Ziyiza Omwoyo gw’Ensi Eno Ekyukakyuka
Ziyiza Omwoyo gw’Ensi Eno Ekyukakyuka
“Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda.”—1 Abakkolinso 2:12.
1. Kaawa yalimbibwa mu ngeri ki?
“OMUSOTA gunsenzesenze.” (Olubereberye 3:13) Bw’atyo, Kaawa, omukazi eyasooka, bwe yayogera ng’annyonnyola ensonga eyamuviirako okujeemera Yakuwa Katonda. Kye yayogera kyali kituufu naye ekyo kyali tekimuggyako musango. Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “[Kaawa] ye yalimbibwa.” (1 Timoseewo 2:14) Yalimbibwa nnyo n’atuuka n’okulowooza nti obujeemu, kwe kugamba, okulya ku kibala ekyali kigaaniddwa, bwandimuganyudde era ne bumuleetera okubeera nga Katonda. Ate era yalimbibwa n’atasobola na kutegeera amulimbye. Teyamanya nti Setaani Omulyolyomi kennyini ye yali ayogera naye okuyitira mu musota.—Olubereberye 3:1-6.
2. (a) Setaani abuzaabuza atya abantu leero? (b) ‘Omwoyo gw’ensi’ kye ki, era bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya?
2 Okuviira ddala mu kiseera kya Adamu ne Kaawa, Setaani yeeyongedde okulimba abantu. Mu butuufu, ‘alimba ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9) Obukodyo bwe tebukyukangako. Wadde nga takyayogerera mu musota, akyekwekerera. Okuyitira mu by’amasanyu, mu mikutu gy’eby’empuliziganya ne mu mikutu emirala, Setaani aleetedde abantu okulowooza nti tebeetaaga bulagirizi bwa Katonda era nti tebuyinza kubaganyula. Obulimba bwa Setaani obweyongerayongera mu maaso, buleetedde abantu buli wamu okuba n’omwoyo gw’okujeemera amateeka n’emisingi egiri mu Baibuli. Omwoyo ogwo Baibuli eguyita ‘omwoyo gw’ensi.’ (1 Abakkolinso 2:12) Omwoyo ogwo gulina eky’amaanyi kye gukola ku nzikiriza, endowooza, n’enneeyisa z’abantu abatamanyi Katonda. Omwoyo ogwo gweyoleka gutya, era tuyinza tutya okuguziyiza? Ka tulabe.
Empisa Ziserebye
3. Lwaki ‘omwoyo gw’ensi’ gweyongedde okweyoleka mu biseera bino?
3 Mu biseera byaffe, ‘omwoyo gw’ensi’ gweyongedde okweyoleka. (2 Timoseewo 3:1-5) Oyinza okuba ng’okirabye nti empisa zeeyongedde okwonooneka. Ebyawandiikibwa bitunnyonnyola ensonga eziviiriddeko ekyo. Oluvannyuma lw’okuteekebwawo kw’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914, olutalo lwabalukawo mu ggulu. Setaani ne badayimooni be baawangulwa era ne basuulibwa ku nsi. Ng’alina obusungu bungi, Setaani yeeyongeredde ddala okulimba abantu mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 12:1-9, 12, 17) Afuba nnyo nga bw’asobola “okukyamya abalonde oba nga kiyinzika.” (Matayo 24:24) Okusingira ddala olukongoolo alusimbye ku ffe, abantu ba Katonda. Afuba nnyo okwonoona embeera yaffe ey’eby’omwoyo tube nga tetukyasiimibwa Yakuwa era tusubwe n’obulamu obutaggwaawo.
4. Abaweereza ba Yakuwa Baibuli bagitwala batya, naye yo ensi egitwala etya?
4 Setaani ageezaako okuvumisa Baibuli, ekitabo ekirungi ennyo ekituyigiriza ebikwata ku Mutonzi waffe. Abaweereza ba Yakuwa baagala Baibuli era bagitwala nga ya muwendo. Tukimanyi nti Baibuli Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, so si kigambo kya bantu. (1 Abasessaloniika 2:13; 2 Timoseewo 3:16) Kyokka, ensi ya Setaani teyagala tulowooze bwe tutyo. Ng’ekyokulabirako, ennyanjula y’ekitabo ekimu ekivumirira Baibuli egamba bw’eti: “Baibuli si ‘ntukuvu’ era si ‘kigambo kya Katonda.’ Teyawandiikibwa bantu abaaluŋŋamizibwa Katonda, wabula yawandiikibwa bannaddiini abaali beenoonyeza ettuttumu.” Abo abakkiririza mu bigambo ng’ebyo, bayinza n’okutandika okugoberera endowooza enkyamu nti ba ddembe okusinza Katonda mu ngeri yonna gye baagala, oba obutamusinzizza ddala.—Engero 14:12.
