Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuyinza Okwesiga Omuntu Yenna?

Tuyinza Okwesiga Omuntu Yenna?

Tuyinza Okwesiga Omuntu Yenna?

OLUVANNYUMA lw’okumenyebwa kw’ekisenge ky’e Berlin mu 1989, ebyama bingi nnyo byabotolwa. Ng’ekyokulabirako, Lydia * yakizuula nti mu kiseera ky’obufuzi bwa Nnakalyako Ani mu East Germany, Stasi oba Ekitongole Ekikola ku by’Okwerinda mu ggwanga kyamukettanga. Bwe kiba nti Lydia kyamwewuunyisa okumanya nti baali bamuketta, kyamuggya enviiri ku mutwe okutegeera nti omuntu eyabuuliranga ekitongole ekyo bye yakolanga yali mwami we kennyini. Yali aliiriddwamu olukwe omuntu gwe yandibadde yeesigira ddala.

Omwami omukulu ayitibwa Robert yali atwala omusawo we okuba “ow’ekitiibwa, ng’amwenyumirizaamu nnyo era ng’amwesiga,” bwe lutyo olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Times olw’omu London bwe lwagamba. Omusawo ono yayogerwangako ng’omuntu “ow’ekisa era afaayo ku bantu.” Kyokka, Robert yafa ekibwatukira. Yafa mutima oba kusannyalala? Nedda. Ab’obuyinza baagamba nti omusawo oyo yagenda mu maka ga Robert, nga Robert n’ab’omu maka ge tebamanyi, bw’atyo n’amukuba empiso ey’obutwa. Kiteeberezebwa nti Robert yattibwa omuntu gwe yali ataddemu ennyo obwesige.

Lydia ne Robert baalibwamu olukwe abantu be baali bataddemu obwesige, era ebyavaamu byali bibi nnyo. Mu mbeera ezimu, ebivaamu tebiba bibi nnyo. Wadde kiri kityo, kya bulijjo omuntu gwe twesiga okutulyamu olukwe. Alipoota eyafulumizibwa abantu abakola ku kunoonyereza mu Bugirimaani, eyitibwa Allensbacher Jahrbuch der Demoskopie 1998-2002, (Ekitabo ky’Omwaka Ekya Allensbach Ekirimu Ebirowoozo by’Abantu) yalaga nti mu kunoonyereza okumu, abantu 86 ku buli kikumi ku abo abaabuuzibwa ebibuuzo, baagamba nti baali baliiriddwamu olukwe abantu be baali bataddemu obwesige. Oboolyawo naawe ekyo kyali kikutuuseeko. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti olupapula lw’amawulire oluyitibwa Neue Zürcher Zeitung olw’omu Swiss lwagamba mu 2002 nti “mu nsi z’omu Bulaaya ne Amereka, enkolagana ezeesigamiziddwa ku bwesige zigenze zisereba mu makumi g’emyaka egize giyitawo.”

Kitwala Ekiseera Okuteeka Obwesige mu Muntu, Naye Kyangu Nnyo Okubumuggyamu

Obwesige kye ki? Okusinziira ku nkuluze emu, okwesiga abalala kitegeeza okukkiriza nti “ba mazima era nti beesimbu nga tebasobola kukola kintu kyonna mu bugenderevu ekiyinza okukulumya.” Kitwala ebbanga okuteeka obwesige mu muntu, kyokka okubumuggyamu n’akataayi tekasala kkubo. Ng’abasinga obungi bakirabye nti obwesige bwe babadde batadde mu bantu tebuvuddemu kalungi, kyanditwewuunyisizza okulaba nti abantu tebanguyirwa kwesiga balala? Okusinziira ku kunoonyereza okw’omu Bugirimaani okwafulumizibwa mu 2002, kyamanyika nti “omuvubuka omu yekka ku buli bavubuka basatu ye yeesiga abalala.”

Tuyinza okwebuuza: ‘Ddala tuyinza okwesiga omuntu yenna? Kya magezi okussa obwesige mu muntu oboolyawo ayinza n’okutulyamu olukwe?’

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Amannya gakyusiddwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 3]

Mu kunoonyereza okumu, abantu 86 ku buli kikumi ku abo abaabuuzibwa ebibuuzo, baagamba nti baali baliiriddwamu olukwe abantu be baali bataddemu obwesige