Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okuba Omukakafu Nti Ensi Ejja Kubeera Olusuku lwa Katonda

Osobola Okuba Omukakafu Nti Ensi Ejja Kubeera Olusuku lwa Katonda

Osobola Okuba Omukakafu Nti Ensi Ejja Kubeera Olusuku lwa Katonda

OKUVA edda n’edda, obukadde n’obukadde bw’abantu bakkiriza nti oluvannyuma lwa byonna bajja kuleka ensi eno bagende mu ggulu. Abamu balowooza nti tekyali kigendererwa kya Mutonzi waffe ensi okubeera ekifo ekituulwamu emirembe gyonna. Abalala balowooza nti ensi n’ebigirimu bibi, kwe kugamba, bitulemesa okumatira mu by’omwoyo era n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

Abo abaalina endowooza ezoogeddwako waggulu baali tebamanyi Katonda kye yayogera ku lusuku lwe olw’oku nsi oba baalondawo okukibuusa amaaso. Mu butuufu leero, bangi tebaagala kwekenneenya ebyo abasajja abaaluŋŋamizibwa Katonda bye baawandiika ku nsonga eno mu Kigambo kye, Baibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) Naye, si ky’amagezi okwesiga Ekigambo kya Katonda mu kifo kyo kwesiga endowooza z’abantu? (Abaruumi 3:4) Mu butuufu, kikulu okukola ekyo, okuva Baibuli bw’etulabula nti ekitonde ekibi eky’amaanyi ekitalabika kizibye abantu amaaso mu by’omwoyo era kati ‘kirimbalimba ensi zonna.’​—Okubikkulirwa 12:9; 2 Abakkolinso 4:4.

Lwaki Waliwo Okubuzaabuzibwa?

Endowooza ezitali zimu ezikwata ku mmeeme zireetedde abantu okubuzaabuzibwa ku bikwata ku kigendererwa kya Katonda eri ensi. Bangi balowooza nti tulina emmeeme etefa, kwe kugamba, ekintu ekyawukana ku mubiri gw’omuntu era ne kiwonawo oluvannyuma lw’okufa. Abalala balowooza nti emmeeme yaliwo ng’omubiri gw’omuntu tegunnatondebwa. Okusinziira ku kitabo ekimu, omufirosoofo Omuyonaani, Plato, yalowooza nti mmeeme “esibibwa mu mubiri ng’ebonerezebwa olw’ebibi bye yakola ng’eri mu ggulu.” Mu ngeri y’emu, Origen munnaddiini ow’omu kyasa eky’okusatu yagamba nti, “emmeeme zaayonoona [mu ggulu] nga tezinneyunga ku mubiri” era nti zaali “zisibiddwa [mu mubiri ogw’oku nsi] nga zibonerezebwa olw’ebibi bye zaakola.” Era obukadde n’obukadde bakkiriza nti ensi kye kifo eky’okugezesa omuntu nga tannagenda mu ggulu.

Era waliwo endowooza nnyingi ezikwata kw’ekyo ekituuka ku mmeeme ng’omuntu afudde. Okusinziira ku kitabo History of ­Western Philosophy, Abamisiri baalina endowooza nti “emmeeme z’abafu zigenda mu nsi ey’abafu.” Abafirosoofo oluvannyuma baagamba nti emmeeme z’abaafa tezigenda mu nsi ey’abafu ey’ekizikiza, naye mu butuufu, zigenda mu twale ery’omwoyo. Kigambibwa nti omufirosoofo Omuyonaani, Socrates, yalina endowooza nti omuntu bwamala okufa emmeeme ye “egenda mu twale eritalabika . . . era n’emala ekiseera kyayo kyonna ekisigaddeyo ne bakatonda.”

Baibuli Egamba Etya?

