Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa

Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa

Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa

“Kiki ekindobera okubatizibwa?”​—EBIKOLWA 8:36.

1, 2. Firipo yasobola atya okubuulira omukungu Omuwesiyopya, era kiki ekiraga nti omukungu ono yali afaayo ku by’omwoyo?

 NGA WAAKAYITA omwaka gumu oba ebiri bukya Yesu afa, omukungu wa gavumenti omu yali atambulira mu ggaali lye ng’ali ku luguudo oluva e Yerusaalemi okugenda e Ggaaza. Yali akyabuzaayo olugendo lwa mayilo nga lukumi okutuuka gy’agenda. Omusajja oyo yali atindizze olugendo okuva e Esiyoopya n’agenda e Yerusaalemi okusinza Yakuwa. Ng’akomawo, yakozesa ekiseera ekyo okusoma Ekigambo kya Katonda. Kino kiraga nti yali musajja afaayo ku by’omwoyo. Yakuwa bwe yalaba ng’omusajja ono alina okukkiriza, yatuma malayika agambe Firipo agende abuulire omusajja oyo amawulire amalungi.​—Ebikolwa 8:26-28.

2 Olw’okuba omukungu oyo yali asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu lwatu, Firipo yawulira by’asoma era ne kimutemera oluwenda okutandika okumubuulira. Firipo yamubuuza nti: “Obitegedde by’osoma?” Ekibuuzo kino kyamuleetera okwagala okumanya amakulu g’ebigambo ebiri mu Isaaya 53:7, 8. Oluvannyuma lw’okumunnyonnyola amakulu g’ekyawandiikibwa ekyo, Firipo ‘y’amutegeeza amawulire amalungi agakwata ku Yesu.’​—Ebikolwa 8:29-35.

3, 4. (a) Lwaki Firipo yabatiza Omuwesiyopya amangu ddala nga yaakamubuulira? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

3 Mu kaseera katono, Omuwesiyopya yategeera ekifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ebigendererwa bya Katonda, era yakitegeera nti kyali kimwetaagisa okubatizibwa, afuuke omuyigirizwa wa Kristo. Bwe baatuuka awali amazzi amangi yabuuza Firipo nti: “Kiki ekindobera okubatizibwa?” Kya lwatu, omukungu oyo okubatizibwa oluvannyuma lw’akaseera akatono bwe katyo, kyava ku kuba nti yali Muyudaaya omukyufu asinza Yakuwa, era ng’alina okukkiriza okw’amaanyi. Singa yafiirwa omukisa guno, oboolyawo wandiyiseewo ekiseera kiwanvu nga tannabatizibwa. N’ekisinga byonna, omusajja ono bwe yategeera Katonda kye yali amwetaagisa, yayagala yeeweeyo awatali kulwa. Firipo yakkiriza n’amubatiza, era bwe yamala okubatizibwa, ‘yagenda musanyufu.’ Awatali kubuusabuusa omukungu oyo bwe yatuuka mu nsi ye, yabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi.​—Ebikolwa 8:36-39.

4 Wadde nga si kirungi kwanguyiriza kusalawo kwewaayo na kubatizibwa, ekyokulabirako ky’Omuwesiyopya kiraga nti wabaddewo ebiseera abantu abamu lwe babatiziddwa nga waakayitawo ekiseera kitono okuva lwe baawulira amazima agakwata ku Kigambo kya Katonda. * N’olwekyo, kiba kirungi okubuuza ebibuuzo bino: Bisaanyizo ki omuntu by’alina okusooka okutuukiriza okusobola okubatizibwa? Waliwo emyaka omuntu gy’alina okusooka okuweza alyoke abatizibwe? Omuntu alina kukulaakulana kyenkana wa mu by’omwoyo alyoke abatizibwe? N’ekisinga obukulu, lwaki Yakuwa yeetaagisa abaweereza be okubatizibwa?

Okulagaana Okutambula ne Katonda

5, 6. (a) Mu ngeri ki abantu ba Katonda gye baalaga nti basiima okwagala kwe yabalaga? (b) Nkolagana ki gye tufuna ne Katonda bwe tubatizibwa?

