Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Mugende Mufuule Abayigirizwa’

‘Mugende Mufuule Abayigirizwa’

‘Mugende Mufuule Abayigirizwa’

‘Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. N’olwekyo, mugende mufuule amawanga gonna abayigirizwa.’​—MATAYO 28:18, 19.

1, 2. (a) Mulimu ki Yesu gwe yawa abagoberezi be? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku biragiro bya Yesu bye tugenda okwekenneenya?

 LUMU mu 33 C.E., abayigirizwa ba Yesu baali bakuŋŋaanidde ku lusozi mu Ggaliraaya. Mukama waabwe Yesu eyali azuukidde yali anaatera okuddayo mu ggulu, kyokka nga tannaddayo, yalina ekintu ekikulu eky’okubagamba. Yalina omulimu gwe yali ayagala okubawa. Mulimu ki ogwo? Abayigirizwa be baagutwala batya? Era omulimu ogwo gutukwatako gutya leero?

2 Yesu bye yayogera byawandiikibwa mu Matayo 28:18-20 awagamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. [N’olwekyo], mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” Yesu yayogera ku ‘buyinza bwonna,’ “amawanga gonna,” “okukwata byonna,” ne “ennaku zonna.” Ebiragiro bye ebyo ebizingiramu ebintu ebyo ebina bireetawo ebibuuzo ebikulu ebiyinza okubuuzibwa mu bigambo bino: lwaki? wa? kiki? ne ddi? Ka twetegereze kimu ku kimu. *

“Mpeereddwa Obuyinza Bwonna”

3. Lwaki tusaanidde okugondera ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa?

3 Okusookera ddala, lwaki tusaanidde okugondera ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa? Yesu yagamba: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. [N’olwekyo] mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Ekigambo “n’olwekyo” kiraga ensonga enkulu lwaki tusaanidde okugondera ekiragiro. Ensonga eri nti, Yesu eyatuwa ekiragiro alina “obuyinza bwonna.” Obuyinza bwe bungi kwenkana wa?

4. (a) Obuyinza bwa Yesu bungi kwenkana wa? (b) Bwe tutegeera nti Yesu alina obuyinza, tusaanide kutwala tutya ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa?

4 Yesu alina obuyinza ku kibiina kye, ate era okuva mu 1914 abadde afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obwassibwawo. (Abakkolosaayi 1:13; Okubikkulirwa 11:15) Ye malayika omukulu era olw’ensonga eyo, akulembera eggye ly’obukadde n’obukadde bwa bamalayika mu ggulu. (1 Abasessaloniika 4:16; 1 Peetero 3:22; Okubikkulirwa 19:14-16) Kitaawe amuwadde obuyinza ‘okuggyawo obufuzi bwonna, amaanyi gonna, n’obuyinza bwonna,’ ebitawagira misingi gya butuukirivu. (1 Abakkolinso 15:24-26; Abaefeso 1:20-23) Obuyinza bwa Yesu tebukoma ku bantu bokka abalamu, naye era ‘mulamuzi ow’abalamu n’abafu,’ era Katonda amuwadde n’obuyinza okuzuukiza abafu. (Ebikolwa 10:42; Yokaana 5:26-28) Mazima ddala, ekiragiro ekiva ew’Omuntu aweereddwa obuyinza obungi bwe butyo, kisaanidde okutwalibwa nga kikulu nnyo. N’olwekyo, tugondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa’ kyeyagalire.

5. (a) Peetero yagondera atya ebiragiro bya Yesu? (b) Mikisa ki egyavaamu Peetero bwe yagondera ebiragiro bya Yesu?

5 Ku ntandikwa y’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yayigiriza abagoberezi be nti, okukkiriza obuyinza bwe era n’okugondera ebiragiro bye, kyandibaviiriddemu okufuna emikisa. Olumu yagamba Peetero eyali omuvubi nti: ‘Mweyongereyo ebuziba musuule obutimba bwammwe, muvube.’ Peetero yali mukakafu nti tewaali byennyanja era kyeyava agamba Yesu nti: “[Omuyigiriza], twateganye okukeesa obudde ne tutakwasa kintu.” Kyokka, mu buwoombeefu, Peetero yayongera n’agamba: “Olw’ekigambo kyo nnaasuula emigonjo oba obutimba.” Oluvannyuma, Peetero bwe yagondera ekiragiro kya Kristo, yakwasa ‘ebyennyanja bingi nnyo.’ Nga Peetero awuniikiridde, “yavuunama ku bigere bya Yesu, n’agamba: Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi, Mukama wange.” Naye Yesu yamuddamu nti: “Totya: okusooka kaakano onoovubanga abantu.” (Lukka 5:1-10; Matayo 4:18) Kiki kye tuyiga mu Byawandiikibwa bino?

