Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ku Kumanya Kwammwe Mugatteeko Okwefuga

Ku Kumanya Kwammwe Mugatteeko Okwefuga

Ku Kumanya Kwammwe Mugatteeko Okwefuga

‘Ku kumanya kwammwe mugatteeko okwefuga.’​—2 PEETERO 1:5-8.

1. Ebizibu bingi biriwo lwa kulemererwa kukola ki?

MU KAWEEFUBE ow’amaanyi ow’okuziyiza okunywa enjaga, abavubuka mu Amerika baakubirizibwa nti: “Mugyewale.” Ng’ebizibu bingi tebyandibaddewo singa buli muntu yali asobola okwewala, si njaga yokka, naye n’okunywa ennyo omwenge, empisa ez’obugwenyufu, obukumpanya mu bya bizineesi, ‘n’okwegomba kw’omubiri’! (Abaruumi 13:14) Kyokka, ani ayinza okugamba nti kyangu okwewala okukola ekikyamu?

2. (a) Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebiraga nti okulemererwa okukola ekituufu si kippya? (b) Ebyokulabirako bino byandituyambye kukola ki?

2 Okuva abantu bonna abatatuukiridde bwe bazibuwalirwa okwefuga, twandyagadde okuyiga engeri y’okuvvuunukamu obunafu bwonna bwe twolekagana nabwo. Baibuli eyogera ku bantu abaaliwo mu biseera eby’emabega abaafuba ennyo okuweereza Katonda naye ng’emirundi egimu baalemererwa okukola ekituufu. Jjukira Dawudi n’ekibi eky’obwenzi kye yakola ne Basuseba. Kyaviirako omwana gwe baazaala okufa awamu n’okuttibwa kwa bba wa Basuseba, nga bano bombi baafiira bwemage. (2 Samwiri 11:1-27; 12:15-18) Oba lowooza ku mutume Pawulo eyagamba: “Kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola.” (Abaruumi 7:19) Naawe emirundi egimu weewulira bw’otyo? Pawulo yeeyongera n’agamba: “Nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow’omunda: naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n’etteeka ly’amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w’etteeka ly’ekibi eriri mu bitundu byange. Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno?” (Abaruumi 7:22-24) Ebyokulabirako ebiri mu Baibuli byandituyambye okuba abamalirivu ne tutalekulira nga tufuba okwefuga.

Tulina Okuyiga Okwefuga

3. Nnyonnyola ensonga lwaki si kyangu okwefuga.

3 Okwefuga, okuzingiramu okwewala okukola ekikyamu, kwogerwako mu 2 Peetero 1:5-7 awamu n’okukkiriza, obulungi, okumanya, okugumiikiriza, okwemalira ku Katonda, okwagala ab’oluganda, n’okwagala. Tewali na kimu ku ebyo kye tuzaalibwa nakyo. Tulina okubiyiga. Okusobola okubyoleka ku kigera ekisaanira kyetaagisa obumalirivu n’okufuba. Kati olwo, twandisuubidde okwefuga okuba okwangu?

4. Lwaki abantu bangi bagamba nti tebasanga buzibu mu kwefuga, naye kino kiraga ki?

4 Kituufu nti abantu bangi bagamba nti tebasanga buzibu mu kwefuga. Beeyisa nga bwe baagala, nga batwalirizibwa okwegomba kw’emibiri gyabwe era nga tebalowooza nnyo ne ku ebyo ebiyinza okubatuukako bo bennyini oba abalala. (Yuda 10) Okulemererwa okwewala okukola ekikyamu kweyolese nnyo kati okusinga ne bwe kyali kibadde. Ako kabonero akalaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” Pawulo ze yayogerako ng’agamba: “Ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala [essente], abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, . . . abateegendereza [“abateefuga,” NW].”​—2 Timoseewo 3:1-3.

5. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baagala okumanya engeri gye bayinza okwefugamu, era kubuulirira ki okukyali okw’omuganyulo?

