Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Setaani yasuulibwa ddi okuva mu ggulu?​—Kub. 12:1-9.

Wadde ng’ekitabo kya Baibuli eky’Okubikkulirwa tekitubuulira ddi Setaani lwe yasuulibwa okuva mu ggulu, kirimu ebintu ebituyamba okutegeera ekyo we kyabeererawo. Ekisooka ku byo kwe kuzaalibwa kw’Obwakabaka bwa Masiya. Bwe bwamala okuzaalibwa, ‘waaliwo olutalo mu ggulu,’ Setaani n’awangulwa era n’asuulibwa okuva mu ggulu.

Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti ‘ebiseera by’ab’amawanga’ byakoma mu 1914 era Obwakabaka ne butandika okufuga. * (Luk. 21:24) Ekyo bwe kyaggwa, waayita bbanga ki ng’olutalo olwagoba Setaani mu ggulu terunnatandika?

Okubikkulirwa 12:4 wagamba nti: “Ogusota [Setaani] ne guyimirira mu maaso g’omukazi, eyali anaatera okuzaala, bw’azaala gulyoke gulye omwana we.” Kino kiraga nti Setaani yali ayagala kusaanyaawo Obwakabaka obwo nga bwakazaalibwa. Wadde nga Yakuwa yamulemesa okutuuka ku kigendererwa kye ekyo ekibi, Setaani yasigala nga mumalirivu okukola akabi ku Bwakabaka obwali buteekeddwawo. Kyeyoleka bulungi nti “Mikayiri ne bamalayika be” baalina okusitukiramu bagobe “ogusota ne bamalayika baagwo” mu ggulu, waleme kubaawo kabi konna katuuka ku Bwakabaka obwo. Kino kiraga nti okuwangula Setaani n’okumusuula okuva mu ggulu byaliwo ng’Obwakabaka bwakazaalibwa mu 1914.

Ekirala ekituyamba okutegeera ekiseera ekyo kwe kuzuukizibwa kw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Okusinziira ku Byawandiikibwa, okuzuukira okwo kwatandika ng’Obwakabaka bwakateekebwawo. * (Kub. 20:6) Okuva bwe kiri nti baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta teboogerwako nti baali naye ng’alwanyisa ogusota ne bamalayika baagwo, okuzuukizibwa kwabwe kwatandika luvannyuma lwa lutalo olwo olwali mu ggulu, nga ne Setaani ne bamalayika be basuuliddwa okuva mu ggulu.

N’olwekyo, wadde nga Baibuli tetubuulira ddi Setaani ne bamalayika be lwe baasuulibwa okuva mu ggulu, waliwo obukakafu obulaga nti kyakolebwa nga Yesu Kristo yakafuuka Kabaka mu ggulu mu 1914.

[Obugambo obuli wansi]

^ Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2007, olupapula 30-31, akatundu 9-13.