Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Kolanga Omulimu gw’Omubuulizi w’Enjiri’

‘Kolanga Omulimu gw’Omubuulizi w’Enjiri’

‘Kolanga Omulimu gw’Omubuulizi w’Enjiri’

“Tamiirukukanga mu byonna, . . . kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri.”​—2 TIMOSEEWO 4:5.

1. Mulimu ki Yesu gwe yawa abagoberezi be?

 ERINNYA lya Yakuwa n’ebigendererwa bye birangirirwa mu nsi yonna. Ekyo kiri kityo kubanga abantu ba Katonda abeewaddeyo beenyigidde mu mulimu Yesu Kristo gwe yabawa bwe yagamba nti: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”​—Matayo 28:19, 20.

2. Omulabirizi Timoseewo yakubirizibwa kukola ki, era engeri emu abalabirizi Abakristaayo ab’omu kiseera kino gye bayinza okutuukirizaamu obuweereza bwabwe y’eruwa?

2 Abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka omulimu ogwo baagutwala nga mukulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yakubiriza bw’ati mulabirizi munne Omukristaayo Timoseewo: “Kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.” (2 Timoseewo 4:5) Leero, engeri emu omulabirizi gy’atuukirizaamu obuweereza bwe, kwe kubeera omulangirizi w’Obwakabaka omunyiikivu, era nga yeenyigira obutayosa mu buweereza bw’ennimiro. Ng’ekyokulabirako, omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina alina enkizo ey’okukulembera abalala mu mulimu gw’okubuulira era n’okubatendeka. Pawulo yatuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obw’okulangirira amawulire amalungi era n’okutendeka abalala mu buweereza.​—Ebikolwa 20:20; 1 Abakkolinso 9:16, 17.

Ababuulizi b’Enjiri ab’Edda Abaali Abanyiikivu

3, 4. Biki Firipo bye yakola mu mulimu gwe ng’omubuulizi w’enjiri?

3 Abakristaayo abaasooka baali babuulizi b’enjiri abanyiikivu. Lowooza ku Firipo eyali omulangirizi w’enjiri. Yali omu ku basajja ‘omusanvu abaali bajjudde omwoyo n’amagezi,’ abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okugabira emmere bannamwandu Abakristaayo abaali boogera Oluyonaani awamu n’abo abaali boogera Olwebbulaniya mu Yerusaalemi. (Ebikolwa 6:1-6) Oluvannyuma lw’obuweereza obwo obw’enjawulo era nga n’okuyigganyizibwa kusaasaanyizza bonna ng’oggyeko abatume, Firipo yagenda e Samaliya. Yalangirira mu kitundu ekyo amawulire amalungi era n’aweebwa amaanyi ag’omwoyo omutukuvu okugobanga balubaale era n’okuwonya abalema n’abakoonzimbye. Abasamaliya bangi bakkiriza obubaka bw’Obwakabaka era ne babatizibwa. Abatume mu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, baatuma omutume Peetero ne Yokaana e Samaliya, abakkiriza abo abappya basobole okufuna omwoyo omutukuvu.​—Ebikolwa 8:4-17.

4 Ate omwoyo gwa Katonda gwasobozesa Firipo okusisinkana omulaawe eyali agenda e Ggaaza. Firipo ng’amaze okumunnyonnyola obulungi obunnabbi obuli mu Isaaya, omusajja oyo eyali “omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow’Abaesiyopya” yakkiririza mu Yesu Kristo era n’abatizibwa. (Ebikolwa 8:26-38) Awo Firipo n’agenda mu Azoto ate oluvannyuma mu Kayisaliya, ‘ng’abuulira amawulire amalungi mu bibuga byonna’ gye yayitanga. (Ebikolwa 8:39, 40) Mazima ddala yassaawo eky’okulabirako ekirungi ng’akola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri!

