Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda’

‘Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda’

‘Kozesa Bulungi Ekigambo kya Katonda’

“Fubanga okusiimibwa Katonda, obeere omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.”​—2 TIMOSEEWO 2:15, NW.

1, 2. (a) Lwaki abakozi beetaaga eby’okukozesa? (b) Mulimu ki Abakristaayo gwe beenyigiddemu, era balaga batya nti basooka kunoonya Bwakabaka?

ABAKOZI beetaaga eby’okukozesa okusobola okukola emirimu gyabwe. Naye, tekimala okubeera obubeezi n’eky’okukozesa eky’engeri yonna. Omukozi yeetaaga eky’okukozesa ekituufu, era ateekwa okukikozesa mu ngeri ennungi. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ozimba ekigango, n’oyagala okukomerera awamu embaawo bbiri, tekimala kubeera na nnyondo na misumaali byokka. Naye era kikwetaagisa okumanya engeri y’okukomereramu omusumaali mu lubaawo nga toguweseemu. Okugezaako okukomerera omusumaali mu lubaawo nga tomanyi kukozesa nnyondo, kiyinza okukubeerera ekizibu ennyo. Naye, eby’okukozesa singa bikozesebwa bulungi, bisobola okutuyamba okukola emirimu gyaffe mu ngeri ematiza.

2 Ng’Abakristaayo, tulina omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. Yesu Kristo yakubiriza abagoberezi be ‘okusooka okunoonya obwakabaka.’ (Matayo 6:33) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Engeri emu, kwe kubeera abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Engeri endala kwe kwesigamya obuweereza bwaffe ku Kigambo kya Katonda. Engeri ey’okusatu, kwe kubeera n’empisa ennungi. (Matayo 24:14; 28:19, 20; Ebikolwa 8:25; 1 Peetero 2:12) Okusobola okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’Ekikristaayo era n’okubeera abasanyufu nga tugukola, twetaaga eby’okukozesa ebituufu era n’okumanya engeri y’okubikozesaamu obulungi. Ku nsonga eno, omutume Pawulo yateekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ng’omukozi Omukristaayo omunyiikivu, era n’akubiriza bakkiriza banne okumukoppa. (1 Abakkolinso 11:1; 15:10) Kati olwo, kiki kye tuyinza okuyigira ku Pawulo, mukozi munnaffe?

Pawulo​—Omulangirizi w’Obwakabaka Omunyiikivu

3. Lwaki kiyinza okugambibwa nti omutume Pawulo yali mukozi omunyiikivu?

3 Pawulo yali mukozi wa ngeri ki? Awatali kubuusabuusa yali munyiikivu. Pawulo yakola bwezizingirire okubunyisa amawulire amalungi mu bitundu bingi ebyetoolodde Ennyanja Meditereniyani. Ng’awa ensonga lwaki yali alangirira Obwakabaka n’obunyiikivu, omutume ono eyakolanga obutaweera yagamba: “Bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.” (1 Abakkolinso 9:16) Pawulo yali ayagala kulokola bulamu bwe bwokka? Nedda. Teyali muntu eyeerowoozaako yekka. Wabula, yali ayagala n’abantu abalala nabo baganyulwe mu mawulire amalungi. Yawandiika: “Nkola byonna olw’enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.”​—1 Abakkolinso 9:23.

4. Kya kukozesa ki abakozi Abakristaayo kye batwala ng’eky’omuwendo ennyo?

4 Pawulo yali mwetoowaze era ng’amanyi nti tayinza kwesigama ku busobozi bwe. Okufaananako omubazzi eyeetaaga ennyondo, Pawulo naye yali yeetaaga eky’okukozesa ekituufu okusobola okuyigiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda gasobole okutuuka ku mitima gy’abantu abaali bamuwuliriza. Kiki kye yasinga okukozesa? Yasinga kukozesa Kigambo kya Katonda, Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Mu ngeri y’emu, Baibuli kye ky’okukozesa ekikulu kye twetaaga okusobola okufuula abantu abayigirizwa.

5. Okusobola okubeera abaweereza abayigiriza obulungi, kiki kye twetaaga okukola ng’oggyeko okujuliza ebyawandiikibwa?

5 Pawulo yali amanyi nti okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda kyali kisingawo ku kukijuliza obujuliza. Yayigirizanga mu ‘ngeri esikiriza.’ (Ebikolwa 28:23) Atya? Pawulo yakozesa bulungi Ekigambo kya Katonda okuyamba bangi okukkiriza amazima g’Obwakabaka. Yakubaganyanga nabo ebirowoozo. Pawulo yamala emyezi essatu mu kuŋŋaaniro mu Efeso, ‘ng’ayogera n’obuvumu era ng’ayigiriza mu ngeri esikiriza ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda.’ Wadde “ng’abamu baakakanyala ne batawulira,” abalala baawuliriza. Olw’obuweereza bwa Pawulo mu Efeso, “ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga amaanyi ne kiwangula.”​—Ebikolwa 19:8, 9, 20.