6. (a) Ebikwata ku kuvuba ebyennyanja mu ngeri ey’ekyamagero biraga nti Yesu ayagala tumugondere mu ngeri ki? (b) Tusobola tutya okukoppa Yesu?

6 Lwali luvannyuma lwa kuvuba byennyanja mu ngeri ey’ekyamagero Yesu n’alyoka awa Peetero, Andereya n’abatume abalala omulimu ‘gw’okuvuba abantu.’ (Makko 1:16, 17) Kyeyoleka lwatu nti Yesu yali tayagala bagoberezi be kumala gamugondera. Yabawa ensonga kwe bandisinzidde okumugondera. Ng’okugondera ekiragiro kya Yesu eky’okusuula obutimba bwe kyavaamu ebirungi, bwe kityo n’okugondera ekiragiro kye ‘eky’okuvuba abantu’ kyandivuddemu emikisa mingi. Nga balina okukkiriza okw’amaanyi, abatume baakola ekyo Yesu kye yabagamba. Ebyawandiikibwa bigamba: “Bwe baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye.” (Lukka 5:11) Leero, bwe tukubiriza abalala okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa, tuba tukoppa Yesu. Tetwagala bantu kumala gakkiriza bye tubabuulira, naye tubannyonnyola ensonga lwaki bandigondedde ekiragiro kya Yesu.

Ensonga Ezimatiza n’Ebiruubirirwa Ebituufu

7, 8. (a) Nsonga ki okuva mu Byawandiikibwa ezitukubiriza okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa? (b) Kyawandiikibwa ki ekisingira ddala okukukubiriza okweyongera okubuulira? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

7 Olw’okuba tukkiriza obuyinza bwa Kristo, twenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Nsonga ki endala okuva mu Byawandiikibwa ezitukubiriza okwenyigira mu mulimu ogwo ze tuyinza okubuulirako abalala nabo basobole okugwenyigiramu? Lowooza ku bino ebyayogerwa Abajulirwa abeesigwa okuva mu nsi ez’enjawulo, era weetegereze engeri ebyawandiikibwa ebijuliziddwa gye biwagiramu bye baayogera.

8 Roy, eyabatizibwa mu 1951, agamba: “Bwe nneewaayo eri Yakuwa, nnamusuubiza nti nja kumuweerezanga bulijjo. Njagala okutuukiriza ekisuubizo kyange.” (Zabbuli 50:14; Matayo 5:37) Heather, eyabatizibwa mu 1962, agamba: “Bwe ndowooza ku ebyo byonna Yakuwa by’ankoledde, njagala mmulage okusiima nga mmuweereza n’obwesigwa.” (Zabbuli 9:1, 9-11; Abakkolosaayi 3:15) Hannelore, eyabatizibwa mu 1954, agamba: “Buli mulundi gwe tubeera mu buweereza, tuyambibwako bamalayika​—nga nkizo ya kitalo!” (Ebikolwa 10:30-33; Okubikkulirwa 14:6, 7) Honor, eyabatizibwa mu 1969, agamba: “Olunaku lwa Yakuwa olw’okusala omusango bwe lunaatuuka, saagala muntu n’omu ku baliraanwa bange kuvunaana Yakuwa oba Abajulirwa be nti tebaamufaako oba okugamba nti ‘teyalabulwa!’” (Ezeekyeri 2:5; 3:17-19; Abaruumi 10:16, 18) Claudio, eyabatizibwa mu 1974, agamba: “Bwe tuba tubuulira, ‘Katonda aba atulaba’ era tuba ‘wamu ne Kristo.’ Kiteebereze! Bwe tuba mu buweereza, tubeera wamu ne mikwano gyaffe egyo egy’oku lusegere.”​—2 Abakkolinso 2:17. *

9. (a) Ebikwata ku mulimu gw’okuvuba ogwakolebwa Peetero n’abatume abalala byoleka kiruubirirwa ki ekituufu eky’okugondera Yesu mu ngeri esaanidde? (b) Kiruubirirwa ki ekituufu eky’okugondera Katonda ne Kristo leero, era lwaki?

