Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obulamu Bwo Butwale nga bwa Muwendo

Obulamu Bwo Butwale nga bwa Muwendo

Obulamu Bwo Butwale nga bwa Muwendo

“Omusaayi gwa Kristo [gujja] kunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu [musobole] okuweereza Katonda omulamu.”​—ABAEBBULANIYA 9:14.

1. Kiki ekikakasa nti obulamu tubutwala nga bwa muwendo nnyo?

 SINGA bakubuuza nti, obulamu bwo obutwala nga bwa muwendo kwenkana wa, wandizzeemu otya? Obulamu bwaffe n’obw’abalala tubutwala nga bwa muwendo nnyo. Okusobola okukakasa ekyo, tugenda eri omusawo okujjanjabibwa oba okukeberebwa buli luvannyuma lw’akabanga. Twagala tubeerewo nga tuli balamu bulungi. Wadde n’abantu abasinga obungi abakaddiye oba abalina obukosefu ku mubiri, tebaagala kufa; baagala okubeerawo nga balamu.

2, 3. (a) Engero 23:22 lulaga lutya kye tusaanidde okukola? (b) Ebiri mu Engero 23:22 biraga bitya nti tuvunaanyizibwa eri Katonda?

2 Engeri gy’otwalamu obulamu, erina ky’ekola ku ngeri gy’okolaganamu n’abantu abalala. Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kya Katonda kigamba: “Owuliranga kitaawo eyakuzaala, so tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye.” (Engero 23:22) ‘Okuwulira’ tekitegeeza kuwulira buwulizi bigambo. Olugero luno lutegeeza okuwuliriza era n’okugondera ekyo omuntu ky’aba akugambye. (Okuva 15:26; Ekyamateeka 7:12; 13:18; 15:5; Yoswa 22:2; Zabbuli 81:13) Ekigambo kya Katonda kiwa nsonga ki eyandikuleetedde okuwulirizanga kitaawo ne nnyoko? Ensonga teri nti bakusinga obukulu kyokka oba nti balina obumanyirivu okukusinga. Ensonga eri nti, ‘be baakuzaala.’ Enzivuunula endala zigamba bwe ziti: “Owuliranga kitaawo eyakuwa obulamu.” Mazima ddala, bw’otwala obulamu bwo nga bwa muwendo, owulira ng’ovunaanyizibwa eri oyo eyabukuwa.

3 Kya lwatu, bw’oba ng’oli Mukristaayo ow’amazima, okimanyi nti Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu bwo. Kubanga mu oyo oli “mulamu,” ‘otambula,’ olina enneewulira; ‘wooli’ era osobola okulowooza oba okukola enteekateeka ez’omu biseera eby’omu maaso, nga mw’otwalidde n’ez’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Ebikolwa 17:28; Zabbuli 36:9; Omubuulizi 3:11) Mu ngeri etuukagana ne Engero 23:22, kigwanira ‘okuwuliranga’ Katonda, okumugondera, okwagala okumutegeera, era n’okubeera n’endowooza gy’alina ku bulamu mu kifo ky’okubutwala nga ffe bwe tulaba.

Laga nti Obulamu Obussaamu Ekitiibwa

4. Ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, okuwa obulamu ekitiibwa yafuuka etya ensonga enkulu?

4 Okuviira ddala ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, Yakuwa yakiraga kaati nti yali takkiriza bantu kukozesa bulamu nga bo bwe balaba (oba okubutyoboola). Olw’okuba Kayini yalina obuggya bungi, yasaanyaawo obulamu obutaalina musango, kwe kugamba, obwa muganda we Abbeeri. Olowooza Kayini yalina obuyinza okusalawo mu ngeri eyo ku bulamu? Okusinziira ku Katonda, Kayini teyalina buyinza obwo. Katonda yasaba Kayini annyonnyole ensonga emukozesezza ekintu ekyo: ‘Okoze ki? Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.’ (Olubereberye 4:10) Weetegereze nti omusaayi gwa Abeeri mu ttaka gwali kukiikirira obulamu bwe, obwali bukomezeddwa embagirawo mu ngeri ey’obukambwe ennyo era gwakaabirira Katonda awoolere eggwanga.​—Abaebbulaniya 12:24.