5. (a) Kiki omuwandiisi omu kye yayogera ku madiini agatwalibwa okuba nti gagoberera Baibuli? (b) Endowooza ezimu ezicaase mu nsi zaawukana zitya n’ekyo Baibuli ky’eyogera? (Laba akasanduuko akali ku lupapula oluddako.)
5 Okuvumirira Baibuli era n’obunnanfuusi bwa bannaddiini abagamba nti bagiwagira, biviiriddeko abantu okweyongera okukyawa eddiini nga mw’otwalidde n’ezo ezitwalibwa okuba nga zigoberera Baibuli. Eddiini evumirirwa abayivu era ne mu mikutu gy’amawulire. Omuwandiisi omu agamba: “Endowooza abantu bangi gye balina ku ddiini y’Ekiyudaaya n’ey’Ekikristaayo, si nnungi n’akamu. Bwe baba tebazivumiridde nnyo, bagamba bugambi nti zaava ku mulembe, ate bwe bazivumirira ennyo, bagamba nti ziremesa abantu okukula mu birowoozo era nti zikugira okukulaakulana mu bya sayansi. Emyaka mitono egiyiseewo, endowooza ng’eno eviiriddeko abantu okuvumirira era n’okwoleka ebikolwa ebiraga nti bakyaye eddiini.” Obukyayi ng’obwo butera kuva mu abo abatakkiriza nti Katonda gy’ali era nga ‘bagoberera ebitaliimu.’—Abaruumi 1:20-22.
6. Ndowooza ki ensi gy’erina ku bikolwa eby’okwetaba ebivumirirwa Katonda?
6 N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abantu beeyongedde okuwabira ddala okuva ku misingi gya Katonda egikwata ku nneeyisa. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku kulya ebisiyaga ng’ekintu ‘ekitasaana.’ (Abaruumi 1:26, 27) Era egamba nti abakaba n’abenzi tebajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda. (1 Abakkolinso 6:9) Kyokka, mu nsi nnyingi, ebikolwa ng’ebyo tebikoma ku kuba nti bikkirizibwa, naye era biragibwa ng’ebirungi ennyo mu bitabo, magazini, mu nnyimba, ku bifaananyi eby’oku ntimbe ne ku ttivi. Abo abavumirira ebikolwa ng’ebyo batwalibwa ng’abatali beetegefu kukkiriza ndowooza z’abalala, abasalira abalala omusango, era nga n’endowooza zaabwe tezituukana na mulembe. Mu kifo ky’okutunuulira emitindo gya Katonda ng’egyoleka okwagala, ab’ensi bagitunuulira ng’egibalemesa okukola kye baagala.—Engero 17:15; Yuda 4.
7. Bibuuzo ki bye tulina okwebuuza?
7 Mu nsi eno eyeeyongera okusambajja emitindo gya Katonda, kyandibadde kya magezi okwekenneenya endowooza yaffe awamu n’empisa zaffe. Buli luvannyuma lwa kaseera tulina okwekebera okusobola okukakasa nti tetuseesetuka kuva ku ndowooza ya Yakuwa n’emitindo gye. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwebuuza: ‘Nnyumirwa ebintu bye nneewalanga emyaka mingi egiyiseewo? Empisa Katonda z’avumirira ntandise okuzitwala nga si mbi? Eby’omwoyo sikyabitwala ng’ebikulu? Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nkulembeza Obwakabaka mu bulamu bwange?’ (Matayo 6:33) Okwekebera mu ngeri ng’eyo kijja kutuyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi eno.
‘Tuleme Kuwaba’