9 Ate era, ebikwata ku kuvuba ebyennyanja mu ngeri ey’eky’amagero, bitulaga obukulu bw’okubeera n’ekiruubirirwa ekituufu nga tugondera Kristo, kwe kugamba, tumugondera lwa kwagala. Peetero bwe yagamba nti “Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibi,” Yesu teyamuleka ate era talina kibi kyonna kye yamunenya. (Lukka 5:8) Era Yesu teyamunenya ng’amugambye nti ndeka, wabula, yamuddamu mu ngeri ey’ekisa nti: “Totya.” Kyandibadde kiruubirirwa kikyamu abatume okugondera Kristo olw’okumutya mu ngeri etasaanidde. N’olwekyo, Yesu yalaga Peetero ne banne nti bandibadde ba mugaso nnyo nga bavuba abantu. Mu ngeri y’emu, naffe leero tetuwaliriza bantu kugondera Kristo nga tubatiisatiisa, nga tubasalira omusango oba nga twogera ebibaswaza. Obuwulize obuva ku mutima nga bwesigamye ku kwagala Katonda ne Kristo, bwe bwokka obusanyusa Yakuwa.​—Matayo 22:37.

“Mufuule Amawanga Gonna Abayigirizwa”

10. (a) Kiki ekyali mu kiragiro kya Yesu eky’okufuula abalala abayigirizwa ekyaleetawo okusoomooza eri abagoberezi be? (b) Abayigirizwa ba Yesu baakola ki nga baweereddwa ekiragiro ekyo?

10 Ekibuuzo eky’okubiri ekyajjawo ekikwata ku kugondera ekiragiro kya Kristo kiri nti, omulimu guno ogw’okufuula abantu abayigirizwa gusaanidde kukolebwa wa? Yesu yagamba abagoberezi be: “Mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Nga Yesu tannatandika buweereza bwe, ab’amawanga baayanirizibwanga bwe baabanga bazze mu Isiraeri okuweereza Yakuwa. (1 Bassekabaka 8:41-43) Okusingira ddala, Yesu yayigiriza Bayudaaya enzaalwa, kyokka kati yagamba abagoberezi be okugenda mu mawanga gonna. Mu butuufu, abayigirizwa baali bavubira mu “kidiba,” kwe kugamba, baali babuulira Abayudaaya enzaalwa​—kyokka mu bbanga ttono, ekitundu ekyo kyali kigenda kuzingiramu “ennyanja” y’abantu bonna. Wadde ng’enkyukakyuka eno yaleetawo okusoomooza eri abayigirizwa, baagondera ekiragiro kya Yesu. Ng’emyaka teginnawera 30 okuva Yesu lwe yafa, omutume Pawulo yasobola okuwandiika nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu,” so si mu Bayudaaya bokka.​—Abakkolosaayi 1:23.

11. ‘Ensi ze tuvubamu’ zeeyongedde zitya okuva ku ntandikwa y’ekyasa 20?

11 Mu ngeri y’emu, ekitundu ekibuulirwamu kyeyongedde kugaziwa gye buvuddeko awo. Ku ntandikwa y’ekyasa 20, ‘ebitundu eby’okuvubamu’ byali mu nsi ntono ddala. Kyokka, abagoberezi ba Yesu ab’omu kiseera ekyo baakoppa eky’okulabirako ky’Abakristaaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe batyo ne bagaziya ekitundu eky’okubuuliramu. (Abaruumi 15:20) Mu matandika g’emyaka gya 1930, baali bafuula abantu abayigirizwa mu nsi nga 100. Leero, ‘ensi ze tuvubamu’ ziri 235.​—Makko 13:10.

“Okuva mu Nnimi Zonna”

12. Obunnabbi obuli mu Zekkaliya 8:23, bwoleka ki?

12 Okuba nti ekitundu ekibuulirwamu kigazi nnyo, si kye kyokka ekizibuwaza omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa naye era n’ennimi ez’enjawulo ezoogerwa. Yakuwa yalagula bw’ati okuyitira mu nnabbi Zekkaliya: ‘Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ (Zekkaliya 8:23) Mu kutuukirizibwa okusingawo okw’obunnabbi buno, “omuntu Omuyudaaya” akiikirira ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ate ‘abantu ekkumi’ bakiikirira ‘ab’ekibiina ekinene.’ * (Okubikkulirwa 7:9, 10; Abaggalatiya 6:16) Ekibiina ekinene eky’abagoberezi ba Kristo kyandibadde kisangibwa mu mawanga mangi, ate era nga Zekkaliya bwe yagamba, bandibadde boogera ennimi nnyingi. Ebyafaayo by’abantu ba Katonda ab’omu kiseera kino biraga nti obunnabbi obwo butuukiridde? Yee.

