazeewo okukola, tuteekwa okujjukira ebigambo by’omutume Pawulo: “Buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.” (Abaruumi 14:12) Nga bwe twalabye, Yakuwa yeetaaza buli muweereza we okusigala nga mwesigwa mu mbeera zonna. Abamu ku baweereza be boolekagana n’ebigezo era n’okuyigganyizibwa leero; naye abalala biyinza okubatuukako oluvannyumako. Abaweereza ba Katonda bonna bajja kugezesebwa mu ngeri emu oba endala, era tewali n’omu alina kusuubira nti tajja kugezesebwa. (Yokaana 15:19, 20) Ng’abaweereza ba Yakuwa abeewaayo, tetuyinza kwewala nsonga ezingiramu obutonde bwonna ekwata ku kutuukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa n’okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe.​— Ezeekyeri 38:23; Matayo 6:9, 10.

“Towoleranga Ggwanga”

10. Kyakulabirako ki ekikulu Yesu n’abatume kye baatuteerawo mu ngeri y’okweyisaamu nga twolekaganye n’ebizibu era n’okuziyizibwa?

10 Omusingi omulala omukulu gwe tuyigira ku ngeri Yesu n’abatume be gye beeyisaamu nga boolekaganye n’ebizibu, bwe butawoolera ggwanga abo abatuyigganya. Tewali wonna mu Baibuli we tusoma nti Yesu oba abagoberezi be beekolamu ekibiina ekiwakanya ab’obuyinza oba nti baakozesa eryanyi okulwanyisa abo abaali babayigganya. Okwawukana ku ebyo, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo nti “temuwalananga muntu kibi olw’ekibi.” Era yabagamba nti “temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama.” Era n’agattako nti “towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.”​—Abaruumi 12:17-21; Zabbuli 37:1-4; Engero 20:22.

11. Munnabyafaayo omu yayogera ki ku ndowooza Abakristaayo abaasooka gye baalina ku gavumenti?

11 Abakristaayo abaasooka baagoberera okubuulirira okwo. Mu kitabo kye The Early Church and the World, munnabyafaayo Cecil J. Cadoux ayogera ku ndowooza Abakristaayo gye baalina eri gavumenti okuva mu myaka gya 30 okutuuka mu 70 C.E. Agamba: “Tetulina bujulizi bwonna bulaga nti Abakristaayo ab’omu kiseera ekyo baagezaako okukozesa eryanyi okwaŋŋanga ababayigganya. Wabula ekyo kyokka kye baakola kwe kunenya abafuzi abo oba okubadduka. Kyokka, Abakristaayo kye baakola nga boolekaganye n’okuyigganyizibwa, kwe kugaana mu bukkakkamu okugondera ebiragiro bya gavumenti ebyali bikontana n’ebya Kristo.”

12. Lwaki kirungi okugumira okubonaabona okusinga okwetaasa?

12 Kiba kya magezi okweyisa mu ngeri ng’eyo ey’obukkakkamu? Tekyandibadde kyangu omuntu yenna eyeeyisa bw’atyo okusaanyizibwawo abalabe be? Tekyandibadde kya magezi okwetaasa? Okusinziira ku ndowooza y’abantu, kiyinza okulabika ng’eky’amagezi okwetaasa. Kyokka, ng’abaweereza ba Yakuwa, tuli bakakafu nti okugoberera obulagirizi bwe mu mbeera zonna, kye kisinga obulungi. Tujjukira ebigambo bya Peetero: “Bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.” (1 Peetero 2:20) Tuli bakakafu nti Yakuwa amanyi bulungi embeera nga bw’eri era tajja kugikkiriza kubeerawo mirembe gyonna. Tuyinza tutya okuba abakakafu ku ekyo? Yakuwa yagamba bw’ati abantu be abaali mu buwambe e Babulooni: “Abakomako mmwe akoma ku mmunye y’eriiso [lyange].” (Zekkaliya 2:8) Bbanga ki omuntu lye yandikkiriza emunye y’eriiso lye okukwatibwako? Yakuwa ajja kuleeta obuweerero mu kiseera ekituufu. Tetulina kubuusabuusa kwonna ku nsonga eyo.​—2 Abasessaloniika 1:5-8.

13. Lwaki Yesu yakkiriza abalabe be okumukwata?

13 Ku nsonga eno, tusobola okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Bwe yaleka abalabe be okumukwata mu lusuku lw’e Gesusemane, tekyali nti yali tasobola kwerwanako. Mu butuufu yagamba abayigirizwa be: “Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n’ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n’ebbiri? Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?” (Matayo 26:53, 54) Okutuukiriza Yakuwa by’ayagala kye kintu ekyali ekikulu ennyo eri Yesu, wadde nga ekyo kyali kimwetaagisa okubonaabona. Yalina obwesige bwa maanyi nnyo mu bigambo bya Dawudi eby’obunnabbi nti: “Tolireka mmeeme yange mu magombe; [s]o toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda.” (Zabbuli 16:10) Nga wayiseewo emyaka mingi, omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Yesu: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba [“omuti,” NW], ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.”​—Abaebbulaniya 12:2.