5 Oluvannyuma lw’okununula Abaisiraeri okuva e Misiri, Yakuwa yali mwetegefu okubatwala ‘ng’ekintu kye ekiganzi,’ okubaagala, okubakuuma, n’okubafuula “eggwanga ettukuvu.” Kyokka, Abaisiraeri okusobola okufuna emikisa egyo nabo baalina okukiraga nti bamwagala. Kino baakiraga bwe baagamba nti ‘byonna Mukama by’ayogedde tulibikola’ era ne bakola naye endagaano. (Okuva 19:4-9) Mu kyasa ekyasooka, Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa okuva mu mawanga gonna, era abo abakkiriza amazima baabatizibwa. Okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda baalina okukkiririza mu Yesu Kristo era ne babatizibwa.​—Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 2:38, 41.

6 Ebyokulabirako bino ebiri mu Byawandiikibwa biraga nti Yakuwa awa omukisa abo abeewaayo okumuweereza. N’Abakristaayo okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa balina okusooka okwewaayo era ne babatizibwa. N’olwekyo, tuli bamalirivu okugoberera amakubo ge era n’okunoonya obulagirizi bwe. (Zabbuli 48:14) Bwe tukola bwe tutyo, mu ngeri y’akabonero Yakuwa ajja kutukwata ku mukono atukulembere mu kkubo lye tusaanidde okutambuliramu.​—Zabbuli 73:23; Isaaya 30:21; 41:10, 13.

7. Lwaki buli muntu asaanidde okwesalirawo bwe kituuka ku kwewaayo n’okubatizibwa?

7 Ensonga lwaki twewaayo era ne tubatizibwa eri nti, twagala Yakuwa era twagala okumuweereza. Tewali asaanidde kusalawo abatizibwe olw’okuba waliwo omuntu amugambye nti asomedde ebbanga ggwanvu oba olw’okuba nti alaba nga banne bagenda kubatizibwa. Kya lwatu, abazadde bayinza okukubiriza abaana baabwe okulowooza ku ky’okwewaayo n’okubatizibwa. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo nabo basobola okubaako be bakubiriza okwewaayo n’okubatizibwa. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero yakubiriza abo abaali bamuwuliriza nti “mubatizibwe.” (Ebikolwa 2:38) Wadde kiri kityo, tewali asaanidde kutusalirawo kubatizibwa, era tewali asobola kukikola ku lwaffe. Ffe tulina okusalawo ku lwaffe okuweereza Katonda.​—Zabbuli 40:8.

Okutuukiriza Ebisaanyizo by’Okubatizibwa

8, 9. (a) Okusinziira ku Baibuli, lwaki abaana abato ennyo tebasaanidde kubatizibwa? (b) Bisaanyizo ki omuvubuka by’asaanidde okutuukiriza nga tannabatizibwa?

8 Abaana nabo basobola okwesalirawo ne beewaayo eri Yakuwa? Ebyawandiikibwa tebiwa myaka muntu gy’alina kusooka kuweza alyoke yeeweeyo era abatizibwe. Wadde kiri kityo, abaana abakyali abato ennyo tebasobola kufuuka bakkiriza, kwoleka kukkiriza oba okwewaayo eri Katonda. (Ebikolwa 8:12) Mu kitabo kye ekiyitibwa General History of the Christian Religion and Church, Neander yawandiika bw’ati ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka: “Baabatizanga bantu bakulu bokka, olw’okuba baakitwalanga nti kyali kyetaagisa omuntu okusooka okuba n’okukkiriza okusobola okubatizibwa.”

9 Wadde ng’abavubuka abamu bayinza okukulaakulana mangu mu by’omwoyo, abalala kibatwalira ekiseera kiwanvu. Kyokka omuvubuka okusobola okubatizibwa, ateekwa okuba ng’alina enkolagana ennungi ne Yakuwa, ateegera bulungi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, era ng’amanyi ekizingirwa mu kwewaayo n’okubatizibwa.

