Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Mulagenga Okusiima’

‘Mulagenga Okusiima’

‘Mulagenga Okusiima’

‘Emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe era mulagenga okusiima.’​—ABAKKOLOSAAYI 3:15.

1. Njawulo ki eriwo wakati w’ekibiina Ekikristaayo n’ensi eri mu buyinza bwa Setaani?

ABAJULIRWA ba Yakuwa mu bibiina 94,600 okwetooloola ensi, booleka omwoyo gw’okusiima. Buli lukuŋŋaana lutandika era ne lufundikira n’okusaba okubeeramu ebigambo ebisiima Yakuwa. Bulijjo tuwulira ebigambo nga “weebale” “nsiimye”, n’ebirala ebirina amakulu ge gamu nga byogerwa abato n’abakulu, abapya awamu n’Abajulirwa abaludde mu mazima, bwe baba bakuŋŋaanye wamu okusinza n’okutabagana. (Zabbuli 133:1) Nga kino kyawukana nnyo ku mwoyo ogw’okwerowoozaako oguli mu abo ‘abatamanyi Yakuwa era abatagondera mawulire malungi’! (2 Abasessaloniika 1:8) Ensi mwe tuli terina kusiima. Kino tekitwewuunyisa bwe tumanya nti katonda w’ensi eno ye Setaani Omulyolyomi, era nga y’asingirayo ddala okukubiriza omwoyo guno ogw’okwerowoozaako, era nga n’omwoyo gwe ogw’obujeemu n’amalala gweyolekera mu bantu be.​—Yokaana 8:44; 2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19.

2. Kubuulirira ki kwe twetaaga okussaako omwoyo, era bibuuzo ki bye tujja okwetegereza?

2 Olw’okuba twetooloddwa ensi ya Setaani, tulina okwegendereza obutatwalirizibwa ndowooza zaayo. Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yajjukiza Abakristaayo ab’omu Efeso nti: ‘Mwatambulanga edda ng’emirembe egy’ensi eno bwe giri, ne mugobereranga omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira; era naffe fenna twatambuliranga edda mu kwegomba kw’omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n’ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw’obuzaaliranwa abaana b’obusungu, nga n’abalala.’ (Abaefeso 2:2, 3) Ne leero bangi bwe batyo bwe bali. Kati olwo, ffe tuyinza tutya okweyongera okulaga omwoyo gw’okusiima? Yakuwa atuwa buyambi ki? Tuyinza tutya okulaga nti tulina omwoyo gw’okusiima?

Ensonga Ezituleetera Okusiima

3. Biki ebituleetera okusiima Yakuwa?

3 Yakuwa Katonda, Omutonzi era Omuwi w’Obulamu, gwe tulina okusiima, naddala bwe twetegereza ebimu ku birabo ebirungi by’atuwadde mu bungi. (Yakobo 1:17) Buli lunaku, twebaza Yakuwa olw’okutukuuma nga tuli balamu. (Zabbuli 36:9) Okutwetooloola, tulaba ebintu bye yatonda, ng’enjuba, omwezi, n’emmunyeenye. Ensi yaffe erimu ebintu bingi ebibeesaawo obulamu era eriko enkola ezisobozesa empeewo n’amazzi ebimala okubaawo. Obwengula bwaffe bulimu emikka egiri mu bigera ebituufu era nga bino byonna biraga ebbanja lye tulina eri Kitaffe ow’okwagala ow’omu ggulu. Dawudi yagamba: “Ebikolwa eby’ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, n’ebirowoozo byo ebiri gye tuli: tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; singa mbadde njagala okubibuulira n’okubyogerako, tebibalika bungi.”​—Zabbuli 40:5.

