Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Mugende Mufuule Amawanga Abayigirizwa, Mubabatize’

‘Mugende Mufuule Amawanga Abayigirizwa, Mubabatize’

‘Mugende Mufuule Amawanga Abayigirizwa, Mubabatize’

“Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza . . . , nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”​—MATAYO 28:19, 20.

1. Abaisiraeri baakola bweyamo ki nga bali ku Lusozi Sinaayi?

 EMYAKA nga 3,500 egiyise, Abaisiraeri beeyama okuweereza Katonda. Nga bali ku Lusozi Sinaayi, bagamba nti: “Byonna bye yayogera Mukama tulibikola.” Okuva olwo, baafuuka abantu ba Katonda abeewaddeyo gy’ali, kwe kugamba, ‘ekintu kye ekiganzi.’ (Okuva 19:5, 8; 24:3) Baali beesunga okufuna obukuumi bwa Yakuwa era bo ne zzadde lyabwe bandibadde mu nsi ‘ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’​—Eby’Abaleevi 20:24.

2. Nkolagana ki abantu gye basobola okuba ne Katonda?

2 Kyokka, ng’omuwandiisi wa zabbuli Asafu bwe yagamba, Abaisiraeri ‘tebaakwata ndagaano ya Katonda era baagaana okutambulira mu mateeka ge.’ (Zabbuli 78:10) Baalemererwa okukuuma ekyo bajjajjaabwe kye baali beeyamye eri Yakuwa. N’ekyavaamu, eggwanga lyafiirwa enkolagana ennungi gye lyalina ne Katonda. (Omubuulizi 5:4; Matayo 23:37, 38) Eno y’ensonga lwaki Katonda, ‘yakyukira ab’amawanga n’aggyamu abantu ab’erinnya lye.’ (Ebikolwa 15:14) Ne mu nnaku zino ez’oluvannyuma, akuŋŋaanya “ekibiina ekinene, omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi,” aboogera n’essanyu nti: “Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.”​—Okubikkulirwa 7:9, 10.

3. Ebimu ku bisaanyizo omuntu by’asaanidde okutuukiriza okusobola okufuna enkolagana ne Katonda bye biruwa?

3 Okusobola okuba omu ku abo abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, omuntu kimwetaagisa okwewaayo eri Yakuwa era n’akiraga mu lujjudde ng’abatizibwa mu mazzi. Kino kiba kiraga nti agondedde ekiragiro Yesu kye yawa abagoberezi be ekigamba nti: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Abaisiraeri baawuliriza ebyo Musa bye yabasomera okuva mu ‘kitabo ky’endagaano.’ (Okuva 24:3, 7, 8) Ekyo kyabasobozesa okutegeera ebyo Yakuwa bye yali abeetaagisa. Ne leero, kikulu nnyo omuntu okusooka okuteegera obulungi ebyo Katonda by’ayagala ebiri mu Kigambo kye Baibuli, nga tannabatizibwa.

4. Kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa? (Zingiramu n’ebiri mu kabokisi akali waggulu.)

4 Kya lwatu, Yesu yali ayagala abayigirizwa be basooke bafune okukkiriza okunywevu nga tebannabatizibwa. Teyagamba bagoberezi be kugenda kufuula bantu bayigirizwa kyokka, naye era yabagamba babayigirize ‘n’okukwata byonna bye yabalagira.’ (Matayo 7:24, 25; Abaefeso 3:17-19) N’olwekyo, abo abatuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa baba bamaze emyezi egiwerako, oba omwaka gumu oba ebiri nga bayigirizibwa Baibuli. Kino kibayamba obutayanguyiriza kusalawo kubatizibwa. Abo ababa bagenda okubatizibwa babuuzibwa ebibuuzo bibiri ebikulu era ne baddamu nti yee. Okuva Yesu bwe yagamba nti ‘ebigambo byammwe bibeerenga nti weewaawo weewaawo; si weewaawo, si weewaawo,’ amakulu nti, tulina okutuukiriza obweyamo bwaffe, kiba kirungi ffenna okuddamu okwetegereza obukulu bw’ebibuuzo bino ebibiri ebikwata ku kubatizibwa.​—Matayo 5:37.