5. (a) Kiki Katonda kye yakugira abantu okukola mu kiseera kya Nuuwa, era kyali kikwata ku ani? (b) Mu ngeri ki etteeka eryo gye lyali ekkulu?

5 Oluvannyuma lw’Amataba, olulyo lw’omuntu lwatandika buppya n’abantu munaana bokka. Mu bigambo bye yayogera ebikwata ku bantu bonna, Katonda alina ebirala bye yabikkula ebiraga nti atwala obulamu n’omusaayi nga bya muwendo. Yagamba nti abantu baali basobola okulya ennyama y’ensolo, naye ate n’abakugira bw’ati: “Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng’omuddo ogumera byonna mbibawadde. Naye ennyama awamu n’obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga.” (Olubereberye 9:3, 4) Abayudaaya abamu bagamba nti ebigambo ebyo bitegeeza nti abantu tebaali ba kulya nnyama oba omusaayi gwa nsolo ekyali nnamu. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, kyategeerekeka bulungi nti Katonda yali agaanyi abantu okulya omusaayi gwonna okusobola okubeesaawo obulamu. Okwongereza ku ekyo, etteeka Katonda lye yawa okuyitira mu Nuuwa lyali kkulu nnyo mu kutuukiriza ekigendererwa kye ekikulu ekizingiramu omusaayi, kwe kugamba, ekigendererwa ekyandisobozesezza abantu okufuna obulamu obutaggwaawo.

6. Okuyitira mu Nuuwa, Katonda yalaga atya nti atwala obulamu nga bwa muwendo?

6 Katonda era yagamba: “Omusaayi gwammwe, ogw’obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo n’aguvunaananga: n’eri omuntu, eri buli muganda w’omuntu, n’avunaananga obulamu bw’omuntu. Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw’omuntu, omusaayi gwe guyiyibwenga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu.” (Olubereberye 9:5, 6) Mu bigambo ebyo bye yayogera ebikwata ku bantu bonna, osobola okukiraba nti Katonda atwala omusaayi gw’omuntu okuba nga gukiikirira obulamu bw’omuntu. Omutonzi y’awa omuntu obulamu, era tewali muntu n’omu asaanidde okukomya obulamu obwo obukiikirirwa omusaayi. Okufaananako Kayini, singa omuntu atta muntu munne, Omutonzi alina obuyinza ‘okumuggyako’ obulamu bwe.

7. Lwaki twandifuddeyo nnyo ku kiragiro Katonda kye yawa Nuuwa ekikwata ku musaayi?

7 Mu bigambo bye ebyo, Katonda yali alagira abantu obutakozesa bubi musaayi. Wali weebuuzizzaako lwaki Katonda yawa ekiragiro ekyo era n’ensonga lwaki yalina endowooza ng’eyo ku bulamu? Mu butuufu, eky’okuddamu kikwata ku emu ku njigiriza ezisingayo obukulu mu Baibuli. Era ng’enjigiriza eyo ye yeesigamiziddwako obubaka Abakristaayo bwe babuulira wadde ng’amakanisa mangi gasalawo okugibuusa amaaso. Enjigiriza eyo y’eruwa, era ekwata etya ku bulamu bwo, by’osalawo ne ku nneeyisa yo?

Omusaayi Gwandikozeseddwa Gutya?

