Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olunaku Olukulu Lwe Tulina Okujjukira

Olunaku Olukulu Lwe Tulina Okujjukira

Olunaku Olukulu Lwe Tulina Okujjukira

EKIRO ekyasembayo nga tannafa, Yesu Kristo yawa abatume be omugaati ogutali muzimbulukuse n’ekikompe omuli enviinyo emmyufu n’abalagira okulya n’okunywa. Ate era n’abagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”​—Lukka 22:19.

Omwaka guno, omukolo guno ogw’Ekijjukizo gujja kubeerawo ku Ssande nga Apuli 4, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bajja kukuŋŋaana ku kiro kino okukwata Ekijjukizo nga Yesu bwe yalagira. Bakwaniriza n’essanyu okubeegattako. Buuza Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kitundu kyo bakutegeeze ekiseera n’ekifo kyennyini omukolo guno ogw’enjawulo we gunaabeera.