Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okunyumya ku by’Omwoyo Kizimba

Okunyumya ku by’Omwoyo Kizimba

Okunyumya ku by’Omwoyo Kizimba

“Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw’okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.”​—ABAEFESO 4:29.

1, 2. (a) Obusobozi bw’okwogera bwa muwendo kwenkana wa? (b) Abaweereza ba Yakuwa bandikozesezza batya olulimi lwabwe?

“OBUSOBOZI bw’okwogera busukkulumye ku kutegeera kw’omuntu; kirabo okuva eri Katonda era kyamagero.” Bw’atyo, Ludwig Koehler, omuwandiisi w’enkuluze bwe yagamba. Oboolyawo ekirabo kino ekyava eri Katonda tukitwala ng’ekitali kikulu nnyo. (Yakobo 1:17) Kyokka, omwagalwa bwalekera awo okwogera olw’okusanyalala, mazima ddala kuba kufiirwa kwa maanyi nnyo. “Twalinanga enkolagana ennungi ennyo olw’okunyumyanga,” bw’atyo, Joan, bw’agamba, oluvannyuma lw’omwami we okusanyalala. “Nga nsubwa nnyo emboozi ze twanyumyanga!”

2 Okunyumya kuyinza okunyweza omukwano, okumalawo obutategeeragana, okuzzaamu amaanyi abanakuwavu, okunyweza okukkiriza, n’okulongoosa obulamu​—kyokka okusobola okutuukiriza ekyo kyetaagisa okufuba. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: “Wabaawo ayogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala: naye olulimi lw’ab’amagezi kwe [kuwonya].” (Engero 12:18) Ng’abaweereza ba Yakuwa, twagala ebyo bye tunyumya bibe nga biwonya era nga bizimba so si okulumya n’okumalamu amaanyi. Era twagala okukozesa olulimi lwaffe okutendereza Yakuwa, mu buweereza bwaffe era ne bwe tuba nga tunyumya n’abalala. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna.”​—Zabbuli 44:8.

3, 4. (a) Kizibu ki ffenna kye twolekaganye nakyo ku bikwata ku kwogera? (b) Lwaki bye twogera bikulu?

3 Omuyigirizwa Yakobo alabula nti ‘tewali ayinza kufuga lulimi.’ Atujjukiza: “Tusobya fenna. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n’omubiri gwe gwonna.” (Yakobo 3:2, 8) Tewali n’omu ku ffe atuukiridde. Wadde nga twagala okukozesa obulungi olulimi lwaffe, bye tunyumya biyinza obutazimba balala oba okutenderezesa Omutonzi waffe. N’olwekyo, tuteekwa okwegendereza ennyo bye twogera. Ate era, Yesu yagamba: “Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw’omusango. Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n’ebigambo byo bye birikusinza omusango.” (Matayo 12:36, 37) Yee, tuvunaanyizibwa eri Katonda ow’amazima olw’ebigambo bye twogera.

4 Engeri emu ey’okwewala okwogera ebintu ebirumya abalala kwe kunyumya ku by’omwoyo. Ekitundu kino kijja kwekenneenya engeri y’okukikolamu, bye tuyinza okunyumyako, era n’emiganyulo egiva mu kwogera ebizimba.

Lowooza ku Ebyo Ebiri mu Mutima Gwo

5. Omutima gwaffe gulina kifo ki mu kunyumya ebizimba?

5 Okusobola okunyumya ebintu ebizimba, tuteekwa okusooka okutegeera nti bye twogera byoleka ekiri mu mutima gwaffe. Yesu yagamba: “Ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Matayo 12:34) Mu mbeera eza bulijjo, tutera okwogera ku bintu bye tutwala okuba ebikulu. N’olwekyo, tulina okwebuuza: ‘Bye nnyumya byoleka ki ekiri mu mutima gwange? Bwe mba ndi n’ab’omu maka gange oba bakkiriza bannange, bye nnyumyako bikwata ku bya mwoyo oba biba bikwata ku bya mizannyo, engoye, firimu, emmere, ebintu ebippya bye nnaakagula, oba ebintu ebirala ebitaliimu nsa?’ Oboolyawo mu butali bugenderevu, obulamu bwaffe n’ebirowoozo byekubiddde nnyo ku nsonga ezitali nkulu. Bwe tukulembeza ebintu ebikulu kijja kutusobozesa okulongoosa mu bye tunyumyako awamu n’obulamu bwaffe.​—Abafiripi 1:10.