5. Okusingira ddala kiki ekyali kimanyiddwa ku bawala ba Firipo abana?

5 Oluvannyuma lw’emyaka nga 20, Firipo yali akyabuulira n’obunyiikivu mu Kayisaliya. Pawulo ne Lukka we baabeerera mu maka ge, “yalina abawala bana abatamanyi musajja abaalagulanga.” (Ebikolwa 21:8-10) Kirabika baali batendekeddwa bulungi mu by’omwoyo, nga banyiikivu mu buweereza, era nga baweereddwa n’enkizo ey’okwogera obunnabbi. Ne leero, abazadde bwe babeera abanyiikivu mu buweereza, baba bateereddewo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi ennyo, era ne kibakubiriza okukola omulimu gw’okubuulira obulamu bwabwe bwonna.

Ababuulira Amawulire Amalungi n’Obunyiikivu Leero

6. Bibala ki ababuulizi ab’omu kyasa ekyasooka bye baatuukako?

6 Mu bunnabbi bwe obukulu ennyo obukwata ku kiseera eky’enkomerero, Yesu Kristo yagamba: “Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.” (Makko 13:10NW) Enkomerero yandizze ng’amawulire amalungi gamaze okubuulirwa “mu nsi yonna.” (Matayo 24:14) Pawulo n’ababuulizi abalala ab’omu kyasa ekyasooka bwe baalangirira amawulire amalungi, bangi baagakkiriza era ebibiina byatandikibwawo mu bitundu ebitali bimu mu Bwakabaka bwa Rooma. Abakadde abaalondebwa okuweereza mu bibiina ebyo, baakoleranga wamu n’ab’oluganda mu mulimu gw’okubuulira era ne gweyongera okugaziwa. Ekigambo kya Yakuwa kyagenda kyeyongera amaanyi era n’okuwangula mu biseera ebyo, era nga bwe kiri ne leero kubanga obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa bakola omulimu gw’okubuulira. (Ebikolwa 19:20) Oli omu ku bantu bano abasanyufu abatendereza Yakuwa?

7. Abalangirizi b’Obwakabaka bakola ki leero?

7 Ababuulizi b’Obwakabaka bangi ab’omu kiseera kino bakozesa bulungi buli kakisa ke bafuna okugaziya obuweereza bwabwe. Nkumi na nkumi beenyigidde mu mulimu gw’obuminsani, ate abalala mitwalo na mitwalo bakola nga bapayoniya. Era nga mulimu mulungi nnyo ogukolebwa abasajja, abakazi n’abaana abaweereza ng’ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu! Mazima ddala, abantu ba Yakuwa bonna bafuna emikisa gye nga bamuweerereza wamu ng’ababuulizi b’amawulire amalungi.​—Zeffaniya 3:9.

8. Mulimu ki ogw’okuteekako akabonero ogukolebwa leero, era baani abagukola?

8 Katonda awadde abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta obuvunaanyizibwa obw’okulangirira amawulire amalungi mu nsi yonna. Ababayambako mu mulimu guno ogw’okubuulira amawulire amalungi be ‘b’endiga endala’ abagenda beeyongerayongera obungi. (Yokaana 10:16) Mu bunnabbi, omulimu guno ogw’okuwonya obulamu gufaananyirizibwa n’okuteeka akabonero ku byenyi by’abo abassa ebikkowe era abakaaba olw’ebikolwa eby’emizizo byonna ebikolebwa kati. Mangu, ababi bajja kuzikirizibwa. Ng’ekyo tekinnabaawo, nga nkizo ya maanyi nnyo okutwalira abantu amazima gano agawonya obulamu!​—Ezeekyeri 9:4-6, 11.

9. Abappya basobola batya okuyambibwa mu buweereza?

9 Bwe tuba nga tumaze ekiseera kiwanvuko nga tubuulira amawulire amalungi, awatali kubuusabuusa waliwo kye tuyinza okukola okuyamba abappya abali mu kibiina. Emirundi egimu, tuyinza okubasaba bakolereko wamu naffe mu buweereza bw’ennimiro. Abo abaweereza ng’abakadde bakola kyonna kye basobola okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. Okufuba kw’abakadde kusobolera ddala okuyamba abalala okubeera ababuulizi abanyiikivu.​—2 Peetero 1:5-8.

