Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka—Mulage Nti Mukulaakulana

Abavubuka—Mulage Nti Mukulaakulana

Abavubuka​—Mulage Nti Mukulaakulana

“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”​—1 TI. 4:15.

1. Katonda ayagaliza ki abavubuka?

 ‘SANYUKIRANGA mu buvubuka bwo ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo.’ (Mub. 11:9) Bw’atyo Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda bwe yawandiika. Yakuwa Katonda eyaluŋŋamya obubaka obwo ayagala nnyo mmwe abavubuka mube basanyufu, si mu buto bwammwe mwokka wabula ne mu bukulu. Kyokka, abavubuka batera okukola ensobi ez’amaanyi mu kiseera ekyo ne zibaviirako obutaba musanyufu mu biseera byabwe eby’omu maaso. N’omusajja omwesigwa Yobu yejjusa ‘olw’ebizibu ebyava mu nsobi ze yakola mu buvubuka bwe.’ (Yobu 13:26, NW) Mu kiseera eky’obuvubuka bwe era ne mu myaka egiddirira, Omukristaayo aba n’ebintu bingi ebikulu by’alina okusalawo. Okubisalawo obubi kiyinza okumuleetera ennaku n’ebizibu obulamu bwe bwonna.​—Mub. 11:10.

2. Baibuli ewa magezi ki agayinza okuyamba abavubuka okwewala okukola ensobi ez’amaanyi?

2 Kyokka abavubuka kibeetaagisa okuyiga okusalawo obulungi. Lowooza ku magezi omutume Pawulo ge yawa Abakkolinso. Yagamba nti: “Temuba baana bato mu kutegeera . . . Mubeere bakulu mu kutegeera.” (1 Ko. 14:20) Okukolera ku magezi ago agatukubiriza okulowooza ng’abantu abakulu kiyamba abavubuka okwewala okukola ensobi ez’amaanyi.

3. Oyinza kukola ki okusobola okukula mu birowoozo?

3 Bw’oba oli muvubuka, jjukira nti okusobola okukula mu birowoozo kikwetaagisa okufuba. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo, naye beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, ne mu bulongoofu. Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga . . . Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.” (1 Ti. 4:12-15) Abavubuka Abakristaayo kibeetaagisa okukulaakulana, era ekyo kirina okweyoleka eri abalala.

Okukulaakulana Kye Ki?

4. Okukulaakulana mu by’omyoyo kizingiramu ki?

4 Okukulaakulana kwe “kukola ekyukakyuka ez’omuganyulo.” Pawulo yakubiriza Timoseewo yeeyongere okukulaakulana mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, mu bulongoofu, ne mu ngeri gy’atuukirizaamu obuweereza bwe. Timoseewo yalina okulaba nti obulamu bwe bufuuka kyakulabirako eri abalala. Bwe kityo yalina okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.

5, 6. (a) Okukulaakulana kwa Timoseewo kwatandika ddi okweyoleka? (b) Abavubuka bayinza batya okukulaakulana nga Timoseewo?

5 Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo wakati wa 61 ne 64 Embala Eno (E.E.), Timoseewo yali mukadde alina obumanyirivu. Yali tatandika butandisi kukulaakulana mu by’omwoyo. Awo mu 49 oba 50 E.E., nga kirabika Timoseewo anaatera okuva mu myaka gy’obutiini oba nga yaakayingira mu 20, “ab’oluganda mu Lusitula ne Ikoniyo baali bamwogerako bulungi” olw’okuba baakiraba nti yali akulaakulanye mu by’omwoyo. (Bik. 16:1-5) Ekyo kye kiseera Pawulo we yatwalira Timoseewo ng’agenda ku lugendo lwe olw’obuminsani. Oluvannyuma lw’emyezi nga giigyo, Pawulo yakiraba nti Timoseewo yali yeeyongedde okukulaakulana era yamusindika e Ssessaloniika okubudaabuda n’okunyweza Abakristaayo mu kibuga ekyo. (Soma 1 Abassessaloniika 3:1-3, 6.) Awatali kubuusabuusa, okukulaakulana kwa Timoseewo kwatandika okweyoleka eri abalala ng’akyali muto ddala.

