Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weewale Okusinza okw’Obulimba!

Weewale Okusinza okw’Obulimba!

Weewale Okusinza okw’Obulimba!

“Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.”​—2 ABAKKOLINSO 6:17.

1. Abantu bangi bali mu mbeera ki ey’eby’omwoyo?

 ABANTU bangi tebamanyi mazima gakwata ku Katonda n’ekyo ky’asuubiza okukolera abantu mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuba tebaweereddwa kya kuddamu mu bibuuzo ebikulu ebikwata ku Katonda n’ebiseera eby’omu maaso, batabuddwa era tebamanyi kya kukola. Kino kireetedde obukadde n’obukadde bw’abantu obutalaba kabi kali mu kwenyigira mu bikolwa eby’obusamize n’emikolo gy’eddiini, ebintu Omutonzi waffe by’akyawa. Oyinza okuba ng’olina baliraanwa oba ab’eŋŋanda zo abakkiriza nti eriyo omuliro ogutazikira, Katonda ali mu busatu, emmeeme tefa, oba abakkiririza mu njigiriza endala yonna enkyamu.

2. Kiki abakulembeze b’amaddiini kye bakoze era biki ebivuddemu?

2 Kiki ekiviiriddeko abantu okuba mu kizikiza eky’eby’omwoyo? Z’eddiini ez’obulimba, okusingira ddala abakulembeze baazo abayigiriza ebintu ebikontana n’ekyo Katonda ky’agamba. (Makko 7:7, 8) Zireetedde abantu bangi okulowooza nti basinza Katonda mu ngeri gy’asiima, kyokka nga tebamanyi nti bamunyiiza bunyiiza. Awatali kubuusabuusa eddiini ez’obulimba ze ziviiriddeko abantu okubeera mu kizikiza eky’eby’omwoyo.

3. Ani akubiriza okusinza okw’obulimba era Baibuli emwogerako etya?

3 Waliwo omuntu atalabika akubiriza okusinza okw’obulimba. Omutume Pawulo yamwogerako bw’ati: “Katonda ow’emirembe gino . . . yaziba amaaso g’amagezi gaabwe abatakkiriza, omusana gw’enjiri ey’ekitiibwa eya Kristo, oyo kye kifaananyi kya Katonda, gulemenga okubaakira.” (2 Abakkolinso 4:4) Awatali kubuusabuusa, “katonda ow’emirembe gino” ye Setaani Omulyolyomi. Y’akubiriza okusinza okw’obulimba. Pawulo yawandiika nti: “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana. Kale si kitalo era n’abaweereza be bwe beefaananya ng’abaweereza ab’obutuukirivu.” (2 Abakkolinso 11:14, 15) Setaani afuula ebintu ebibi okulabika ng’ebirungi, bw’atyo n’aleetera abantu okukkiriza eby’obulimba.

4. Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri gaayogera ki ku bannabbi ab’obulimba?

4 Baibuli evumirira nnyo amadiini ag’obulimba. Ng’ekyokulabirako, Amateeka ga Musa gaalabula abantu ba Katonda okwewala bannabbi ab’obulimba. Omuntu yenna eyatandikangawo enjigiriza ez’obulimba n’okusinza bakatonda ab’obulimba, ‘yattibwanga olw’okwogera eby’okujeemera Yakuwa.’ Abaisiraeri balagirwa ‘okuggyangamu obubi wakati mu bo.’ (Ekyamateeka 13:1-5) Mazima ddala, Yakuwa atwala amadiini ag’obulimba ng’ekintu ekibi.​—Ezeekyeri 13:3.

5. Kulabula ki kwe tusaanidde okugoberera?

5 Yesu Kristo n’abatume be baayoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku madiini ag’obulimba. Yesu yalabula abayigirizwa be nti: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba, abajjira mu byambalo by’endiga gye muli, naye munda gy’emisege egisikula.” (Matayo 7:15; Makko 13:22, 23) Ate ye Pawulo yawandiika nti “obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n’obutaba na butuukirivu obw’abantu abaziyiza amazima.” (Abaruumi 1:18) Nga kikulu nnyo Abakristaayo ab’amazima okufaayo ku kulabula okwo era ne beewala omuntu yenna aziyiza amazima agali mu Kigambo kya Katonda oba ayigiriza eby’obulimba!​—1 Yokaana 4:1.

