Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkomerero Erina Kukusanga Wa?

Enkomerero Erina Kukusanga Wa?

Enkomerero Erina Kukusanga Wa?

YAKUWA bw’anaaba azikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi, abantu abalungi banaakolebwa batya? Engero 2:21, 22 wagamba nti: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”

Naye kinaayinzika kitya abantu abalungi okusigala mu nsi? Wanaabaawo ekifo eky’enjawulo we bayinza okuwonera? Enkomerero erina kubasanga wa? Okusobola okutangaaza ku nsonga zino, ka tulabe okuwonawo kwa mirundi ena okwogerwako mu Byawandiikibwa.

Waaliwo Ekifo aw’Okuwonera

Peetero Ekyokubiri 2:5-7 wagamba bwe wati ku ngeri Nuuwa ne Lutti gye baawonyezebwawo: “[Katonda] teyalema kubonereza nsi ey’edda, naye n’awonya Nuuwa omubuulizi w’obutuukirivu n’abalala musanvu, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda; era yasalira ebibuga Sodomu ne Ggomola omusango n’abizikiriza n’omuliro, n’ateerawo abantu abatatya Katonda ekyokulabirako ky’ebintu ebigenda okujja; era yawonya Lutti omutuukirivu eyali anyolwa ennyo olw’ebikolwa eby’obugwenyufu eby’abantu abajeemu.”

Nuuwa yawonawo atya ng’Amataba gazze? Katonda yagamba Nuuwa nti: “Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n’ensi. Weekolere eryato n’omuti goferi.” (Lub. 6:13, 14) Nuuwa yazimba eryato nga Yakuwa bwe yali amulagidde. Ng’ebula ennaku musanvu amataba gatandike, Yakuwa yamulagira okukuŋŋaanya ensolo aziyingize mu lyato, era naye ayingire awamu n’ab’omu maka ge. Ku lunaku olw’omusanvu, oluggi lwaggalwawo, “enkuba n’etonnyera ku nsi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro.” (Lub. 7:1-4, 11, 12, 16) Nuuwa n’ab’omu maka ge ‘baawonyezebwa amazzi.’ (1 Pe. 3:20) Okusobola okuwonawo baalina okuba munda mu lyato. Tewaali kifo kirala kyonna ku nsi we baali basobola kuwonera.​—Lub. 7:19, 20.

Ate Lutti ye yaweebwa ebiragiro bya njawulo. Bamalayika babiri baamutegeeza ekifo we yali talina kuba. Baamugamba nti: “Bonna b’olina mu kibuga [Sodomu]; bafulumye mu kifo muno: kubanga tunaazikiriza ekifo kino.” Baalina ‘okuddukira mu nsozi.’​—Lub. 19:12, 13, 17.

Okuwonyezebwawo kwa Nuuwa ne Lutti kulaga nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa, naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango.” (2 Pe. 2:9) Ku mirundi egyo gyombi, waaliwo ekifo awaalina okuwonerwa. Nuuwa yalina okuyingira mu lyato; Lutti yalina okufuluma ekibuga Sodomu. Naye kirina kuba bwe kityo ku buli mulundi? Yakuwa asobola okuwonyaawo abatuukirivu yonna gye baba bali nga talina kifo w’abakuŋŋaanyirizza? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, weetegereze okununulibwa okulala kwa mirundi ebiri.

Buli Mulundi Walina Okubaawo Ekifo?

Bwe yali tannaleeta kibonyoobonyo eky’ekkumi ku Misiri mu kiseera kya Musa, Yakuwa yalagira Abaisiraeri okusiiga omusaayi gw’endiga ey’Okuyitako ku bubuno ne ku mifuubeeto gy’ennyumba zaabwe. Lwaki? ‘Yakuwa bwe yandibadde ayita okukuba Abamisiri; bwe yandirabye omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, yandiyise ku mulyango ogwo n’ataleka muzikiriza kuyingira mu nnyumba zaabwe kubakuba.’ Mu kiro ekyo kye nnyini, ‘Yakuwa yakuba abaana ababereberye bonna ab’omu nsi y’e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo okutuuka ku mubereberye w’omusibe eyali mu kkomera; n’embereberye zonna ez’ebisibo.’ Ababereberye b’Abaisiraeri baawonawo nga tekibeetaagisizza kugenda mu kifo kirala.​—Kuv. 12:22, 23, 29.

Lowooza ne ku Lakabu, omukazi malaaya eyali abeera mu Yeriko. Abaisiraeri baali banaatera okutandika okuwamba Ensi Ensuubize. Lakabu yakiraba nti Yeriko kyali kyolekedde okuzikirizibwa Abaisiraeri, era yagamba abakessi ababiri nti ab’omu kibuga ekyo bonna baali mu kutya kwa maanyi. Yakweeka abakessi abo era n’abasaba balayire nti baggya kumuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge nga bazikiriza Yeriko. Abakessi baalagira Lakabu akuŋŋaanyize ab’omu maka ge mu nnyumba ye eyali ku bbugwe w’ekibuga. Omuntu yenna eyandifulumye mu nnyumba eyo yandizikiriziddwa. (Yos. 2:8-13, 15, 18, 19) Naye ate Yakuwa yali agambye Yoswa nti ‘bbugwe ow’ekibuga alina okugwira ddala wansi.’ (Yos. 6:5) Bwe kityo, ekifo abakessi kye baali bagambye nti Lakabu n’ab’omu maka ge mwe bandiwonedde kyalabika ng’eky’akabi. Kati olwo baali bagenda kuwonyezebwawo batya?