8. Omuntu ayinza atya okuwaba okuva ku Yakuwa?
8 Omutume Pawulo yawandiikira bw’ati Bakristaayo banne: “Kitugwanira ffe okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twawulira, tulyoke tuleme [okuwaba] okubivaako.” (Abaebbulaniya 2:1) Ekyombo bwe kiwaba ne kiva ku kkubo lyakyo, tekisobola kutuuka gye kiraga. Singa omugoba waakyo tassaayo mwoyo kumanya omuyaga n’amayengo gye bidda, ekyombo kiyinza okuwaba ne kiyita ku mwalo we kirina okugobera ate ne kitomera olwazi. Mu ngeri y’emu singa tetussaayo birowoozo byaffe ku mazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kya Katonda, tusobola okuwaba okuva ku Yakuwa ne tufuna ebizibu mu by’omwoyo. Okutuuka mu mbeera ng’eyo, kiba tekitegeeza nti tuba tuviiridde ddala ku mazima. Mu butuufu, si bangi abava ku Yakuwa embagirawo oba mu bugenderevu. Emirundi egisinga batandiikiriza mpolampola okwenyigira mu bintu ebibalemesa okussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda. Nga tebamanyi, ekibi kigenda kibatwaliriza mpolampola. Okufaananako omugoba w’ekyombo abeera yeebase, abantu ng’abo bagenda okwejjuukiriza ng’embeera yaabwe yayonooneka dda.
9. Yakuwa yawa atya Sulemaani omukisa?
9 Lowooza ku bulamu bwa Sulemaani. Yakuwa yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okufuga Isiraeri. Katonda yawa Sulemaani enkizo ey’okuzimba yeekaalu era n’amuluŋŋamya okuwandiika ebitabo ebimu ebiri mu Baibuli. Emirundi ebiri Yakuwa yayogera naye era yamuwa obugagga, ettuttumu, n’emirembe mu kiseera ky’obufuzi bwe. N’ekisinga byonna, Yakuwa yawa Sulemaani amagezi mangi nnyo. Baibuli egamba: “Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo, n’omwoyo omukulu, ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja. Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag’abaana b’ebuvanjuba, n’amagezi gonna ag’e Misiri.” (1 Bassekabaka 4:21, 29, 30; 11:9) Mazima ddala, oyinza okugamba nti bwe waba nga wandibaddewo omuntu eyandisobodde okusigala nga mwesigwa eri Katonda, yandibadde Sulemaani. Kyokka, Sulemaani yawaba n’afuuka kyewaggula. Ekyo kyabaawo kitya?
10. Kiragiro ki Sulemaani kye yalemererwa okugoberera, era kiki ekyavaamu?
10 Sulemaani yali amanyi era ng’ategeera bulungi Amateeka ga Katonda. Awatali kubuusabuusa, ateekwa okuba nga yategeera bulungi nnyo ebiragiro ebyali biweereddwa abo bonna abandifuuse bakabaka mu Isiraeri. Mu biragiro ebyo, mwe mwali na kino ekigamba nti: “[Kabaka] teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka.” (Ekyamateeka 17:14, 17) Wadde ng’ekiragiro ekyo kyali kitegeerekeka bulungi, Sulemaani yalina abakazi lusanvu n’abazaana ebikumi bisatu. Abasinga obungi ku bakazi abo baasinzanga bakatonda balala. Tetumanyi nsonga lwaki Sulemaani yawasa abakazi bangi, era tetumanyi nsonga kwe yasinziira okubawasa. Kye tumanyi kiri nti yalemererwa okugondera ebiragiro bya Katonda ebyali bitegeerekeka obulungi. Ekyavaamu ky’ekyo kyennyini Yakuwa kye yali alabuddeko. Tusoma: “Bakazi [ba Sulemaani] ne bakyusa [mpolampola] omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.” (1 Bassekabaka 11:3, 4) Amagezi Katonda ge yali amuwadde gaagenda gamuggwaamu “mpolampola.” Yawaba. Ekiseera kyatuuka Sulemaani n’ayagala nnyo okusanyusa bakazi be abakaafiiri mu kifo ky’okugondera Katonda era n’okumusanyusa. Nga kyali kya nnaku nnyo kubanga Sulemaani kennyini ye yawandiika ebigambo bino nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma”!—Engero 27:11.
Omwoyo gw’Ensi gwa Maanyi
11. Ebyo bye tuyingiza mu birowoozo byaffe bisobola kutukolako ki?
11 Ebyatuuka ku Sulemaani bituyigiriza nti kiba kya kabi okugamba nti olw’okuba tumanyi amazima, omwoyo gw’ensi tegulina kye gusobola kukola ku ndowooza yaffe. Ng’emmere ey’omubiri bw’erina ky’esobola okukola ku mibiri gyaffe, n’ebyo bye tuyingiza mu birowoozo byaffe biringa emmere era birina kye bitukolako. Birina kye bikola ku ndowooza yaffe. Olw’ensonga eyo, amakampuni gakozesa obutitimbe bw’ensimbi buli mwaka okulanga eby’amaguzi byago. Ebirango ebisikiriza ebikwata ku by’amaguzi bibaamu ebigambo oba ebifaananyi ebisikiriza abaguzi. Abo abalanga eby’amaguzi era bakimanyi nti okulaba ekirango omulundi gumu oba ebiri gyokka, tekisobola kusikiriza bantu kugula bintu ebyo. Kyokka abantu bwe balaba ekirango ekyo enfunda n’enfunda, kibaleetera okutandika okwegomba ekintu ekyo ekiba kirangibwa. Okulanga kwa muganyulo, singa tekyali kityo, tewali muntu n’omu yanditaddemu ssente ze. Kulina eky’amaanyi ennyo kye kukola ku ndowooza z’abantu.