Fuluma mu “Babulooni Ekinene”

6. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kinnyonnyola kitya “Babulooni Ekinene”?

6 Weetegereze engeri ekitabo ky’Okubikkulirwa gye kinnyonnyolamu eddiini ez’obulimba. Kizoogerako ng’omukazi omwenzi alina obuyinza ku bakabaka b’ensi n’abantu. Omukazi ono ayogerwako nti akola obwenzi ne bakabaka b’ensi era anywedde omusaayi gw’abasinza ba Katonda. (Okubikkulirwa 17:1, 2, 6, 18) Alina erinnya eriwandiikiddwa mu kyenyi kye erituukagana n’ebikolwa bye ebibi. Ayitibwa “Babulooni Ekinene, nnyina w’abenzi era ow’emizizo gy’ensi.”​—Okubikkulirwa 17:5.

7, 8. Mu ngeri ki amadiini ag’obulimba gye gakoze obwenzi era biki ebivuddemu?

7 Engeri Ebyawandiikibwa gye binnyonnyolamu Babulooni Ekinene etuukagana bulungi n’engeri amadiini ag’obulimba gye geeyisaamu. Wadde ng’amadiini ag’obulimba gonna tegeegasse wamu ng’ekibiina, ebigendererwa n’ebikolwa byago bye bimu. Okufaananako omukazi omwenzi ayogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, amadiini ag’obulimba geeyingiza mu by’obufuzi. Ng’omukazi omufumbo bw’ayinza obutaba mwesigwa eri mwami we, amadiini ag’obulimba gakoze obwenzi nga gateekawo enkolagana ey’oku lusegere ne gavumenti z’ensi ezizze zibaawo. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng’omukwano gw’ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw’ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.”​—Yakobo 4:4.

8 Ekiviiriddeko abantu okubonaabona ennyo, kwe kuba nti eddiini ez’obulimba zenyigidde mu by’obufuzi. Omwekenneenya omu ow’eby’obufuzi Omwafirika, ayitibwa Dr. Xolela Mangcu yagamba nti “ebyafaayo biraga nti okutta abantu okw’ekikungo kuvudde ku madiini okweyingiza mu by’obufuzi.” Gye buvuddeko awo, olupapula lw’amawulire olumu lwagamba nti: “Enkaayana ezikyasinze okuba ez’akabi era n’okubaamu okuyiwa omusaayi omungi zisibuse ku ddiini.” Abantu bukadde na bukadde bafiiridde mu ntalo eziwagirwa amadiini. Babulooni Ekinene kiyigganyizza era ne kitta abasinza ba Katonda ab’amazima, mu ngeri eyo ne kiba ng’ekinywedde omusaayi gwabwe.​—Okubikkulirwa 18:24.

9. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga kitya nti Yakuwa akyawa okusinza okw’obulimba?

9 Ekyo ekijja okutuuka ku Babulooni Ekinene kiraga nti Yakuwa akyawa amadiini ag’obulimba. Okubikkulirwa 17:16 wagamba: “N’amayembe ekkumi ge walabye, n’ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.” Okusooka ensolo ey’amaanyi ejja kutaagulataagula omukazi omwenzi emutte, era emulye. Obutundutundu bwe obuliba busigaddewo bujja kwokebwa omuliro. Mu ngeri y’emu, ne gavumenti z’ensi zijja kuzikiriza amadiini ag’obulimba. Katonda yajja okuzireetera okukola ekyo. (Okubikkulirwa 17:17) Mazima ddala Babulooni Ekinene, amadiini ag’obulimba agali mu nsi yonna goolekedde okuzikirizibwa. ‘Tegajja kuddamu kalabika nate.’​—Okubikkulirwa 18:21.

10. Twanditunuulidde tutya amadiini ag’obulimba?

10 Abasinza ab’amazima basaanidde kutunuulira batya Babulooni Ekinene? Mu bigambo ebitegeerekeka obulungi, Baibuli etulagira nti: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” (Okubikkulirwa 18:4) Abo abaagala okuwonawo bateekwa okuva mu madiini ag’obulimba nga tegannaba kuzikirizibwa. Bwe yali ku nsi, Yesu Kristo yagamba nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo bangi abalyeyita abagoberezi be. (Matayo 24:3-5) Abantu ng’abo alibagamba nti: “Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu.” (Matayo 7:23) Yesu Kristo, kati atuuziddwa ku ntebe nga Kabaka, talina nkolagana yonna na madiini ga bulimba.

