Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obufuzi bwa Sitaani Tebusobola Kutuuka ku Buwanguzi

Obufuzi bwa Sitaani Tebusobola Kutuuka ku Buwanguzi

Obufuzi bwa Sitaani Tebusobola Kutuuka ku Buwanguzi

“Omubi taabenga bulungi.”​—MUB. 8:13.

1. Lwaki eky’okuba nti ababi bajja kubonerezebwa mawulire malungi?

 MU KISEERA ekitali kya wala, ababi bajja kubonerezebwa olw’ebibi bye bakoze. (Nge. 5:22; Mub. 8:12, 13) Ng’ago mawulire malungi, naddala eri abo abaagala obutuukirivu era abayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya! Mu abo abajja okubonerezebwa mwe muli n’oyo asingayo obubi, Sitaani Omulyolyomi, kitaawe w’obubi.​—Yok. 8:44.

2. Lwaki kyali kyetaagisa ekiseera okugonjoola ensonga eyabalukawo mu Adeni?

2 Ng’akubirizibwa omwoyo gw’okwerowoozaako, Sitaani yaleetera abantu mu lusuku Adeni okugaana obufuzi bwa Yakuwa. N’ekyavaamu, bazadde baffe abaasooka beegatta ku Sitaani mu kusoomooza obufuzi bwa Yakuwa ne bafuuka aboonoonyi. (Bar. 5:12-14) Kya lwatu nti Yakuwa yali amanyi ebyandivudde mu bujeemu bwabwe ne mu kkubo ekyamu lye baali bakutte. Kyokka, kyali kyetaagisa ebitonde byonna ebitegeera okumanya ebyo ebyandivudde mu bujeemu obwo. Bwe kityo, kyali kyetaagisa ekiseera okusobola okugonjoola ensonga eyo n’okulagira ddala nti abajeemu abo baali bakyamu.

3. Gavumenti z’abantu tuzitwala tutya?

3 Olw’okuba abantu baali bagaanyi obufuzi bwa Yakuwa, baali balina okweteerawo obufuzi obwabwe ku bwabwe. Bwe yali awandiikira bakkiriza banne ab’omu Rooma, omutume Pawulo gavumenti z’abantu yaziyita “ab’obuyinza.” Mu kiseera kya Pawulo, “ab’obuyinza” yali gavumenti ya Rooma eyali ekulemberwa Empula Nero, eyafuga okuva mu 54 okutuuka mu 68 E.E. Pawulo yagamba nti ab’obuyinza abo “bali mu bifo byabwe eby’enjawulo ku bwa Katonda.” (Soma Abaruumi 13:1, 2.) Ekyo kitegeeza nti Pawulo yali alaga nti obufuzi bw’abantu businga obwa Katonda? Nedda. Awo yali alaga nti ekiseera kyonna nga Katonda akyaleseewo obufuzi bw’abantu, Abakristaayo basaanidde okussa ekitiibwa mu ‘nteekateeka ya Katonda’ nga bagondera abafuzi abo.

Ekkubo Erituusa mu Mitawaana

4. Lwaki obufuzi bw’abantu tebusobola kutuuka ku buwanguzi?

4 Obufuzi bw’abantu nga Sitaani y’ali emabega waabwo tebusobola kutuuka ku buwanguzi. Lwaki? Ensonga emu eri nti tebwesigamye ku magezi gava eri Katonda. Yakuwa yekka y’alina amagezi agatuukiridde. Bwe kityo, ye yekka asobola okuwa obulagirizi obwesigika ku ngeri entuufu abantu gye basaanidde okufugibwamu. (Yer. 8:9; Bar. 16:27) Obutafaananako bantu abatamanyi kituufu kya kukola, ye Yakuwa bulijjo amanyi bulungi eky’okukola. Obufuzi bwonna obutagoberera bulagirizi bwe tebusobola kutuuka ku buwanguzi. Olw’ensonga eyo​—nga kw’otadde n’ebigendererwa bya Sitaani ebibi​—kyeyoleka bulungi okuviira ddala ku ntandikwa nti obufuzi bwa Sitaani ng’akozesa abantu tebusobola kutuuka ku buwanguzi.

5, 6. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Sitaani okujeemera Yakuwa?