5 Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi bulungi nti si kyangu kwefuga. Okufaananako Pawulo, bamanyi olutalo oluliwo wakati w’okwagala okusanyusa Katonda nga bakolera ku misingi gye n’ekyo omubiri gwaffe ogutatuukiridde kye gwegomba okukola. N’olw’ensonga eno, bulijjo babadde baagala okumanya engeri gye bayinza okuwangulamu olutalo luno. Emabega ddala mu 1916, magazini eno gy’osoma yayogera ku ekyo “kye tusaanidde okukola okusobola okufuga endowooza yaffe, bye twogera n’enneeyisa.” Yakubiriza okulowooza ku Abafiripi 4:8. Okubuulirira okwo okuva eri Katonda kutuganyula leero wadde nga kwaweebwa emyaka nga 2,000 emabega, era nga kirabika kizibu nnyo okukukolerako kati n’okusinga bwe kyali mu kiseera ekyo oba mu 1916. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bafuba nnyo okwewala okwegomba okw’omu nsi, nga bakimanyi nti bwe bakola ekyo, baba bakola Omutonzi waabwe kyabeetaagisa.

6. Lwaki tetwandiweddemu maanyi nga tukulaakulanya okwefuga?

6 Okwefuga kwogerwako mu Abaggalatiya 5:22, 23 ng’ekimu ku ‘bibala by’omwoyo omutukuvu.’ Singa twoleka ekibala kino awamu “[n’o]kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, [n’]obuwoombeefu,” tujja kuganyulwa nnyo. Bwe tukola bwe tutyo, nga Peetero bwe yannyonnyola, tetujja kuba ‘bagayaavu oba abatabala bibala’ mu buweereza bwa Katonda. (2 Peetero 1:8) Naye tetwandiweddemu maanyi oba ne twenyooma singa tulemererwa okwoleka engeri ezo mu bwangu nga bwe twandyagadde. Oboolyawo okimanyi nti mu ssomero omuyizi omu ayinza okuyiga mangu okusinga abalala. Oba ku mulimu omukozi omu ayinza okuyiga ekintu ekippya amangu okusinga bakozi banne. Mu ngeri y’emu, abamu bayiga mangu engeri z’Ekikristaayo okusinga abalala. Ekintu ekikulu kwe kweyongera okukulaakulanya engeri ez’okutya Katonda ng’obusobozi bwaffe bwe buli. Kino tuyinza okukikola nga tweyambisa obulagirizi Yakuwa bw’awa okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina. Ekisinga obukulu si ye sipiidi kwe tuzikulaakulanyizaako, wabula okuba abamalirivu okweyongera okuzikulaakulanya.

7. Kiki ekiraga nti okwefuga kukulu?

7 Okuba nti okwefuga kwe kusembayo okwogerwako mu lukalala lw’ebibala by’omwoyo tekitegeeza nti ekibala ekyo si kikulu ng’ebirala. Tulina okujjukira nti ‘ebikolwa byonna eby’omubiri’ byandibadde byewalibwa singa twali tusobola okwefuga mu ngeri etuukiridde. Kyokka, abantu abatatuukiridde basobola okutwalirizibwa ‘ebikolwa ebimu eby’omubiri ng’obwenzi, obukaba, okusinza ebifaananyi, eby’omusamize, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu.’ (Abaggalatiya 5:19, 20) N’olwekyo, tulina okufuba buli kiseera endowooza embi zireme okusimba amakanda mu mitima gyaffe ne mu birowoozo.

Abamu Bazibuwalirwa Okwefuga Okusinga Abalala

8. Biki ebiviirako abamu okuzibuwalirwa okwefuga?

8 Abakristaayo abamu bazibuwalirwa nnyo okwefuga okusinga abalala. Ekyo kiva ku ki? Kiyinza okuva ku ngeri bazadde baabwe gye baabakuzaamu oba ku ebyo bye bayiseemu mu bulamu. Bwe tuba nga ffe tetuzibuwalirwa kwefuga, ekyo kyandituleetedde essanyu. Naye bwe tuba tukolagana n’abo abalina obuzibu obw’amaanyi obw’okwefuga twandibadde ba kisa era ne tutegeera obuzibu bwe balimu, ne bwe kiba nti obuteefuga bwabwe butuyisa bubi. Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, ani ku ffe alina kw’asinziira okwegulumiriza ku balala?​—Abaruumi 3:23; Abaefeso 4:2.