6, 7. Pawulo yagulumiza atya obuweereza bwe, era naffe tusobola tutya okubugulumiza?

6 Ng’omulangirizi w’Obwakabaka omunyiikivu, Pawulo ‘yagulumiza obuweereza bwe.’ (Abaruumi 11:13) Mu ngeri ki? Yali tayagala kwegulumiza, era yali takwatibwa nsonyi okumanyibwa mu lujjudde ng’omu ku abo abakolera awamu ne Katonda. Wabula, yatwala obuweereza bwe okuba enkizo esingayo okuba ey’ekitiibwa. Pawulo yakozesa bulungi Ekigambo kya Katonda. Obuweereza bwe obwali buvaamu ebibala bwakubiriza abalala, era ne bubayamba okutuukiriza obuweereza bwabwe mu ngeri esingawo. Ne mu ngeri eno, obuweereza bwe bwagulumizibwa.

7 Okufaananako Pawulo, naffe tusobola okugulumiza obuweereza bwaffe nga tukozesa bulungi Ekigambo kya Katonda era nga tukikozesa emirundi mingi. Mu mbeera zonna ez’obuweereza bwaffe, ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde okukubaganya ebirowoozo okuva mu Byawandiikibwa n’abantu bangi nga bwe kisoboka. Ekyo tuyinza kukikola tutya mu ngeri esikiriza? Weekenneenye engeri ssatu enkulu: (1) Kozesa Ekigambo kya Katonda mu ngeri esobozesa abalala okukissaamu ekitiibwa. (2) N’obwegendereza, bannyonnyole ebyo Baibuli by’eyogerako era obalage engeri gye bibakwatako. (3) Kubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa mu ngeri ematiza.

8. Bintu ki leero bye tukozesa okubuulira Obwakabaka, era obikozesezza otya?

8 Abalangirizi b’Obwakabaka ab’omu kiseera kino balina eby’okukozesa Pawulo bye yali talina. Bino bizingiramu ebitabo, magazini, obutabo, obupapula obuliko endagiriro, tulakiti, n’entambi za vidiyo. Mu kyasa ekiyise, baakozesanga kaadi ezaabangako amawulire amalungi, emmotoka ezaabangako emizindaalo, gramufomu, n’emikutu gya rediyo. Kya lwatu, eky’okukozesa kyaffe ekisinga obukulu ye Baibuli, era twagala okugikozesa obulungi.

Obuweereza Bwaffe Bulina Kwesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda

9, 10. Ku bikwata ku kukozesa Ekigambo kya Katonda, kiki kye tusobola okuyigira ku ngeri Pawulo gye yabuuliriramu Timoseewo?

9 Tusobola tutya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda? Nga tugoberera ebigambo bino Pawulo bye yategeeza mukozi munne Timoseewo ng’agamba nti: “Fubanga okusiimibwa Katonda, obeere omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Biki ebizingirwa mu “kukozesa obulungi ekigambo eky’amazima”?

10 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okukozesa obulungi,” kitegeeza “okusala obutereevu” oba “okutema ekkubo ettereevu.” Ekigambo ekyo kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani nga Pawulo abuulirira Timoseewo. Ekigambo kye kimu kiyinza okukozesebwa okunnyonnyola okutema oluwangi olutereevu mu nnimiro. Kiba kya buswavu omulimi alina obumanyirivu okutema oluwangi olukyamye. Timoseewo yajjukizibwa nti okusobola okubeera “omukozi atakwatibwa nsonyi,” teyalina kuva ku njigiriza entuufu ez’Ekigambo kya Katonda. Timoseewo yali talina kuwa ndowooza ye ng’ayigiriza. Yalina okukozesa Ebyawandiikibwa ng’abuulirira era ng’ayigiriza. (2 Timoseewo 4:2-4) Mu ngeri eyo, abantu ab’emitima emirungi bandiyambiddwa okufuna endowooza ya Yakuwa, so si okugoberera obufirosoofo bw’ensi. (Abakkolosaayi 2:4, 8) Era bwe kityo bwe kiri ne leero.

Empisa Zaffe Ziteekwa Kuba Nnungi

11, 12. Empisa zaffe zirina kakwate ki n’okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda?