6 Mmwe abavubuka abali mu kibiina, mufube okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo kati, buli omu asobole okukiraba nti mulina empisa ennungi era nti muyigiriza bulungi amazima ga Baibuli. Okuva nga wa myaka 12, Yesu “yeeyongera okufuna amagezi.” (Luk. 2:52) Ka tulabeyo embeera ssatu mw’oyinza okulagira nti okulaakulana: (1) ng’oyolekaganye n’ebizibu, (2) nga weeteekerateekera obufumbo, era (3) ng’ofuba okufuuka ‘omuweereza omulungi.’​—1 Ti. 4:6.

‘Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu’ ng’Oyolekaganye n’Ebizibu

7. Kiki ekiyinza okutuuka ku bavubuka nga bafunye ebizibu?

7 Carol, omuwala Omukristaayo ow’emyaka 17, yagamba, “Emirundi egimu nnazuukukanga ku makya nga nzenna mpulira ndi mukoowu era nga saagala kuva mu buliri.” * Kiki ekyamuleetera okuwulira obubi bw’atyo? Carol bwe yali nga wa myaka kkumi, bazadde be baayawukana, n’asigala ne maama we eyali takyatambulira ku mitindo gya Baibuli. Okufaananako Carol, naawe oyinza okuba ng’oyolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi, ate ng’embeera togisuubira kukyukako.

8. Bizibu ki Timoseewo bye yali ayolekagana nabyo?

8 Wadde nga yali akulaakulana mu by’omwoyo, Timoseewo naye yalina ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yali ‘alwalalwala nnyo’ era ng’alumwa olubuto. (1 Ti. 5:23) Pawulo bwe yamutuma e Kkolinso agonjoole emitawaana egyali gizzeewo olw’abo abaali bagamba nti ye si mutume, yasaba ab’omu kibiina ekyo okukolagana obulungi ne Timoseewo, aleme ‘kubaamu kutya kwonna’ ng’ali nabo. (1 Ko. 4:17; 16:10, 11) Kirabika Timoseewo yalina ensonyi oba yali yeetya.

9. Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kitegeeza ki, era kino kyawukana kitya n’okuba omutiitiizi?

9 Okusobola okuyamba Timoseewo, Pawulo yamujjukiza nti: “Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi, wabula ogw’amaanyi, ogw’okwagala, n’ogw’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu.” (2 Ti. 1:7) Okuba “n’endowooza ennuŋŋamu” kizingiramu okulowooza n’okulaba ebintu mu ngeri ey’amagezi. Kitwaliramu okukola kye tusobola okugumira embeera yonna gye tuba twolekaganye nayo. Abavubuka abamu abatannakula mu birowoozo balaga obutiitiizi nga badda mu kwebaka, okulaba ttivi, okwekamirira ebiragalalagala, okunywa omwenge, okwemalira mu by’amasanyu n’obwenzi nga balowooza nti ebyo bijja kukendeeza ku bizibu bye balina. Kyokka Abakristaayo bakubirizibwa “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, era n’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka eno ey’ebintu.”​—Tito 2:12.

10, 11. Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kituyamba kitya okuba abanywevu mu by’omwoyo?

10 Baibuli ekubiriza ‘abavubuka okuba n’endowooza ennuŋŋamu.’ (Tito 2:6) Kino kitegeeza nti olina okusaba ennyo n’okwesiga Katonda okukuwa amaanyi ng’oyolekaganye n’ebizibu. (Soma 1 Peetero 4:7.) Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna obwesige mu “maanyi Katonda g’agaba.”​—1 Pe. 4:11.

11 Okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okusaba ennyo bye byayamba Carol. Yagamba nti: “Okulaga mmange nti sikkiriziganya na bikolwa bye eby’obwenzi kye kimu bintu ebikyasinze obuzibu bye nnali nkoze. Naye okusaba kwannyamba nnyo. Nkimanyi nti Yakuwa ali nange, era kati sikyatya.” Jjukira nti okugumira ebizibu kisobola okukuyamba okufuuka omuntu omulungi era omunywevu. (Zab. 105:17-19; Kung. 3:27) K’oyolekagane na kizibu ki, Katonda tayinza kukulekulira. Ajja ‘kukuyamba.’​—Is. 41:10.