13. (a) Nkyukakyuka ki mu nnimi ezibaddewo mu bantu ba Katonda leero? (b) Ekibiina ky’omuddu omwesigwa kikozeewo ki ng’obwetaavu bw’emmere ey’eby’omwoyo bweyongedde? (Laba n’akasanduuko “Ebitabo bya Bamuzibe.”)

13 Mu myaka gya 1950 olulimi oluzaaliranwa olw’Abajulirwa ba Yakuwa 3 ku buli Bajulirwa 5 lwali Lungereza. Omwaka gwa 1980 we gwatuukira, omuwendo gwali gusse, nga gutuuse ku Bajulirwa 2 ku buli Bajulirwa 5, ate leero, Omujulirwa 1 ku buli Bajulirwa 5 y’ayogera Olungereza ng’olulimi lwe oluzaaliranwa. Ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi kikozeewo ki ku nkyukakyuka eno ezzeewo mu nnimi? Kigaba emmere ey’eby’omwoyo mu nnimi nnyingi. (Matayo 24:45) Ng’ekyokulabirako, mu 1950 ebitabo byaffe byali bikubibwa mu nnimi 90, kyokka kati bikubibwa mu nnimi nga 400. Okufaayo ku bantu aboogera ennimi ez’enjawulo kuvuddemu emiganyulo? Yee! Buli wiiki abantu nga 5,000 okuva mu “nnimi zonna” bafuuka bayigirizwa ba Kristo! (Okubikkulirwa 7:9) Era okweyongerayongera kukyagenda mu maaso. Mu nsi ezimu, “obutimba” bukwasa ebyennyanja bingi!​—Lukka 5:6; Yokaana 21:6.

Obuweereza Obuganyula​—Osobola Okubwenyigiramu?

14. Tusobola tutya okuyamba abantu abali mu kitundu kyaffe aboogera ennimi endala? (Laba n’akasanduuko “Okukozesa Olulimi lwa Bakiggala Okufuula Abayigirizwa.”)

14 Olw’okuba abantu bangi basenga mu nsi nnyingi, kati ababuulizi kibeetaagisa okufuula abantu abayigirizwa mu ‘buli lulimi,’ nga bali mu nsi yaabwe mwennyini. (Okubikkulirwa 14:6) Tusobola tutya okuyamba abantu abali mu kitundu kyaffe aboogera ennimi endala? (1 Timoseewo 2:4) Mu ngeri ey’okugereesa, nga tukozesa ebyo ebinaatuyamba okuvuba obulungi. Abantu ng’abo tubawa obutabo obuli mu nnimi ze boogera. Bwe kiba kisoboka, tusaba Omujulirwa ayogera olulimi lwabwe okubakyalira. (Ebikolwa 22:2) Kati kyangu okukola enteekateeka zino okuva Abajulirwa bangi bwe bayize ennimi endala okusobola okuyamba abagwira okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Alipoota ziraga nti okuyamba abantu mu ngeri ng’eyo kuvaamu emiganyulo.

15, 16. (a) Byakulabirako ki ebiraga nti kya muganyulo okuyamba abo aboogera olulimi olulala? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku kuweereza mu kitundu mwe boogera olulimi olugwira bye tuyinza okulowoozaako?

15 Lowooza ku byokulabirako bibiri okuva mu Netherlands, omulimu ogw’okubuulira gye gukolebwa mu nnimi 34. Omugogo gw’abafumbo gwewaayo okukola omulimu gw’okufuula abayigirizwa mu basenze aboogera olulimi Olupolishi. Ebyava mu kufuba kwabwe byali birungi nnyo ne kiba nti omwami yasalawo okukendeeza ku mirimu gye, kimusobozese okufunayo olunaku olulala lumu mu wiiki okuyigiriza Baibuli abo abaalaga okusiima. Mu bbanga ttono, abafumbo abo baali bayigiriza abantu 20 Baibuli buli wiiki. Bagamba: “Obuweereza bwaffe butusanyusa nnyo.” Abo abafuula abantu abayigirizwa bafuna essanyu lya nsusso bwe balaba abo be bayigiriza amazima ga Baibuli mu nnimi ze bategeera nga balaze okusiima. Ng’ekyokulabirako, mu lukuŋŋaana olwali mu Vietnamese, omusajja omu nnamukadde, yayimirira n’asaba akkirizibwe okubaako ky’ayogera. Ng’amaziga gamuttulukuka, yagamba Abajulirwa: “Mwebale nnyo okufuba okuyiga olulimi lwange oluzibu. Nsiima nnyo okuyiga ebintu ebirungi okuva mu Baibuli ku myaka gyange gino egy’obukadde.”

