Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda y’Avunaanyizibwa olw’Ebizibu Ebitutuukako?

Katonda y’Avunaanyizibwa olw’Ebizibu Ebitutuukako?

Katonda y’Avunaanyizibwa olw’Ebizibu Ebitutuukako?

MUWALA wa Marion omukulu bwe yafuna ebisago eby’amaanyi ku bwongo, Marion yakolera ddala ekyo bangi ku ffe kye twandikoze. * Yasaba Katonda amuyambe. “Sijjukirayo kiseera kirala kyonna lwe nnali mpulidde nga nsobeddwa era nga ndekeddwa ttayo,” bw’atyo Marion bw’agamba. Oluvannyuma muwala we yeeyongera okuba obubi ennyo, era Marion n’atandika okwebuuza: “Lwaki kino kintuuseeko?” Yali tayinza kutegeera lwaki Katonda omwagazi yandimwabulidde mu kaseera ako akazibu.

Abantu bangi boolekagana n’embeera ng’eya Marion. Okwetooloola ensi abantu bangi bawulira nga Katonda abalekeredde mu kiseera we bamwetaagira ennyo. Oluvannyuma lwa muzzukulu we okutemulwa, Lisa yagamba: “Nkyebuuza ekibuuzo ‘Lwaki KATONDA akkiriza ebintu ebibi okubaawo.’ Katonda nkyamukkiririzaamu naye okukkiriza kwange kukendedde.” Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’omukyala omu okufiirwa omwana we omuwere, yagamba bw’ati: “Katonda teyambudaabuda olw’ekyo ekyabaawo. Talina kyonna kye yakolawo kulaga nti anfaako.” Yagattako: “Nze Katonda siyinza kumusonyiwa.”

Abalala bakyayira ddala Katonda bwe balaba ebyo ebibaawo mu nsi ebeetoolodde. Balaba nga mu nsi mulimu abantu abaavu lunkupe, abafa enjala, abanoonyi b’obubudamo, abaana bangi abafuuse bamulekwa olwa bazadde baabwe okufa AIDS n’obukadde bw’abantu abalumwa endwadde endala. Abantu aboolekagana n’embeera ng’ezo, banenya Katonda nga balowooza nti talina ky’akolawo.

Kyokka, amazima gali nti Katonda si y’avunaanyizibwa olw’ebizibu ebibuutikidde olulyo lw’omuntu. Mu butuufu, Katonda anaatera okuggyawo ebibi byonna ebikosezza olulyo lw’omuntu. Tukusaba osome ekitundu ekiddako olabire ddala nti Katonda atufaako.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.