Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaami, Mukoppe Okwagala kwa Kristo!

Abaami, Mukoppe Okwagala kwa Kristo!

Abaami, Mukoppe Okwagala kwa Kristo!

MU KIRO ekyasembayo alyoke attibwe, Yesu yagamba abayigirizwa be abeesigwa nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe nnabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Bwe kityo, Abakristaayo ab’amazima balina okwagalana.

Mu bagoberezi ba Kristo, omutume Pawulo yanokolayo abaami n’agamba nti: “Abaami mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:25) Omwami Omukristaayo ayinza atya okukolera ku kiragiro ekyo mu bufumbo bwe, naddala nga ne mukyala we muweereza wa Yakuwa?

Kristo Yatwalanga Ekibiina ng’Eky’Omuwendo

Baibuli egamba nti: “Abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakazi baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Oyo ayagala mukazi we yeeyagala yekka, kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe; naye aguliisa era agulabirira, nga Kristo bw’akola eri ekibiina.” (Bef. 5:28, 29) Yesu yali ayagala nnyo abayigirizwa be era ng’abatwala ng’eky’omuwendo. Wadde nga baali tebatuukiridde, yabakwatanga na kisa. Olw’okuba yali ayagala ‘okuleeta ekibiina gy’ali mu kitiibwa kyakyo,’ Yesu yassa essira ku ngeri ennungi abagoberezi be ze balina okuba nazo.​—Bef. 5:27.

Nga Kristo bwe yalaga ekibiina okwagala, omwami ateekwa okulaga mukyala we okwagala mu bigambo ne mu bikolwa. Omukyala alagibwa okwagala awulira nga wa muwendo era aba musanyufu. Ku luuyi olulala, omukyala ayinza okuba n’amaka nga mulimu buli kalungi, naye nga si musanyufu olw’omwami we okumusuulirira.

Omwami ayinza atya okulaga nti mukyala we wa muwendo? Bw’aba amwanjula eri abalala, akikola mu ngeri emuweesa ekitiibwa era amwogerako bulungi olw’engeri gy’amuyambamu. Mukyala we bw’aba alina engeri ey’enjawulo gy’ayambyemu ab’omu maka ge, talonzalonza kukibuulirako balala. Bwe baba bali bokka, omukyala alina okukiraba nti omwami we amwagala. Okumukwatako, okumuteerako akamwenyumwenyu, okumugwako mu kifuba, n’okumubuulira obugambo obumuzaamu amaanyi biyinza okulabika ng’ebintu ebitono, naye bya muwendo nnyo eri abakazi.

“Takwatibwa Nsonyi Kubayita ‘Baganda’ Be”

Abagoberezi be abaafukibwako amafuta Kristo Yesu “takwatibwa nsonyi kubayita ‘baganda’ be.” (Beb. 2:11, 12, 17) Bw’oba oli mwami Omukristaayo, kijjukire nti mukyala wo era aba mwannyoko mu by’omwoyo. Okwewaayo kwe eri Yakuwa kukulu nnyo okusinga ekirayiro kye yakola nga mufumbiriganwa, k’abe nga yakufumbirwa amaze kubatizibwa obanga tannaba. Ow’oluganda bw’aba akubiriza olukuŋŋaana n’alonda mukyala wo okubaako ky’addamu, amuyita “Mwannyinaffe.” Naawe aba mwannyoko, si nga muli mu Kizimbe ky’Obwakabaka mwokka, naye era ne bwe muba nga muli waka. Kiba kirungi okumukwata obulungi nga muli awaka nga bw’okola nga muli mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

Bw’oba olina obuvunaanyizibwa mu kibiina, oluusi kiyinza okukuzibuwalira okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwo obw’omu maka. Bwe wabaawo enkolagana ennungi mu b’oluganda abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina era ng’obuvunaanyizibwa obumu oyinza okubusigira abalala, kiyinza okukuyamba okwongera ku biseera eby’okubeerako ne mukyala wo, ng’ono ye mwannyinaffe asinga okukwetaaga. Kijjukire nti emirimu gy’okola mu kibiina ab’oluganda abalala basobola okugikola, naye obufumbo bwo buba buvunaanyizibwa bwo wekka.

Ng’oggyeko ekyo, gwe mutwe gwa mukazi wo. Baibuli egamba nti: “Omutwe gw’omusajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Ko. 11:3) Obuyinza obwo osaanidde ku bukozesa otya? Tosaanidde kubukozesa ng’ojuliza ekyawandiikibwa ekyo olutata ng’olagira mukyala wo akuwe ekitiibwa. Ekijja okukuyamba okubeera omutwe gw’amaka omulungi kwe kukoppa Yesu Kristo mu ngeri gy’oyisaamu mukyala wo.​—1 Pe. 2:21.

‘Muli Mikwano Gyange’

Abayigirizwa be Yesu yabayita mikwano gye. Yabagamba nti: “Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya mukama we ky’akola. Naye mbayise mikwano gyange kubanga ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange mbibategeezezza.” (Yok. 15:14, 15) Yesu yayogeranga bulungi n’abayigirizwa be, era ebintu baabikolanga bonna. “Yesu n’abayigirizwa be” baayitibwa ku mbaga e Kaana. (Yok. 2:2) Waalingawo ebifo we baateranga okubeera bonna, gamba nga mu nnimiro y’e Gesusemane. Baibuli egamba nti “emirundi mingi Yesu yagendangayo n’abayigirizwa be.”​—Yok. 18:2.

Omukyala alina okuwulira nti omwami we ye mukwano gwe ow’okulusegere. Nga kiba kirungi nnyo mmwe abaami n’abakyala okukolera awamu ebintu! Muweerereze wamu Katonda, musomere wamu Baibuli, era mufuneeyo akaseera ak’eddembe munyumyemu oba mutambuleko wamu. Okuba nti muli bafumbo ku bwakyo tekimala; mufuuke ba mukwano.

‘Yabaagala Okutuukira Ddala ku Nkomerero’

Yesu ‘yayagala abayigirizwa be okutuukira ddala ku nkomerero.’ (Yok. 13:1) Abasajja abamu balemwa okukoppa Kristo mu kino. Bayinza n’okuleka ‘bakazi baabwe ab’omu buvubuka,’ ne bafunayo abakyali abato.​—Mal. 2:14, 15.

Naye abalala, gamba nga Willi, bakoppa Kristo. Olw’obulwadde okugenda nga bumugonza, mukyala wa Willi yalina okulabirirwa buli kiseera okumala emyaka mingi. Kino Willi yakitwala atya? Yagamba nti: “Mukyala wange mmulaba ng’ekirabo ekyampeebwa Katonda era mmwagala nnyo. Ng’oggyeko ekyo, emyaka 60 emabega nnasuubiza okumulabirira mu bulungi ne mu bubi. Ekisuubizo ekyo sigenda kukyerabira.”

Abaami Abakristaayo, mukoppe okwagala kwa Kristo. Twala mukyala wo atya Katonda nga wa muwendo​—mwannyoko era mukwano gwo.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Mukazi wo y’asinga okuba mukwano gwo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

‘Yagalanga mukazi wo’