6. Okufumiitiriza kulina kakwate ki ne bye tunyumyako?

6 Okufumiitiriza ng’olina ekigendererwa ngeri ndala eyinza okutusobozesa okulongoosa mu bye tunyumyako. Singa tufuba okulowooza ku bintu eby’omwoyo, tujja kwesanga nga tunyumya ku bya mwoyo. Kabaka Dawudi yalaba akakwate ako. Yagamba: “Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go.” (Zabbuli 19:14) Era n’omuwandiisi wa Zabbuli, Asafu, yagamba: “Nnalowoozanga omulimu gwo gwonna, era [n]naafumiitirizanga ebikolwa byo.” (Zabbuli 77:12) Omuntu amalira ebirowoozo bye ku mazima g’omu Kigambo kya Katonda ayogera ebigambo ebirungi. Yeremiya yali tayinza kulekayo kwogera ku bintu Yakuwa bye yali amuyigiriza. (Yeremiya 20:9) Naffe tuyinza okukola kye kimu singa tufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo buli lunaku.​—1 Timoseewo 4:15.

7, 8. Bintu ki ebizimba ebiyinza okwogerwako?

7 Okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kitusobozesa okufuna ebintu bingi ebizimba bye tuyinza okwogerako. (Abafiripi 3:16) Enkuŋŋaana ennene n’entono, ebitabo, n’ekyawandiikibwa ekya buli lunaku byonna bituwa ebintu eby’omwoyo bingi bye tuyinza okwogerako. (Matayo 13:52) Ng’ebyo bye tusanga mu buweereza obw’Ekikristaayo bituzzaamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo!

8 Kabaka Sulemaani yawuniikirira olw’emiti egitali gimu, ebisolo, ebinyonyi n’ebyennyanja bye yalaba mu Isiraeri. (1 Bassekabaka 4:33) Yasanyukira okunyumya ku bintu Katonda bye yatonda. Naffe tuyinza okukola kye kimu. Abaweereza ba Yakuwa boogera ku bintu ebitali bimu, naye abantu abettanira eby’omwoyo boogera ne ku bintu eby’omwoyo.​—1 Abakkolinso 2:13.

‘Mulowoozenga ku Bintu Ebyo’

9. Pawulo yabuulirira atya Abafiripi?

9 Ka tube nga twogera ku ki, bye tunyumya bijja kuzimba abalala singa bituukagana n’okubuulirira kwa Pawulo eri ekibiina ky’omu Firipi. Yawandiika bw’ati: “Eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.” (Abafiripi 4:8) Ebintu Pawulo by’ayogerako bikulu nnyo ne kiba nti agamba ‘mubirowoozengako.’ Ebintu ng’ebyo tubijjuze mu mitima gyaffe. N’olwekyo, ka tulabe engeri okwekenneenya buli kimu ku bintu bino omunaana Pawulo bye yamenya gye kiyinza okutuyamba mu bye tunyumyako.

10. Bye tunyumyako biyinza bitya okwoleka eby’amazima?

10 Eby’amazima tebikwata ku bintu bituufu byokka. Bikwata ne ku bintu ebyesigika era eby’obwesimbu ng’amazima agali mu Kigambo kya Katonda. N’olwekyo, bwe twogera n’abalala ku mazima g’omu Baibuli agatusanyusa, emboozi ezaatuzzaamu amaanyi, oba okubuulirira kw’omu Byawandiikibwa okwatuyamba, tuba tulowooza ku bintu eby’amazima. Ku luuyi olulala, twesamba ebyo ‘mu bukyamu ebiyitibwa okumanya,’ ebiwa obuwi ekifaananyi eky’amazima. (1 Timoseewo 6:20) Era twewala okulaalaasa olugambo oba okutegeeza abalala ebintu ebitayinza kukakasibwa.