10. Bisaanyizo ki omuntu by’alina okutuukiriza nga tannaba kwewaayo na kubatizibwa?

10 Yesu yagamba abayigirizwa be okuyigiriza abapya byonna bye yabalagira. (Matayo 28:20) N’olwekyo, abapya kibeetaagisa okusooka okutegeera amazima g’omu Baibuli, agajja okubayamba okukkiririza mu Yakuwa ne mu Kigambo kye. (Abaruumi 10:17; 1 Timoseewo 2:4; Abaebbulaniya 11:6) Omuntu bw’ategeera amazima g’omu Byawandiikibwa, kijja kumukubiriza okwenenya n’okuleka enneeyisa y’obulamu bwe ey’emabega. (Ebikolwa 3:19) N’ekivaamu ajja kwagala okwewaayo eri Yakuwa era n’okubatizibwa nga Yesu bwe yalagira.

11. Lwaki kyetaagisa omuntu okwenyigira mu kubuulira obutayosa nga tannaba kubatizibwa?

11 Ekisaanyizo ekirala omuntu ky’alina okutuukiriza nga tannabatizibwa, kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Guno gwe mulimu omukulu Yakuwa gw’alagidde abantu be okukola mu kiseera kino eky’enkomerero. (Matayo 24:14) Bwe kityo omuntu ne bw’aba nga tannabatizibwa asobola okubuulira abalala ku by’aba ayize. Bwe kityo, omuntu bwe yeenyigira mu mulimu guno, kijja kumusobozesa okugukola n’obunyiikivu ng’amaze okubatizibwa.​—Abaruumi 10:9, 10, 14, 15.

Waliwo Ekikulobera Okubatizibwa?

12. Kiki ekiviirako abamu okugaana okubatizibwa?

12 Abamu bayinza okugaana okubatizibwa olw’okuba batya obuvunaanyizibwa obuzingirwamu. Oba bayinza okuwulira nti balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi ennyo okusobola okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Ate era bayinza okuwulira nti bwe banaamala okubatizibwa tebajja kusobola kutuukiriza Katonda by’abeetaagisa. Abamu bayinza n’okugamba nti, “Lumu nnyinza okukola ekintu ekikyamu ne bangoba mu kibiina.”

13. Biki ebyagaana abantu abamu mu kiseera kya Yesu okufuuka abagoberezi be?

13 Mu kiseera kya Yesu, abantu abamu baalemererwa ofuuka abayigirizwa be olw’okwagala ebintu n’obutayagala kufiirwa nkolagana gye baalina na b’omu maka gaabwe. Omuwandiisi omu yagamba nti ajja kugoberera Yesu buli w’an’agenda. Kyokka, Yesu yamugamba nti emirundi mingi teyabanga na wa kusula. Yesu bwe yagamba omusajja omulala mu abo abaali bamuwuliriza okufuuka omugoberezi we, omusajja oyo yamugamba nti k’asooke agende ‘aziike’ kitaawe. Mu kifo ky’okugoberera Yesu, yasalawo addeyo eka alinde kitaawe amale okufa era amuziike. Ow’okusatu yagamba nti nga tannaba kugoberera Yesu, yali ayagala asooke ‘asiibule’ ab’omu nnyumba ye. Yesu yagamba nti okukola ekyo kyandibadde ‘ng’okutunuulira ebintu omuntu by’alese emabega.’ N’olwekyo, kirabika abo abalonzalonza okufuuka abayigirizwa, baba banoonya kya kwekwasa basobole okwewala obuvunaanyizibwa bw’Ekikristaayo.​—Lukka 9:57-62.

14. (a) Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana baayanukula batya Yesu bwe yabayita okugenda bafuuke abavubi b’abantu? (b) Lwaki tetwandironzalonzezza kukkiriza kikoligo kya Yesu?