8. Mu Mateeka, Yakuwa yagamba nti omusaayi gwalina kukozesebwa gutya?

8 Waliwo ebirala bingi Yakuwa bye yayogera ebikwata ku bulamu n’omusaayi bwe yali ng’awa Abaisiraeri Amateeka okuyitira mu Musa. Bwe yali abawa Amateeka ago, alina ekirala kye yakola ekyandisobozesezza ekigendererwa kye okutuukirizibwa. Oyinza okuba okimanyi nti Amateeka gaali geetaaza abantu okuwaayo ebiweebwayo, gamba ng’obutta, amafuta n’envinnyo. (Eby’Abaleevi 2:1-4; 23:13; Okubala 15:1-5) Era ne ssaddaaka ez’ensolo zaaweebwangayo. Katonda yagamba bw’ati: “Obulamu bw’ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw’obulamu. Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n’omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi.” Era Yakuwa yagamba nti, singa omuntu yenna gamba ng’omuyizzi oba omulunzi, atta ensolo okugirya, yalinanga okugiggyamu omusaayi gwonna era n’agubikako n’ettaka. Olw’okuba ensi ye ntebe y’ebigere bya Katonda, omuntu bwe yayiwanga omusaayi ku ttaka, yabanga akiraga nti obulamu buzzeeyo eri Oyo Eyabugaba.​—Eby’Abaleevi 17:11-13; Isaaya 66:1.

9. Mu Mateeka, ngeri ki emu yokka omusaayi gye gwakkirizibwa okukozesebwa, era ekyo kyalina kigendererwa ki?

9 Eteeka eryo teryali mukolo bukolo gwa ddiini ogutaliimu makulu gonna gye tuli. Weetegerezza ensonga lwaki Abaisiraeri tebaalina kulya musaayi? Katonda yagamba: “Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi.” Lwa nsonga ki? “Ngubawadde ku kyoto [omusaayi] okutangiriranga obulamu bwammwe.” Olaba engeri ekiragiro ekyo gye kitusobozesa okutegeera ensonga lwaki Katonda yagamba Nuuwa nti abantu tebaalina kulya musaayi? Omutonzi kennyini yasalawo okutwala omusaayi okuba ogw’omuwendo ennyo, ng’ayagala gukozesebwe mu ngeri emu yokka ey’enjawulo eyandisobozesezza okulokola obulamu. Gwali gwetaagisa nnyo okubikka ku bibi (okutangirira ebibi). N’olwekyo, mu Mateeka, Katonda yakkiriza abantu okukozesa omusaayi ku kyoto kwokka okusobola okutangirira obulamu bw’Abaisiraeri abaali baagala okusonyiyibwa Yakuwa.

10. Lwaki omusaayi gw’ensolo tegwasobozesanga kusonyiyibwa bibi mu bujjuvu, naye ssaddaaka ez’omu Mateeka zajjukizanga ki abantu?

10 Omusaayi okuba nti gutangirira ekibi teyawukana ku njigiriza y’Ekikristaayo. Ng’ajuliza ku nteekateeka ya Katonda eno ey’omu Mateeka, omutume Pawulo yagamba: “Mu Mateeka kubulako katono ebintu byonna okutuukuzibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.” (Abaebbulaniya 9:22) Pawulo yakiraga bulungi nti ssaddaaka ezaali zeetaagisa okuweebwayo tezaafuula Baisiraeri kuba batuukirivu oba abantu abatalina bibi. Yawandiika: “Naye mu ezo [ssaddaaka], mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka. Kubanga tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi.” (Abaebbulaniya 10:1-4) Wadde kyali kityo, ssaddaaka ezo zaali za mugaso. Zajjukizanga Abaisiraeri nti baali boonoonyi era nti beetaaga ekintu ekisingawo okusobola okusonyiyibwa ebibi byabwe mu bujjuvu. Naye, bwe kiba nti omusaayi ogwali kukiikirira obulamu bw’ensolo tegwayinza kuggirawo ddala bibi by’abantu, waliwo omusaayi gwonna ogwandisobodde okukola ekyo?

Enteekateeka y’Omuwi w’Obulamu

11. Tumanya tutya nti ssaddaaka ez’omusaayi gw’ensolo zaali zirina kye zisongako?

11 Amateeka gaali gasonga ku kintu ekikulu ennyo mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. Pawulo yabuuza: “Kale Amateeka kiki?” Yaddamu: “Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w’alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy’omutabaganya [Musa].” (Abaggalatiya 3:19) Mu ngeri y’emu Pawulo yawandiika: “Amateeka  . . . galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo.”​—Abaebbulaniya 10:1.