11. Bintu ki ebisaanira ekitiibwa bye tuyinza okunyumyako?

11 Okwogera ebintu ebisaanira ekitiibwa kitegeeza okwogera ku bintu ­eby’omugaso era ebikulu, so si ebintu ebitaliimu nsa. Bikwata ku buweereza bwaffe ­obw’Ekikristaayo, ebiseera eby’okulaba ennaku bye tulimu, era n’obwetaavu bw’okwoleka empisa ennungi. Bwe ­twogera ku bintu ng’ebyo ebisaanira, tweyongera okuba abamalirivu okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, nga tuli ­bagolokofu, era ­n’okweyongera okubuulira amawulire amalungi. Mazima ddala, ebitutuukako ebirungi nga tuli mu buweereza era n’ebintu ebiriwo ebiraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma bituwa ebintu bingi eby’okunyumyako.​—Ebikolwa 14:27; 2 Timoseewo 3:1-5.

12. Okusinziira ku kubuulirira kwa Pawulo okw’okulowooza ku bintu ebituukirivu era ebirongoofu, biki bye tutalina kwogerako?

12 Ekigambo obutuukirivu kitegeeza okukola ekituufu mu maaso ga Katonda, kwe kugamba, okutuukiriza emitindo gye. Ekirongoofu kirina amakulu g’obuyonjo mu birowoozo ne mu mpisa. Okuwaayiriza, okubalaata, oba okwogera ebyekuusa ku by’okwetaba tebirina kubeera mu bye tunyumya. (Abaefeso 5:3; Abakkolosaayi 3:8) Abalala bwe batandika okwogera ku bintu ng’ebyo gye bakolera oba ku ssomero, Abakristaayo ab’amagezi beesegula.

13. Waayo ebyokulabirako ku bintu ebyagalibwa era ebisiimibwa bye tuyinza okunyumyako.

13 Pawulo bw’agamba okulowooza ku bintu ebyagalibwa, aba ategeeza ebintu ebisanyusa era ebikkirizibwa oba ebikubiriza okwagala, so si ebyo ebisiikuula obukyayi, enge oba ebireetawo okwawukana. Ebintu ebisiimibwa bitegeeza ebintu ebyesigika oba ebirungi. Ebintu ebirungi ng’ebyo bitwaliramu ebyogerwa ku bulamu bwa baganda baffe ne bannyinnaffe abeesigwa ebibeera mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Lwaki totegeeza balala engeri gye wakwatiddwako oluvannyuma lw’okusoma ebitundu ng’ebyo ebizzaamu amaanyi? Era, nga kizzaamu nnyo amaanyi okuwulira ku bintu eby’omwoyo abalala bye bakoze! Okunyumya ku bintu ng’ebyo kijja kutumbula okwagala n’obumu mu kibiina.

14. (a) Okwoleka obulungi kitwetaagisa ki? (b) Bye tunyumya biyinza bitya okubaamu ebintu ebigwana okutenderezebwa?

14 Era Pawulo agamba nti “oba nga waliwo obulungi.” Obulungi wano kitegeeza empisa ennungi. Tuteekwa okwegendereza ne kiba nti bye twogera byesigama ku misingi gy’omu Byawandiikibwa, nga bya butuukirivu, birongoofu era nga birungi. Eby’ettendo bitegeeza ‘ebitenderezebwa.’ Bw’owulira emboozi ennungi, oba n’olaba omuntu ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kibiina, kyogereko n’omuntu oyo kennyini era n’abalala. Enfunda n’enfunda omutume Pawulo yatendereza engeri ennungi ez’abasinza banne. (Abaruumi 16:12; Abafiripi 2:19-22; Firemooni 4-7) Kya lwatu, Omutonzi waffe agwana okutenderezebwa olw’emirimu gye. Tulina bingi ebizimba eby’okunyumyako ebikwata ku mirimu egyo.​—Engero 6:6-8; 20:12; 26:2.