4. Lwaki tusaanidde okusiima Yakuwa olw’oluganda olulungi lwe tulina mu bibiina byaffe?

4 Wadde ng’abaweereza ba Yakuwa leero tebali mu lusuku lwa Katonda ku nsi, beeyagalira mu lusuku olw’eby’omwoyo. Mu Bizimbe byaffe eby’Obwakabaka ne mu nkuŋŋaana ennene, tulaba nga bakkiriza banaffe booleka ebibala by’omwoyo gwa Katonda. Mu butuufu, bwe baba babuulira abantu abamanyi ebitono oba abatalina kye bamanyi ku by’eddiini, Abajulirwa abamu bajuliza ebigambo Pawulo bye yayogera mu baluwa ye eri Abaggalatiya. Basooka kwogera nabo ku “bikolwa eby’omubiri” era ne bababuuza obanga babiraba. (Abaggalatiya 5:19-23) Bangi bakkiriza mangu nti abantu booleka ebikolwa ebyo leero. Bwe bannyonnyolwa ebibala by’omwoyo gwa Katonda era ne bayitibwa okujja mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu, ne beerabirako n’agaabwe ebibala bino, bangi bakkiriza mangu nti: “Katonda ali mu mwe ddala.” (1 Abakkolinso 14:25) Omwoyo guno tebagwoleseza mu Bizimbe by’Obwakabaka yokka. Wonna w’oyinza okugenda buli yenna gw’osanga ku Bajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omukaaga, ayoleka omwoyo gwe gumu ogw’essanyu. Mazima ddala, twebaza Yakuwa olw’okutuwa omwoyo gwe ogutusobozesa okuba n’oluganda ng’olwo oluzimba.​—Zeffaniya 3:9; Abaefeso 3:20, 21.

5, 6. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekinunulo, ekirabo kya Katonda ekisingirayo ddala?

5 Ekirabo ekisinga obulungi Yakuwa kye yali atuwadde, ky’eky’omwana we eyaweebwayo ng’ekinunulo ku lwaffe. “Nga Katonda bwe yatwagala,” omutume Yokaana bwatyo bwe yawandiika, “naffe kitugwanira okwagalananga.” (1 Yokaana 4:11) Yee, tulaga nti tusiima ekinunulo si nga twoleka okwagala eri Yakuwa kyokka naye era nga tutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eraga nti twagala abalala.​—Matayo 22:37-39.

6 Tuyinza okuyiga ebisingawo ku ngeri gye tusobola okulaga okusiima nga twetegereza engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Isiraeri ow’edda. Yayigiriza bingi Abaisiraeri ng’ayitira mu Mateeka ge yawa Musa. Okuyitira mu ‘kumanya n’amazima agali mu Mateeka,’ tulina bingi bye tusobola okuyiga ebinaatuyamba okugoberera okubuulirira kwa Pawulo: ‘Mulagenga okusiima.’​—Abaruumi 2:20; Abakkolosaayi 3:15.

Eby’Okuyiga Bisatu Okuva mu Mateeka ga Musa

7. Enteekateeka y’okuwaayo ekimu eky’ekkumi yasobozesa etya Abaisiraeri okulaga okusiima Yakuwa?

7 Mu Mateeka ga Musa, Yakuwa yalaga engeri satu Abaisiraeri mwe bandiragidde nti basiima obulungi bwe. Okusooka, waaliwo okuwa ekimu eky’ekkumi. Eky’ekkumi eky’amakungula wamu ne “eby’ekkumi eby’ente oba eby’endiga,” byali bya kuba “bitukuvu eri Mukama.” (Eby’abaleevi 27:30-32) Abaisiraeri bwe baakwatanga amateeka ago, Yakuwa yabawanga emikisa mingi. “Muleete ekitundu eky’ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw’ayogera Mukama w’eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.”​—Malaki 3:10.