12. Ku nsonga ekwata ku musaayi, tusobola tutya okutegeera engeri ekigendererwa kya Katonda gye kigenda kibikkulibwamu?

12 Nga bwe tuyize mu kitundu kino, kijjukire nti mu biseera bya Nuuwa Katonda yakkiriza abantu okulya ennyama y’ebisolo, naye n’abagaana okulya musaayi. Oluvannyuma, Katonda yagamba, “obulamu bw’ennyama buli mu musaayi.” Mazima ddala, yasalawo okutwala omusaayi okuba nga gukiikirira obulamu era n’agamba: “Ntadde omusaayi ku kyoto olw’okutangirira obulamu bwammwe.” Kyokka ekigendererwa kya Katonda kyali kya kweyongera okubikkulwa. Amateeka gaalina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali bigenda okujja. Birungi ki ebyo?

13. Lwaki okufa kwa Yesu kwali kukulu?

13 Ekigendererwa kya Katonda ekyo kyali kya kutuukirizibwa okuyitira mu kufa kwa Yesu Kristo. Okimanyi nti Yesu yabonyaabonyezebwa era n’akomererwa. Yafa ng’omumenyi w’amateeka. Pawulo yawandiika: “Bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda. . . . Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira.” (Abaruumi 5:6, 8) Mu kutufiiririra, Kristo yawaayo ekinunulo okusobola okubikka ku bibi byaffe. Y’emu ku njigiriza enkulu ennyo mu bubaka Abakristaayo bwe babuulira. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16; 1 Abakkolinso 15:3; 1 Timoseewo 2:6) Ekyo kirina kakwate ki n’omusaayi n’obulamu, era obulamu bwo buzingirwamu butya?

14, 15. (a) Enkyusa ezimu zivvuunula zitya Abaefeso 1:7 mu ngeri eteeka essira ku kufa kwa Yesu? (b) Nsonga ki eyinza okubuusibwa amaaso mu Abaefeso 1:7?

14 Amakanisa agamu gateeka essira ku kufa kwa Yesu, era ng’abagoberezi baago boogera ebigambo nga, “Yesu yanfiiririra.” Weetegereze engeri enkyusa ezimu eza Baibuli gye zivvuunulamu Abaefeso 1:7: “Mu ye era okuyitira mu kufa kwe tununulibwa, kwe kugamba, okuggyawo ebibi byaffe.” (The American Bible, eyakyusibwa Frank Scheil Ballentine, 1902) “Okuyitira mu kufa kwa Kristo tusumululwa, era ebibi byaffe bisonyiyibwa.” (Today’s English Version, 1966) “Okuyitira mu Kristo ne mu ssaddaaka y’obulamu bwe, twanunulibwa, okununulibwa okutegeeza okusonyiyibwa ebibi.” (The New Testament, eyakyusibwa William Barclay, 1969) “Okuyitira mu kufa kwa Kristo ebibi byaffe bisonyiyibwa era ne tusumululwa.” (The Translator’s New Testament, 1973) Osobola okulaba nti mu nkyusa ezo essira lissibwa ku kufa kwa Yesu. Naye, abamu bayinza okugamba nti, ‘okufa kwa Yesu ddala kukulu nnyo, kati olwo kiki ekibulamu mu nkyusa ezo?’

15 Mazima ddala, bw’oba ng’ezo ze nkyusa zokka z’olinawo, oyinza okubuusa amaaso ensonga enkulu ennyo, era ekyo kiyinza okukulemesa okutegeera obulungi obubaka bwa Baibuli. Enkyusa ng’ezo teziggyayo nsonga enkulu eri mu biwandiiko bya Baibuli ebyasooka mu kitabo kya Abaefeso 1:7 ebirimu ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “omusaayi.” Kyokka, Baibuli nnyingi zivvuunula bulungi ekyawandiikibwa ekyo okuva mu biwandiikibwa bya Baibuli ebyasooka, ng’ekyokulabirako New World Translation, egamba: “Mu ye tusumululwa okuyitira mu kinunulo ky’omusaayi gw’oyo, yee, tusonyiyibwa ebibi byaffe, okusinziira ku bugagga obw’ekisa kye ekitatusaanira.”