Nyumya ku Bintu Ebizimba

15. Kiragiro ki eky’omu Byawandiikibwa ekyetaagisa abazadde okunyumya n’abaana baabwe ku bintu ebizimba?

15 Ekyamateeka 6:6,7 wagamba: “Ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo: era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokonga.” Kya lwatu, ekiragiro kino kyetaagisa abazadde okunyumya n’abaana baabwe ku bintu ebizimba n’eby’omwoyo.

16, 17. Abazadde Abakristaayo bayinza kuyiga ki okuva ku kyokulabirako kya Yakuwa ne Ibulayimu?

16 Tuyinza okuteebereza ekiseera ekiwanvu Yesu kye yamala ng’anyumya ne Kitaawe ow’omu ggulu ebikwata ku mulimu gwe ku nsi. “Kitange eyantuma, [bwe] yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera,” bw’atyo Yesu bwe yagamba abayigirizwa be. (Yokaana 12:49; Ekyamateeka 18:18) Ibulayimu omusajja ow’edda ateekwa okuba yamala ekiseera kiwanvu ng’anyumya ne mutabani we Isaaka ku ngeri Yakuwa gye yali abawadde omukisa awamu ne bajjajjaabe. Mazima ddala olw’ebyo bye baanyumya, Yesu ne Isaaka baayambibwa okukola Katonda by’ayagala.​—Olubereberye 22:7-9; Matayo 26:39.

17 N’abaana baffe beetaaga okuwulira emboozi ezizimba. Wadde baba n’eby’okukola bingi, abazadde bateekwa okufuna ebiseera okunyumyako n’abaana baabwe. Bwe kiba kisoboka, lwaki temukola ntegeka okuliira awamu ng’amaka waakiri omulundi gumu olunaku? Nga mulya era n’oluvannyuma lw’okulya, mujja kufuna omukisa okwogera ku bintu ebizimba ebijja okuyamba ennyo amaka gammwe mu by’omwoyo.

18. Waayo ekyokulabirako ekiraga emiganyulo egiva mu mpuliziganya ennungi wakati w’abazadde n’abaana.

18 Alejandro, aweereza nga payoniya, era ng’atemera mu myaka 20, ajjukira okubuusabuusa kwe yalina ng’alina emyaka 14. Agamba: “Olw’okupikirizibwa bayizi bannange n’abasomesa, nnali mbuusabuusa obanga Katonda gy’ali era obanga Baibuli ntuufu. Bazadde bange baawaayo ekiseera kiwanvu okwogera nange ku nsonga ezo. Bye twanyumyako tebyakoma ku kunnyamba kuvvuunuka kubuusabuusa kwe nnalina mu kiseera ekyo ekizibu, naye era byannyamba n’okusalawo obulungi mu bulamu bwange.” Ate kati? Alejandro ayongerako: “Nkyabeera waka. Kyokka olw’okuba nze ne taata wange tulina eby’okukola bingi, tekitwanguyira kufuna kaseera ka kwogera. N’olwekyo, tuliira wamu emmere omulundi gumu buli wiiki ku mulimu gwe. Mazima ddala bye tunyumyako mbitwala nga bya muwendo.”