11 Tuteekwa okukola ekisingawo ku kukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tulangirira amazima agakirimu. Empisa zaffe ziteekwa okuba nga zituukagana n’amazima ago. ‘Tukolera wamu ne Katonda,’ n’olwekyo tetulina kubeera bakozi bannanfuusi. (1 Abakkolinso 3:9) Ekigambo kya Katonda kigamba: “Kale ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka? abuulira obutabbanga, obba? ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby’omu biggwa?” (Abaruumi 2:21, 22) N’olwekyo, ng’abakozi ba Katonda ab’omu kiseera kino, engeri emu gye tukozesaamu obulungi Ekigambo kya Katonda, kwe kugoberera okubuulirira kuno: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”​—Engero 3:5, 6.

12 Biki bye tusuubira okuvaamu bwe tukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda? Lowooza ku ngeri amaanyi g’Ekigambo kya Katonda gye gayinza okukola ku bulamu bw’abantu ab’emitima emirungi.

Ekigambo kya Katonda Kisobola Okukyusa Abantu

13. Omuntu bw’assa mu nkola Ekigambo kya Katonda, kiyinza kumukolako ki?

13 Singa abantu beesiga Ekigambo kya Katonda, obubaka obukirimu busobola okubayamba okukola enkyukakyuka ez’amaanyi ennyo mu bulamu bwabwe. Pawulo yali amaze okulaba engeri Ekigambo kya Katonda gye kikolamu era ng’alabye emiganyulo gyakyo mu bulamu bw’abo abaali bafuuse Abakristaayo mu Sessaloniika. N’olwekyo yabagamba: “Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n’okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.” (1 Abasessaloniika 2:13) Eri Abakristaayo abo era n’eri abagoberezi ba Kristo ab’amazima bonna, ebirowoozo by’omuntu ebya wansi ennyo tebiyinza kugeraageranyizibwa n’amagezi aga waggulu agava eri Katonda. (Isaaya 55:9) Abasessaloniika “[bakkiriza] ekigambo mu kubonaabona okungi, n’essanyu ery’omwoyo omutukuvu” era ne bafuuka ekyokulabirako eri abakkiriza abalala.​—1 Abasessaloniika 1:5-7.

14, 15. Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bwa maanyi kwenkana wa era lwaki?

14 Okufaananako ensibuko yaakyo Yakuwa, Ekigambo kya Katonda kya maanyi. Kiva eri “Katonda omulamu,” oyo ‘eyakola eggulu mu kigambo kye’ era ng’ekigambo ekyo bulijjo ‘kituukiriza ekyo ky’akitumira.’ (Abaebbulaniya 3:12; Zabbuli 33:6; Isaaya 55:11) Omwekenneenya omu owa Baibuli yagamba: “Katonda tava ku Kigambo kye. Tayinza kukyegaana nga gy’obeera tekimukwatako. . . . N’olwekyo, ayagala okumanya ebivaamu oluvannyuma lw’okukisoma; kitusobozesa okuba obumu ne Katonda omulamu.”

15 Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bwa maanyi kwenkana wa? Bulina amaanyi mangi nnyo. Mu ngeri etuukirawo, Pawulo yawandiika: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.”​—Abaebbulaniya 4:12.

16. Ekigambo kya Katonda kikoma wa mu kukyusa omuntu?

16 Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda ‘busala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri.’ N’olwekyo, kisala nnyo okusinga ekyuma kyonna omuntu ky’akoze. Ekigambo kya Katonda kituukira ddala munda mu mutima gw’omuntu era kiyinza okumukyusa, ne kibaako kye kikola ku ngeri gy’alowoozaamu era ne ku ebyo by’ayagala era ne kimuleetera okubeera omukozi asiimibwa Katonda. Nga kya maanyi nnyo!

17. Nnyonnyola engeri Ekigambo kya Katonda gye kiyinza okukyusaamu omuntu.

17 Ekigambo kya Katonda kisobola okulaga omuntu ky’ali munda so si ekyo kye yeetwala okubeera oba ky’ayagala abalala bamanye. (1 Samwiri 16:7) N’omuntu omubi ebiseera ebimu asobola okukweka ky’ali munda nga yeefuula okuba ow’ekisa oba munnaddiini. Abantu ababi beefuula okuba kye batali basobole okukola obubi. Abantu ab’amalala beefuula okuba abawombeefu nga baagala abalala babatendereze. Kyokka, Ekigambo kya Katonda bwe kibikkula ekyo ekiri mu mutima, kisobola okuyamba omuntu omuwombeefu okwambula omuntu ow’edda “n’ayambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.” (Abaefeso 4:22-24) Era enjigiriza z’Ekigambo kya Katonda ziyinza okuyamba abatiitizi okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa abavumu era abalangirizi b’Obwakabaka abanyiikivu.​—Yeremiya 1:6-9.

18, 19. Okusinziira ku butundu buno oba ku byokulabirako ebibyo ku bubwo ebiva mu nnimiro, laga engeri amazima g’omu Byawandiikibwa gye gayinza okukyusa endowooza z’abantu.