8. Njawulo ki eyaliwo wakati w’okuwaayo kyeyagalire n’okuwaayo ekimu eky’ekkumi?

8 Ekyokubiri, okuggata ku kuwaayo ekimu eky’ekkumi, Yakuwa yateekerawo Abaisiraeri enteekateeka ey’okuwaayo kyeyagalire. Yalagira Musa okugamba Abaisiraeri nti: “Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala, awo olunaatuukanga, bwe munaalyanga ku mugaati ogw’ensi, munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama.” Ebimu ku bibala ebibereberye ‘eby’omugaati gwabwe ‘ byali bya kuweebwayo nga “ekiweebwayo eri Mukama” ennaku zonna. Weetegereze nti tewali muwendo mugereke ogw’ebibala ebibereberye. (Okubala 15:18-21) Naye Abaisiraeri bwe baawangayo nga balaga okusiima, baali bakakafu nti bajja kufuna emikisa gya Yakuwa. Enteekateeka y’emu erabikira ne mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku yeekaalu. Wagamba: “N’ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone byammwe byonna binaabanga bya bakabona; era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka okutuuza omukisa ku nnyumba yo.”​—Ezeekyeri 44:30.

9. Kiki Yakuwa kye yayigiriza ng’ayitira mu nteekateeka ey’obutakuŋŋaanya ebisigadde mu nnimiro?

9 Ekyokusatu, Yakuwa yassaawo enteekateeka ey’obutakuŋŋaanya ebiba bisigadde mu nnimiro. Katonda yalagira bw’ati: “Bwe munaakungulanga ebikungulwa by’ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tokuŋŋaanyanga ebyerebwa ku bikungulwa byo. So toyeranga mu lusuku lwo olw’emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw’emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n’omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.” (Abaleevi 19:9, 10) Ate era na wano tewali mutemwa mugereke. Kyali eri buli Muisiraeri okwesalirawo ku bungi bw’ebyo bye yandirekedde abaali mu bwetaavu. Kabaka ow’amagezi Sulemaani yannyonnyola bulungi: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” (Engero 19:17) Mu ngeri eyo Yakuwa yayigiriza okulaga ekisa n’okufaayo ku abo abali mu bwetaavu.

10. Biki ebyavaamu Abaisiraeri bwe baalemererwa okulaga okusiima?

10 Yakuwa yawa Abaisiraeri emikisa bwe baakwata eteeka ery’okuwaayo ekimu eky’ekkumi, bwe bawaayo kyeyagalire, era ne bwe baabangako kye bawa abaavu. Naye Abaisiraeri bwe baalemererwa okulaga okusiima, baafiirwa emikisa gya Yakuwa. Kino kyabaviirako emitawaana era n’oluvannyuma ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. (2 Ebyomumirembe 36:17-21) Kati olwo ffe ebyo tubiyigirako ki?

Engeri Gye Twolekamu Okusiima

11. Ngeri ki enkulu gye tusobola okulagamu nti tusiima Yakuwa?

11 Engeri enkulu mwe tuyita okutendereza Yakuwa n’okulaga okusiima, ezingiramu “okuwaayo.” Kya lwatu , ng’Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, agaali geetaaza okuwaayo ebiweebwayo eby’ensolo oba ebikungulwa. (Abakkolosaayi 2:14) Wadde nga kiri kityo, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abaebbulaniya nti: “Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” (Abaebbulaniya 13:15) Nga tukozesa obusobozi bwaffe n’ebintu byaffe okuwaayo ssaddaaka ey’okutendereza Yakuwa, mu buweereza obw’ennimiro oba mu “mu bibiina” omuli Bakristaayo bannaffe, tusobola okusiima Kitaffe ow’okwagala, Yakuwa Katonda, okuviira ddala ku ntobo y’emitima gyaffe. (Zabbuli 26:12) Mu kukola kino, kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri Abaisiraeri gye baalagangamu nti basiima Yakuwa?

12. Ku bikwata ku buvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo, kiki kye tuyinza okuyigira ku nteekateeka y’okuwaayo ekimu eky’ekkumi?

