Okuyigganyizibwa olw’Obutuukirivu
Okuyigganyizibwa olw’Obutuukirivu
“Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu.”—MATAYO 5:10.
1. Lwaki Yesu yali mu maaso ga Pontiyo Piraato, era kiki kye yayogera?
“NZE nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) Yesu okwogera ebigambo ebyo yali ali mu maaso ga Pontiyo Piraato, Gavana Omuruumi ow’e Buyudaaya. Yesu okubeera mu maaso ga Piraato yali teyeyagalidde era tekyali nti yali ayitiddwa. Wabula, yali aleeteddwa mu maaso ge kubanga abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali bamuwaayirizza nti mumenyi w’amateeka agwanidde okufa.—Yokaana 18:29-31.
2. Kiki Yesu kye yakola era kyavaamu ki?
2 Yesu yali amanyi bulungi nti Piraato alina obuyinza okumusumulula oba okumutta. (Yokaana 19:10) Naye ekyo tekyamulobera kwogera ne Piraato mu ngeri ey’obuvumu ku bikwata ku Bwakabaka. Wadde ng’obulamu bwa Yesu bwali mu kabi, yakozesa akakisa ako okuwa obujulirwa omukungu wa gavumenti eyali asingayo okuba owa waggulu mu kitundu ekyo. Wadde nga yawa obujulirwa obwo, Yesu yasingisibwa omusango era n’attibwa, n’afiira ku muti mu ngeri ey’obulumi ennyo olw’enzikiriza ye.—Matayo 27:24-26; Makko 15:15; Lukka 23:24, 25; Yokaana 19:13-16.
Omuntu Attibwa olw’Eddiini oba olw’Okunywerera ku Misingi Gye?
3. Ebigambo “omuntu attibwa olw’eddiini” byali bitegeeza ki mu biseera bya Baibuli, naye bitegeeza ki leero?
3 Omuntu attibwa olw’okunywerera ku misingi gye abantu bangi leero bamutwala okuba nnalukalala. Abo abeetegefu okufa olw’enzikiriza zaabwe, naddala ez’eddiini, beekengerwa era batwalibwa okuba ab’akabi eri abantu. Kyokka ekigambo ky’Oluyonaani (marʹtys) ekivvuunulwa omuntu attibwa olw’eddiini, mu kiseera kya Baibuli kyali kitegeeza “omujulirwa,” omuntu awa obujulizi, oboolyawo mu kkooti, ku ebyo by’aba akkiririzaamu. Naye, oluvannyuma omuntu ng’oyo yatandika okutwalibwa “ng’awaayo obulamu bwe olw’okuwa obujulirwa,” oba okuwa obujulirwa ng’awaayo obulamu bwe.
4. Lwaki Yesu yattibwa?
4 Yesu yattibwa olw’okuwa obujulirwa ku Yokaana 2:23; 8:30) Abantu okutwalira awamu, naddala abakulembeze b’eddiini, baamuwakanya nnyo. Yesu yagamba ab’eŋŋanda ze abaali batakkiriza: “Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi.” (Yokaana 7:7) Abakulembeze b’eggwanga baasunguwalira nnyo Yesu olw’okuwa obujulirwa era ekyo kyamuviirako okuttibwa. Mu butuufu, yali “mujulirwa omwesigwa era ow’amazima.”—Okubikkulirwa 3:14.
ebyo bye yali akkiririzaamu. Nga bwe yagamba Piraato, ‘yajja okuwa obujulirwa ku mazima.’ Obujulirwa bwe yawa bwaleetera abantu okweyisa mu ngeri ez’enjawulo ennyo. Abamu ku bantu aba bulijjo baakwatibwako nnyo olw’ebyo bye baawulira ne bye baalaba era ne bakkiriza Yesu. (“Munaakyayibwanga”
5. Kiki Yesu kye yayogera mu matandika g’obuweereza bwe ekikwata ku kuyigganyizibwa?
5 Yesu yayigganyizibwa era n’alabula abagoberezi be nti nabo bandiyigganyiziddwa. Mu matandika g’obuweereza bwe, Yesu yagamba abantu abaali bawuliriza Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi nti: “Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe. Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu.”—Matayo 5:10-12.
6. Kulabula ki Yesu kwe yawa bwe yali ng’atuma abatume 12?
6 Oluvannyuma, bwe yali atuma abatume 12, Yesu yabagamba: “Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaniro gaabwe balibakubiramu; era mulitwalibwa eri abaamasaza n’eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n’ab’amawanga.” Naye abakulembeze b’eddiini si be bokka abandibadde bayigganya abayigirizwa. Yesu era yagamba: “Ow’oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa. Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.” (Matayo 10:17, 18, 21, 22) Okubonaabona Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kwe baayitamu bukakafu nti ebigambo ebyo byali bituufu.
