Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka, Mutambule nga bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa

Abavubuka, Mutambule nga bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa

Abavubuka, Mutambule nga bwe Kisaanira mu Maaso ga Yakuwa

ABAVUBUKA abamu Abakristaayo beesanze nga tebali wamu n’ab’omu maka gaabwe oba n’ekibiina okumala ekiseera. Abamu balese amaka gaabwe okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Abalala bawaliriziddwa okuleka ab’omu maka gaabwe olw’okuba tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi eby’ensi eno. (Isaaya 2:4; Yokaana 17:16) Mu nsi ezimu, “Kayisaali” asalidde abavubuka abeesigwa ekibonerezo eky’okusibibwa mu kkomera oba eky’okukola emirimu gya bulungi bwa nsi. *​—Makko 12:17; Tito 3:1, 2.

Nga basibiddwa mu kkomera olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, abavubuka bano bayinza okwesanga nga bali wamu n’abasibe abalala abamenyi b’amateeka okumala ekiseera ekiwanvu. Era, abavubuka bangi abavudde awaka olw’ensonga endala, beesanze nga bali mu mbeera ezitali nnungi. Abavubuka ng’abo Abakristaayo oba abalala abawaliriziddwa okubeera mu mbeera ng’ezo basobodde batya okwaŋŋanga okupikirizibwa kwe boolekaganye nakwo nga bafuba ‘okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Katonda?’ (1 Abasessaloniika 2:12) Abazadde baabwe bayinza batya okubayamba okwolekagana n’embeera enzibu eziyinza okubalukawo?​—Engero 22:3.

Okugezesebwa Kwe Basanga

Tákis ow’emyaka 21, eyamala emyezi 37 nga tali waka, yagamba: “Bwe nnali nga sirina bukuumi bw’abazadde bange awamu n’obulagirizi bw’abakadde abaali bammanyi obulungi, nnasanga obuzibu bungi.” * Yagattako: “Ebiseera ebimu, nneewulira nga sirina buyambi bwonna.” Petros ow’emyaka 20 ataali waka okumala emyaka egisukka mu ebiri agamba nti: “Omulundi ogwasookera ddala mu bulamu bwange, nnalina okusalawo ku by’okwesanyusaamu n’emikwano, naye bye nnasalangawo tebyabanga birungi.” Era agamba: “Olumu nneeraliikiriranga olw’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe nnalina olw’okubeera n’eddembe eringi.” Tássos, omukadde Omukristaayo atera okwogerako n’abavubuka Abakristaayo abali mu mbeera ng’ezo, yagamba: “Enjogera embi, obwewagguzi, era n’ebikolwa eby’ettemu abavubuka abatali bakkiriza bye beenyigiramu biyinza okutwaliriza abavubuka abatalina bumanyirivu.”

Olw’okubeera era n’okukolera awamu n’abantu abatassa kitiibwa mu misingi gya Baibuli, abavubuka Abakristaayo ng’abo beetaaga okwekuuma baleme okukoppa empisa za bannaabwe embi era ezitakwatagana na Byawandiikibwa. (Zabbuli 1:1; 26:4; 119:9) Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okweyigiriza, okubeerawo mu nkuŋŋaana, awamu n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, kiyinza okulabika ng’ekizibu. (Abafiripi 3:16) Okuteekawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okubituukiriza nakyo kiyinza obutaba kyangu.

Mazima ddala abavubuka Abakristaayo abeesigwa baagala okusanyusa Yakuwa mu ngeri gye beeyisaamu ne mu ebyo bye boogera. Bafuba okwanukula omulanga gwa Kitaabwe ow’omu ggulu: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, [n]dyokenga nziremu oyo anvuma.” (Engero 27:11) Bakitegeera nti endabika yaabwe n’empisa zaabwe birina kye bikola ku ngeri abalala gye batunuuliramu Yakuwa n’abantu be.​—1 Peetero 2:12.

