Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli Kiki Ekiyinza Okukuyamba Okugitegeera?

Baibuli Kiki Ekiyinza Okukuyamba Okugitegeera?

Baibuli Kiki Ekiyinza Okukuyamba Okugitegeera?

“BINO wabikweka abagezi n’abakabakaba, n’obibikkulira abaana abato.” (Lukka 10:21) Ebigambo ebyo Yesu bye yagamba Kitaawe ow’omu ggulu biraga nti twetaaga okuba n’endowooza entuufu okusobola okutegeera Baibuli. Ekiraga nti Yakuwa wa magezi kwe kuba nti ekitabo ky’atuwadde kisobola kutegeerwa abo bokka abawombeefu era abaagala okumanya ebimukwatako.

Abasinga obungi ku ffe kituzibuwalira okuba abawombeefu. Kino kiri kityo kubanga obutali butuukirivu bwe twasikira butuleetera okuba ab’amalala. Ate era, tuli “mu nnaku ez’oluvannyuma,” omuli abantu “[a]beeyagala bokka, . . . abakakanyavu, abeegulumiza.” (2 Timoseewo 3:1-4) Engeri zino ze zitulemesa abantu okutegeera Ekigambo kya Katonda. Eky’ennaku, ffenna mu ngeri emu oba endala, tusobola okweyisa ng’abantu abo. Kati olwo tuyinza tutya okufuna endowooza entuufu eneetusobozesa okutegeera Baibuli?

Okuteekateeka Omutima n’Ebirowoozo

Ezera, omu ku baakulembera abantu ba Katonda mu biseera eby’edda, “[yateekateeka] omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama.” (Ezera 7:10) Tusobola tutya okuteekateeka emitima gyaffe? Okusooka, tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku Byawandiikibwa. Ng’awandiikira Bakristaayo banne, omutume Pawulo yagamba: “Kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.” (1 Abasessaloniika 2:13) Wadde ng’abantu be baawandiika Baibuli, bye baawandiika Yakuwa ye yabibawa. Bwe tutegeera kino, tujja kuba n’endowooza entuufu ku ebyo bye tusoma.​—2 Timoseewo 3:16.

Ekintu ekirala ekinaatuyamba okuteekateeka emitima gyaffe kwe kusaba. Okuva bwe kiri nti Baibuli yaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, twetaaga obuyambi bwagwo okusobola okugitegeera. N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Weetegereze engeri omuwandiisi wa Zabbuli gye yasabamu. Yagamba: “Ompe amagezi nange [n]neekuumanga amateeka go; Weewaawo [n]naagakwatanga n’omutima gwange gwonna.” (Zabbuli 119:34) Ng’oggyeko okuba nti okusaba kujja kutusobozesa okutegeera ebyo bye tusoma, era kujja kutuyamba okufuna endowooza ennuŋŋamu eneetusobozesa okukkiriza ebyo ebigirimu. N’olwekyo, bwe tuba twagala okutegeera Baibuli, tuteekwa okuba abeetegefu okukkiriza amazima agagirimu.

Bw’oba ofumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okufunamu endowooza ennuŋŋamu ku Baibuli, lowooza ne ku miganyulo egiva mu kugisoma. Wadde tulina ensonga nnyingi ezituleetera okusoma Ekigambo kya Katonda, esinga obukulu kwe kuba nti twagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. (Yakobo 4:8) Bwe tusoma ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu abo abamwagala, era ne ky’akola abo ababa bamwabulidde, kituyamba okutegeera engeri ze. N’olwekyo, ekigendererwa kyaffe ekikulu mu kusoma Baibuli kwe kwongera okutegeera Katonda tusobole okunyweza enkolagana gye tulina naye.

Ebiyinza Okulemesa Omuntu Okufuna Endowooza Ennuŋŋamu

Kiki ekiyinza okutulemesa okutegeera Ekigambo kya Katonda? Esonga emu eri nti tutya okunyiiza abo be twagala. Ng’ekyokulabirako, by’okkiriza biyinza okuba nga byakuyigirizibwa abo b’otwala okuba nga ba waggulu. Kiba kitya singa abantu ng’abo tebassa kitiibwa mu Kigambo kya Katonda? Mu mbeera efaananako ng’eyo, kiyinza okuba ekizibu okutegeera amazima agali mu Baibuli. N’olwekyo, Baibuli etukubiriza okwekenneenya ebyo bye twayigirizibwa.​—1 Abasessaloniika 5:21.

Malyamu, maama wa Yesu, yaliko mu mbeera efaananako eyo. Okuva mu buto bwe yali agoberera eddiini y’Ekiyudaaya. Yakuumanga Amateeka ga Musa era awatali kubuusabuusa yagendanga ne mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya okusinza. Kyokka oluvannyuma yakizuula nti Katonda yali takyasiima ddiini eyo. Bwe kityo, Malyamu eddiini eyo yagivaamu, n’akkiriza okuyigiriza kwa Yesu, era yali omu ku abo abaaliwo ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikibwawo. (Ebikolwa 1:13, 14) Kino kyali tekitegeeza nti yali tassa kitiibwa mu bazadde be oba mu mpisa z’omu kitundu; wabula, kye yakola kyali kyoleka okwagala kwe yalina eri Katonda. Okufaananako Malyamu, bwe tuba baakuganyulwa mu bye tusoma mu Baibuli, tulina okulaga nti tutya Katonda okusinga abantu.