12 Okusooka byonna, nga bwe tumaze okulaba, okuwaayo ekimu eky’ekkumi tekwali kwa kyeyagalire; buli Muisiraeri yali avunaanyizibwa okukiwa. Ng’Abakristaayo, tulina obuvunaanyizibwa obw’okwenyigira mu buweereza era n’okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Ebintu bino si bya kyeyagalire. Mu bunnabbi bwe obukulu ennyo obukwata ku biseera eby’enkomerero, Yesu yagamba ng’akkaatiriza: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14; 28:19, 20) Omutume Pawulo eyaluŋŋamizibwa yawandiika bw’ati ku nkuŋŋaana z’Ekikristaayo: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Tulaga nti tusiima Yakuwa bwe tukkiriza n’essanyu obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okubuulira n’okuyigiriza awamu n’okubeera awamu ne baganda baffe obutayosa mu nkuŋŋaana z’ekibiina, era nga bino tubitwala ng’enkizo.

13. Kya kuyiga ki ekiri mu nteekateeka y’okuwaayo kyeyagalire n’eyobutakuŋŋaanya byonna ebiba bisigadde mu nnimiro?

13 Okugatta ku ekyo, tuyinza okuganyulwa bwe twetegereza enteekateeka ­endala bbiri Abaisiraeri mwe baalagiranga okusiima​—okuwaayo kyeyagalire ne mu nteekateeka y’obutakuŋŋaanya byonna ebiba bikunkumuse mu nnimiro. Okwawukana ku kuwaayo ekimu eky’ekkumi ekyaliko omuwendo omugereke, okuwaayo kyeyagalire n’obutakuŋŋaanya ebiba bisigadde mu nnimiro tebyaliko muwendo mugereke. Wabula, byasobozesanga omuweereza wa Yakuwa okubaako kyakolawo ng’alaga okusiima kwe yalina mu mutima gwe. Mu ngeri y’emu, wadde nga tusiima nti okwenyigira mu buweereza n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo buvunaanyizibwa bwa buli muweereza wa Yakuwa, tubyenyigiramu n’omutima gwaffe gwonna awatali kuwalirizibwa? Tubitunuulira ng’omukisa ogw’okulaga okusiima okuva ku ntobo y’omutima gwaffe olw’ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde? Tuwaayo ebiseera okwenyigira mu bintu ebyo mu bujjuvu, ng’embeera yaffe bw’eba etusobozesa? Oba tubitunuulira butunuulizi ng’obuvunaanyizibwa bwe tulina okutuukiriza? Bino, bibuuzo bye tuteekwa okweddamu kinnoomu. Omutume Pawulo bw’ati bwe yayogera: “Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n’okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala.”​—Abaggalatiya 6:4.

14. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu nga tumuweereza?

14 Yakuwa Katonda amanyi bulungi embeera zaffe. Amaanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Asiima ebyo abaweereza be bye bawaayo kyeyagalire ka bibe bitono oba bingi. Tasuubira nti ffenna tusobola okuwaayo kyenkanyi. Ng’ayogera ku ky’okuwaayo ebintu, omutume Pawulo yagamba Abakristaayo ab’e Kkolinso nti: “Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng’omuntu bw’alina, si nga bw’atalina.” (2 Abakkolinso 8:12) Omusingi guno gukola ne mu buweereza bwaffe eri Katonda. Obuweereza bwaffe okukkirizibwa eri Yakuwa tekwesigama ku bungi bw’ebyo bye tukola, naye ku ngeri gye tubikolamu​—nga tubikola n’essanyu era n’omutima gwonna.​—Zabbuli 100:1-5; Abakkolosaayi 3:23.

Kulaakulanya era Obeerenga n’Omwoyo gw’Obwapayoniya

15, 16. (a) Obuweereza bw’obwapayoniya bulina kakwate ki n’okulaga okusiima? (b) Mu ngeri ki abo abatasobola kuweereza nga bapayoniya gye bayinza okulagamu omwoyo gw’obwapayoniya?