Essanyu Eriva mu Kutukuza Erinnya lya Yakuwa

14. Ssanyu ki eryaleetera Yesu okugumira ebizibu byonna bye yayolekagana nabyo?

14 Ssanyu ki eryaleetera Yesu okugumira ebizibu eby’amaanyi ennyo bye yayolekagana nabyo? Mu baweereza ba Yakuwa bonna, Yesu, Omwana wa Katonda omwagalwa ennyo, Setaani gwe yali asinze okusimbako olukongoolo. N’olwekyo, Yesu okusigala nga mwesigwa ng’ayolekaganye n’ebigezo, kye kintu ekyandisinze okuwa Yakuwa eky’okuddamu eri Setaani amusoomooza. (Engero 27:11) Oyinza okuteeberezaamu essanyu n’obumativu Yesu bye yalina oluvannyuma lw’okuzuukira kwe? Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo olw’okumanya nti yali atuukirizza ekyo kye yali aweereddwa okukola ng’omuntu atuukiridde mu kugulumiza obufuzi bwa Yakuwa n’okutukuza erinnya lye! Okwongereza ku ebyo, okutuuzibwa ku “mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda,” awatali kubuusabuusa kyali kikolwa kya kitiibwa nnyo era kyaleetera Yesu essanyu ppitirivu.​—Zabbuli 110:1, 2; 1 Timoseewo 6:15, 16.

15, 16. Kuyigganyizibwa ki okw’amaanyi Abajulirwa ab’omu Sachsenhausen kwe baagumiikiriza, era kiki ekyabasobozesa okukugumiikiriza?

15 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo nabo bafuna essanyu bwe beenyigira mu kutukuza erinnya lya Yakuwa nga bagumira ebizibu n’okuyigganyizibwa nga bagoberera ekyokulabirako kya Yesu. Ekyokulabirako ekituukirawo ky’ekyo ekikwata ku Bajulirwa abaatulugunyizibwa ennyo mu nkambi ey’e Sachsenhausen era ne bawonawo mu lugendo olwafiiramu abantu abangi ku nkomerero ya Ssematalo ow’okubiri. Olugendo olwo lwafiiramu enkumi n’enkumi z’abasibe olw’embeera embi gye baalimu, obulwadde, enjala, oba olw’okutulugunyizibwa Abanazi. Abajulirwa ba Yakuwa bonna 230 baawonawo olw’okubanga baali bumu nga bayambagana wadde ng’ekyo kyali kisobola okussa obulamu bwabwe mu kabi.

16 Kiki ekyasobozesa Abajulirwa abo okugumira okuyigganyizibwa okwo okw’obukambwe? Amangu ddala nga baakatuuka mu kifo ekyalimu obukuumi, baayoleka essanyu n’okusiima kwabwe eri Yakuwa mu kiwandiiko ekirina omutwe “Ekiteeso kya Abajulirwa ba Yakuwa 230 okuva mu mawanga mukaaga, abaakuŋŋaanira mu kibira okumpi n’ekifo ekiyitibwa Schwerin mu Mecklenburg.” Mu kiteeso ekyo, baagamba: “Ekiseera ekibadde ekiwanvu ennyo eky’okugezesebwa, kikomye era ffe abawonyezeddwawo, nga tulinga abanyakuddwa mu kikoomi ky’omuliro, okugezesebwa okwo tekulina kye kutukozeeko. (Laba Danyeri 3:27.) Wabula, tulina amaanyi mangi nnyo okuva eri Yakuwa era tulindirira ebiragiro ebiggya okuva eri Kabaka tweyongere okutumbula omulimu gw’Obwakabaka.” *

17. Bigezo bya ngeri ki abantu ba Katonda bye boolekagana nabyo leero?

17 Okufaananako abo 230 abeesigwa, naffe okukkiriza kwaffe kuyinza okugezesebwa, wadde nga tetunnaba ‘kugezesebwa kutuuka ku kufa.’ (Abaebbulaniya 12:4) Naye okugezesebwa kuyinza okuba kwa ngeri nnyingi. Kuyinza okuba okuvumibwa bayizi banno, oba okupikirizibwa okwenyigira mu bugwenyufu oba mu kibi ekirala kyonna. Okwongereza ku ebyo, okusalawo okwewala omusaayi, okufumbirwa mu Mukama waffe, oba okukuza abaana mu kukkiriza mu maka ageeyawuddeyawudde mu by’eddiini, nabyo oluusi biyinza okuleeta ebigezo bya maanyi nnyo.​—Ebikolwa 15:29; 1 Abakkolinso 7:39; Abaefeso 6:4; 1 Peetero 3:1, 2.