Okuwa Obujulirwa Nnyumba ku Nnyumba

10. Kristo n’abagoberezi be abaasooka baateekawo kyakulabirako ki mu buweereza?

10 Yesu Kristo yateerawo abagoberezi be eky’okulabirako ekirungi ng’omubuulizi w’amawulire amalungi. Ku bikwata ku buweereza bwa Kristo n’abatume be, Ekigambo kya Katonda kigamba: “N’atambula mu bibuga ne mu mbuga ng’abuulira ng’atenda enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n’ababiri nga bali naye.” (Lukka 8:1) Ate bo abatume? Oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekoote 33 C.E., “buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba beeyongera okuyigirizanga n’okubuuliranga amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu.” (Ebikolwa 5:42, NW)

11. Okusinziira ku Ebikolwa 20:20, 21, kiki omutume Pawulo kye yakola mu buweereza bwe?

11 Olw’okuba yali munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, omutume Pawulo yasobola okugamba bw’ati abakadde b’omu Efeso: “Sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n’okubayigiririzanga mu maaso g’abantu ne mu buli nju.” Pawulo bwe yali ‘abuulira nju ku nju,’ yali agenda mu maka ga basinza banne okubazzaamu amaanyi? Nedda, kubanga yeeyongera okunnyonnyola: “Nga ntegeeza Abayudaaya era n’Abayonaani okwenenya eri Katonda n’okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.” (Ebikolwa 20:20, 21) Okutwalira awamu, abo abaali bamaze okwewaayo eri Yakuwa kyali tekibeetaagisa kuyigirizibwa ebikwata ku “kwenenya eri Katonda n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.” Pawulo yatendeka abakadde Abakristaayo mu Efeso okubuulira nju ku nju era nga bw’ayigiriza n’abataali bakkiriza okwenenya n’okukkiriza. Mu kukola ekyo, Pawulo yali agoberera enkola Yesu gye yatandikawo.

12, 13. Nga kituukagana n’Abafiripi 1:7, abantu ba Yakuwa bakozeewo ki ku bikwata ku ddembe lyabwe ery’okubuulira?

12 Okubuulira nnyumba ku nnyumba kuyinza obutaba kwangu. Ng’ekyokulabirako, abamu kibanyiiza bwe tugenda mu maka gaabwe okubategeeza obubaka bwa Baibuli. Ffe tuba tetulina muntu yenna gwe twagala kunyiiza. Wabula, okwagala Katonda ne muliraanwa bye bitukubiriza okubuulira nju ku nju, era ng’okubuulira okwo kwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Makko 12:28-31) Okusobola okukakasa nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira nnyumba ku nnyumba gukkirizibwa mu mateeka, ensonga tuzitutte mu kkooti nga mw’otwalidde ne Kkooti Esingira Ddala Obukulu ey’omu Amerika. (Abafiripi 1:7) Emirundi egisinga obungi, kkooti eyo by’esazeewo bisobozesezza omulimu gwaffe okugenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ensala eno eyaliwo:

13 “Okuva edda ennyo okugaba tulakiti ezikwata ku ddiini, ebadde emu ku ngeri z’okubunyisaamu enjiri era enkola eno yatandika mu kiseera ebyuma ebikuba ebitabo mu kyapa we byavumbulibwa. Enkola eno yeeyambisiddwa ebibiina by’eddiini ebitali bimu emyaka nga bwe gizze gyekulungula. Era, okubunyisa enjiri mu ngeri eno kukyakolebwa nnyo leero ababuulizi mu bibiina by’eddiini eby’enjawulo abatwala Enjiri mu nkumi n’enkumi z’amaka g’abantu nga bagezaako okufuna abanaagoberera enzikiriza yaabwe. . . . Engeri eno ey’okubuulira etwalibwa mu ssa lye limu n’okusinza okubeera mu makanisa era n’okubuulira ku bituuti nga bwe kiragibwa mu [Ssemateeka w’Amerika].”​—Murdock v. Pennsylvania, 1943.

Lwaki Tulina Okweyongera Okubuulira?