5 Omuntu yenna ow’amagezi tayinza kukola kintu ky’alaba nga tekigenda kuvaamu kalungi konna. Bw’awaliriza n’akikola, atuuka ne yejjusa. Ebyafaayo bikiraze bulungi nti si kya magezi kuwakanya Katonda omuyinza w’ebintu byonna. (Soma Engero 21:30.) Kyokka amalala n’okwerowoozaako ennyo byaleetera Sitaani okujeemera Yakuwa. Bw’atyo, Omulyolyomi yasalawo okukwata ekkubo eryandimutuusizza mu mitawaana.

6 Omwoyo gwa Sitaani ogw’okwetulinkiriza oluvannyuma gweyolekera mu mufuzi wa Babulooni eyagamba nti: “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyee[n]ye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw’ekibiina, ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiika obwa kkono: ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.” (Is. 14:13-15) Omufuzi oyo ataalina magezi yalemererwa okukola ebyo bye yali ayagala, era obufuzi bwa Babulooni bwakoma mu ngeri ey’obuswavu ennyo. Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani naye agenda kuwangulwa era n’ensi ye ezikirizibwe.

Lwaki Yakkiriza Obujeemu Okubaawo?

7, 8. Miganyulo ki egivudde mu kuba nti Yakuwa alese obubi okubaawo okumala ekiseera?

7 Abamu bayinza okwebuuza lwaki Yakuwa teyaziyiza bantu kudda ku ludda lwa Sitaani na kuwagira bufuzi bwe yali amanyi nti tebusobola kutuuka ku buwanguzi. Olw’okuba ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, ekyo yali asobola okukikola. (Kuv. 6:3) Naye si bwe yakola. Yakiraba nti kyali kya magezi okusooka okuleka abajeemu abo okukola kye baagala. Oluvannyuma kyandyeyolese nti Yakuwa Mufuzi wa kwagala era mutuukirivu, era abantu abeesigwa bandiganyuddwa mu ngeri gye yakwatamu ensonga.

8 Singa abantu ababiri abaasooka baagaana okugoberera Sitaani, ebizibu byonna ebiruma olulyo lw’omuntu tebyandibaddewo. Wadde kiri kityo, Yakuwa okuleka abantu okwefuga okumala ekiseera kivuddemu emiganyulo. Kisobozesezza abantu ab’emitima emirungi okukiraba nti kya magezi okuwuliriza Katonda n’okumwesiga. Okumala emyaka mingi, abantu bagezezzaako okuteekawo gavumenti ezitali zimu naye tewali n’emu esobodde kugonjoola bizibu bya bantu. Kino kiyambye abaweereza ba Katonda okukiraba nti obufuzi bwa Yakuwa bwe busingayo okuba obulungi. Kyo kituufu nti Yakuwa okuleka Sitaani okufuga kiviiriddeko abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abaweereza be, okufuna ebizibu. Kyokka Katonda okukkiriza abantu okwefuga okumala ekiseera kiviiriddemu abaweereza ba Katonda abeesigwa emiganyulo.

Obujeemu Obuleetedde Yakuwa Okugulumizibwa

9, 10. Nnyonnyola engeri obufuzi bwa Sitaani gye buviiriddeko Yakuwa okugulumizibwa.

9 Yakuwa okuleka abantu okugoberera Sitaani n’okwefuga bokka tekirina ngeri yonna gye kiraze nti obufuzi bwe si bulungi. Ebyafaayo biraze bulungi obutuufu bw’ebigambo bya Yeremiya ebyaluŋŋamizibwa ebiraga nti abantu tebasobola kwefuga bokka. (Soma Yeremiya 10:23.) Okugatta ku ekyo, obujeemu bwa Sitaani buwadde Yakuwa akakisa okwongera okwoleka engeri ze ez’ekitalo. Mu ngeri ki?

10 Mu kiseera kino eky’obufuzi bwa Sitaani obubi ennyo, engeri za Yakuwa zeeyolese mu ngeri oboolyawo gye zitandyeyoleseemu. Bwe kityo, obufuzi bwa Sitaani buviiriddeko Katonda okugulumizibwa mu maaso g’abo abamwagala. Yee, kyeyolese bulungi nti ensonga ekwata ku kusoomooza obufuzi bwe, Yakuwa agikutte mu ngeri esingayo okuba ey’amagezi. Kino okusobola okukitegeera obulungi ka twetegerezeeyo ezimu ku ngeri za Yakuwa era tulabe engeri obufuzi bwa Sitaani obubi gye bumuleetedde okwongera okuzooleka.