18. Bukakafu ki bwe tulina nti tusobola okugumira ebigezo ka bibe bya maanyi kwenkana wa?

18 Kyokka, ka tube nga twolekagana na kigezo ki, tumanyi nti tubonaabona kubanga tukulembeza Yakuwa n’Obwakabaka bwe, era tugitwala nga nkizo ya maanyi nnyo okukola ekyo. Tuzzibwamu amaanyi ebigambo bya Peetero nti: “Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw’ekitiibwa era ogwa Katonda gutuula ku mmwe.” (1 Peetero 4:14) Nga tuyambibwako omwoyo gwa Yakuwa, tufuna amaanyi okugumira ebigezo ka bibe bya maanyi kwenkana wa, era ebyo byonna bimuleetera ekitiibwa n’ettendo.​—2 Abakkolinso 4:7; Abaefeso 3:16; Abafiripi 4:13.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 6 Ebyo ebyaliwo mu 1960 byali ntandikwa butandikwa ey’okuyigganyizibwa okw’amaanyi Abajulirwa ab’omu Malawi kwe baayolekagana nakwo okumala emyaka ng’asatu. Okumanya ebisingawo, laba 1999 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, empapula 171-212.

^ lup. 8 Laba akatundu “High Court Upholds True Worship in ‘the Land of Ararat,’” mu Watchtower aka Apuli 1, 2003, empapula 11-14.

^ lup. 16 Okusobola okumanya byonna ebiri mu kiteeso ekyo, laba 1974 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, empapula 208-9. Ebyogerwa omu ku abo abaawonawo biyinza okusangibwa mu Watchtower aka Jjanwali 1, 1998, empapula 25-9.

Oyinza Okunnyonnyola?

• Abakristaayo batunuulira batya okubonaabona n’okuyigganyizibwa?

• Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Yesu n’abeesigwa abalala gye beeyisaamu nga boolekaganye n’ebigezo?

• Lwaki si kya magezi okuwoolera eggwanga nga tuyigganyizibwa?

• Ssanyu ki eryaleetera Yesu okugumira ebizibu, era kiki kye tuyinza okumuyigirako?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

Engeri Gye Beeyisaamu nga Bayigganyizibwa

• Abaserikale ba Kerode bwe baali nga tebannatuuka mu Besirekemu okutta abaana ab’obulenzi bonna okuva ku myaka ebiri okudda wansi, malayika yalagira Yusufu ne Malyamu okutwala Yesu omuto, e Misiri.​—Matayo 2:13-16.

• Emirundi mingi mu buweereza bwa Yesu, abalabe be baayagala okumutta kubanga yali awa obujulirwa obw’amaanyi. Ku buli mulundi, Yesu yabatolokangako.​—Matayo 21:45, 46; Lukka 4:28-30; Yokaana 8:57-59.

• Abaserikale n’abakungu bwe bajja mu lusuku lw’e Gesusemane okukwata Yesu, yeeraga lwatu, emirundi ebiri ng’abagamba: “Nze nzuuno.” Era yagaana abagoberezi be okumutaasa era n’aleka ekibiina ky’abantu okumutwala.​— Yokaana 18:3-12.

• Mu Yerusaalemi, Peetero n’abalala baakwatibwa, baakubibwa era ne balagirwa okulekera awo okwogera ku Yesu. Kyokka, bwe babata, “baava mu maaso g’olukiiko . . . , era buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba beeyongera okuyigirizanga n’okubuuliranga amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu.”​—Ebikolwa 5:40-42, NW.

• Sawulo, eyafuuka omutume Pawulo, bwe yamanya nti Abayudaaya mu Damasiko baali baagala okumutta, ab’oluganda baamuteeka mu kisero ne bamussa wansi nga bamuyisa mu ddirisa ekiro, era bw’atyo n’agenda.​—Ebikolwa 9:22-25.

• Nga wayiseewo emyaka, Pawulo yasalawo okujulira eri Kayisaali, wadde nga Gavana Fesuto ne Kabaka Agulipa tebaazuula kintu kyonna ekyali “kisaanidde okumussa oba okumusibya.”​—Ebikolwa 25:10-12, 24-27; 26:30-32.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28, 29]

Wadde nga baawalirizibwa okudduka olw’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, enkumi n’enkumi z’Abajulirwa ab’omu Malawi beeyongera okukola omulimu gw’Obwakabaka n’essanyu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Essanyu eriva mu kutukuza erinnya lya Yakuwa lye lyasobozesa abeesigwa abo okugumira embeera embi eyali mu nkambi n’olugendo olwafiiramu abantu abangi

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Olugendo olwafiiramu abantu abangi: KZ-Gedenkstätte Dachau, courtesy of the USHMM Photo Archives

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Ebizibu biyinza okubeera bya ngeri nnyingi