14. Biki ebisobola okuva mu buweereza bwaffe?

14 Waliwo ensonga nnyingi lwaki tulina okubuulira nnyumba ku nnyumba. Buli lwe tukyalira omuntu, tuba tugezaako okusiga ensigo ez’amazima agali mu Byawandiikibwa. Bwe tuddayo okumukyalira, tuba tufukirira ensigo eyo. Era ng’ekyo kisobola okuvaamu ebibala ebirungi, kubanga Pawulo yagamba: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira; naye Katonda ye yakuza.” (1 Abakkolinso 3:6) N’olwekyo, ka tweyongere ‘okusiga n’okufukirira,’ nga tuli bakakafu nti Yakuwa ‘ajja kukuza ensigo eyo.’

15, 16. Lwaki tugenda enfunda n’enfunda mu maka g’abantu?

15 Tukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi kubanga obulamu bw’abantu buli mu kabi. Bwe tubuulira, tusobola okuwonya obulamu bwaffe n’obw’abo abatuwuliriza. (1 Timoseewo 4:16) Singa tumanya nti obulamu bw’omuntu buli mu kabi, tetwandibaddeko eky’amaanyi kye tukola okumuyamba? Mazima ddala twandibaddeko ne kye tukola! Olw’okuba kiyinza okuviirako abantu okulokolebwa, tuddayo enfunda n’enfunda mu maka gaabwe. Embeera zigenda zikyukakyuka. Omuntu atasobodde kuwuliriza omulundi ogumu, ayinza okwagala okuwulira obubaka bwa Baibuli omulundi omulala. Ate era tuyinza okusanga omuntu omulala bwe tuba nga tuzzeeyo mu maka ago, era ekyo kiyinza okutuviirako okukubaganya ebirowoozo n’omuntu oyo ku Byawandiikibwa.

16 Embeera z’abantu si ze zokka eziyinza okukyuka, naye era n’endowooza yaabwe esobola okukyuka. Ng’ekyokulabirako, obulumi bw’okufiirwa omwagalwa we, buyinza okuleetera omuntu okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Twagala okubudaabuda omuntu oyo, okumuyamba okutegeera obwetaavu obw’eby’omwoyo bw’alina era n’okumulaga engeri gy’ayinza okuyambibwamu.​—Matayo 5:3, 4.

17. Ensonga esinga obukulu lwaki tubuulira y’eruwa?

17 Ensonga esingayo obukulu lwaki tubuulira nnyumba ku nnyumba oba twenyigira mu ngeri endala ez’obuweereza obw’Ekikristaayo, kwe kuba nti twagala okumanyisa erinnya lya Yakuwa. (Okuva 9:16; Zabbuli 83:18) Nga kiba kya muganyulo nnyo bwe tuyamba abantu abaagala amazima n’obutuukirivu okutandika okutendereza Yakuwa! Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Abavubuka n’abawala; abakadde n’abato: Batendereze erinnya lya Mukama; kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.”​—Zabbuli 148:12, 13.

Okubuulira Kutuganyula Kinnoomu

18. Tuganyulwa tutya bwe tukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?

18 Okukola omulimu gw’okubuulira kutuganyula mu ngeri nnyingi. Okubuulira amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba kituyamba okukulaakulanya obuwombeefu, naddala bwe baba nga tebatwanirizza bulungi. Okusobola okubeera ababuulizi abalungi, tulina okubeera nga Pawulo, ‘eyali byonna eri bonna, alyoke alokole abamu.’ (1 Abakkolinso 9:19-23) Ate bwe tubeera n’obumanyirivu mu buweereza, kituyamba okukozesa amagezi. Bwe twesiga Yakuwa era ne tukozesa ebigambo ebirungi, tusobola okugoberera okubuulirira kwa Pawulo kuno: “Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.”​—Abakkolosaayi 4:6.