19. Lwaki buli omu ku ffe yeetaaga okunyumya ku by’omwoyo?

19 Naffe tetusiima okunyumya ne bakkiriza bannaffe eby’omwoyo? Tusobola okunyumya nabo mu nkuŋŋaana, nga tuli mu buweereza obw’omu nnimiro, era nga tukuŋŋaanye okusanyukirako awamu oba nga tutambula. Pawulo yeesunga okwogera n’Abakristaayo mu Rooma. “Nneesunga okubalaba,” bw’atyo bwe yabawandiikira, ‘tuziŋŋanemu amaanyi olw’okukkiriza kwa buli omu, okwammwe n’okwange.’ (Abaruumi 1:11, 12) “Okunyumya ebikwata ku by’omwoyo ne Bakristaayo banno kirina kye kituukiriza,” bw’atyo Johannes, omukadde mu kibiina, bwe yayogera. “Kubuguumiriza omutima era kuwewula ku bizibu ebibaawo buli lunaku. Ntera okubuuza bannamukadde okumbuulira ebikwata ku bulamu bwabwe era n’ekyo ekyabasobozesa okusigala nga beesigwa. Emyaka bwe gizze giyitawo, njogedde na bangi, era buli omu ampadde amagezi oba anyambye mu ngeri emu oba endala.”

20. Twandikoze ki singa tusanga omuntu ow’ensonyi?

20 Kiba kitya singa omu tammuka bw’otandika okunyumya naye ku by’omwoyo? Tolekulira. Oboolyawo oyinza okufuna ekiseera ekirala ekisaanira. Sulemaani yagamba: “Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye, kiri ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 25:11) Tegeera embeera y’abo abalina ensonyi. “Okuteesa okw’omu mutima gw’omuntu kuli ng’amazzi ag’omu luzzi oluwanvu; naye omuntu alina okutegeera alikusena.” * (Engero 20:5) Okusinga byonna, toleka ndowooza y’abalala kukulemesa kwogera ku bintu ebikukutte omubabiro.

Okunyumya ku by’Omwoyo Kuganyula

21, 22. Tufuna miganyulo ki bwe tunyumya ebikwata ku by’omwoyo?

21 “Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe,” bw’atyo Pawulo bwe yabuulirira, “naye ekirungi bwe kinaabangawo olw’okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.” (Abaefeso 4:29; Abaruumi 10:10) Kiyinza okwetaagisa okufuba okusobola okunyumya ku bintu ebizimba naye emiganyulo egivaamu mingi. Okunyumya ku by’omwoyo kitusobozesa okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaffe era n’okuzimba baganda baffe.

22 N’olwekyo, ka tukozese ekirabo ky’okwogera okuzimba abalala n’okutendereza Katonda. Okunyumya ng’okwo kujja kutuleetera okumatira era kujja kuzzaamu abalala amaanyi. Okusinga byonna, kujja kusanyusa omutima gwa Yakuwa kubanga assaayo omwoyo ku bye tunyumya era asanyuka bwe tukozesa obulungi olulimi lwaffe. (Zabbuli 139:4; Engero 27:11) Bwe tunyumya ebikwata ku by’omwoyo, tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa tajja kutwerabira. Ng’eyogera ku abo abaweereza Yakuwa mu kiseera kyaffe, Baibuli egamba: “Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n’awuliriza n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye.” (Malaki 3:16; 4:5) Nga kikulu nnyo okuba nti bye tunyumya bizimba mu by’omwoyo!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 20 Enzizzi ezimu mu Isiraeri zaali mpanvu nnyo. Mu Gibyoni, abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bazudde oluzzi oluwanvu oluweza ffuuti 80 obuwanvu. Lwalina amadaala agaasobozesanga abantu okukka wansi okusena amazzi.

Wandizzeemu Otya?

• Bye tunyumyako biraga bitya ebiri mu mitima gyaffe?

• Bintu ki ebizimba bye tuyinza okunyumyako?

• Bye tunyumyako birina kifo ki mu maka ne mu kibiina Ekikristaayo?

• Bye tunyumyako ebizimba bireeta miganyulo ki?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]

Emboozi ezizimba zeesigama ku . . .

“eby’amazima”

“ebisaanira ekitiibwa”

‘eby’ettendo’

“ebisiimibwa”

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Video cover, Stalin: U.S. Army photo; Creator book cover, Eagle Nebula: J. Hester and P. Scowen (AZ State Univ.), NASA

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Ebiseera eby’okulya bituwa omukisa okunyumya ebikwata ku by’omwoyo