14 Okwawukana ku bantu abo, Yesu bwe yayita Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana okumugoberera bafuuke abavubi b’abantu, Baibuli egamba nti: “Amangu ago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bagenda naye.” (Matayo 4:19-22) Olw’okuba baasitukiramu ne bagoberera Yesu, baafunamu emiganyulo gye yayogerako oluvannyuma bwe yabagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:29, 30) Omuntu bw’abatizibwa, yeetikka ekikoligo. Naye Yesu atukakasa nti ekikoligo ekyo tekizitowa era nti omuntu bw’akyetikka asobola okufuna ekiwummulo.

15. Ekyokulabirako kya Musa ne Yeremiya kiraga kitya nti tusaanidde okwesiga Katonda okutuwa obuwagizi?

15 Bulijjo omuntu bw’aweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, atera okuwulira nti tajja kusobola kubutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, Musa ne Yeremiya nabo okusooka baawulira nti tebajja kusobola kutuukiriza mulimu Yakuwa gw’abawadde. (Okuva 3:11; Yeremiya 1:6) Kiki Katonda kye yakola okusobola okubazzaamu amaanyi? Yakakasa Musa nti: “Ndibeera wamu naawe.” Ate ye Yeremiya yamusuubiza nti: “Ndi wamu naawe okukuwonya.” (Okuva 3:12; Yeremiya 1:8) Naffe tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kutuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe. Bwe tunaakulaakulanya okwagala eri Katonda era ne tumwesiga, kijja kutuyamba okuba abakakafu nti tusobola okutuukiriza obweyamo bwaffe obw’okwewaayo. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya.” (1 Yokaana 4:18) Omwana omuto ayinza okutya okutambula yekka. Naye ate bw’atambula ne taata ng’amukutte ku mukono aba mugumu. Mu ngeri y’emu, naffe bwe twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, atusuubiza nti ‘ajja kuluŋŋamya olugendo lwaffe’ nga tutambula naye.​—Engero 3:5, 6.

Mukolo gwa Kitiibwa

16. Lwaki omuntu abatizibwa alina okunnyikibwa yenna mu mazzi?

16 Ng’okubatizibwa tekunnabaawo, emboozi ennyonnyola amakulu g’okubatizibwa kw’Ekikristaayo eyeesigamiziddwa ku Baibuli eweebwa. Ng’emboozi eyo efundikirwa, abo ababa bagenda okubatizibwa babuuzibwa ebibuuzo bibiri ne baatula okukkiriza kwabwe mu lujjudde nga baddamu ebibuuzo ebyo. (Abaruumi 10:10; laba akasanduuko ku lupapula 20.) Oluvannyuma, abo ababa beewaddeyo, babatizibwa mu ngeri y’emu nga Yesu bwe yabatizibwa. Baibuli egamba nti Yesu bwe yamala okubatizibwa “yava mu mazzi.” (Matayo 3:16; Makko 1:10) Ebigambo ebyo biraga nti, Yokaana Omubatiza bwe yali abatiza Yesu, yamunnyikira ddala yenna mu mazzi. * Okunnyikibwa mu mazzi kabonero akatuukirawo obulungi akalaga enkyukakyuka ey’amaanyi gye tuba tukoze mu bulamu bwaffe. Tuba ng’abafudde ku bikwata ku bulamu bwaffe obw’emabega ne tutandika obulamu obuppya obw’okuweereza Katonda.

17. Mu ngeri ki abo ababa bagenda okubatizibwa, n’abo ababeerawo ku mukolo ogwo gye bayinza okuguweesa ekitiibwa?

17 Omukolo gw’okubatizibwa guba mukulu nnyo era guba gwa ssanyu. Baibuli egamba nti Yesu yasaba nga Yokaana amubatiza mu Mugga Yoludaani. (Lukka 3:21, 22) Okusinziira ku kyokulabirako ekyo, abo ababa bagenda okubatizibwa basaanidde okweyisa mu ngeri eweesa omukolo ogwo ekitiibwa. Ate era okuva bwe kiri nti Baibuli etukubiriza okwambala mu ngeri esaanira buli kiseera, nga twandifuddeyo nnyo ku kubuulirira okwo nga tugenda okubatizibwa! (1 Timoseewo 2:9) Abalala ababeerawo ku mukolo ogwo nabo basobola okuguweesa ekitiibwa nga bawuliriza bulungi emboozi ekwata ku kubatizibwa era ne beeyisa bulungi nga balaba ababatizibwa.​—1 Abakkolinso 14:40.

