Kozesa Obulamu Bwo Buli Lunaku Okuweesa Katonda Ekitiibwa
Kozesa Obulamu Bwo Buli Lunaku Okuweesa Katonda Ekitiibwa
OMUWANDIISI wa Zabbuli Dawudi yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi, . . . Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu.” (Zab. 143:8) Buli ku makya, osaba Yakuwa akuwa obulagirizi osobole okusalawo obulungi nga Dawudi bwe yakolanga? Awatali kubuusabuusa, bw’otyo bw’okola.
Ng’abaweereza ba Yakuwa, ‘ka tube nga tulya, oba nga tunywa, oba nga tukola ekintu ekirala kyonna,’ tufuba ‘okukola ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’ (1 Kol. 10:31) Tukimanyi nti bye tukola bulijjo bisobola okuvumisa oba okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Ate era Ekigambo kya Katonda kiraga nti Sitaani avunaana baganda ba Kristo, nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Katonda bonna ku nsi, “emisana n’ekiro.” (Kub. 12:10) N’olwekyo, tuli bamalirivu okukiraga nti Sitaani byayogera bya bulimba n’okusanyusa omutima gwa Yakuwa nga tumuweereza “emisana n’ekiro.”—Kub. 7:15; Nge. 27:11.
Ka twetegereze mu bufunze engeri bbiri mwe tuyinza okuweera Katonda ekitiibwa buli lunaku. Esooka, kwe kumanya ebyo bye tulina okukulembeza, n’ey’okubiri, okufaayo ku balala.
Okutuukiriza Obweyamo Bwaffe
Bwe twewaayo eri Yakuwa, tukiraga nti twagala okumuweereza, era tumusuubiza nti tujja kutambulira mu makubo ge “buli lunaku”—yee, emirembe gyonna. (Zab. 61:5, 8) Kati olwo, tuyinza tutya okutuukiriza obweyamo bwaffe? Tuyinza tutya okwoleka okwagala kwaffe eri Yakuwa buli lunaku?
Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi ebyo Yakuwa by’atusuubira okutuukiriza. (Ma. 10:12, 13) Ebimu ku byo biragiddwa mu kasanduuko akalina omutwe ogugamba nti “Bye Tusaanidde Okukola,” akali ku lupapula 22. Ebintu ebyo byonna Katonda atulagira okubikola era tusaanidde okubitwala nga bikulu. Kati olwo tuyinza tutya okusalawo ebyo bye tusaanidde okusoosa bwe kiba nti bibiri oba n’okusingawo ku bintu ebyo byetaaga okukolebwako mu kiseera kye kimu?
Obuweereza bwaffe obutukuvu bwe tuteeka mu kifo ekisooka, nga muno mwe muli okwesomesa Baibuli, okusaba, enkuŋŋaana z’ekibiina, n’obuweereza bw’ennimiro. (Mat. 6:33; Yok. 4:34; 1 Peet. 2:9) Kyokka, olunaku lwonna tetusobola kulumalira ku bintu bya mwoyo byokka. Abamu ku ffe tuli bakozi, bayizi, era tulina n’emirimu emirala egy’awaka. Wadde kiri kityo, tufuba okulaba nti omulimu oba ebintu ebirala byonna bye tukola tebiyingirira buweereza bwaffe obutukuvu, gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tukola enteekateeka ez’okugenda okuwummulako, tulina okufuba okulaba nti tetusubwa kukyala kwa mulabirizi wa kitundu, oba enkuŋŋaana ennene. Oluusi ebintu ebimu biyinza okukolebwako mu kiseera kye kimu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusalawo okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka ffenna wamu ng’amaka, oba tuyinza okukozesa ebiseera by’eky’emisana nga tuli ku ssomero oba ku mulimu okuwa obujulirwa. Mu butuufu, buli lwe tuba tulina kye twagala okusalawo mu bulamu—gamba ng’omulimu, essomero, oba emikwano—tulina okusooka okulowooza ku ngeri gye kinaakwata ku kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe—okusinza Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala.—Mub. 12:13.
Laga nti Ofaayo ku Balala
Yakuwa ayagala tufeeyo ku balala era tubakolere ebirungi. Ku luuyi olulala, Sitaani akubiriza omwoyo ogw’okwerowoozaako. Ensi ye ejjuddemu abantu ‘abeeyagala bokka, abaagala eby’amasanyu,’ era ‘abasigira omubiri.’ (2 Tim. 3:1-5; Bag. 6:8) Bangi tebafaayo ku ngeri ebyo bye bakola gye bikosaamu balala. “Ebikolwa eby’omubiri” biri buli wamu.—Bag. 5:19-21.