9. Abamu balina bunafu ki, era obunafu obwo bunaggibwawo ddi?

9 Okuwaayo ekyokulabirako: Tuyinza okuba tukimanyi nti Bakristaayo bannaffe abamu abaleseeyo okunywa sigala oba enjaga emirundi egimu baba baagala nnyo okubikozesa. Oba abamu bakisanga nga kizibu okwefuga nga balya oba nga banywa omwenge. Abalala bayinza okuzibuwalirwa okufuga olulimi lwabwe, n’ekivaamu ne boogera ebisobu. Okusobola okuvvuunuka obunafu ng’obwo kyetaagisa okwefuga. ­Lwaki? ­Yakobo 3:2 wagamba: “Mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n’omubiri gwe gwonna.” Abamu bawulira nga baagala nnyo okukuba zzaala, oba bayinza okukisanga nga kizibu okufuga obusungu bwabwe. Kiyinza okutwala ekiseera okuvvuunuka obunafu buno oba obulala obubufaananako. Wadde nga tuyinza okubaako n’obuwanguzi bwe tutuukako mu kwefuga, okwegomba kuno okubi kujja kumalibwawo bwe tunaafuuka abatuukirivu. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, bwe tunaafuba okwefuga, ekyo kijja kutuyamba obutaddayo mu bulamu obw’ekibi obw’emabega. Nga tweyongera okufuba, ka tuyambe bannaffe nabo beeyongere okukola kye kimu.​—Ebikolwa 14:21, 22.

10. (a) Lwaki abamu bazibuwalirwa okwefuga ku nsonga z’okwetaba? (b) Nkyukakyuka ki ez’amaanyi ow’oluganda omu ze yakola? (Laba akasanduuko ku lupapula 16.)

10 Ekirala abamu mwe bazibuwalirwa okwefuga kwe kwetaba. Yakuwa Katonda yatutonda nga twagala okwetaba. Kyokka, abamu bakisanga nga kizibu nnyo okutuukagana n’emitindo gya Katonda egikwata ku kwetaba. Bayinza okuzibuwalirwa ennyo okwefuga olw’okuba muli bawulira nga baagala nnyo okwetaba. Tuli mu nsi ekulembeza okwetaba ne kiba nti okwegomba okw’okwetaba kusiikuulwa mu ngeri nnyingi. Kino kiyinza okukifuula ekizibu eri Abakristaayo abaagala okusigala obwannamunigina​—waakiri okumala ekiseera​—basobole okuweereza Katonda nga tebawugulibwa bufumbo. (1 Abakkolinso 7:32, 33, 37, 38) Naye okusobola okutuukana n’ekyawandiikibwa ekigamba nti ‘kisingako okuwasa mu kifo ky’okwaka,’ bayinza okusalawo okuyingira obufumbo, era ng’ekyo kirungi. Mu kiseera kye kimu, baba bamalirivu okuwasa ‘mu Mukama waffe mwokka,’ ng’Ebyawandiikibwa bwe bikubiriza. (1 Abakkolinso 7:9, 39) Tuli bakakafu nti Yakuwa abasiima olw’okunywerera ku misingi gye egy’obutuukirivu. Bakristaayo bannaabwe basanyufu nnyo okuba nti bakolagana n’abasinza ng’abo abagolokofu abakulembeza emisingi egyo egya waggulu.