Emikisa Egifunibwa Abayigirizwa Ababatize

18, 19. Nkizo ki, na mikisa ki omuntu gy’afuna bw’abatizibwa?

18 Bwe twewaayo eri Katonda era ne tubatizibwa, tufuna enkolagana ey’enjawulo naye. Okusookera ddala, Yakuwa afuuka Kitaffe era Mukwano gwaffe. Nga tetunnabatizibwa tuba tweyawudde ku Katonda naye bwe tumala okubatizibwa, tutabaganyiziddwa naye. (2 Abakkolinso 5:19; Abakkolosaayi 1:20) Olwa ssaddaaka ya Kristo, tusobodde okusemberera Katonda era naye n’atusemberera. (Yakobo 4:8) Nnabbi Malaki yagamba nti Yakuwa afaayo ku abo abayitibwa erinnya lye era abalikozesa era nti awandiika amannya gaabwe mu kitabo kye eky’okujjukiza. Katonda agamba nti: “Baliba bange, bw’ayogera Mukama w’eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng’omusajja bw’asonyiwa mutabani we ye amuweereza.”​—Malaki 3:16-18.

19 Ate era, omuntu bw’abatizibwa afuuka omu ku abo abali mu luganda olw’ensi yonna. Omutume Peetero bwe yabuuza emikisa abayigirizwa ba Kristo gye bandifunye olw’okwerekereza ne bamugoberera, Yesu yamuddamu nti: “Buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw’erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.” (Matayo 19:29) Nga wayiseewo emyaka, Peetero yawandiika ku ngeri ‘ab’oluganda’ abaali mu nsi yonna gye baamuwagiramu era n’emikisa egiva mu kubeera n’oluganda ng’olwo. Naffe tusobola okuganyulwa mu ngeri y’emu.​—1 Peetero 2:17; 5:9.

20. Okubatizibwa kutusobozesa kufuna ssuubi lya ngeri ki?

20 Ate era, Yesu yagamba nti abagoberezi be ‘bajja kusikira obulamu obutaggwaawo.’ Mazima ddala, omuntu bwe yeewaayo n’abatizibwa afuna essuubi ‘ery’obulamu obwa nnamaddala’​—obulamu obutaggwaawo mu nsi empya eya Katonda. (1 Timoseewo 6:19) Okwewaayo n’okubatizibwa y’engeri yokka esingayo obulungi eyinza okutusobozesa okufuna essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso awamu n’ab’omu maka gaffe? Essuubi lino lijja kutusobozesa ‘okutambulira mu linnya lya Yakuwa emirembe n’emirembe.’​—Mikka 4:5.

[Obugambo obuli wansi]

^ Abayudaaya n’abakyufu enkumi ssatu abaawuliriza Peetero ku lwa Pentekoote ng’abuulira, baabatizibwa ku olwo lwennyini. Okufaananako Omuwesiyopya omulaawe, baali bamanyi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, n’emisingi egiri mu Kigambo kya Katonda.​—Ebikolwa 2:37-41.

^ Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words, ekigambo ky’Oluyonaani baʹpti·sma (okubatiza) kitegeeza “okunnyika, okubbira oba okubbulukuka.”

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki twandisiimye okwagala Yakuwa kw’atulaga, era kino tuyinza kukikola tutya?

• Bisaanyizo ki omuntu by’alina okutuukiriza nga tannabatizibwa?

• Lwaki okuwulira nti tetusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwa kubatizibwa tekyanditulemesezza kubatizibwa?

• Abayigirizwa ba Yesu Kristo ababatize bafuna mikisa ki?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

“Kiki ekindobera okubatizibwa?”

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

Okubatizibwa mukolo mukulu nnyo era gwa ssanyu