18 Ekigambo kya Katonda kisobozesa abantu okukola enkyukakyuka ennungi. Ng’ekyokulabirako, abalangirizi b’Obwakabaka ab’omu Phnom Penh, Cambodia, baabuulira mu kitundu ky’e ­Kompong Cham emirundi ebiri buli mwezi. Oluvannyuma lw’okuwulira bapaasita abalala nga ­boogera bubi ku Bajulirwa ba Yakuwa, paasita ow’omu kitundu ekyo yakola enteekateeka okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa nga bazze mu kitundu ekyo omulundi omulala. Yababuuza ebibuuzo eby’okumukumu ebikwata ku kukuza ennaku era n’awuliriza bulungi nga bannyonnyola okuva mu Byawandiikibwa. Awo n’alyoka agamba: “Kati nkitegedde nti bapaasita bannange bye baaboogerako si bituufu! Baagamba nti temukozesa Baibuli, naye Baibuli gye mukozesezza amakya gano gonna!”

19 Omukyala oyo teyalekayo kuyiga n’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baamutiisatiisa okumuggyako obwa pasita. Yategeezaako mukwano gwe bye yali ayiga okuva mu Byawandiikibwa, era naye n’atandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Mukwano gwe yanyumirwa nnyo bye yali ayiga n’atuuka n’okutegeeza be yali ayigiriza mu kkanisa ye nti, “Muyige Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa!” Amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, omukyala oyo eyali paasita, mukwano gwe, awamu n’abalala, baatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.

20. Ekyokulabirako ky’omukyala mu Ghana kiraga kitya amaanyi g’Ekigambo kya Katonda?

20 Era amaanyi g’Ekigambo kya Katonda galabikira mu ebyo ebyatuuka ku Paulina, omukyala abeera mu Ghana. Omulangirizi w’Obwakabaka ow’ekiseera kyonna yatandika okuyiga naye Baibuli mu katabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. * Paulina yali afumbiddwa omusajja alina abakazi abangi naye n’alaba nti kimwetaagisa okukola enkyukakyuka, kyokka omwami we awamu n’ab’eŋŋanda ze bonna tebaakisanyukira. Jjajjaawe eyali omulamuzi mu kkooti enkulu ate era nga mukadde mu kkanisa, yagezaako okumukubiriza obutannoba ng’akozesa Matayo 19:4-6 mu bukyamu. Ebigambo omulamuzi oyo bye yali ayogera byalabika ng’ebituufu, naye Paulina yakitegeera mangu nti ekyo kyali kifaanagana n’ekyo Setaani kye yakola bwe yannyoolannyola Ebyawandiikibwa nga akema Yesu Kristo. (Matayo 4:5-7) Yajjukira ebigambo bya Yesu ebikwata ku bufumbo nti, Katonda yatonda omusajja n’omukazi, so si omusajja n’abakazi, era nti bombi, so si bonsatule, bandibadde omubiri gumu. Yanywerera ku kusalawo kwe era n’akkirizibwa okugatululwa ne mwami we. Mangu ddala, yafuuka omulangirizi w’Obwakabaka omubatize era omusanyufu.

Weeyongere Okukozesa Obulungi Ekigambo kya Katonda

21, 22. (a) Bumalirivu ki bwe twagala okubeera nabwo ng’abalangirizi b’Obwakabaka? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

21 Mazima ddala, Ekigambo kya Katonda kya maanyi nnyo era tuyinza okukikozesa okuyamba abantu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Yakobo 4:8) Ng’abakozi abalina obumanyirivu bwe bakozesa ebyuma okukola omulimu omulungi, naffe ka tubeere bamalirivu okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda, Baibuli, nga tuli mu mulimu Katonda gw’atuwadde ogw’okulangirira Obwakabaka.

22 Tusobola tutya okukozesa Ebyawandiikibwa mu ngeri esingayo obulungi mu mulimu gwaffe ogw’okufuula abantu abayigirizwa? Engeri emu kwe kuyiga okuyigiriza mu ngeri ematiza. Osabibwa okwekenneenya n’obwegendereza ekitundu ekiddako kubanga kijja kutulaga engeri y’okuyigirizaamu era n’okuyamba abalala okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 20 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Bya kukozesa ki abalangirizi b’Obwakabaka bye balina?

• Mu ngeri ki Pawulo gye yali ekyokulabirako ekirungi ng’omubuulizi w’Obwakabaka?

• Kiki ekizingirwa mu kukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda?

• Ekigambo kya Yakuwa kya maanyi kwenkana wa?

[Ebibuuo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Ebintu ebimu Abakristaayo bye bakozesa mu mulimu gwabwe ogw’okulangirira Obwakabaka