11. Tuyinza tutya okuyamba ow’oluganda oba mwannyinaffe ayagala okufumbirwa naye nga tannafuna gw’ayagala?

11 Kiba kitya singa omuntu tafuna wa kufumbiriganwa naye? Nga kimalamu nnyo amaanyi singa omuntu aba ayagala okuyingira obufumbo naye n’aba nga tannafuna gw’ayagala! Ayinza okulaba mikwano gye nga bawasa era ne bafuna essanyu ery’ekigero, kyokka nga ye akyanoonya bunoonya oyo amusaanira. Abamu abali mu mbeera ng’eyo, bayinza okwenyigira mu muze omubi ogw’okutigaatiga ebitundu byabwe eby’ekyama. Mu ngeri yonna, tewali Mukristaayo eyandyagadde mu bugenderevu okunakuwaza munne afuba okukola ekituufu. Tuyinza okubamalamu amaanyi mu butali bugenderevu singa twogera ebigambo nga bino, “Onoofumbirwa ddi oba onoowasa ddi?” Tuyinza okwogera bwe tutyo nga tetulina kiruubirirwa kibi, naye nga kyandibadde kirungi nnyo singa tufuga olulimi lwaffe! (Zabbuli 39:1) Abo abasigala nga beesigwa nga bali bwannamunigina basaana okwebazibwa ennyo. Mu kifo ky’okwogera ebiyinza okubamalamu amaanyi, twandifubye okwogera ebizimba. Ng’ekyokulabirako, singa tukuŋŋaana okubeerako awamu oba okulya ekijjulo, twandifubye okuyita n’abo abali obwannamunigina.

Okwefuga mu Bufumbo

12. Lwaki n’abafumbo kibeetaagisa okwefuga?

12 Okubeera omufumbo tekiggyawo bwetaavu bwa kwefuga mu by’okwetaba. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku kwetaba, obwetaavu bw’omwami n’obw’omukyala buyinza okwawukana. Oba oluusi embeera omu ku bafumbo gy’abeeramu eyinza obutabasobozesa kwetaba. Oboolyawo olw’ebyo bye yayitamu emabega, omu ku bafumbo ayinza okukisanga nga kizibu okugondera okubuulirira kuno: “Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n’omukazi asasulenga bw’atyo omusajja.” Mu mbeera ng’eyo, munne mu mufumbo kiyinza okumwetaagisa okwefuga mu ngeri esingawo. Naye, bonna basaanidde okujjukira okubuulirira kwa Pawulo eri Abakristaayo abafumbo: “Temummaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n’ebbanga ery’okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw’obuteeziyiza bwammwe.”​—1 Abakkolinso 7:3, 5.

13. Kiki kye twandikoledde abo abafuba okwefuga?

13 Ng’abafumbo baba basanyufu bwe baba nga basobodde okwefuga mu nsonga eno! Mu kiseera kye kimu, kiba kirungi singa bategeera embeera ya basinza bannaabwe abafuba okwefuga mu nsonga eno. Tetwerabiranga kusaba Yakuwa awe baganda baffe mu by’omwoyo okutegeera, obuvumu, n’obumalirivu beeyongere okwefuga era babeeko ne kye bakolawo okusobola okuvvuunuka okwegomba okubi.​—Abafiripi 4:6, 7.

Mweyongere Okuyambagana

14. Lwaki twandifuddeyo era ne tulumirwa Bakristaayo bannaffe?

14 Emirundi egimu, kiyinza okutubeerera ekizibu okutegeera embeera ya Bakristaayo bannaffe abafuba okwefuga mu nsonga ffe gye tutasangamu buzibu. Naye abantu ba njawulo. Abamu batwalirizibwa mangu enneewulira; ate abalala si bwe batyo. Abamu tekibazibuwalira n’akamu okwefuga. Kyokka, abalala bakisanga nga kizibu. Kyokka, kijjukire nti omuntu afuba okwefuga taba mubi. Twetaaga okufaayo n’okulumirwa Bakristaayo bannaffe. Bwe tweyongera okulaga ekisa abo abafuba okwefuga naffe tuganyulwa. Ekyo tukirabira mu bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 5:7.