16. Ebigambo “omusaayi gw’oyo” birina kutujjukiza ki?

16 Ebigambo “omusaayi gw’oyo” bya makulu nnyo era bisaanidde okutujjukiza ensonga nnyingi ezikwata ku musaayi. Waliwo ebirala bingi ebyali byetaagisa okusinga ku kufa obufi, wadde n’okufa okw’omuntu atuukiridde Yesu. Yatuukiriza ebyo Amateeka bye gaali gasongako, naddala ebyo ebyakolebwanga ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi. Ku lunaku olwo olw’enjawulo, waliwo ebisolo ebyaweebwangayo. Oluvannyuma kabona asinga obukulu yatwalanga ogumu ku musaayi mu Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu, n’aguwaayo eri Katonda.​—Okuva 25:22; Eby’Abaleevi 16:2-19.

17. Yesu yatuukiriza atya ekyo Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi kye lwali lusongako?

17 Yesu yatuukiriza ekyo Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi kye lwali lusongako nga Pawulo bwe yannyonnyola. Okusooka yagamba nti kabona asinga obukulu mu Isiraeri yayingiranga Awasinga Obutukuvu omulundi gumu buli mwaka n’omusaayi ogw’okuwaayo ‘ku lulwe ye ne ku lw’ebibi abantu bye baakolanga mu butamanya.’ (Abaebbulaniya 9:6, 7) Mu ngeri etuukagana n’ekyo ekyabangawo ku lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, Yesu ng’amaze okuzuukizibwa ng’omuntu ow’omwoyo, yagenda mu ggulu. Ng’ekitonde eky’omwoyo ekitalina nnyama na musaayi, yali asobola okulabika “mu maaso ga Katonda ku lwaffe.” Kiki kye yawaayo eri Katonda? Tekyali kintu ekirabibwa n’amaaso naye kyali ekintu ekikulu ennyo. Pawulo era agamba: ‘Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu, teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nnyana, wabula yayingirayo na musaayi gwe gwennyini, omulundi gumu mu watukuvu, okutufunira okununulibwa okutaggwaawo. Kuba oba ng’omusaayi gw’embuzi n’ente ennume bitukuza okunaaza omubiri; omusaayi gwa Kristo eyeewaayo yekka olw’Omwoyo ogutaggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?’ Mazima ddala, Yesu yawaayo eri Katonda omuwendo ogw’omusaayi gwe.​—Abaebbulaniya 9:11-14, 24, 28; 10:11-14; 1 Peetero 3:18.

18. Lwaki Baibuli by’eyogera ku musaayi bisaanidde okuba ebikulu ennyo eri Abakristaayo leero?

18 Amazima gano agava eri Katonda gatusobozesa okutegeera ebintu byonna Baibuli by’eyogera ku musaayi, kwe kugamba, ensonga lwaki Katonda agutwala nga gwa muwendo, engeri gye twandigututtemu era n’ensonga lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu biragiro Katonda by’awadde ku nkozesa yaagwo. Bw’onooba ng’osoma Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, ojja kusangamu bingi ebyogera ku musaayi gwa Kristo. (Laba akasanduuko.) Ebyawandiikibwa ebyo biraga bulungi nti buli Mukristaayo asaanidde okukkiririza mu ‘musaayi gwa Yesu.’ (Abaruumi 3:25) Tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe era ne tufuna emirembe ne Katonda ‘okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa.’ (Abakkolosaayi 1:20) Kino kisoboka eri abo Yesu be yakola nabo endagaano ey’enjawulo okufugira awamu naye mu ggulu. (Lukka 22:20, 28-30; 1 Abakkolinso 11:25; Abaebbulaniya 13:20) Naye era kisoboka n’eri “ab’ekibiina ekinene” abaliwo leero, abajja okuwonawo ku “kibonyoobonyo ekinene” era bafune obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Mu ngeri ey’akabonero, ‘bayoza engoye zaabwe mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.’​—Okubikkulirwa 7:9, 14.