Ebikolwa eby’Obwesigwa
7. Kiki ekyaviirako Suteefano okuttibwa?
7 Amangu ddala nga Yesu yaakafa, Suteefano ye Mukristaayo eyasooka okufa olw’okuwa obujulirwa ku mazima. “Yajjula ekisa n’amaanyi [era] n’akolanga [eby’]amagero n’obubonero obunene mu bantu.” Abalabe be ‘ne batamusobola olw’amagezi ge yayogeza nga gaamuweebwa omwoyo omutukuvu.’ (Ebikolwa 6:8, 10) Olw’obuggya, baakwata Suteefano ne bamutwala mu maaso g’Olukiiko, ekkooti enkulu ey’Abayudaaya, gye yayolekagana n’abo abaali bamuwaayiriza era n’awa obujulirwa obw’amaanyi. Kyokka, ku nkomerero, abalabe be abo baamutta.—Ebikolwa 7:59, 60.
8. Abayigirizwa baakola ki nga baayigganyizibwa oluvannyuma lw’okufa kwa Suteefano?
8 Oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Suteefano, “ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z’e Buyudaaya ne Samaliya.” (Ebikolwa 8:1) Okuyigganyizibwa kwayimiriza omulimu gw’Abakristaayo ogw’okuwa obujulirwa? Si bwe kyali, wabula ebyawandiikibwa bitutegeeza nti “awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” (Ebikolwa 8:4) Bateekwa okuba nga baalina endowooza y’emu ng’ey’omutume Peetero bwe yagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Ebikolwa 5:29) Wadde nga baali bayigganyizibwa, abayigirizwa abo abeesigwa era abavumu baanyiikirira omulimu gw’okuwa obujulirwa ku mazima, wadde nga baali bamanyi nti kiyinza okubaleetera ebizibu bingi.— Ebikolwa 11:19-21.
9. Mu ngeri ki abayigirizwa ba Yesu gye beeyongera okuyigganyizibwa?
9 Mu butuufu, okuyigganyizibwa kweyongera bweyongezi. Okusooka, tutegeezebwa nti Sawulo—omusajja eyasemba okuttibwa kwa Suteefano—“ng’akyayogera ebigambo eby’okukanga n’eby’okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, yagenda eri kabona asinga obukulu, n’amusaba Ebikolwa 9:1, 2) Kati, ate awo nga mu mwaka gwa 44 C.E., “kabaka Kerode n’agolola emikono okukola obubi abamu ab’omu kkanisa. N’atta n’ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.”—Ebikolwa 12:1, 2.
ebbaluwa ez’okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw’alirabayo abantu ab’ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi.” (10. Biki ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume n’eky’Okubikkulirwa ebikwata ku kuyigganyizibwa?
10 Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyogera ku kubonaabona, okusibibwa, n’okuyigganyizibwa okwatuuka ku bantu abaali abeesigwa nga Pawulo, eyali omuyigganya kyokka n’afuuka omutume. Era kirabika nti, Kabaka Omuruumi Nero, ye yamutta olw’enzikiriza ye eyo nga mu mwaka gwa 65 C.E. (2 Abakkolinso 11:23-27; 2 Timoseewo 4:6-8) Ate era mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ekyawandiikibwa eyo nga ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, tulaba nti omutume Yokaana eyali akaddiye, yali asibiddwa mu kizinga ky’e Patumo ‘olw’okwogera ekigambo kya Katonda n’okuwa obujulirwa ku Yesu.’ Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kyogera ku ‘Antipa, omujulirwa wange omwesigwa, eyattirwa’ e Perugamo.—Okubikkulirwa 1:9; 2:13.
11. Ebyo ebyatuuka ku Bakristaayo abaasooka bikakasa bitya obutuufu bw’ebigambo bya Yesu ebikwata ku kuyigganyizibwa?
11 Ebyo byonna byakakasa obutuufu bw’ebigambo bya Yesu eri abayigirizwa be nti: “Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga.” (Yokaana 15:20) Abakristaayo abeesigwa baali beetegefu okwaŋŋanga okufa nga batulugunyizibwa, nga basuulibwa mu ensolo enkambwe, oba okutulugunyizibwa mu ngeri endala yonna—okusobola okutuukiriza omulimu Mukama waabwe, Yesu Kristo gwe yali abawadde bwe yagamba nti: “Munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—Ebikolwa 1:8.
