Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu 2 Abakkolinso 6:14, baani Pawulo b’ayogerako bw’akozesa ebigambo ‘abatali bakkiriza’?
Mu 2 Abakkolinso 6:14, tusoma: ‘Temwegattanga na batali bakkiriza.’ Bwe twetegereza ennyiriri eziriraanyewo, kyeraga lwatu nti Pawulo ayogera ku bantu abatali mu kibiina Ekikristaayo. Kino kiwagirwa ennyiriri endala eziri mu Baibuli Pawulo mwe yakozeseza ebigambo ‘atali mukkiriza’ oba ‘abatali bakkiriza.’
Ng’ekyokulabirako, Pawulo anenya Abakristaayo abatwala bannaabwe mu kkooti ‘ez’abatali bakkiriza.’ (1 Abakkolinso 6:6) Abatali bakkiriza aboogerwako wano be balamuzi b’omu kkooti y’e Kkolinso. Mu bbaluwa ye eyokubiri, Pawulo agamba nti Setaani ‘azibye amaaso g’amagezi g’abatali bakkiriza.’ Amaaso g’abatali bakkiriza abo ‘gazibiddwa’ ne kiba nti tebategeera mawulire malungi. Abatali bakkiriza bano tebalina kye bakozeewo okulaga nti baagala okuweereza Yakuwa, kubanga Pawulo yagamba nti: ‘Singa bakyuka ne badda eri Yakuwa, amaaso gaabwe gandiggyiddwako ekifu.’—2 Abakkolinso 3:16; 4:4.
Abatali bakkiriza abamu benyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba mu kusinza ebifaananyi. (2 Abakkolinso 6:15, 16) Kyokka, tekiri nti bonna baziyiza abaweereza ba Yakuwa. Abamu balaze nti baagala amazima. Bangi balina bannaabwe mu bufumbo nga bakkiriza era baagala okweyongera okubeera nabo. (1 Abakkolinso 7:12-14; 10:27; 14:22-25; 1 Peetero 3:1, 2) Kyokka, nga bwe kyogeddwako waggulu, ebigambo ‘abatali bakkiriza’ Pawulo abikozesa enfunda n’enfunda ku bantu abatali mu kibiina Ekikristaayo ekirimu abantu ‘abakkiririza mu Mukama waffe.’—Ebikolwa 2:41; 5:14; 8:12, 13.
Omusingi oguli mu 2 Abakkolinso 6:14 guwa Abakristaayo obulagirizi obw’omuganyulo ku mbeera zonna ez’obulamu era emirundi mingi gukozeseddwa okubuulirira Abakristaayo bonna abanoonya ow’okufumbiriganwa naye. (Matayo 19:4-6) Si kya magezi Omukristaayo eyeewaddeyo era omubatize, okunoonya omuntu ow’okufumbiriganwa naye mu abo abatali bakkiriza, okuva emisingi, ebiruubirirwa, era n’enzikiriza eby’abatali bakkiriza bwe biri eby’enjawulo ku by’Omukristaayo ow’amazima.
Naye ate kiri kitya eri abantu abasoma Baibuli era nga bajja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? Ate abo abaweereza ng’ababuulizi abatannabatizibwa? Nabo si bakkiriza? Nedda bo bakkiriza. Abantu abakkirizza amazima agakwata ku mawulire amalungi era nga bakulaakulana Abaruumi 10:10; 2 Abakkolinso 4:13) Nga tannabatizibwa Koluneeriyo yayitibwa omusajja “omwegendereza, atya Katonda.”—Ebikolwa 10:2.
okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa, tebasaanidde kuyitibwa batali bakkiriza. (Kati olwo kyandibadde kya magezi Omukristaayo okwogereza era n’okuyingira obufumbo n’omuntu akkiriziddwa okuweereza ng’omubuulizi atali mubatize, okuva bwe kiri nti okubuulirira kwa Pawulo okuli mu 2 Abakkolinso 6:14 tekumutwala ng’atali mukkiriza? Nedda, ekyo si kya magezi. Lwaki? Olw’okubuulirira Pawulo kwe yawa okukwata ku bannamwandu Abakristaayo. Pawulo yawandiika: ‘Afumbirwenga gw’ayagala; kyokka mu Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 7:39) Nga kituukagana bulungi n’okubuulirira okwo, Abakristaayo abeewaddeyo bakubirizibwa okufumbiriganwa n’abo bokka bali “mu Mukama waffe.”