19, 20. (a) Lwaki Katonda yasalawo okuwa ebiragiro ebikwata ku nkozesa y’omusaayi, era ekyo kyanditukutteko kitya? (b) Kiki kye twandyagadde okutegeera?

19 Awatali kubuusabuusa, omusaayi gulina amakulu ag’enjawulo mu maaso ga Katonda. Era bwe kyandibadde ne gye tuli. Omutonzi afaayo ennyo ku bulamu, alina obuyinza okuwa ebiragiro ku ngeri abantu gye balina okukozesaamu omusaayi. Olw’okuba afaayo nnyo ku bulamu bwaffe, yasalawo omusaayi gukozesebwe mu ngeri emu yokka esingayo obukulu, nga y’eyo etusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Engeri eyo ezingiramu omusaayi gwa Yesu ogw’omuwendo. Nga tuli basanyufu nnyo okulaba nti Yakuwa Katonda yakozesa omusaayi, kwe kugamba omusaayi gwa Yesu, mu ngeri etusobozesa okuba n’obulamu! Era nga twandisiimye nnyo Yesu olw’okuyiwa omusaayi gwe nga ssaddaaka ku lwaffe! Mazima ddala, tuyinza okutegeera ebigambo omutume Yokaana bye yayogera nti: “Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw’omusaayi gwe; n’atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina.”​—Okubikkulirwa 1:5, 6.

20 Okuva edda n’edda, Katonda waffe asingayo okuba ow’amagezi era Ensibuko y’Obulamu, abadde n’enteekateeka eno ey’okuwonyaawo obulamu. Kati tuyinza okwebuuza, ‘Kino kiyinza kukwata kitya ku nneeyisa yaffe ne ku bye tusalawo?’ Tujja kwekenneenya ekibuuzo kino mu kitundu ekiddako.

Wandizzeemu Otya?

• Kiki kye tusobola okuyigira ku ngeri Katonda gy’atwalamu omusaayi okusinziira ku byawandiikibwa ebikwata ku Abbeeri ne Nuuwa?

• Mu Mateeka, kiragiro ki Katonda kye yawa ku nkozesa y’omusaayi, era lwaki?

• Yesu yatuukiriza atya ebyo ebyakolebwanga ku Lunaku lw’Okutangirirako Ebibi?

• Omusaayi gwa Yesu gusobola gutya okuwonya obulamu?

Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 12]

MUSAAYI GW’ANI OGUWONYA OBULAMU?

“Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi [gw’Omwana we] yennyini.”​—Ebikolwa 20:28.

“Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.”​—Abaruumi 5:9.

“Tem[wa]lina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi. Naye kati mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.”​—Abaefeso 2:12, 13.

‘Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; n’okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw’omusaayi gwe ogwayiibwa ku muti.’​—Abakkolosaayi 1:19, 20.

“Kale ab’oluganda, . . . tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw’omusaayi gwa Yesu.”​—Abaebbulaniya 10:19.

“Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, . . . mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; wabula n’omusaayi ogw’omuwendo omungi, ng’ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo.”​—1 Peetero 1:18, 19.

“Bwe tutambulira mu musana, nga ye bw’ali mu musana, tussa kimu fekka na fekka, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.”​—1 Yokaana 1:7.

“Osaanidde okutoola ekitabo n’okubembula obubonero bwakyo: kubanga wattibwa n’ogulira Katonda [abantu] olw’omusaayi gwo mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga.”​—Okubikkulirwa 5:9.

“Aloopa baganda baffe yasuulibwa . . . Nabo baamuwangula olw’omusaayi gw’Omwana gw’endiga, n’olw’ekigambo eky’okutegeeza kwabwe.”​—Okubikkulirwa 12:10, 11.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Okuyitira mu Mateeka, Katonda yakyoleka bulungi nti omusaayi gwandibadde gukozesebwa mu kusonyiyibwa ebibi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Okuyitira mu musaayi gwa Yesu, abantu bangi bandisobodde okulokolebwa