Okweteekerateekera Obufumbo

12. Lwaki Omukristaayo ayagala okuyingira obufumbo asaanidde okulowooza ku musingi oguli mu Engero 20:25?

12 Abavubuka abamu banguwa okuyingira obufumbo nga balowooza nti ekyo kijja kubamalako ennaku, ekiwuubaalo, n’ebizibu bye balina awaka. Naye obweyamo obukolebwa ng’omuntu ayingira obufumbo tebusaanidde kutwalibwa ng’ekintu eky’omuzannyo. Mu biseera bya Baibuli, abantu abamu baakola obweyamo eri Katonda nga tebasoose kulowooza ku biki bizingirwamu. (Soma Engero 20:25.) Oluusi abavubuka bayingira mu bufumbo nga tebasoose kufumiitiriza ku biki bizingirwamu, oluvannyuma ne beesanga ng’obuvunaanyizibwa obwo tebasobola kubutuukiriza.

13. Bibuuzo ki abo abaagala okutandika okwogereza bye basaanidde okwebuuza, era basobola kuggya wa amagezi agabayamba?

13 N’olwekyo nga tonnabaako muntu yenna gw’oyogereza sooka weebuuze: ‘Lwaki njagala okuyingira obufumbo? Kiki kye mbusuubiramu? Omuntu gwe njagala y’oyo ansaanira? Ndi mwetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange?’ Mu bitabo ebifulumizibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” mulimu obulagirizi bungi obuyinza okukuyamba mu nsonga eno. * (Mat. 24:45-47) Obulagirizi obwo butwale nti bukuweereddwa Yakuwa. Bwekkaanye bulungi era obuteeke mu nkola. Tokkiriza kuba “nga mbalaasi, n’ennyumbu, ezitalina magezi.” (Zab. 32:8, 9) Fuuka mukulu mu kutegeera obuvunaanyizibwa obuzingirwa mu kuba omufumbo. Bw’oba owulira nti otuuse okwogereza, fuba okulaba nti obeera “kyakulabirako . . . mu bulongoofu.”​—1 Ti. 4:12.

14. Okuba omukulu mu by’omwoyo kikuyamba kitya mu bufumbo?

14 Okuba omukulu mu by’omwoyo era kikuyamba ng’oyingidde mu bufumbo. Omukristaayo akuze mu by’omwoyo afuba okutuuka “ku kigera eky’obukulu bwa Kristo.” (Bef. 4:11-14) Akola buli ky’asobola okukulaakulanya engeri ng’eza Kristo. Oyo atuteerawo ekyokulabirako “Kristo teyeesanyusa yekka.” (Bar. 15:3) Buli omu bw’anoonya okusanyusa munne mu kifo ky’okwefaako yekka, obufumbo buba bwa ssanyu era bwa mirembe. (1 Ko. 10:24) Omwami ajja kulaga mukyala we okwagala okwa nnamaddala, n’omukyala agondere bba nga Yesu bw’agondera Kitaawe.​—1 Ko. 11:3; Bef. 5:25.

“Tuukiriza mu Bujjuvu Obuweereza Bwo”

15, 16. Oyinza otya okulaga nti okulaakulana mu buweereza bwo?

15 Ng’alaga Timoseewo omulimu omukulu gwe yalina okukola, Pawulo yawandiika nti: “Nkukuutira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu . . . buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.” Yagattako nti: “Kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri, tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.” (2 Ti. 4:1, 2, 5) Okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, Timoseewo yalina ‘okweriisa ebigambo eby’okukkiriza.’​—Soma 1 Timoseewo 4:6.

16 Oyinza otya ‘okweriisa ebigambo eby’okukkiriza’? Pawulo yawandiika nti: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga . . . Ebintu bino bifumiitirizengako, [era] byemalireko.” (1 Ti. 4:13, 15) Okusobola okukula mu by’omwoyo tulina okwesomesa. Ekigambo “byemalireko” kitegeeza okuteeka omutima gwo gwonna ku kintu ky’okola. Enteekateeka yo ey’okusoma eyimiridde etya? Weemalira ku “bintu bya Katonda eby’ebuziba”? (1 Ko. 2:10) Oba otuusa butuusa mukolo? Okufumiitiriza ku by’osoma kijja kukuwa amaanyi.​—Soma Engero 2:1-5.

17, 18. (a) Biruubirirwa ki by’olina okufuba okutuukako? (b) Okuba n’endowooza ng’eya Timoseewo kinaakuyamba kitya mu buweereza bwo?