Ebigambo “mu Mukama waffe” ne “mu Kristo” bitegeeza ki? Mu Abaruumi 16:8-10 ne mu Abakkolosaayi 4:7, Pawulo ayogera ku bantu abaali “mu Kristo” oba “mu Mukama waffe.” Bw’osoma ennyiriri ezo, ojja kukiraba nti abalinga abo ‘bakozi bannaffe,’ ‘basiimibwa,’ ‘ba luganda abaagalwa,’ ‘abaweereza abeesigwa,’ era ‘baddu bannaffe.’
Ddi omuntu lwafuuka ‘omuddu mu Mukama waffe’? Kino kibaawo bw’akkiriza kyeyagalire okukola ekyo omuddu ky’alina okukola era ne yeefiiriza. Yesu yagamba bw’ati: “Omuntu bw’ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe [“omuti gwe ogw’okubonyaabonya,” NW], angoberere.” (Matayo 16:24) Omuntu atandika okugoberera Kristo era n’okukola Katonda by’ayagala mu bujjuvu ng’amaze okwewaayo eri Katonda. Oluvannyuma, abatizibwa era n’afuuka omuweereza atongozeddwa alina enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda. * N’olwekyo, ‘okufumbirwa mu Mukama waffe’ kitegeeza okufumbiriganwa n’omuntu alaze nti ddala mukkiriza eyeewaddeyo, era “omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo.”—Yakobo 1:1.
Omuntu asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’akulaakulana bulungi mu by’omwoyo asaana kwebazibwa. Kyokka, aba tannaba kwewaayo eri Yakuwa, kutandika kumuweereza era n’okubaako bye yeerekereza. Aky’akola enkyukakyuka ezeetaagisa. Alina okusooka okukola enkyukakyuka ez’amaanyi ezizingirwa mu kufuuka Omukristaayo eyeewaddeyo era omubatize, nga tannalowooza kukola nkyukakyuka ndala ey’amaanyi mu bulamu, gamba ng’obufumbo.
Kyandibadde kya magezi Omukristaayo okutandika okwogereza omuntu alabika nti akulaakulana mu kusoma kwe okwa Baibuli oboolyawo ng’alina ekiruubirirwa eky’okumulinda amale okubatizibwa alyoke afumbiriganwe naye? Nedda. Ekiruubirirwa ky’omuyizi wa Baibuli eky’okubatizibwa kiyinza obutaba kirungi singa amanya nti Omukristaayo eyeewaddeyo ayagala bafumbiriganwe kyokka nga tajja kuyingira naye mu bufumbo okutuusa ng’amaze okubatizibwa.
Emirundi egisinga obungi, akaseera kaba katono omuntu k’amala ng’aweereza ng’omubuulizi atali mubatize, okutuusa lw’akulaakulana n’atuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. N’olwekyo, kya magezi okugoberera okubuulirira okwo okukwata ku kufumbirwa mu Mukama waffe. Kiba kitya singa omuntu aba atuuse ku myaka egy’okuyingira obufumbo, akulidde mu maka Amakristaayo, abadde ajja mu nkuŋŋaana okumala emyaka mingi, era ng’aweereza ng’omubuulizi atali mubatize? Oyo ali bw’atyo, kiki ekimulobedde okwewaayo eri Yakuwa? Lwaki alonzalonza? Abuusabuusa? Wadde nga mukkiriza, tayinza kuyitibwa muntu ali “mu Mukama waffe.”
Okubuulirira kwa Pawulo okukwata ku bufumbo kugasa ffe. (Isaaya 48:17) Abo abaagala okufumbiriganwa bwe baba nga beewaayo dda eri Yakuwa, obweyamo bwabwe okubeera bombi buba ku musingi omunywevu ogw’eby’omwoyo. Bombi baba n’ebiruubirirwa bye bimu. Kino kireetawo essanyu mu bufumbo bwabwe. N’olwekyo, omuntu ‘bw’afumbirwa mu Mukama waffe,’ aba alaga nti yeesiga Yakuwa era ekyo kimuleetera okufuna emikisa egy’olubeerera, kubanga “[Yakuwa] mwesigwa eri abo abeesigwa.”—Zabbuli 18:25.
[Obugambo obuli wansi]
^ Eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta Pawulo be yasooka okuwandiikira, okubeera ‘omuddu mu Mukama waffe’ kyali kizingiramu okufukibwako amafuta ng’abaana ba Katonda era baganda ba Kristo.