Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Eyawandiikirwa Nuuwa

Ebbaluwa Eyawandiikirwa Nuuwa

Ebbaluwa Eyawandiikirwa Nuuwa

“OMWAGALWA Nuuwa, emirundi mingi nsomye mu Baibuli ebikukwatako era n’engeri gye wazimba eryato eryakusobozesa okuwonawo mu Mataba awamu n’ab’omu maka go.”

Bw’etyo bw’etandika ebbaluwa y’omuwala ow’emyaka 15 ayitibwa Minnamaria eyeenyigira mu mpaka ez’okuwandiika ebbaluwa ez’abayizi abaali wakati w’emyaka 14 ne 21. Empaka ezo zaategekebwa ekitongole ky’omu Finland ekikola ku kuweereza amabaluwa, eky’Abo Abasomesa Olulimi Olunnansi, n’Ekikola ku Kuwandiika Ebitabo. Abeenyigira mu mpaka ezo baalina okuwandiika ebbaluwa nga yeesigamiziddwa ku kitabo ekimu. Baalina okuwandiikira omuwandiisi w’ekitabo ekyo oba omuntu ayogerwako mu kitabo ekyo. Abasomesa baalondamu amabaluwa agasukka mu 1,400 agaawandiikibwa abayizi baabwe era ne bagaweereza eri abategesi b’empaka ezo. Ate oluvannyuma, abategesi nabo ne balondamu ebbaluwa eyasinga okuwandiikibwa obulungi, ne baddako okulonda endala kkumi ezaakwata ekifo eky’okubiri ate n’endala kkumi ezaakwata ekifo eky’okusatu. Minnamaria yasanyuka nnyo okulaba nti ebbaluwa ye yali mu kibinja kya kusatu.

Lwaki Minnamaria omuyizi omutiini, yasalawo okuwandiikira Nuuwa ebbaluwa, omusajja eyaliwo emyaka nga 5,000 egiyise? Agamba bw’ati: “Baibuli gye nnasooka okulowoozaako. Manyi bulungi ebikwata ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Nsomye bingi nnyo ebibakwatako ne kiba nti gyendi balinga abalamu. Nnasalawo okuwandiikira Nuuwa kubanga obulamu bwe bwali bunsanyusa era nga bwa njawulo ku bwange.”

Minnamaria yafundikira bw’ati ebbaluwa ye gye yawandiikira Nuuwa: “Okyali kyakulabirako kirungi eky’okukkiriza n’obuwulize. Engeri gye weeyisaamu mu bulamu ekubiriza abo bonna abasoma Baibuli okunyweza okukkiriza kwabwe.”

Ebbaluwa eno ey’omusomi wa Baibuli omuto eraga bulungi nti Baibuli ‘nnamu era erina ky’esobola okukola’ ku bantu bonna, abato n’abakulu.​—Abaebbulaniya 4:12.