Ekirungi kiri nti, abavubuka ng’abo abasinga obungi bakola kyonna kye basobola okuba nga baganda baabwe ab’omu kyasa ekyasooka Pawulo be yayogerako bw’ati mu kusaba kwe: ‘Mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi olw’okugumiikiriza kwonna n’okuzibiikiriza awamu n’okusanyuka.’ (Abakkolosaayi 1:9-11) Baibuli ewa ebyokulabirako ebiwerako eby’abavubuka abaatya Katonda era abaatambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Katonda nga bali mu mbeera embi oba enzibu.​—Abafiripi 2:15.

‘Yakuwa Yali ne Yusufu’

Ng’akyali muto, Yusufu, omwana omwagala owa Yakobo ne Laakeeri, teyalina bukuumi bwa kitaawe eyali atya Katonda olw’okuba yali wala okuva we baali. Yatundibwa mu buddu e Misiri. Yusufu yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’omuvubuka omwesigwa, omukozi, era ow’empisa. Wadde yali muddu wa Potifali, ataali musinza wa Yakuwa, Yusufu yali mukozi mulungi nnyo ne kiba nti mukama we yamusigira ebintu byonna eby’omu nnyumba ye. (Olubereberye 39:2-6) Yusufu yakuuma obwesigwa bwe eri Yakuwa, era ne bwe yasuulibwa mu kkomera, teyagamba nti: “Mugaso ki oguli mu kubeera omwesigwa?” Ne bwe yali mu kkomera, yayoleka engeri ennungi, era mangu ddala, yaweebwa obuvunaanyizibwa ku bintu bingi ebyakolebwanga mu kkomera. (Olubereberye 39:17-22) Katonda yamuwa omukisa, era nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 39:23, ‘Yakuwa yali ne Yusufu.’

Nga kyandyanguyidde nnyo Yusufu, eyali tabeera na ba mu maka ge abatya Katonda, okutwalirizibwa enneeyisa y’abakaafiiri abaali bamwetoolodde, n’empisa embi ez’Abamisiri! Mu kifo ky’ekyo, yanywerera ku misingi gya Katonda n’asobola okubeera n’enkolagana ennungi naye wadde mu kugezesebwa okw’amaanyi bwe kutyo. Omukyala wa Potifali bwe yamupikiriza okwebaka naye, yamuddamu bw’ati: ‘Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya eri Katonda?’​—Olubereberye 39:7-9.

Leero, abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa beetaaga okugoberera okulabula kwa Baibuli okw’okwewala emikwano emibi, okwesanyusamu okubi, ebifaananyi eby’obugwenyufu, n’ennyimba embi. Bakitegeera nti “amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, [n]ga galabirira ababi n’abalungi.”​—Engero 15:3.

Musa Yeesamba “Okwesiima okw’Ekibi”

Musa yakulira mu lubiri lwa Falaawo mu bantu abaagala ennyo eby’amasanyu era abasinza ebifaananyi. Baibuli emwogerako bw’eti: “Olw’okukkiriza Musa . . . n’agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo; [n]g’asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n’abantu ba Katonda okukira okubanga n’okwesiima okw’ekibi okuggwaawo amangu.”​—Abaebbulaniya 11:24, 25.

Okukola omukwano n’ensi kuyinza okuvaamu emiganyulo egimu, naye nga gya kaseera buseera. Gijja kukoma ng’ensi eno ezikirizibwa. (1  Yokaana 2:15-17) Olowooza tekyandibadde kirungi okusingawo okugoberera ekyokulabirako kya Musa? Baibuli egamba nti “yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Abaebbulaniya 11:27) Ebirowoozo bye yabikuumira ku busika obw’eby’omwoyo obwa bajjajjaabe abatya Katonda. Yafuula ekigendererwa kya Katonda ekigendererwa kye mu bulamu, ng’aluubirira okukola Katonda by’ayagala.​—Okuva 2:11; Ebikolwa 7:23, 25.