Okwenenya n’Okwewaayo

5. Ekibuuzo ekisooka okubuuzibwa oyo aba agenda okubatizibwa kiggumiza bintu ki ebibiri ebikulu?

5 Mu kibuuzo ekisooka, oyo aba agenda okubatizibwa abuuzibwa obanga yeenenyezza ebibi bye era ne yeewaayo eri Yakuwa okukola by’ayagala. Ekibuuzo kino kiggumiza ebintu bibiri ebikulu omuntu by’ateekwa okukola nga tannabatizibwa​—okwenenya n’okwewaayo.

6, 7. (a) Lwaki kyetaagisa abo bonna ababa bagenda okubatizibwa okusooka okwenenya? (b) Nkyukakyuka ki omuntu z’alina okukola oluvannyuma lw’okwenenya?

6 Lwaki omuntu ateekwa okusooka okwenenya nga tannabatizibwa? Omutume Pawulo yagamba nti: “Naffe fenna b[w]e twatambulirangamu edda mu kwegomba kw’omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n’ebirowoozo bye byagala.” (Abaefeso 2:3) Bwe twali tetunnayiga Katonda by’ayagala, twali tweyisa ng’abantu b’ensi era nga tukola ebyo Setaani, katonda w’emirembe gino by’ayagala. (2 Abakkolinso 4:4) Okuva bwe twayiga Katonda by’ayagala, twasalawo okulekayo ‘okwegomba kwa bantu, ne tukola ebyo Katonda by’ayagala.’​—1 Peetero 4:2.

7 Tufuna emiganyulo mingi, bwe tweyisa nga Katonda bw’ayagala. Okusingira ddala kitusobozesa okufuna enkolagana ennungi naye. Enkolagana eno Dawudi yagigeraageranya ku kubeera omugenyi mu “weema” ya Katonda oba ku ‘lusozi lwe olutukuvu.’ Ng’eno eba nkizo ya maanyi! (Zabbuli 15:1) Kya lwatu, Yakuwa akyaza abo bokka ‘abatambulira mu bugolokofu, abakola obutuukirivu, era aboogera eby’amazima mu mutima.’ (Zabbuli 15:2) Okusinziira ku ngeri gye twali tweyisaamu nga tetunnayiga mazima, kiyinza okutwetaagisa okukola enkyukakyuka mu mpisa zaffe okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. (1 Abakkolinso 6:9-11; Abakkolosaayi 3:5-10) Okwenenya, kwe kuleetera omuntu okukola enkyukakyuka ng’ezo, kwe kugamba, anakuwalira ebibi bye era n’aba ng’ayagala okusanyusa Yakuwa. Kino kimuleetera okukyukira ddala​—okulekayo enneeyisa ez’ensi n’atandika okukola Katonda by’ayagala.​—Ebikolwa 3:19.

8. Twewaayo tutya eri Yakuwa, era kino kirina kakwate ki n’okubatizibwa?

8 Ate era mu kibuuzo ekisooka oyo aba agenda okubatizibwa abuuzibwa obanga yeewaddeyo okukola Yakuwa by’ayagala. Omuntu alina okusooka okwewaayo nga tannabatizibwa. Nga tuyitira mu Kristo, tutegeeza Yakuwa mu kusaba nti twagala okuwaayo obulamu bwaffe gy’ali. (Abaruumi 14:7, 8; 2 Abakkolinso 5:15) Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa afuuka Mukama waffe, era y’aba atulinako obwa nnannyini. Okufaananako Yesu, olwo naffe tuba tukiraga nti twagala okukola Katonda by’ayagala. (Zabbuli 40:8; Abaefeso 6:6) Okwewaayo eri Yakuwa kukolebwa omulundi gumu. Okuva bwe kiri nti tewali muntu mulala amanya nti twewaddeyo eri Yakuwa, bwe twatula mu lujjudde okwewaayo kwaffe ku lunaku olw’okubatizibwa, abalala kwe bategeerera nti twewaddeyo eri Kitaffe ow’omu ggulu.​—Abaruumi 10:10.