12. (a) Setaani atwaliriza atya endowooza z’abantu? (b) Kiki ekiraga nti n’Abakristaayo basobola okutwalirizibwa?
12 Okufaananako omuntu alanga eby’amaguzi, Setaani abunyisa endowooza ze mu ngeri esikiriza, ng’akimanyi nti oluvannyuma lw’ekiseera, ajja kubaako abantu b’aleetera okugoberera endowooza ye. Okuyitira mu by’amasanyu era ne mu bintu ebirala, Setaani abuzaabuza abantu n’abaleetera okulowooza nti ekirungi kibi ate ekibi kye kirungi. (Isaaya 5:20) N’Abakristaayo abamu ab’amazima batwaliriziddwa obulimba bwa Setaani. Baibuli etulabula: “Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani, olw’obunnanfuusi bw’abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n’ekyuma ekyokya.”—1 Timoseewo 4:1, 2; Yeremiya 6:15.
13. Emikwano emibi gye giruwa, era emikwano gye tuba nagyo gisobola kutukolako ki?
13 Ffenna omwoyo gw’ensi gulina kye gusobola okutukolako. Enteekateeka ya Setaani erimu ebisikiriza eby’amaanyi era n’ebiwugula. Baibuli etubuulirira bw’eti: ‘Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.’ (1 Abakkolinso 15:33) Emikwano emibi giyinza okuba ekintu kyonna oba omuntu yenna ayoleka omwoyo gw’ensi wadde ne mu kibiina mwennyini. Singa tugamba nti emikwano emibi tegirina kye giyinza kutukolako, era tetwandigambye nti emikwano emirungi tegiyinza kutuyamba? Ekyo nga kyandibadde kikyamu nnyo! Baibuli ennyonnyola bulungi ensonga eyo bw’egamba: ‘Atambula n’abantu ab’amagezi, naye aliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.’—Engero 13:20.
14. Mu ngeri ki gye tusobola okuziyizaamu omwoyo gw’ensi?
14 Okusobola okuziyiza omwoyo gw’ensi, tulina okukolagana n’abantu ab’amagezi, kwe kugamba, abo abaweereza Yakuwa. Tulina okuyingiza mu birowoozo byaffe ebintu ebizimba okukkiriza kwaffe. Omutume Pawulo yawandiika: “Ebisigaddeyo, ab’oluganda, eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; bwe waba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.” (Abafiripi 4:8) Olw’okuba tulina obusobozi bw’okwesalirawo ekirungi n’ekibi, tusobola okwesalirawo bye tunaalowoozaako. Ka tusalengawo okulowooza ku bintu ebijja okutuleetera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa.
Omwoyo gwa Katonda Gwe Gusinga Amaanyi
15. Mu ngeri ki Abakristaayo ab’omu Kkolinso eky’edda gye baali ab’enjawulo ku bantu abalala abaali mu kibuga ekyo?
15 Obutafaananako abo abatwaliriziddwa omwoyo gw’ensi, Abakristaayo ab’amazima bakulemberwa omwoyo gwa Katonda. Pawulo yawandiikira bw’ati ekibiina ky’e Kkolinso: “Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by’atuwa obuwa.” (1 Abakkolinso 2:12) Ekibuga ky’e Kkolinso eky’edda kyali kibuutikiddwa omwoyo gw’ensi. Abantu baamu baali bagwenyufu nnyo ne kiba nti ebigambo “okukola eby’e Kkolinso” byatuuka okutegeeza “okwenyigira mu by’obugwenyufu.” Setaani yali azibye amaaso g’abantu abo. N’olw’ensonga eyo, baali bamanyi kitono nnyo oba nga tebamanyidde ddala bikwata ku Katonda ow’amazima. (2 Abakkolinso 4:4) Kyokka, ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yazibula amaaso g’abantu abamu ab’omu Kkolinso ne basobola okumanya amazima. Omwoyo gwe gwabasobozesa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe ne basobola okusiimibwa mu maaso ge era n’okufuna emikisa gye. (1 Abakkolinso 6:9-11) Wadde ng’omwoyo gw’ensi gwali gwa maanyi nnyo, omwoyo gwa Yakuwa gwe gwali gusinga amaanyi.