Singa abavubuka abatya Katonda beesanga mu mbeera etali nnungi, bayinza okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa okuyitira mu kwesomesa, ne beeyongera okumanya “Oyo atalabika.” Enteekateeka ennungi ey’emirimu egy’Ekikristaayo, nga mw’otwalidde obutayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, bijja kuyamba abavubuka okukuumira ebirowoozo byabwe ku bintu eby’omwoyo. (Zabbuli 63:6; 77:12) Balina okufuba okukulaakulanya okukkiriza n’essuubi ery’amaanyi ng’erya Musa. Bandifubye okumalira ebirowoozo n’ebikolwa byabwe ku Yakuwa, nga basanyufu olw’okuba Yakuwa mukwano gwabwe.

Yatendereza Katonda

Omuvubuka omulala eyalaga ekyokulabirako ekirungi nga tali na ba mu maka g’ewaabwe yali omuwala Omuisiraeri eyawambibwa Abasuuli mu nnaku za nnabbi wa Katonda Erisa. Yafuuka omuzaana wa mukyala wa Naamani omuduumizi w’eggye Omusuuli eyalina ebigenge. Omuwala ono yagamba mukyala wa Naamani nti: “Singa mukama wange [y]ali ne nnabbi ali mu Samaliya! Kale yandiwonye ebigenge bye.” Olw’obujulirwa omuwala oyo bwe yawa, Naamani yagenda ewa Erisa mu Isiraeri era nnawonyezebwa ebigenge. Okugatta kw’ekyo Naamani yafuuka omusinza wa Yakuwa.​—2 Bassekabaka 5:1-3, 13-19.

Ekyokulabirako ky’omuwala ono kiggumiza obukulu bw’abavubuka okukozesa akamwa kaabwe mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa, ne bwe baba nga tebali na bazadde baabwe. Singa Omuwala oyo yalina omuze ‘ogw’okunyumya eby’obusiru’ oba “okubalaata,” yandisobodde okukozesa akamwa ke obulungi bwe yandifunye akakisa? (Abaefeso 5:4; Engero 15:2) Nikos, omuvubuka eyali atemera mu myaka 20 era eyasibibwa olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi agamba: “Bwe nali n’ab’oluganda abalala abavubuka mu kkomera ery’eby’obulimi, nga tuli wala okuva ku bazadde baffe n’ekibiina, nneetegereza nti bye twali twogera byali tebizimba. Byali tebireetera Yakuwa ttendo.” Ekisanyusa, Nikos n’abalala bayambiddwa okussaayo omwoyo ku kubuulirira kwa Pawulo okukwata ku nsonga eno: “Obwenzi n’obugwagwa bwonna n’okwegomba n’okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu.”​—Abaefeso 5:3.

Yakuwa Yali Wa Ddala gye Bali

Ebyo ebyaliwo ebikwata ku banne ba Danyeri abasatu mu Babulooni eky’edda bikakasa obutuufu bw’ebigambo bya Yesu nti abeera omwesigwa mu bintu ebitono abeera mwesigwa ne mu bintu ebinene. (Lukka 16:10) Bwe baagambibwa okulya emmere eyali tekkirizibwa mu Mateeka ga Musa, bandigambye nti tuli baddu mu nsi engwira n’olwekyo tetulina kya kukola ku nsonga eyo. Naye nga baafuna omukisa gwa maanyi nnyo olw’okufaayo ennyo ku kintu ekyali kirabika ng’ekitono! Baalabika nga balamu era nga ba magezi okusinga abasibe abalala abaalyanga ku mmere ya kabaka. Awatali kubuusabuusa obwesigwa mu bintu ebitono, bwabanyweza, ne kiba nti bwe baayolekagana n’okugezesebwa okusingako okw’okusinza ekifaananyi, tebekkiriranya.​—Danyeri 1:3-21; 3:1-30.

Yakuwa yali wa ddala eri abavubuka abo abasatu. Wadde tebaali na bazadde baabwe era nga n’ekifo gye baali abantu baali tebasinza Katonda wa mazima, baali bamaliridde okwekuuma nga tebalina bbala lya nsi. (2 Peetero 3:14) Enkolagana yaabwe ne Yakuwa yali ya muwendo nnyo gye bali ne kiba nti baali beetegefu okufiirwa obulamu bwabwe ku lw’ekyo.