15 Engeri ennungi mwe tusobola okulagira okusiima kwaffe eri Yakuwa kwe kuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Abaweereza bangi abeewaayo bakoze enkyukakyuka nnene mu bulamu bwabwe basobole okuwaayo ebiseera ebisingawo mu buweereza bwa Yakuwa olw’okuba bamwagala era nga basiima ekisa kye ekitatusaanira. Abamu basobola okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo, nga bamala essaawa nga 70 buli mwezi mu kubuulira amawulire amalungi ne mu kuyigiriza abantu amazima. Abalala, embeera be zitasobozesa, oluusi n’oluusi baawaayo essaawa 50 buli mwezi nga baweereza nga payoniya abawagizi.

16 Naye ate kiri kitya eri abaweereza ba Yakuwa bangi abatasobola kuweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba nga bapayoniya abawagizi? Nabo basobola okulaga okusiima nga bakulaakulanya era nga booleka omwoyo gw’obwapayoniya. Batya? Nga bakubiriza abo abasobola okukola nga bapayoniya, nga bayamba abaana baabwe okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna, era nga babuulira n’obunyiikivu ng’obusobozi bwabwe bwe buli. Kye tusobola okukola mu buweereza, okusingira ddala kisinziira ku kusiima kwe tulina mu mitima gyaffe olw’ebyo Yakuwa by’atukoledde, by’atukolera, era ne by’anaatukolera.

Okusiima ‘n’Ebintu Byaffe’

17, 18. (a) Tuyinza tutya okulaga okusiima nga tukozesa ‘ebintu byaffe’? (b) Yesu yayogera ki ku bussente nnamwandu bwe yawaayo era lwaki?

17 “Ossangamu ekitiibwa Mukama n’ebintu byo, n’ebibereberye ku bibala byo byonna,” Engero 3:9 bwe wagamba. Abaweereza ba Yakuwa tebakyetaaga kuwa kimu kya kkumi. Mu kifo ky’ekyo, bagoberera okubuulira kwa Pawulo eri ekibiina kye Kkolinso: “Buli muntu akolenga nga bw’amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Abakkolinso 9:7) Okuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogw’ensi yonna nayo ngeri eraga okusiima kwaffe. Okusiima okuviira ddala mu mutima, kutukubiriza okukola ekyo bulijjo, oboolyawo ne tubaako ne kye tutereka buli wiiki ng’Abakristaayo abasooka bwe baakola.​—1 Abakkolinso 16:1, 2.

18 Okulaga nti tusiima Yakuwa, tekisinziira ku bungi bw’ebyo bye tuwaddeyo wabula kisinziira ku mwoyo gwe tuba tulaze. Kino Yesu kye yeetegereza bwe yatunuulira abantu nga bawaayo ebirabo mu ggwanika ly’omu yeekaalu. Yesu bwe yalaba nnamwandu eyali mu bwetaavu ng’asuulamu ‘obussente bubiri,’ yagamba nti: “Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna. Kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo, naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna byali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”​—Lukka 21:1-4.

19. Lwaki kirungi okuddamu okwekenneenya engeri ez’enjawulo ez’okulagamu okusiima?

19 Ka bye tuyize ku ngeri gye tuyinza okulaga okusiima bituleetere okuddamu okwekenneenya engeri ez’enjawulo ez’okulagamu okusiima. Tuyinza okweyongera okutendereza Yakuwa mu ngeri esingawo era ne tuwagira omulimu gw’okubuulira ogw’ensi yonna n’ebintu byaffe? Gye tunaakoma okulaga okusiima, gye tujja okukoma okuba abakakafu nti Kitaffe ow’okwagala era omugabi, Yakuwa, ajja kusanyuka.

Ojjukira?

• Nsonga ki ze tulina ezituleetera okusiima Yakuwa?

• Biki bye tuyigira mu kuwaayo ekimu eky’ekkumi, okuwaayo kyeyagalire, era n’obutakuŋŋaanya biba bisigadde mu nnimiro?

• Tuyinza tutya okukulaakulanya omwoyo gw’obwapayoniya?

• Tuyinza tutya okukozesa ‘ebintu byaffe’ okusiima Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]

“Buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu kiva waggulu”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Ssadaaka ki ze tuyinza okuwaayo?