9, 10. (a) Okukola Katonda by’ayagala kizingiramu ki? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti n’Abanazi baali bakimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa batwala okwewaayo kwabwe ng’ekintu ekikulu?

9 Okugoberera ekyokulabirako kya Yesu eky’okukola Katonda by’ayagala kizingiramu ki? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuntu bw’ayagala okujja ennyuma wange, yeefirize yekka, yeetikke [omuti gwe ogw’okubonyaabonyerezebwako angobererenga].” (Matayo 16:24) Wano Yesu yamenya ebintu bisatu bye tuteekwa okukola. Ekisooka, ‘okwefiiriza.’ Kino kitegeeza nti tulina okulekayo okwegomba kwaffe okubi, ne tugoberera okubuulirira n’obulagirizi Katonda by’atuwa. Eky’okubiri, ‘okwetikka omuti gwaffe ogw’okubonyaabonyerezebwako.’ Mu biseera bya Yesu, omuti ogw’okubonyaabonyerezebwako kaali kabonero akalaga okuswala era n’okubonyaabonyezebwa. Ng’Abakristaayo, oluusi tuyinza okubonyaabonyezebwa olw’okubuulira amawulire amalungi. (2 Timoseewo 1:8) Wadde ng’abantu bayinza okutusekerera oba okutuvuma, okufaananako Kristo, ‘tetutya kuswala,’ wabula tusigala tuli basanyufu olw’okuba tumanyi nti kye tukola kisanyusa Katonda. (Abaebbulaniya 12:2) N’ekisembayo, kwe ‘kugobereranga’ Yesu.​—Zabbuli 73:26; 119:44; 145:2.

10 Ekyewuunyisa, abamu ku abo abatuziyiza bamanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa batwala okwewaayo kwabwe eri Katonda nga kukulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, mu nkambi y’e Buchenwald ey’omu Bugirimaani, Abanazi gye baatulugunyizanga abantu, Abajulirwa abaanywerera ku kukkiriza kwabwe baabeetaagisanga okussa omukono ku kiwandiiko ekigamba nti: “Nkyali Muyizi wa Baibuli omunywevu era nja kusigala nga ntuukiriza kye nneeyama eri Yakuwa.” Mazima ddala ebigambo ebyo biraga omwoyo abaweereza ba Katonda bonna abeewaddeyo gy’ali gwe balina!​—Ebikolwa 5:32.

Weemanyise nti Oli Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa

11. Nkizo ki oyo abatizibwa gy’afuna?

11 Mu kibuuzo eky’okubiri, oyo aba agenda okubatizibwa abuuzibwa obanga akitegeera nti okubatizibwa kumwawulawo ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’okubatizibwa afuuka omuweereza atongozeddwa era ayitibwa Omujulirwa wa Yakuwa. Eno nkizo ya kitalo era ewa omuntu obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Ate era, singa oyo aba abatiziddwa asigala nga mwesigwa eri Yakuwa, aba ajja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—Matayo 24:13.

12. Buvunaanyizibwa ki omuntu ayitibwa erinnya lya Yakuwa bw’alina okutuukiriza?

12 Kya lwatu, okuyitibwa erinnya lya Katonda omuyinza w’ebintu byonna, Yakuwa, nkizo ya kitalo nnyo. Nnabbi Mikka yagamba nti: “Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.” (Mikka 4:5) Kyokka, omuntu afuna enkizo eno aba n’obuvunaanyizibwa bw’alina okutuukiriza. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuteekwa okweyisa mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa. Nga Pawulo bwe yajjukiza Abakristaayo ab’omu Ruumi, singa omuntu yeeyisa mu ngeri etaweesa Katonda kitiibwa, kiviirako erinnya lya Katonda ‘okuvvoolebwa,’ oba obutaweebwa kitiibwa.​—Abaruumi 2:21-24.