15. Lwaki ebigambo ebiri mu Zabbuli 130:3 bibudaabuda nnyo ku bikwata ku kwefuga?

15 Tetwandyagadde kulowooza bubi ku Mukristaayo munnaffe emirundi egimu ayinza okulemererwa okwoleka engeri z’Ekikristaayo. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ng’oggyeko okuba nti Yakuwa alaba omulundi ogumu lwe tuba tulemereddwa okwefuga, alaba n’emirundi emingi lwe tuba tusobodde okwefuga, wadde ng’emirundi egyo Bakristaayo bannaffe bayinza obutagiraba. Kibudaabuda nnyo okulowooza ku bigambo ebiri Zabbuli 130:3: “Mukama, bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?”

16, 17. (a) Ku bikwata ku kwefuga tuyinza tutya okussa mu nkola Abaggalatiya 6:2, 5? (b) Kiki kye tugenda okuddako okwekenneenya ku bikwata ku kwefuga?

16 Okusobola okusanyusa Yakuwa, buli omu ku ffe ateekwa okufuba okwefuga, era tuyinza okuba abakakafu nti baganda baffe Abakristaayo bajja kutuwagira. Wadde nga buli omu alina okwetikka obuvunaanyizibwa bwe, tukubirizibwa okuyambagana okuvvuunuka obunafu bwaffe. (Abaggalatiya 6:2, 5) Twandisiimye omuzadde, munnaffe mu bufumbo, oba mukwano gwaffe atukugira okugenda mu kifo kye tutasaanidde kugendamu, atukugira okulaba ebintu bye tutalina kulaba, oba atukugira okukola ebintu bye tutalina kukola. Omuntu ng’oyo aba atuyamba okwefuga, kwe kugamba, okwewala okukola ekikyamu.

17 Abakristaayo bangi bayinza okugamba nti bakkiriziganya n’ebyo bye twogeddeko ku bikwata ku kwefuga, naye bayinza okwewulira nti balina we beetaaga okulongoosaamu. Bandyagadde okwefuga mu ngeri esingawo, ku kigero ekisuubirwa abantu abatatuukiridde. Naawe bw’otyo bw’owulira? Kati olwo, kiki ky’oyinza okukola okusobola okukulaakulanya ekibala kino eky’omwoyo gwa Katonda? Era okukola ekyo kinaakuyamba kitya okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omu maaso eby’Ekikristaayo? Ka tulabe eby’okuddamu mu kitundu ekiddako.

Ojjukira?

Lwaki Okwefuga . . .

• kusaanidde okukulaakulanyizibwa Abakristaayo?

• kuzibuwalira abamu?

• kwetaagisa mu bufumbo?

• ngeri gye tuyinza okuyambagana okukulaakulanya?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Yayiga Okwefuga

Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abeera mu Bugirimaani yali akola nga makanika. Omulimu gwe gwali guzingiramu okulaba nti programu 30 eza ttivi ne rediyo zitambula bulungi. Bwe waabangawo okutaataaganyizibwa, yalinanga okwekebejja programu eyo asobole okuzuula ensobi kw’evudde. Agamba bw’ati: “Okutaataaganyizibwa kwabangawo mu kiseera ekikyamu, nga kuliko programu y’ebikolwa eby’ettemu oba eby’okwetaba. Ebintu ebyo ebibi bye nnalabanga byasigalanga mu birowoozo byange okumala ennaku eziwerera ddala, oluusi wiiki na wiiki nga gy’obeera biteekeddwa mu bwongo bwange.” Agamba nti kino kyamukosa nnyo mu by’omwoyo: “Nkwatibwa mangu obusungu, n’olwekyo bye nnalaba ebikwata ku ttemu byayongera okukifuula ekizibu okwefuga. Ebikwata ku kwetaba bye nnalaba byaleetawo obuzibu wakati wange ne mukyala wange. Buli lunaku nnalwanagananga n’ebirowoozo ebyo ebibi. Okusobola okutuuka ku buwanguzi, nnasalawo okunoonya omulimu omulala, wadde nga kyandiviiriddeko okufuna omusaala omutono. Gye buvuddeko awo nnasobola okugufuna. Kye nnayagalanga nsobodde okukituukako.”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Bye tuyiga okuva mu kwesomesa Baibuli bituyamba okwefuga