12. Lwaki okuyigganyizibwa kw’Abakristaayo si kintu ekyaliwo mu biseera eby’edda byokka?
12 Kyandibadde kikyamu nnyo omuntu yenna okulowooza nti bagoberezi ba Yesu abasooka be bokka abaali ab’okuyisibwa mu ngeri ey’obukambwe. Pawulo eyagumiikiriza ebizibu eby’amaanyi ennyo nga bwe tulabye, yawandiika: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Peetero yayogera bw’ati ku kuyigganyizibwa: “Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Okutuukira ddala mu kiseera kino “eky’enkomerero” y’enteekateeka eno ey’ebintu, abantu ba Yakuwa beeyongera okukyayibwa era n’okuyisibwa obubi. (2 Timoseewo 3:1) Mu buli kanyomero k’ensi eno, wansi w’obufuzi obwa bannakyemalira, n’obwo obwa demokulase, Abajulirwa ba Yakuwa oluusi n’oluusi babadde bayigganyizibwa kinnoomu oba ng’ekibiina.
Lwaki Bakyayibwa era ne Bayigganyizibwa?
13. Kiki abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino kye balina okujjukira ekikwata ku kuyigganyizibwa?
13 Wadde nga bangi ku ffe leero tulina akalembereza okubuulira n’okukuŋŋaana awamu, tuteekwa okujjukira ekyo Baibuli ky’eyogera nti “embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (1 Abakkolinso 7:31, NW) Ebintu biyinza okukyuka mangu nnyo ne kiba nti bwe tutaba beetegefu mu birowoozo, mu nneewulira zaffe ne mu by’omwoyo, tuyinza okuggwaamu amaanyi. Kati olwo kiki kye tuyinza okukola okwekuuma? Ekintu ekikulu ennyo ekinaatuyamba okwekuuma, kwe kutegeera obulungi ensonga lwaki Abakristaayo abaagala emirembe, era abakwata amateeka, bayigganyizibwa.
14. Nsonga ki Peetero gye yawa lwaki Abakristaayo baali bayigganyizibwa?
14 Omutume Peetero yayogera ku nsonga eno mu bbaluwa ye eyasooka, gye yawandiika eyo nga mu 62-64 C.E., mu kiseera Abakristaayo abaali mu Bwakabaka bwa Rooma bwonna nga babonaabona era nga bayigganyizibwa. Yagamba: “Abaagalwa, temwewuunyanga olw’okwokebwa [o]kuli mu mmwe, okujja gye muli olw’okubakema, ng’abalabye eky’ekitalo.” Okusobola okunnyonnyola ekyo kye yali ayogerako, Peetero era yagamba: “Omuntu 1 Peetero 4:4, 12, 15, 16.
yenna ku mmwe tabonnyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: naye omuntu yenna bw’abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.” Peetero yakiraga kaati nti baali babonaabona si lwa kuba nga waaliwo ekikyamu kyonna kye baali bakoze, naye olw’okubanga baali Bakristaayo. Singa nabo baali ‘beenyigira mu bikolwa eby’obukaba’ ng’abantu abaali babeetoolodde, bandibadde basiimibwa abantu abo. Naye, ekituufu kiri nti, baabonaabona kubanga baali bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abagoberezi ba Kristo. Era bwe kityo bwe kiri leero eri Abakristaayo ab’amazima.—15. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa batenderezebwa ate ne bayigganyizibwa?
15 Mu nsi nnyingi, Abajulirwa ba Yakuwa batenderezebwa olw’obumu bwe booleka nga bali mu nkuŋŋaana zaabwe ennene ne ku mulimu gw’okuzimba ebizimbe, olw’obwesigwa bwabwe n’obunyiikivu, olw’empisa n’endabika yaabwe ennungi, era n’olw’obulamu bw’amaka obulungi. * Wadde nga kiri kityo, mu kiseera magazini eno w’etegekeddwa, omulimu gwabwe guwereddwa oba guziyiziddwa mu nsi nga 28, era Abajulirwa bangi bayigganyizibwa olw’okukkiriza kwabwe. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa batenderezebwa ku luuyi olumu ate ku luuyi olulala ne bayigganyizibwa? Era lwaki Katonda akikkiriza embeera eyo okubaawo?