Engeri gy’Oyinza Okwewala Amadiini ag’Obulimba?

11. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okwewala okusinza okw’obulimba?

11 Abakristaayo ab’amazima beewala okusinza okw’obulimba. Kino bakikola nga beewala okuwuliriza programu z’eddiini eziba ku mikutu gya leediyo ne ttivi era n’okusoma ebitabo by’eddiini ebirimu enjigiriza ezikontana n’Ekigambo kya Katonda. (Zabbuli 119:37) Ate era, twewala okwenyigira mu mikolo egy’engeri yonna n’okwesanyusaamu ebiba bitegekeddwa eddiini ey’obulimba. Okugatta ku ekyo, twewala okuwagira okusinza okw’obulimba okw’engeri yonna. (1 Abakkolinso 10:21) Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutukuuma ‘obutanyagibwa mu bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu, oba okugobereranga eby’olubereberye eby’ensi, okutali kugoberera Kristo.’​—Abakkolosaayi l2:8.

12. Omuntu alina ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu ddiini ey’obulimba ayinza kukola ki okulaga nti takyali mu ddiini eyo?

12 Ate singa omuntu aba alina ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu ddiini ey’obulimba aba ayagala okufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa? Asobola okuwandiika ebbaluwa eraga nti takyali mu ddiini eyo. Ate era, kikulu nnyo omuntu ng’oyo okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona ennyimirira ye ey’eby’omwoyo. Omuntu ayagala okufuuka Omujulirwa asaanidde okulaga abantu b’omu ddiini gy’abaddemu n’abalala abamumanyi nti takyalina nkolagana yonna na ddiini eyo.

13. Kubuulirira ki okuli mu Baibuli okukwata ku kwewala okusinza okw’obulimba?

13 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza? Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki eri omukkiriza n’atali mukkiriza. Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya ne bifaananyi? . . . Kale Muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, So temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza.” (2 Abakkolinso 6:14-17) Kino tukikola nga twewala okusinza okw’obulimba. Okubuulirira kwa Pawulo kuno kuzingiramu okwewala abantu abali mu madiini ag’obulimba?

“Mutambulirenga mu Magezi”

14. Tusaanidde okwewalira ddala abantu abali mu madiini ag’obulimba? Nnyonnyola.

14 Abakristaayo ab’amazima basaanidde okwewala okukolagana n’abantu abali mu madiini ag’obulimba? Tusaanye okwewalira ddala abantu abatali ba nzikiriza yaffe? Si bwe kiri. Ekimu ku biragiro ebibiri ebisinga obukulu kigamba nti: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:39) Bwe tubuulira baliraanwa baffe amawulire amalungi ag’Obwakabaka kiba kiraga nti tubaagala. Ate era bwe tubayigiriza Baibuli ne tubalaga nti basaanidde okwekutula ku madiini ag’obulimba nakyo kiba kiraga nti tubaagala.

15. Kitegeeza ki ‘obutaba ba nsi’ ?

15 Wadde nga tubuulira baliraanwa baffe amawulire amalungi, tukijjukire nti, ng’abagoberezi ba Yesu ‘tetuli ba nsi.’ (Yokaana 15:19) Ekigambo ‘ensi’ ekikozeseddwa wano kitegeeza abantu abeeyawudde ku Katonda. (Abaefeso 4:17-19; 1 Yokaana 5:19) Tweyawula ku nsi mu ngeri nti twewala endowooza, enneeyisa n’enjogera zaayo ebitasanyusa Yakuwa. (1 Yokaana 2:15-17) Ate era, nga tugoberera omusingi ogugamba nti “okukwana n’ababi kwonoona empisa ennungi,” twewala okuba n’enkolagana ey’okulusegere n’abo abalina empisa ezikontana n’emitindo gy’Ekikristaayo. (1 Abakkolinso 15:33) Obutaba kitundu kya nsi kitegeeza “obutaba n’amabala ag’omu nsi.” (Yakobo 1:27) Naye kino tekitegeeza nti tusaanidde okwewalira ddala abantu abalala.​—Yokaana 17:15, 16; 1 Abakkolinso 5:9, 10.