19. Omwoyo omutukuvu guyamba gutya ababuulizi b’amawulire amalungi?

19 Omulimu gw’okubuulira era gutukubiriza okwesigama ku buyambi bw’omwoyo gwa Katonda. (Zekkaliya 4:6) Era, ebibala byagwo, kwe kugamba, ‘okwagala, okusanyuka, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza,’ bisobola okweyolekera mu buweereza bwaffe. (Abaggalatiya 5:22, 23) Gutusobozesa okukolagana obulungi n’abantu, kubanga bwe tugoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, kituyamba okubeera n’okwagala, okusanyuka, emirembe, okubeera abagumiikiriza, ab’ekisa, okwoleka obulungi n’okukkiriza era n’okwoleka obuwombeefu n’okwefuga nga tubuulira amawulire amalungi.

20, 21. Miganyulo ki gye tufuna bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira?

20 Omuganyulo omulala gwe tufuna ng’ababuulizi b’amawulire amalungi guli nti, tweyongera okulumirirwa abalala. Abantu bwe batutegeeza ebizibu byabwe, gamba ng’obulwadde, okubulwa emirimu, ebizibu by’amaka, tetweyisa ng’abawi b’amagezi, naye tubalaga ebyawandiikibwa ebiyinza okubabudaabuda. Tufaayo nnyo ku bantu abazibiddwa amaaso mu by’omwoyo naye nga balabika ng’abaagala obutuukirivu. (2 Abakkolinso 4:4) Era nga kireeta essanyu lya nsusso okuyamba mu by’omwoyo, ‘abo abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo’!​—Ebikolwa 13:48.

21 Okwenyigira obutayosa mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, kituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo. (Lukka 11:34) Mazima ddala, ekyo kya muganyulo nnyo, kubanga singa ebirowoozo byaffe tetubiteeka ku bintu eby’eby’omwoyo, tuyinza okukemebwa okwagala eby’obugagga ebiri mu nsi. Omutume Yokaana yagamba Abakristaayo nti: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:15-17) Bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi era ne tubeera n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe, kituyamba obutayagala nsi.​—1 Abakkolinso 15:58.

Mutereke eby’Obugagga mu Ggulu

22, 23. (a) Ababuulizi Abakristaayo beeterekera bya bugagga ki? (b) Ekitundu ekiddako kinaatuyamba kitya?

22 Okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka kireeta emiganyulo mingi nnyo. Kino Yesu yakiraga bwe yagamba nti: “Temweterekeranga bintu ku nsi, kwe byonoonekera n’ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe basimira ne babba: naye mweterekeranga ebintu mu ggulu, gye bitayonoonekera n’ennyenje newakubadde obutalagge, so n’ababbi gye batasimira, so gye batabbira: kubanga ebintu byo we bibeera, omutima gwo nagwo gye gubeera.”​—Matayo 6:19-21.

23 Ka tweyongere okweterekera eby’obugagga mu ggulu, nga tumanyi nti, tewali nkizo ndala yonna gye tuyinza kufuna esinga eno ey’okukiikirira Mukama Afuga Byonna Yakuwa, ng’Abajulirwa be. (Isaaya 43:10-12) Nga tukola omulimu gwaffe ng’abaweereza ba Katonda, tuyinza okubeera n’endowooza ng’ey’omukyala Omukristaayo atemera mu myaka 90 eyayogera bw’ati ku buweereza bwe eri Katonda: “Nneebaza Katonda olw’okuba anzikirizza okumuweereza okumala emyaka gino gyonna, era nsaba nnyo yeeyongere okubeera Kitange omwagazi emirembe gyonna.” Singa naffe enkolagana yaffe ne Katonda tugitwala nga ya muwendo nnyo, mazima ddala, tujja kukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu bujjuvu. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba engeri gye tusobola okutuukirizaamu obuweereza bwaffe.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki tulina okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?

• Kiki ky’oyinza okwogera ku mulimu gw’ababuulizi b’amawulire amalungi ab’edda n’ab’omu kiseera kyaffe?

• Lwaki tubuulira nnyumba ku nnyumba?

• Oganyulwa otya kinnoomu bwe weenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?

Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]

Ababuulizi b’enjiri nga Firipo ne bawala be balina ababafaanana mu kiseera kino

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Miganyulo ki gy’ofuna bw’obuulira abalala amawulire amalungi?