Tewali wonna Ekigambo kya Katonda, Baibuli, ekyaluŋŋamizibwa we kigambira nti abantu balina emmeeme etafa. Gwe kennyini weesomere ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:7. Wagamba nti: “Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu [“emmeeme ennamu,” NW].” Ekyo kitegeerekeka bulungi. Katonda bwe yatonda omuntu eyasooka Adamu, teyamuteekamu kintu ekitafa kubanga, Baibuli egamba nti “omuntu n’afuuka emmeeme ennamu.” Omuntu teyalina mmeeme wabula yali mmeeme.

Mu kutonda ensi n’olulyo lw’omuntu, Yakuwa teyayagala muntu kufa. Ekigendererwa kya Katonda kyali abantu okubeera ku nsi emirembe gyonna mu mbeera ennungi. Adamu yafa olw’okuba yajeemera eteeka lya Katonda. (Olubereberye 2:8, 15-17; 3:1-6; Isaaya 45:18) Omuntu eyasooka bwe yafa, yagenda mu twale ery’omwoyo? Nedda! Adamu yali mmeeme era yadda mu nfuufu mwe yaggibwa.​—Olubereberye 3:17-19.

Ffenna twasikira ekibi n’okufa okuva ku jjajjaffe Adamu. (Abaruumi 5:12) Okufa kuno y’enkomerero y’obulamu, nga bwe kyali eri Adamu. (Zabbuli 146:3,  4) Mu butuufu, mu bitabo 66 byonna, Baibuli tekwataganya ‘butafa’ oba ‘bulamu butaggwaawo’ n’ekigambo “emmeeme.” Ku luuyi olulala, ­Ebyawandiikibwa biraga bulungi nti emmeeme ye muntu era efa.​—Omubuulizi 9:5, 10; Ezeekyeri 18:4.

Ddala Ebintu Bibi?

Kiri kitya ku ndowooza egamba nti ebintu, nga mw’otwalidde n’ensi, bibi? Endowooza eno egobererwa ekibiina ky’eddiini ekyatandikibwawo omusajja ayitibwa Mani, eyali abeera mu Buperusi mu kyasa eky’okusatu. The New Encyclopædia Britannica egamba: “Ekibiina kino kyatandikibwawo olw’ennaku abantu gye baalimu.” Mani yalina endowooza nti okubeera omuntu tekyali kya butonde, tekigumiikirizika, era nga kibi nnyo.” Era yagamba nti engeri yokka ey’okuva mu “nnaku” eno, yali emmeeme okuva mu mubiri, n’eva ku ensi, n’egenda mu twale ey’emwoyo.

Okwawukana kw’ekyo, Baibuli etutegeeza nti okusinziira ku ndowooza ya Katonda, ‘buli kimu kye yali akoze’ bwe yatonda ensi n’abantu, ‘kyali kirungi nnyo.’ (Olubereberye 1:31) Mu kiseera ekyo, tewaaliwo kyali ky’ekiise mu nkolagana y’abantu ne Katonda. Adamu ne Kaawa baalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, nga n’omusajja atuukiridde Yesu Kristo bwe yalina enkolagana ennungi ne Kitaawe ow’omu ggulu.​—Matayo 3:17.

Singa bazadde baffe abasooka, Adamu ne Kaawa, tebaayonoona, bandibadde n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda emirembe gyonna mu Lusuku lwe ku nsi. Obulamu bwabwe bwatandikira mu Lusuku lwa Katonda, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Mukama Katonda n’asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba; n’ateeka omwo omuntu gwe yabumba.” (Olubereberye 2:8) Mu lusuku olwo Kaawa mwe yatondebwa. Singa Adamu ne Kaawa tebaayonoona, bo n’abaana baabwe abatuukiridde bandikoledde wamu n’essanyu okutuusa ensi yonna bwe yandifuuse olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 2:21; 3:23, 24) Olusuku lwa Katonda ku nsi gandibadde amaka g’abantu emirembe gyonna.

Lwaki Abamu Bagenda mu Ggulu?