16 N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abo abaweereza mu bibiina ebyogera olulimi olugwira bafuna essanyu lya nsusso. Omugogo gw’abafumbo okuva mu Bungereza gwagamba: “Obuweereza bw’omu kitundu gye boogera olulimi olugwira bwe bumu ku buweereza obukyasinzeyo okutunyumira mu myaka 40 gye tumaze nga tuweereza.” Osobola okukyusa mu mbeera z’obulamu bwo kikusobozese okwenyigira mu buweereza buno obuleeta essanyu? Bw’oba okyasoma, osobola okuyiga olulimi olugwira okusobola okweteekerateekera obuweereza obw’engeri eyo? Okukola ekyo kijja kukusobozesa okuba n’obulamu obw’omuganyulo. (Engero 10:22) Lwaki kino tokyogerako ne bazadde bo?

Okukyusa mu Ngeri Gye Tubuuliramu

17. Tusobola tutya okutuukirira abantu bangi okusinga ku be tutuukirira mu kitundu ekibiina kyaffe mwe kibuulira?

17 Kyo kituufu nti abasinga obungi ku ffe, embeera tezitukkiriza kusuula ‘butimba’ mu bitundu gye boogera olulimi olulala. Naye, tusobola okutuukirira abantu bangi okusinga ku be tutuukirira mu kitundu ekibiina kyaffe mwe kibuulira. Mu ngeri ki? Nga tukyusa mu ngeri gye tubuuliramu so si mu bubaka bwe tubuulira. Mu bitundu bingi abantu babeera mu mayumba agakuumibwa ennyo ne kiba nti si kyangu kugayingiramu. Ate abalala bangi tebabeera waka mu kiseera we tubuulirira nju ku nju. N’olwekyo, kiyinza okutwetaagisa okusuula obutimba bwaffe mu biseera eby’enjawulo era mu bitundu eby’enjawulo. Mu ngeri eyo tuba tukoppa Yesu. Yafuba nga bw’asobola okwogera n’abantu mu mbeera ez’enjawulo.​—Matayo 9:9; Lukka 19:1-10; Yokaana 4:6-15.

18. Eky’okuwa obujulirwa mu mbeera ezitali zimu, kivuddemu miganyulo ki? (Laba n’akasanduuko “Okufuula Abakozi Abayigirizwa.”)

18 Mu nsi ezimu, okubuulira abantu wonna we basangibwa, ngeri nnungi nnyo ey’okufuula abantu abayigirizwa. Abo abalina obumanyirivu mu kufuula abantu abayigirizwa beeyongedde okufuba okuwa obujulirwa mu bifo ebitali bimu. Ng’oggyeko okwenyigira mu kubuulira nju ku nju, kati ababuulizi babuulira ku bisaawe by’ennyonyi, mu mawofiisi, mu maduuka, awasimba emmotoka, ku siteegi za bbaasi, ku nguudo, mu bifo ebiwummulirwamu, ku mbalama z’ennyanja, ne mu bifo ebirala. Bangi ku Bajulirwa abaakabatizibwa mu Hawaii, baasangibwa mu bifo ng’ebyo omulundi gwe baasooka okutuukirirwa. Okukyusa mu ngeri gye tubuuliramu kituyamba okutuukiriza ekiragiro kya Yesu eky’okufuula abantu abayigirizwa.​—1 Abakkolinso 9:22, 23.

19. Bintu ki ebikwata ku mulimu Yesu gwe yatuwa bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

19 Omulimu Yesu gwe yawa abagoberezi, tegwalimu kalonda yekka akwata ku nsonga lwaki tulina okubuulira era ne wa we tulina okubuulira, naye era gwali guzingiramu ne kiki kye tusaanide okubuulira era na kutuusa ddi. Ebintu bino ebibiri ebizingirwa mu mulimu Yesu gwe yatuwa, tujja kubyekenneenya mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

^ Mu kitundu kino, tugenda kwekenneenyako ebibuuzo ebibiri ebisooka. Ate ebirala ebibiri tujja kubyekenneenya mu kitundu ekiddako.