17 Payoniya akyali omuto ayitibwa Michelle yagamba nti: “Okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwange, nnakola enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, era soosa nkuŋŋaana. Kino kinnyamba okweyongera okukula mu by’omwoyo.” Okuweereza nga payoniya kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’okozesaamu Baibuli ng’oyigiriza era ojja kukula mu by’omwoyo. Wettanire okusoma era fuba okulaba nti by’oddamu mu nkuŋŋaana bizimba abalala. Ng’omuvubuka akuze mu by’omwoyo, osaanidde okutegeka n’okuwa obulungi emboozi mu lukuŋŋaana lw’essomero, ng’ogoberera n’obwegendereza obulagirizi obukuweereddwa.

18 ‘Okusobola okutuukiriza obulungi omulimu gw’omubuulizi w’enjiri’ n’okuyamba abalala okufuna obulokozi kikwetaagisa okuyiga ‘okuyigiriza mu ngeri ennungi.’ (2 Ti. 4:2) Okukola enteekateeka okubuulira n’abo abalina obumanyirivu mu mulimu guno kijja kukuyamba okuyiga engeri ennungi ez’okuyigiriza, nga Timoseewo bwe yayigira ku Pawulo. (1 Ko. 4:17) Ng’ayogera ku abo be yayamba, Pawulo yagamba nti teyababuulira mawulire malungi kyokka, naye era yabawa ‘obulamu bwe,’ amakulu nti yabukozesa okubayamba, olw’okuba yali abaagala nnyo. (1 Se. 2:8) Okusobola okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo mu buweereza bwo, olina okuba n’endowooza ng’eya Timoseewo, eyafaayo ennyo ku balala ‘n’abunyisa amawulire amalungi.’ (Soma Abafiripi 2:19-23.) Naawe olaga omwoyo ogw’okwefiiriza ng’ogwo mu buweereza bwo?

Okukulaakulana Kireeta Essanyu Erya Nnamaddala

19, 20. Lwaki okukulaakulana mu by’omwoyo kireeta essanyu?

19 Okukulaakulana kikwetaagisa okuba omunyiikivu. Kyokka bw’onooyongera ku busobozi bwo mu kuyigiriza, ojja ‘kugaggawaza bangi’ mu by’omwoyo, bafuuke gy’oli “engule ey’okusanyuka.” (2 Ko. 6:10; 1 Se. 2:19) Fred ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna yagamba nti: “Kati ebiseera byange ebisinga nnabiwaayo okuyamba abalala. Kituufu ddala nti okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”

20 Ng’ayogera ku ssanyu n’obumativu bye yafuna mu kukulaakulana mu by’omwoyo, omuwala payoniya ayitibwa Daphne yagamba nti: “Nneeyongera okutegeera Yakuwa ng’Omuntu, ekyo ne kinnyamba okufuna enkolagana ennungi naye. Bw’okola buli ky’osobola okusanyusa Yakuwa owulira bulungi nnyo​—oba mumativu ddala!” Wadde ng’abantu bayinza obutakiraba nti okulaakulana mu by’omwoyo, Yakuwa akiraba era akitwala nga kya muwendo. (Beb. 4:13) Tewali kubuusabuusa nti mmwe abavubuka Abakristaayo musobola bulungi okuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa n’ettendo. Mweyongera okusanyusa omutima gwe nga mufuba okulaba nti mukulaakulana mu by’omwoyo.​—Nge. 27:11.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amanya agamu gakyusiddwa.

^ “Omuntu gwe njagala y’oyo ansaanira?” mu katabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo ogw’okubiri; “Obulagirizi bwa Katonda Obukwata ku Kulonda ow’Okufumbiriganwa Naye,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2001; ne “Kya Magezi Okuyingira Obufumbo mu Myaka gy’Obutiini?” mu Awake! eya Ssebutemba 22, 1983.

Kiki ky’Oyize?

• Okukulaakulana mu by’omwoyo kizingiramu ki?

• Osobola otya okulaga nti okulaakulana . . .

ng’oyolekaganye n’ebizibu?

nga weeteekerateekera obufumbo?

mu buweereza?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Okusaba kusobola okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Ababuulizi abavubuka bayinza batya okuyiga engeri ennungi ez’okuyigiriza?