Yakuwa Tajja Kukulekerera

Abavubuka bwe baba nga tebali n’abo be baagala oba be beesiga, bayinza okuwulira nga tebalina bukuumi, nga babuusabuusa era nga beeraliikirira. Kyokka, bayinza okwolekagana n’okugezesebwa nga bakakafu nti ‘Yakuwa tayinza kubalekerera.’ (Zabbuli 94:14) Singa abavubuka ng’abo “[ba]bonyaabonyezebwa olw’obutuukirivu,” Yakuwa ajja kubayamba okweyongera okutambulira mu “kkubo ery’obutuukirivu.”​—1 Peetero 3:14; Engero 8:20.

Yakuwa yanyweza era n’awa empeera, Yusufu, Musa, n’omuwala omuzaana Omuisiraeri, n’abavubuka Abebbulaniya abasatu abeesigwa. Leero, akozesa omwoyo omutuukirivu, Ekigambo kye, n’ekibiina kye okukuuma abo “abalwana okulwana okulungi okw’okukkiriza,” nga atadde mu maaso gaabwe empeera “ey’obulamu obutaggwaawo.” (1 Timoseewo 6:11, 12) Mu butuufu, kisoboka okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa, era ekyo kye kintu eky’amagezi okukola.​—Engero 23:15, 19.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Laba The Watchtower aka Maayi 1, 1996, olupapula 18-20.

^ lup. 5 Amannya agamu gakyusiddwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 11]

ABAZADDE​—MUTEEKETEEKE ABAANA BAMMWE!

“Ng’obusaale, bwe buli mu mukono gw’omuzira, abaana ab’omu buvubuka bwe bali bwe batyo.” (Zabbuli 127:4) Akasaale tekayinza kutuuka gye kagenda mu butanwa. Kalina okulasibwa obulungi. Mu ngeri y’emu, abaana tebajja kusobola kwolekagana n’ebizibu bye basanga mu bulamu bwe batafuna bulagirizi butuufu okuva eri bazadde baabwe awaka.​—Engero 22:6.

Kyangu abavubuka okutwalirizibwa “okwegomba okw’omu buvubuka.” (2 Timoseewo 2:22) Baibuli erabula: “Omuggo n’okunenya bireeta amagezi, naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.” (Engero 29:15) Abavubuka bwe batateekebwako kkomo ku ngeri gye beeyisaamu, kibalemesa okwolekagana n’ebizibu nga tebali waka.

Mu ngeri etegeerekeka era ey’obuvunaanyizibwa, abazadde Abakristaayo banditegeezezza abaana baabwe ebizibu ebibaawo mu bulamu mu nteekateeka y’ebintu bino. Nga tebabamalaamu maanyi, bayinza okwogera ku mbeera embi abavubuka ze bayinza okwesangamu nga tebali waka. Okubategeeza ebintu ebyo awamu n’amagezi agava eri Katonda, kijja “kuwa abatalina magezi obukabakaba, omulenzi abeerenga n’okumanya n’okutesa.”​—Engero 1:4.

Abazadde abakulaakulanya empisa ez’okutya Katonda mu mitima gy’abaana baabwe, babasobozesa okutuuka ku buwanguzi nga boolekaganye n’ebizibu by’obulamu. Okuyiga Baibuli okw’amaka, empuliziganya ennungi, n’okufaayo ku bulungi bw’abaana baabwe, kijja kusobozesa abaana baabwe okutuuka ku buwanguzi. Abazadde balina okutendeka abaana baabwe okutya Katonda mu ngeri ennungi era etagudde lubege basobole okwesalirawo nga bakuze. Okuyitira mu kyokulabirako kyabwe abazadde bayinza okuyigiriza abaana baabwe nti kisoboka okubeera mu nsi naye nga tebali kitundu kyayo.​—Yokaana 17:15, 16.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Abavubuka abamu Abakristaayo beesanze nga balina okuva awaka

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Bwe batekkiriranya nga bagezesebwa, abavubuka bayinza okukoppa Yusufu ne babeera bayonjo mu mpisa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Koppa omuwala omuzaana Omuisiraeri, eyatendereza Yakuwa