^ Ensonga endala lwaki tubuulira, zisangibwa mu Engero 10:5; Amosi 3:8; Matayo 24:42; Makko 12:17; Abaruumi 1:14, 15.

^ Ng’oyagala okumanya ebisingawo ebikwata ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno, laba Omunaala gw’Omukkumi aka Jjuuni 1, 2001, olupapula 10, n’akatabo Isaiah’s Prophecy​—Light for All Mankind, Omuzingo 2 olupapula 408, ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Okyajjukira?

• Nsonga ki era biruubirirwa ki bye tuba nabyo nga twenyigira mu kubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa?

• Abaweereza ba Yakuwa batuuse wa mu kukola omulimu Yesu gwe yabawa ogw’okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna?

• Tuyinza tutya okukyusakyusa mu ‘ngeri gye tuvubamu,’ era lwaki tusaanidde okukyusakyusa?

Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Ebitabo bya Bamuzibe

Albert abeera mu Amerika, mukadde mu kibiina Ekikristaayo ng’era aweereza ekiseera kyonna. Kyokka bambi muzibe. Okukozesa ebitabo ebiri mu mpandiika ya bamuzibe ebyesigamiziddwa ku Baibuli, kimuyamba mu buweereza bwe era ne mu mirimu emirala gy’akola ng’omulabirizi w’obuweereza. Atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bw’alina mu kibiina?

James akubiriza akakiiko k’abakadde agamba: “Mu kibiina kyaffe, tetubangako na mulabirizi wa buweereza asinga Albert.” Albert y’omu ku bamuzibe 5,000 mu Amerika abamaze ebbanga nga bafuna ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebiri mu mpandiika ya bamuzibe ey’Olungereza n’Olusipanisi. Mu butuufu, okuva mu 1912 n’okweyongerayo, ekibiina ky’omuddu omwesigwa kikubye ebitabo eby’enjawulo ebisukka mu 100 ebiri mu mpandiika ya bamuzibe. Nga beeyambisa ebyuma ebikozesa tekinologiya ow’oku mulembe, Abajulirwa ba Yakuwa bakuba obukadde n’obukadde bw’ebitabo bya bamuzibe mu nnimi kumi, era ebitabo ebyo bisaasaanyizibwa mu nsi ezisukka mu 70. Olina gw’omanyi ayinza okuganyulwa mu bitabo bino ebya bamuzibe?

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Okukozesa Olulimi lwa Bakiggala Okufuula Abayigirizwa

Enkumi n’enkumi z’Abajulirwa nga mw’otwalidde n’abavubuka abanyiikivu, bayize olulimi lwa bakiggala okusobola okuyamba bakiggala okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Olw’okufuba okwo, mu Brazil mwokka, bakiggala 63 baabatizibwa mu mwaka gumu gye buvuddeko awo, era kati bakiggala 35 mu nsi eyo bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Okwetooloola ensi, waliwo ebibiina 1,200 ebikozesa olulimi lwa bakiggala. Ekitundu (circuit) mu Russia eky’ebibiina ebikozesa olulimi lwa bakiggala kye kisingayo obunene mu nsi yonna.

[Akasanduuko akali ku lupapula 23]

Okufuula Abakozi Abayigirizwa

Bwe yali akyalira abakozi mu ofiisi zaabwe, Omujulirwa omu okuva mu Hawaii yasisinkana n’omwami eyali akulira kampuni y’eby’entambula. Wadde nga yalina eby’okukola bingi, omwami oyo yakkiriza okuyiga Baibuli okumala eddakiika 30 buli wiiki mu ofiisi ye. Buli Lwakusatu ku makya asaba abakozi be bamukwatire amasimu asobole okussaayo omwoyo ku by’ayiga. Omujulirwa omulala mu Hawaii asoma Baibuli omulundi gumu buli wiiki n’omukyala alina edduuka eriddaabiriza engatto. Basomera ku mmeeza y’omu dduuka. Bakasitoma bwe bajja, omujulirwa yeesega n’adda ku bbali. Bwe bagenda, okuyiga kugenda mu maaso.

Bombi omukulu wa kampuni ne nnannyini dduuka baatuukirirwa olw’okuba Abajulirwa baafuba okusuula “obutimba” mu bifo eby’enjawulo. Osobola okulowoozaayo ebifo mu kitundu ekibiina kyo mwe kibuuulira by’oyinza okusangamu abantu abatatera kubeera waka?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Osobola okuweereza mu kitundu mwe boogera olulimi olulala?