Eky’ennaku, abantu bangi tebassa kitiibwa mu ekyo Baibuli ky’eyigiriza. Kino bakyoleka mu njogera, n’engeri gye beeyisaamu. Ate era abamu bakuliriza nnyo obulombolombo bw’eddiini obukyamu. Bwe kityo, bw’okkiriza amazima ga Baibuli kiyinza okukuviiramu okuboolebwa mikwano gyo, baliraanwa bo, bakozi banno, n’ab’omu maka mw’obeera. (Yokaana 17:14) Wadde ng’oyinza okuboolebwa abantu ng’abo, Sulemaani yagamba nti: “Gulanga amazima, so togatundaga.” (Engero 23:23) N’olwekyo, singa amazima ogatwala okuba ekintu eky’omuwendo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba okutegeera Baibuli.

Ate era ekintu ekirala ekiremesa abamu okutegeera Baibuli, kwe kuba nti tebaagala kussa mu nkola by’eyigiriza. Yesu yagamba bw’ati abayigirizwa be: “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby’ekyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. Kuba omutima gw’abantu bano gusavuwadde, n’amatu gaabwe gawulira bubi.” (Matayo 13:11, 15) Bangi ku abo Yesu be yabuulira baali tebeefiirayo, era nga si beetegefu kukola nkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Nga baali ba njawulo nnyo ku musuubuzi Yesu gwe yayogerako mu zimu ku ngero ze! Bwe yazuula luulu ey’omuwendo, yatunda byonna bye yalina asobole okugigula. Okufaananako omusuubuzi oyo, twanditutte amazima ga Baibuli ng’ekintu eky’omuwendo.​—Matayo 13:45, 46.

Ekizibu ky’Obutakkiriza Kuyigirizibwa

Ekintu ekirala ekikulu ekiremesa abantu abamu okutegeera Baibuli kwe kuba nti tebaagala kuyigirizibwa muntu gwe batwala okuba nti wa wansi. Kyokka, abatume ba Yesu Kristo baali ‘bantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo.’ (Ebikolwa 4:13) Ng’annyonnyola ensonga lwaki tebaali bayivu, Pawulo yawandiika nti: “Mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab’oluganda, [nga ab’amagezi] ag’omubiri si bangi abayitibwa, ab’amaanyi si bangi, ab’ekitiibwa si bangi: naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ensonyi eby’amaanyi.” (1 Abakkolinso 1:26, 27) Singa muli owulira nti toyagala kuyigirizibwa muntu gw’otwala nti wa wansi, kijjukire nti omuntu oyo Katonda gw’akozesa okukuyigiriza. Si nkizo ya maanyi nnyo okuyigirizibwa Yakuwa, ‘Omuyigiriza Waffe ow’Ekitalo’?​—Isaaya 30:20; 54:13.

Naamani, omudduumizi w’eggye lya Busuuli yakisanga nga kizibu okukolera ku ekyo omuntu owa wansi kye yali amugambye. Bwe yali ayagala okuwonyezebwa ebigenge, yagenda eri nnabbi wa Yakuwa, Erisa. Erisa yatuma omuddu we amugambe ky’alina okukola, Katonda okusobola okumuwonya. Ekyo kye bagamba Naamani okukola n’engeri gye baakimugambamu, byamuleetera okuwulira nti afeebezeddwa, era bwe kityo yasooka n’agaana okukolera ku bigambo bya nnabbi wa Katonda. Kyokka, oluvannyuma yakyusa endowooza ye era yawonyezebwa. (2 Bassekabaka 5:9-14) Mu ngeri y’emu, tusanga obuzibu bwe kituuka ku kusoma Baibuli. Tuyinza okuyiga nti tulina okulekayo enzikiriza enkyamu era n’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Tunaaba beetoowaze ne tukolera ku ebyo omuntu omulala by’atuyigirizza? Abo bokka abaagala okuyigirizibwa be basobola okutegeera obulungi Baibuli.

Omukungu wa Kandake, kwiini w’Abaesiyopya yalaga nti ayagala okuyigirizibwa. Bwe yali mu ggaali lye ng’addayo mu Afirika, omuyigirizwa Firipo yamutuukirira n’amubuuza obanga yali ategeera by’asoma. Olw’okuba yali mwetoowaze, yamuddamu nti: “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira?” Omukungu oyo bwe yategeera obulungi Ekigambo kya Katonda yabatizibwa. Bwe yamala okubatizibwa ‘yagenda asanyuse.’​—Ebikolwa 8:27-39.

Okutwalira awamu, Abajulirwa ba Yakuwa bantu ba bulijjo. Buli wiiki basomesa abantu Baibuli abasukka mu bukadde mukaaga. Abantu bukadde na bukadde bakizudde nti okusoma Baibuli n’okugitegeera obulungi kireeta essanyu erya nnamaddala, kubanga Baibuli eyamba omuntu okuba n’obulamu obusingayo obulungi, emuwa essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, era emuyamba okutegeera obulungi ebikwata ku Katonda. Naawe osobola okufuna essanyu ng’eryo singa osoma Baibuli.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Naamani yakisanga nga kizibu okukolera ku ebyo omuntu owa wansi bye yali amugambye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Okutegeera Baibuli kituleetera essanyu