Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Koppa Obwesigwa bwa Ittayi

Koppa Obwesigwa bwa Ittayi

Koppa Obwesigwa bwa Ittayi

“YAKUWA KATONDA Omuyinza w’Ebintu Byonna, emirimu gyo mikulu era gyewuunyisa. Kabaka ow’emirembe n’emirembe, amakubo go ga butuukirivu era ga mazima. Yakuwa, ddala ani atalikutya era ataligulumiza linnya lyo? Ggwe wekka ggwe mwesigwa.” Oluyimba luno oluyimbibwa mu ggulu “abo abaawangula ensolo n’ekifaananyi kyayo” lulaga bulungi nti Katonda mwesigwa. (Kub. 15:2-4) Yakuwa ayagala abantu abamusinza nabo booleke engeri ye eyo ennungi.​—Bef. 4:24.

Ku luuyi olulala, Setaani Omulyolyomi akola buli ky’asobola okulaba nti abaweereza ba Katonda ku nsi abaawukanya ku kwagala kwa Katonda gwe basinza. Wadde kiri kityo, bangi bakuumye obwesigwa eri Katonda, ne bwe baba mu mbeera enzibu. Nga kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa asanyuka bwe tumunywererako mu ngeri eyo! Baibuli etukakasa nti: “Mukama ayagala ensonga, era taleka [bantu be abeesigwa].” (Zab. 37:28) Yateeka mu Kigambo kye ebimu ku byokulabirako by’abaweereza be abeesigwa bituyambe naffe okulaga obwesigwa. Ekimu ku byo kye kya Ittayi Omugitti.

‘Omugwira era Omuwaŋŋanguse’

Kirabika Ittayi yali nzaalwa y’e Gaasi, ekibuga ky’Abafirisuuti ekyali kimanyiddwa ennyo, Goliyaasi n’abalabe ba Isiraeri abalala gye baabeeranga. Mu kiseera Abusaalomu we yayagalira okuwamba obwakabaka bwa Dawudi, Baibuli w’esookera okwogera ku Ittayi, omusajja eyali omulwanyi nnamige. Ittayi n’abasajja be Abafirisuuti 600 be yali babo mu buwaŋŋanguse baali babeera kumpi n’ekibuga Yerusaalemi.

Embeera Ittayi ne basajja be mwe baali yandiba nga yaleetera Dawudi okujjukira ekiseera ye n’abalwanyi be Abaisiraeri 600 we baabeerera mu buwaŋŋanguse mu kitundu ky’Abafirisuuti ekyali kifugibwa Akisi, kabaka wa Gaasi. (1 Sam. 27:2, 3) Ittayi ne basajja be bandikoze ki nga Dawudi alwana ne mutabani we Abusaalomu? Bandiwagidde Abusaalomu, bandisigadde nga tebaliiko ludda, oba bandiwagidde Dawudi ne basajja be?

Kuba akafaananyi nga Dawudi adduse mu Yerusaalemi, era ayimiriddeko mu kifo ekiyitibwa Besu-meraki, ng’erinnya lino litegeeza “Ennyumba ey’Ewala.” Kirabika ennyumba eyo ye yali esembayo ku njegooyego y’ekibuga Yerusaalemi ku luuyi ewali Olusozi olwa Zeyituuni, nga tonnasala kiwonvu ky’e Kidulooni. (2 Sam. 15:17) Ng’ali mu kifo ekyo, Dawudi abala abalwanyi b’alina nga bwe bamuyitako. Yeewuunya okukizuula nti ku Baisiraeri abeesigwa b’ali nabo kwegasseeko Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna. Era kuliko n’Abagitti bonna​—Ittayi n’abalwanyi be 600.​—2 Sam. 15:18.

Mu mutima omusaasizi, Dawudi agamba Ittayi nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka [Abusaalomu]; kubanga oli mugwira, ate era oli muwaŋŋanguse. Ggwe eyajja jjo ate kati nkutwale oyite nange, ogende nange buli gye nnagenda? Ddayo era ozzeeyo ne baganda bo, era Yakuwa akulage ekisa n’obwesigwa.”​—2 Sam. 15:19, 20, NW.