‘Naye,’ oyinza okugamba, ‘Baibuli eyogera ku bantu okugenda mu ggulu, si bwe kiri?’ Yee. Adamu bwe yamala okwonoona, Yakuwa yalina ekigendererwa eky’okuteekawo obwakabaka obw’omu ggulu, abamu ku bazzukulu ba Adamu mwe ‘bandifugidde nga bakabaka ku nsi’ awamu ne Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 5:10; Abaruumi 8:17) Baali ba kuzuukizibwa mu bulamu obw’obutafa mu ggulu. Omuwendo gwabwe guli 144,000, era abasooka ku abo baali abayigirizwa ba Yesu abeesigwa ab’omu kyasa ekyasooka.​—Lukka 12:32; 1 Abakkolinso 15:42-44; Okubikkulirwa 14:1-5.

Kyokka, tekyali kigendererwa kya Katonda abantu abatuukirivu okuleka ensi bagende mu ggulu. Mu butuufu, Yesu bwe yali ku nsi, yagamba: “Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye ­Mwana w’omuntu ali mu ggulu.” (Yokaana 3:13) Okuyitira mu “Mwana w’omuntu,” Yesu Kristo, Katonda yakola enteekateeka ­y’ekinunulo esobozesa abo abakkiririza mu ssaddaaka okufuna obulamu obutaggwaawo. (Abaruumi 5:8) Naye, obukadde n’obukadde obw’abantu ng’abo banaabeera wa emirembe gyonna?

Ekigendererwa kya Katonda eky’Olubereberye Kijja Kutuukirizibwa

Wadde Katonda alina ekigendererwa eky’okuggya abantu abamu ku nsi okufugira awamu ne Yesu Kristo mu bwakabaka obw’omu ggulu, ekyo tekitegeeza nti abantu abalungi bonna bagenda mu ggulu. Yakuwa yatonda ensi okubeera amaka amalungi ag’olulyo ly’omuntu. Mangu ddala, Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa ekyo eky’olubereberye.​—Matayo 6:9, 10.

Wansi w’obufuzi bwa Yesu Kristo n’abo abafugira awamu naye mu ggulu, emirembe n’essanyu bijja kubeera mu nsi yonna. (Zabbuli 37:9-11) Abo abajjukirwa Katonda bajja kuzuukizibwa era bajja kubeera n’obulamu obutuukiridde. (Ebikolwa 24:15) Olw’obwesigwa bwabwe eri Katonda, abantu bajja kuweebwa ekyo bazadde baffe kye baafiirwa, kwe ­kugamba, obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Yakuwa Katonda talemererwa kutuukiriza bigendererwa bye. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, yagamba: “Kuba enkuba nga bw’ekka n’omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n’omuli eby’okulya; [b]we kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: [t]ekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”​—Isaaya 55:10, 11.

Ekitabo kya Baibuli ekya Isaaya, kituwa ekifaananyi ku ngeri obulamu bwe buliba mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Tewali muntu alituula mu Lusuku lwa Katonda aligamba nti, “Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Ensolo tezijja kuba za kabi eri omuntu. (Isaaya 11:6-9) Abantu bajja kuzimba amaka amalungi era bagabeeremu era bajja kulima emmere yaabwe era bagirye. (Isaaya 65:21-25) Okwongereza kw’ebyo, Katonda “[Ali]mirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna.”​—Isaaya 25:8.

Mangu ddala, abantu abawulize bajja kubeera mu mbeera ennungi. Bajja “[ku]weebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.” (Abaruumi 8:21) Nga kijja kuba kirungi nnyo okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna! (Lukka 23:43) Osobola okubeerayo singa kaakano okolera ku kumanya okutuufu okw’Ebyawandiikibwa era n’okukkiririza mu Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. Era kati osobola okuba n’obukakafu nti kya magezi okukkiririza mu lusuku lwa Katonda olunaabaawo ku nsi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Adamu ne Kaawa baatondebwa okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Mu Lusuku lwa Katonda ku nsi . . .

balizimba ennyumba

balisimba ensuku ez’emizabbibu

Yakuwa alibawa emikisa

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

U.S. Fish & Wildlife Service, Washington, D.C./NASA