13. Buvunaanyizibwa ki abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo gy’ali bwe balina?

13 Omuntu bw’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa, aba avunaanyizibwa okuwa obujulirwa ku Katonda. Yakuwa yagamba eggwanga lya Isiraeri eryali lyewaddeyo gyali okuwa obujulirwa obulaga nti ye Katonda ow’amazima. (Isaaya 43:10-12, 21) Naye, baalemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo era oluvannyuma baafiirwa enkolagana gye baalina ne Yakuwa.Ng’Abakristaayo ab’amazima, naffe tulina enkizo ey’okuwa obujulirwa ku Yakuwa. Kino tukikola olw’okuba tumwagala era nga twagala erinnya lye litukuzibwe. N’olwekyo, tuteekwa okubuulira abantu amazima agakwata ku Kitaffe ow’omu ggulu awamu n’ebigendererwa bye. Tulina endowooza y’emu ng’ey’omutume Pawulo eyagamba nti: “Nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.”​—1 Abakkolinso 9:16.

14, 15. (a) Mu ngeri ki ekibiina kya Yakuwa gye kituyamba okukulaakulana mu by’omwoyo? (b) Nteekateeka ki ezituyamba okukulaakulana mu by’omwoyo?

14 Ate era ekibuuzo eky’okubiri kijjukiza ababa bagenda okubatizibwa nti balina okukolera awamu n’ekibiina kya Yakuwa ekikulemberwa omwoyo gwe omutukuvu. Okusobola okuweereza Katonda, twetaaga “ab’oluganda” okutuwagira, okutuwa obuyambi, n’okutuzzaamu amaanyi. (1 Peetero 2:17; 1 Abakkolinso 12:12, 13) Ate era, ekibiina kya Katonda kituyamba okukula mu by’omwoyo. Kituwa ebitabo bingi ebinnyonnyola Baibuli ebituyamba okumanya amazima, okusalawo mu ngeri ennungi bwe tuba twolekaganye n’ebizibu, n’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Okufaananako maama afuba okuwa omwana we eby’okulya n’okumuwa buli kye yeetaaga, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ atuwa emmere ey’eby’omwoyo nnyingi ne tusobola okukulaakulana mu by’omyoyo.​—Matayo 24:45-47; 1 Abasessaloniika 2:7, 8.

15 Mu nkuŋŋaana ezibaawo buli wiiki, abantu ba Yakuwa batendekebwa era ne bakubirizibwa okweyongera okumuweereza. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Essomero ly’Omulimu gwa Katonda lituyigiriza engeri y’okwogeramu mu lujjudde, ate Olukuŋŋaana lw’Obuweereza ne lututendeka okuwa obujulirwa mu ngeri ematiza. Bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana era ne twesomesa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, tusobola okulaba engeri omwoyo gwa Yakuwa gye gukulemberamu ekibiina kye. Okuyitira mu nteekateeka nga zino, Katonda atutendeka ne tusobola okuwa obujulirwa mu ngeri ematiza. Ate era atuyamba okwewala emitawaana n’okusigala nga tuli bazuukufu mu by’omwoyo.​—Zabbuli 19:7, 8, 11; 1 Abassesaloniika 5:6, 11; 1 Timoseewo 4:13.