Engeri Ittayi gye yaddamu yalaga nti yali musajja mwesigwa. Yagamba: “Mukama nga bw’ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w’anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n’omuddu wo gy’anaabanga.” (2 Sam. 15:21) Kino kiyinza okuba nga kyajjukiza Dawudi ebigambo ebifaananako bwe bityo ebyayogerwa jjajjaawe Luusi. (Luus. 1:16, 17) Ittayi bye yayogera byakwasa Dawudi ekisa era bw’atyo yamugamba nti: “Genda osomoke” ekiwonvu Kidulooni. Kino olwakiwulira “Ittayi Omugitti n’asomoka n’abasajja be bonna n’abaana abato bonna abaali naye.”​—2 Sam. 15:22.

“Byawandiikibwa Okutuyigiriza”

Abaruumi 15:4 wagamba: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza.” Kati olwo tuyiga ki mu kyokulabirako kya Ittayi? Lowooza ku kiyinza okuba nga kye kyamuleetera okuba omwesigwa eri Dawudi. Wadde nga yali mugwira era Mufirisuuti omuwaŋŋanguse, Ittayi yali akimanyi nti Yakuwa ye Katonda omulamu era nti Dawudi y’oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta. Ittayi teyatunuulira mpalana eyali wakati w’Abaisiraeri n’Abafirisuuti, era teyalowooza ku kya kuba nti Dawudi yali yatta Goliyaasi omulwanyi nnamige n’Abafirisuuti abalala. (1 Sam. 18:6, 7) Ittayi yali akimanyi nti Dawudi ayagala nnyo Yakuwa era nti musajja mulungi. Dawudi naye yakiraba nti Ittayi yali musajja eyeesigika, era yatuuka n’okuteeka ekitundu kimu kya kusatu eky’eggye lye “wansi w’omukono gwa Ittayi” ng’alwana ne mutabani we Abusaalomu!​—2 Sam. 18:2.

Naffe mu kifo ky’okulowooleza mu njawukana zaffe mu mawanga oba mu langi​—obusosoze oba empalana yonna eyinza okubaawo​—tusaanidde kutunuulira ngeri ennungi abalala ze balina. Eky’okuba nti waggyawo enkolagana wakati wa Dawudi ne Ittayi kiraga nti okumanya Yakuwa n’okumwagala kisobola okutuyamba okuvvuunuka obunafu bwaffe.

Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Ittayi tusobola okwebuuza: ‘Nange ndaga obwesige obuli ng’obwo eri oyo asinga Dawudi obukulu, Kristo Yesu? Obwesige bwange mbulaga nga mbuulira n’obunyiikivu amawulire g’Obwakabaka awamu n’okufuula abalala abayigirizwa?’ (Mat. 24:14; 28:19, 20) ‘Ndi mwetegefu kukola ki okulaga nti ndi mwesigwa?’

Abo abalina enkizo y’okuba emitwe gy’amaka nabo baganyulwa mu kyokulabirako kya Ittayi eky’obwesigwa. Eky’okuba nti yalaga obwesigwa eri Dawudi era n’asalawo okugenda ne kabaka oyo Katonda gwe yafukako amafuta kyakwata nnyo ku basajja ba Ittayi. Mu ngeri y’emu, omutwe gw’amaka bw’asalawo okuwagira okusinza okw’amazima kikwata nnyo ku b’omu maka ge, wadde ng’okukikola kiyinza okuleetawo obuzibu mu kusooka. Naye Baibuli etukakasa nti: ‘Eri omuntu omwesigwa Yakuwa ajja kulaga obwesigwa.’​—Zab. 18:25, NW.

Ebyawandiikibwa tebiddamu kwogera ku Ittayi ng’olutalo wakati wa Dawudi ne Abusaalomu luwedde. Naye era akatono ako ke tumusomako mu Kigambo kya Katonda katuganyula nnyo. Eky’okuba nti Ittayi ayogerwako mu Byawandiikibwa kiraga nti Yakuwa alaba abantu abeesigwa era abasasula.​—Beb. 6:10.