Ekiseera ky’okuwamba Yeriko bwe kyatuuka, Abaisiraeri baayogerera waggulu ne bafuuwa n’eŋŋombe. Yoswa 6:20 wagamba nti: ‘Abaisiraeri bwe baawulira eddoboozi ly’eŋŋombe ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, era bbugwe n’agwira ddala wansi.’ Abantu obuntu baali tebalina kye basobola kukolawo nga bbugwe atandise okuyiika. Kyokka mu ngeri ey’ekyamagero, awaali ennyumba ya Lakabu wo tewaamenyeka. Yoswa yalagira abakessi ababiri nti: “Mugende mu nnyumba ey’omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by’alina byonna, nga bwe mwamulayirira.” (Yos. 6:22) Bonna abaali mu nnyumba ya Lakabu baawonawo.

Kiki Ekyali Kisinga Obukulu?

Kiki kye tuyiga mu kuwonyezebwawo kwa Nuuwa, Lutti, Abaisiraeri mu biseera bya Musa, ne Lakabu? Era bino byonna bituyamba bitya okumanya enkomerero y’enteekateeka eno embi w’erina okutusanga?

Kituufu nti Nuuwa yawonyezebwawo mu lyato. Naye kiki ekyamukubiriza okuliyingira? Tekwali kukkiriza kwe yalina awamu n’obuwulize bwe? Baibuli egamba nti: “Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.” (Lub. 6:22; Beb. 11:7) Ate kiri kitya ku ffe? Tukola byonna Katonda by’atulagira? Nuuwa era yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Pe. 2:5) Naffe tubuulira n’obunyiikivu, ka kibe nti bangi be tubuulira tebawuliriza?

Okusobola okuwonawo, Lutti yalina okudduka mu Sodomu. Yawonawo olw’okuba yali mutuukirivu mu maaso ga Katonda era empisa ez’obugwenyufu ez’abantu b’omu Sodomu ne Ggomola abatatya Katonda zamwennyamizanga. Naffe empisa ez’obugwenyufu ezibunye ennyo mu bantu leero zitwennyamiza? Oba twazimanyiira ne tutuuka n’obutazifaako? Tukola buli kye tusobola okusangibwa nga ‘tetuliiko bbala wadde akamogo.’?​—2 Pe. 3:14.

Abaisiraeri mu Misiri ne Lakabu mu Yeriko okusobola okuwonawo baalina kusigala mu mayumba gaabwe. Kino kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza era n’okuba abawulize. (Beb. 11:28, 30, 31) Kuba akafaananyi engeri Abaisiraeri gye baatunuuliramu abaana baabwe ababereberye awatali kubaggyako liiso nga bawulira “okukaaba okunene” mu maka g’Abamisiri agaali gabeetoolodde. (Kuv. 12:30) Lowooza ku ngeri Lakabu n’ab’omu maka ge gye beekukumamu nga bawulira ebisenge bwe bijja bigwa. Okusigala mu nnyumba kyalaga nti Lakabu yalina okukkiriza kwa maanyi era yali muwulize.

Ensi ya Setaani egenda kuzikirizibwa mu kiseera ekitali kya wala. Tetunnamanya ngeri Yakuwa gy’agenda kukuumamu bantu be ku ‘lunaku lw’obusungu bwe’ olujja okuba olw’entiisa. (Zef. 2:3) Kyokka, ka tube nga tuliba ludda wa oba mu mbeera ki mu kiseera ekyo, tuli bakakafu nti okuwonawo kwaffe kujja kusinziira ku kukkiriza kwe tulina mu Yakuwa n’obuwulize bwaffe gy’ali. Nga bwe tulindirira bino okubaawo, tusaanidde okutwala ekyo nnabbi Isaaya kye yayita ‘ebisenge eby’omunda’ ng’ekintu ekikulu.

“Muyingire mu Bisenge eby’Omunda”

Isaaya 26:20 (NW) wagamba nti: “Mugende, abantu bange, muyingire mu bisenge eby’omunda, muggalewo enzigi zammwe. Mwekweke akaseera katono, okutuusa obusungu [bwa Katonda] lwe buliyita.” Obunnabbi buno buyinza okuba nga bwasoka kutuukirizibwa mu 539 E.E.T., Abameedi n’Abaperusi bwe baawamba Babulooni. Kirabika Kuulo Omuperusi bwe yayingira mu kibuga Babulooni yalagira buli omu okusigala mu nju kubanga abaserikale be baali balagiddwa okutta buli gwe basanga ebweru.

Mu kiseera kyaffe, ‘ebisenge eby’omunda’ ebyogerwako mu bunnabbi obwo biyinza okuba nga bye bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisoba mu 100,000 okwetooloola ensi. Ebibiina ebyo bya mugaso nnyo gye tuli, era bijja kweyongera okutuganyula okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene.” (Kub. 7:14) Abantu ba Katonda balagirwa okuyingira mu “bisenge eby’omunda” beekweke “Okutuusa obusungu [bwa Katonda] lwe buliyita.” Kikulu nnyo ffenna okutegeera engeri gye tuganyulwa mu kibiina n’okufuba okukinywererako. Pawulo yatukubiriza nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.”​—Beb. 10:24, 25.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Kiki kye tuyiga ku ngeri Katonda gye yanunulamu abantu mu biseera eby’edda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

‘Ebisenge eby’omunda’ byandiba nga bitegeeza ki mu kiseera kyaffe?