Ng’endowooza y’abo abakulemberwa omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu ya njawulo nnyo! Booleka okwagala, ekisa, obulungi mu ngeri gye bakolaganamu n’abalala. (Bag. 5:22) Ekigambo kya Katonda kitulagira okufaayo ku byetaago by’abalala okusinga okufaayo ku byaffe. N’olwekyo, tusaanidde okufaayo ku balala, naye nga twegendereza obuteeyingiza mu nsonga zaabwe ezitatukwatako. (1 Kol. 10:24, 33; Baf. 2:3, 4; 1 Peet. 4:15) Okusingira ddala tufaayo ku bakkiriza bannaffe. Naye era tufuba n’okuyamba abo abatali bakkiriza. (Bag. 6:10) Ofuba okulaba engeri gy’oyinza okulagamu abalala ekisa?—Laba akasanduuko “Laga nti Obafaako,” ku lupapula 23.
Okufaayo ku balala si kye kintu kye tusaanidde okukola obw’olumu. (Bag. 6:2; Bef. 5:2; ) Mu kifo ky’ekyo, tufuba okufaayo ku balala buli lunaku era tuba beetegefu okubayamba ne bwe kiba nga kino oluusi kitukaluubirira. Kirungi okuyamba abalala nga tukozesa byonna bye tulina gamba ng’ebiseera byaffe, ebintu byaffe, obusobozi bwaffe, n’amagezi gaffe. Yakuwa atukakasa nti bwe tuyamba abalala naye ajja kutuyamba.— 1 Bas. 4:9, 10Nge. 11:25; Luk. 6:38.
Obuweereza Obutukuvu “Emisana n’Ekiro”
Tusobola tutya okwenyigira mu buweereza obutukuvu “emisana n’ekiro”? Kino tukikola nga twenyigira mu bujjuvu mu bintu byonna ebikwatagana n’okusinza kwaffe obutayosa. (Bik. 20:31) Ekyo kizingiramu okusoma n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku, okusaba obutayosa, okufuba okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna, n’okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa obujulirwa.—Zab. 1:2; Luk. 2:37; Bik. 4:20; 1 Bas. 3:10; 5:17.
Tufuba okwenyigira mu buweereza obutukuvu ng’obwo? Bwe kiba kityo, bye tukola bijja kulaga nti twagala okusanyusa Yakuwa era nti twagala okumuwa eky’okuddamu eri Sitaani, amwogerako eby’obulimba. Tufuba okuwa Yakuwa ekitiibwa mu byonna bye tukola era ne mu mbeera yonna gye tubaamu. Tufuba okulaba nti enjogera yaffe, enneeyisa yaffe ne bye tusalawo mu bulamu bituukana n’emisingi gye. Tulaga okusiima olw’engeri ey’okwagala gy’atulabiriramu nga tumwesiga era nga tumuweereza n’amaanyi gaffe gonna. Era tukkiriza okubuulirirwa n’okukangavvulwa nga tukoze ensobi olw’obutali butuukirivu bwaffe.—Zab. 32:5; 119:97; Nge. 3:25, 26; Bak. 3:17; Beb. 6:11, 12.
Ka tweyongere buli lunaku okukola ebintu ebiweesa Katonda ekitiibwa. Bwe tunaakola tutyo, tujja kufuna ekiwummulo mu bulamu bwaffe era tujja kufuna obuyambi bwa Kitaffe ow’omu ggulu emirembe gyonna.—Mat. 11:29; Kub. 7:16, 17.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]
Bye Tusaanidde Okukola
• Okunyiikirira okusaba.—Bar. 12:12.
• Okusoma Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, n’okussa mu nkola bye tuyiga.—Zab. 1:2; 1 Tim. 4:15.
• Okusinza Yakuwa mu kibiina.—Zab. 35:18; Beb. 10:24, 25.
• Okulabirira ab’omu maka gaffe mu by’omubiri, mu by’omwoyo, n’okufaayo ku nneewulira zaabwe.—1 Tim. 5:8.
• Okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, n’okufuula abantu abayigirizwa.—Mat. 24:14; 28:19, 20.
• Okufaayo ku byetaago byaffe eby’omubiri, eby’omwoyo, n’enneewulira zaffe, nga kino kizingiramu okufuna ebiseera okwesanyusaamu.—Mak. 6:31; 2 Kol. 7:1; 1 Tim. 4:8, 16.
• Okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe mu kibiina.—Bik. 20:28; 1 Tim. 3:1.
• Okulabirira awaka waffe n’Ekizimbe ky’Obwakabaka.—1 Kol. 10:32.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Laga nti Obafaako
• Ow’oluganda oba mwannyinaffe akaddiye.—Leev. 19:32.
• Omulwadde oba oyo omwennyamivu.—Nge. 14:21.
• Ow’oluganda mu kibiina eyeetaaga obuyambi.—Bar. 12:13.
• Omuntu gw’olinako oluganda.—1 Tim. 5:4, 8.
• Mukkiriza munnaffe afiiriddwa munne mu bufumbo.—1 Tim. 5:9.
• Omukadde mu kibiina omunyiikivu.—1 Bas. 5:12, 13; 1 Tim. 5:17.