16, 17. Abakristaayo basaanidde okuyisa batya abo abatamanyi mazima ga Baibuli?

16 Kati olwo, tusaanidde kuyisa tutya abo abatamanyi mazima ga mu Baibuli? Pawulo yawandiikira ab’omu kibiina kye Kkolosaayi nti: “Mutambulirenga mu magezi eri abo ab’ebweru, nga mweguliranga ebbanga. Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.” (Abakkolosaayi 4:5, 6) Ate omutume Peetero yawandiika nti: “Mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe: nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey’okusuubira okuli mu mmwe, naye n’obuwombeefu n’okutya.” (1 Peetero 3:15) Pawulo yabuulirira Abakristaayo “obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obukkakkamu bwonna eri abantu bonna.”​—Tito 3:2.

17 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa twewala okuyisa obubi abantu eb’eddiini endala oba okukozesa ebigambo ebibanyooma. Mu kifo ky’ekyo, tusigala tuli bakkakkamu ne bwe kiba nti nnyinimu, muliraanwa oba mukozi munnaffe atuyisa bubi oba atuvuma.​—Abakkolosaayi 4:6; 2 Timoseewo 2:24.

‘Nywezanga Ebigambo eby’Obulamu’

18. Kiki ekituuka ku muntu ayize amazima kyokka n’addayo mu ddiini ey’obulimba?

18 Nga kiba kya kabi nnyo omuntu amaze okuyiga amazima okuddayo mu ddiini ey’obulimba! Baibuli eraga akabi akali mu kukola ekyo bw’egamba nti: “Bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw’ensi mu kutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombeza mu obwo omulundi ogw’okubiri ne bawangulibwa eby’oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby’olubereberye. . . . Kyabatuukirirako ng’olugero olw’amazima bwe luli, nti Embwa eddidde ebisesemye byayo, n’embizzi enaazibbwa eddidde okwekulukuunya mu bitosi.”​—2 Peetero 2:20-22.

19. Lwaki tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuteeka embeera yaffe ey’eby’omwoyo mu kabi?

19 Tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuteeka embeera yaffe ey’eby’omwoyo mu kabi. Singa tetwegendereza tuyinza okufuna akabi ak’amaanyi! Omutume Pawulo atulabula nti: “Naye omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani.” (1 Timoseewo 4:1) Kino kye kiseera kye nnyini ‘eky’ennaku ez’oluvannyuma.’ Abo abateewala kusinza kwa bulimba basobola ‘okuyuugayuuga era ne batwalibwa buli mpewo ey’okuyigiriza, mu bukuusa bw’abantu, mu nkwe, ne bagoberera okuteesa okw’obulimba.’​—Abaefeso 4:13, 14.

20. Biki ebiyinza okutuyamba okwewala okusinza okw’obulimba?

20 Biki ebiyinza okutuyamba okwewala okusinza okw’obulimba? Waliwo ebintu bingi Yakuwa by’atuwadde. Ekisooka, tulina Ekigambo kye, Baibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) Ate era, okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yakuwa atuwadde emmere ey’eby’omwoyo nnyingi. (Matayo 24:45) Tusaanidde okukulaakulanya okwegomba okulya ‘emmere enkalubo ey’abantu abakulu’ era n’okugenda mu nkuŋŋaana tusobole okweyongera okuyiga amazima aganaatuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. (Abaebbulaniya 5:13, 14; Zabbuli 26:8) Ka tumalirire okukozesa byonna Yakuwa by’atuwa tusobole ‘okweyongera okunyweza ebigambo eby’amazima’ bye twayigirizibwa. (2 Timoseewo 1:13) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okwewala okusinza okw’obulimba.

Kiki ky’Oyize?

• “Babulooni Ekinene” kye ki?

• Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okwewala amadiini ag’obulimba?

• Bintu ki bye tusaanidde okwewala ebiyinza okuteeka embeera yaffe ey’eby’omwoyo mu kabi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Omanyi lwaki “Babulooni Ekinene” kiyitibwa omukazi omwenzi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

“Babulooni Ekinene” kijja kuzikirizibwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Twoleka “obuwombeefu” era ne tuwa ekitiibwa abantu ab’enzikiriza endala