Ensonga Lwaki Tubatizibwa

16. Kiki ekitukubiriza okwewaayo eri Yakuwa?

16 Ebibuuzo ebyo ebibiri ebibuuzibwa abo ababa bagenda okubatizibwa bibajjukiza obukulu bw’okubatizibwa, n’obuvunaanyizibwa bwe balina okutuukiriza. Kati olwo kiki ekibakubiriza okubatizibwa? Tetubatizibwa olw’okuba waliwo atukaka, wabula Yakuwa ‘y’atusika’ okudda gyali. (Yokaana 6:44) Okuva bwe kiri nti “Katonda kwagala,” ayagala ebitonde bye bimugondere, awatali kukakibwa, naye lwa kuba bimwagala. (1 Yokaana 4:8) Yakuwa tumwagala olw’engeri ze ennungi, era n’olw’engeri gy’akolaganamu naffe. Yakuwa yawaayo Omwana we omu yekka ku lwaffe era ayagala tube n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. (Yokaana 3:16) Bino bye bitukubiriza okwewaayo gyali.​—Engero 3:9; 2 Abakkolinso 5:14, 15.

17. Twewaayo eri ani?

17 Twewaayo eri Yakuwa so si eri ekintu ekirala kyonna. Omulimu Katonda gw’awadde abantu be gujja kutuusa ekiseera gukomekkerezebwe, naye okwewaayo kwabwe gy’ali kwa lubeerera. Ng’ekyokulabirako, omulimu Yakuwa gwe yawa Ibulayimu okukola gwali gwa njawulo ku gwa Yeremiya. (Olubereberye 13:17, 18; Yeremiya 1:6, 7) Kyokka, buli omu ku bo yakola omulimu Katonda gwe yali amuwadde olw’okuba baali baagala Yakuwa era nga baagala okukola by’ayagala. Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abagoberezi ba Kristo bonna ababatize bafuba okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa nga Kristo bwe yalagira. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Bwe tukola omulimu ogwo n’omutima gwaffe gwonna, kiba kiraga nti twagala Kitaffe ow’omu ggulu era nti twewaayo gyali.​—1 Yokaana 5:3.

18, 19. (a) Bwe tubatizibwa mu lujjudde tuba ng’abaatula bigambo ki? (b) Biki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

18 Awatali kubuusabuusa, okubatizibwa kutusobozesa okufuna emikisa mingi, naye tulina okukijjukira nti bwe tubatizibwa tufuna obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. (Lukka 14:26-33) N’olwekyo, tulina okubutwala nga bukulu nnyo okusinga obuvunaanyizibwa obulala bwonna. (Lukka 9:62) Bwe tubatizibwa, tuba ng’abaatula mu lujjudde nti: “Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n’emirembe. Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.”​—Zabbuli 48:14.

19 Ekitundu ekinaddako kijja kuddamu ebibuuzo bino wammanga ebikwata ku kubatizibwa. Wayinza okubaawo ensonga ennuŋŋamu eyinza okugaana omuntu okubatizibwa? Waliwo emyaka omuntu gy’alina okusooka okuweza alyoke abatizibwe? Abo ababaawo ku mukolo ogw’okubatizibwa, basobola batya okugufuula ogw’ekitiibwa?

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki buli Mukristaayo yeetaaga okwenenya ebibi bye nga tannabatizibwa?

• Okwewaayo eri Katonda kizingiramu ki?

• Omuntu bw’afuna enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Katonda kimuwa buvunaanyizibwa ki?

• Kiki ekitukubiriza okusalawo okubatizibwa?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

EBIBUUZO EBIBIRI EBIBUUZIBWA ABAGENDA OKUBATIZIBWA

Okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo, weenenyezza ebibi byo era ne weewaayo eri Yakuwa okukola by’ayagala?

Okitegeera nti okwewaayo kwo n’okubatizibwa kukwawulawo ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye ekikulemberwa omwoyo gwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Nga tuyitira mu kusaba tutegeeza Yakuwa nti twewaddeyo gy’ali

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Bwe tubuulira kiba kiraga nti twewaayo eri Katonda