16. Tusobola tutya okufuna omwoyo gwa Katonda era n’okweyongera okubeera nagwo?
16 Era bwe kityo bwe kiri ne leero. Omwoyo gwa Yakuwa ge maanyi agasingirayo ddala mu butonde bwonna, era aguwa buli agumusaba mu kukkiriza. (Lukka 11:13) Kyokka, okusobola okufuna omwoyo gwa Katonda, tulina okukola ekisingawo ku kuziyiza obuziyiza omwoyo gw’ensi. Era tulina okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa n’okukissa mu nkola mu bulamu bwaffe endowooza yaffe esobole okutuukagana n’eyiye. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutusobozesa okuziyiza obukodyo bwonna Setaani bw’ayinza okukozesa ng’aluubirira okusaanyaawo embeera yaffe ey’eby’omwoyo.
17. Ebyatuuka ku Lutti bisobola bitya okutuzzaamu amaanyi?
17 Wadde ng’Abakristaayo si ba nsi, naye bali mu nsi. (Yokaana 17:11, 16) Tewali n’omu ku ffe asobola kwewalira ddala mwoyo gwa nsi, kubanga tuyinza okuba nga tukola oba nga tubeera wamu n’abo abatayagala Katonda n’amakubo ge. Twewulira nga Lutti ‘eyanyolwanga’ olw’ebikolwa eby’obujeemu eby’abantu b’omu Sodomu be yali abeera nabo? (2 Peetero 2:7, 8) Bwe kiba bwe kityo, tusobola okuddamu amaanyi. Yakuwa yakuuma era n’anunula Lutti, era asobola okutukolera ekintu kye kimu. Kitaffe omwagazi alaba era amanyi embeera zaffe bwe ziri, era asobola okutuwa obuyambi n’amaanyi bye twetaaga okusobola okweyongera okubeera mu mbeera ennungi ey’eby’omwoyo. (Zabbuli 33:18, 19) Singa tumwesiga era ne tumukowoola, ajja kutuyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi, ka tubeere nga tuli mu mbeera nzibu etya.—Isaaya 41:10.
18. Lwaki enkolagana yaffe ne Yakuwa twandigitutte nga ya muwendo nnyo?
18 Mu nsi eno eyeeyawudde ku Katonda era erimbiddwa Setaani, ffe ng’abantu ba Yakuwa tumanyi amazima. Mu ngeri eyo, tulina essanyu era n’emirembe ensi by’etalina. (Isaaya 57:20, 21; Abaggalatiya 5:22) Essuubi ery’ekitalo ery’okubeera abalamu mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna, etagenda kubeera mwoyo guno ogw’ensi eno egenda okuzikirizibwa, tulitwala nga lya muwendo nnyo. N’olwekyo, enkolagana yaffe ennungi gye tulina ne Katonda ka tugitwale nga ya muwendo era tubeere beetegefu okutereeza engeri yonna eyinza okutuleetera okuwaba mu by’omwoyo. Ka tweyongere okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ajja kutuyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi.—Yakobo 4:7, 8.
Osobola Okunnyonnyola?
• Mu ngeri ki Setaani gy’alimbyemu abantu era n’ababuzaabuza?
• Tusobola tutya okwewala okuwaba okuva ku Yakuwa?
• Kiki ekiraga nti omwoyo gw’ensi gwa maanyi?
• Tusobola tutya okufuna era n’okusigala nga tulina omwoyo oguva eri Katonda?
Ebibuuzo]
[Ekipande ekiri ku lupapula 24]
ENJAWULO ERI WAKATI W’AMAGEZI G’ENSI N’AMAGEZI AGAVA ERI KATONDA
Teri mazima ga nkomeredde—buli muntu yeesalirawo ekyo ky’atwala okuba amazima.
“Ekigambo [kya Katonda] ge mazima.”—Yokaana 17:17.
Okusobola okusalawo ekituufu okuva ku kikyamu, goberera enneewulira yo.
“Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.”—Yeremiya 17:9.
Kola ekintu kyonna nga bw’oyagala.
“Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
Obugagga ye nsibuko ey’essanyu.
“Okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna.”—1 Timoseewo 6:10
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Sulemaani yawaba okuva ku kusinza okw’amazima n’atandika okusinza bakatonda ab’obulimba