16. Nsonga ki esinga obukulu lwaki Katonda akkiriza abantu be okuyigganyizibwa?
16 Okusookera ddala, tulina okujjukira ebigambo ebiri mu Engero 27:11: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” Yee, ebigambo ebyo byoleka ensonga ey’obufuzi bw’obutonde bwonna ebaddewo okuva edda. Wadde nga bangi nnyo ababadde abeesigwa eri Yakuwa mu byafaayo byonna, Setaani talekedde awo kusoomooza Yakuwa nga bwe yakola mu biseera bya Yobu. (Yobu 1:9-11; 2:4, 5) Awatali kubuusabuusa, kati Setaani afuba nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde okukakasa bye yayogera, naddala kati ng’Obwakabaka bwa Katonda bussiddwawo era nga bulina n’ababugondera mu nsi yonna. Abo banaasigala nga beesigwa eri Katonda ka babe nga bafuna bizibu bya ngeri ki? Buli muweereza wa Yakuwa ateekwa okukiraga okuyitira mu bikolwa bye oba nga anaasigala nga mwesigwa eri Katonda oba nedda.—Okubikkulirwa 12:12, 17.
17. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba “kiribaviiramu okuwa obujulirwa”?
17 Bwe yali ategeeza abayigirizwa be ebyo ebirina okubeerawo ku “nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu,” Yesu yalaga ensonga endala lwaki Yakuwa akkiriza abaweereza be okuyigganyizibwa. Yabagamba: “Balibatwala eri bakabaka n’abaamasaza olw’erinnya lyange. Kiribaviiramu okuwa obujulirwa.” (Matayo 24:3, 9, NW Lukka 21:12, 13, NW) Yesu kennyini yawa obujulirwa mu maaso ga Kerode ne Pontiyo Piraato. Omutume Pawulo naye “yatwalibwa mu maaso ga bakabaka ne ab’amasaza.” Olw’obulagirizi bwa Mukama waffe Yesu Kristo, Pawulo yayagala okuwa obujulirwa omuntu eyali asingayo okuba ow’ekitiibwa mu kiseera kye bwe yagamba nti: “Njulira Kayisaali!” (Ebikolwa 23:11; 25:8-12) Mu ngeri y’emu leero, embeera enzibu ziviiriddeko okuwa abakungu n’abantu abalala obujulirwa. *
18, 19. (a) Tuyinza kuganyulwa tutya bwe tugumira ebizibu? (b) Bibuuzo ki ebijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
18 Ekisembayo, okwolekagana n’ebigezo n’okubonyaabonyezebwa kisobola okutuganyula kinnoomu. Mu ngeri ki? Omutume Yakobo yajjukiza Bakristaayo banne: “Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; nga mutegeera ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.” Yee, okuyigganyizibwa kuyinza okunyweza okukkiriza kwaffe era ne kutuleetera okugumiikiriza. N’olwekyo, tetutya nnyo kwolekagana na kuyigganyizibwa, wadde okugezaako okukozesa engeri ezitali za Kikristaayo okukwewala. Wabula tugoberera okubuulirira kwa Yakobo: “Omulimu gw’okukkiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.”—Yakobo 1:2-4.
19 Wadde ng’Ekigambo kya Katonda kituyamba okutegeera ensonga lwaki abaweereza ba Katonda abeesigwa bayigganyizibwa era n’ensonga lwaki Yakuwa akukkiriza okubaawo, ekyo tekifuula kuyigganyizibwa kubeera kwangu kugumiikiriza. Kiki ekiyinza okutunyweza okugumira okuyigganyizibwa? Kiki kye tuyinza okukola singa twolekagana n’okuyigganyizibwa? Tujja kwekenneenya ensonga ezo enkulu mu kitundu kyaffe ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 15 Laba Watchtower aka Ddesemba 15, 1995, empapula 27-9; Apuli 15, 1994, empapula 16-17; ne Awake! aka Ddesemba 22, 1993, empapula 6-13.
^ lup. 17 Laba Awake! aka Jjanwali 8, 2003, empapula 3-11.
Osobola Okunnyonnyola?
• Yesu yattibwa lwa nsonga ki?
• Okuyigganyizibwa kwayisa kutya Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?
• Nga Peetero bwe yannyonnyola, lwaki Abakristaayo abaasooka baayigganyizibwa?
• Lwaki Yakuwa akkiriza abaweereza be okuyigganyizibwa?
[Ebibuuzo]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]
Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaabonaabona lwa kuba baalina ekikyamu kye baali bakola, naye lwa kubeera Bakristaayo
PAWULO
YAKOBO
YOKAANA
ANTIPA
SUTEEFANO