11. Okwagala kwa Katonda kweyolese kutya?

11 Okwagala. Ebyawandiikibwa bigamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Okutondebwa kw’abantu kwoleka okwagala kwa Katonda. Engeri ey’ekitalo gye twatondebwamu nayo eyoleka okwagala kwa Katonda. Yakuwa era yalaga okwagala ng’awa abantu ekifo ekirungi omuli buli kye beetaaga okusobola okuba abasanyufu. (Lub. 1:29-31; 2:8, 9; Zab. 139:14-16) Naye abantu bwe baayonoona, Yakuwa yalaga okwagala kwe mu ngeri ez’enjawulo. Atya? Omutume Yokaana yajuliza ebigambo bya Yesu n’agamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Waliwo engeri endala yonna Katonda mwe yandiragidde okwagala eri olulyo lw’omuntu okusinga okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka okufiirira aboonoonyi? (Yok. 15:13) Abantu basaanidde okukoppa Katonda ow’okwagala nga baba beetegefu okwefiiriza nga ne Yesu bwe yakola.​—Yok. 17:25, 26.

12. Yakuwa ayolese atya amaanyi ge?

12 Amaanyi. “Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna,” yekka y’alina amaanyi okusobola okutonda obulamu. (Kub. 11:17; Zab. 36:9) Omuntu bw’azaalibwa obwongo bwe buba ng’olupapula okutali kantu konna. Agenda okufa ng’olupapula olwo lujjudde ebintu by’asazeewo, by’akoze, n’eby’ayiseemu mu bulamu ebimufudde ekyo ky’ali. Ebyo byonna ebikwata ku muntu oyo Yakuwa abitereka mu birowoozo Bye. Ekiseera bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kuzuukiza omuntu oyo nga bwe yali ddala. (Yok. 5:28, 29) Bwe kityo, wadde nga tekyali kigendererwa kya Katonda bantu kufa, okufa kuwadde Yakuwa akakisa okwoleka amaanyi ge ng’azuukiza abafu. Yee, Yakuwa ye “Katonda, Omuyinza w’Ebintu Byonna.”

13. Ssaddaaka ya Yesu yayoleka etya obwenkanya bwa Yakuwa?

13 Obwenkanya. Yakuwa talimba; era takola bitali bya bwenkanya. (Ma. 32:4; Tit. 1:2) Bulijjo anywerera ku mitindo gye egya waggulu egy’amazima n’obwenkanya ne bwe kiba ng’ekyo okukikola kimwetaagisa okwefiiriza. (Bar. 8:32) Nga kiteekwa okuba nga kyaluma nnyo Yakuwa okulaba Omwana we omwagalwa ng’attibwa ng’omuvvoozi ku muti ogw’okubonaabona! Wadde kyali kityo, olw’okwagala kw’alina eri abantu abatatuukiridde, Yakuwa yakkiriza kino okubaawo ng’anywerera ku mutindo gwe ogw’obwenkanya. (Soma Abaruumi 5:18-21.) Ensi ejjudde obutali bwenkanya ewadde Yakuwa akakisa okulaga nti y’asingayo okuba omwenkanya.

14, 15. Yakuwa ayolese atya amagezi ge n’obugumiikiriza bwe?

14 Amagezi. Mangu ddala nga Adamu ne Kaawa baakamala okwonoona, Yakuwa yalaga engeri gye yandimazeewo ebintu ebibi byonna ebyandivudde mu kikolwa kyabwe eky’obujeemu. (Lub. 3:15) Ekyo Yakuwa kye yakola, awamu n’okugenda ng’abikkula mpolampola ekigendererwa kye eri abaweereza be, kyalaga nti alina amagezi mangi nnyo. (Bar. 11:33) Tewali kisobola kulemesa Katonda kutuukiriza ky’aba ayagala mu ngeri esingayo okuba ennungi. Ebikolwa eby’obugwenyufu, entalo, obujeemu, ettima, obusosoze, obukuusa n’ebirala ebiriwo mu nsi biwadde Yakuwa akakisa okulaga ebitonde bye nti y’asingayo okuba ow’amagezi. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Amagezi agava waggulu, okusooka malongoofu, ate ga mirembe, si makakanyavu, mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi, tegasosola era tegaliimu bunnanfuusi.”​—Yak. 3:17.

15 Obugumiikiriza. Engeri Yakuwa gy’akolaganyemu n’abantu abatatuukiridde, era aboonoonyi ekyolese bulungi nti mugumiikiriza nnyo. Okuba nti Yakuwa ayolese engeri eyo ey’ekitalo okumala emyaka mingi nnyo kiraga nti agirina mu bujjuvu era tusaanidde okwongera okumusiima olw’ekyo. Omutume Peetero yali mutuufu okugamba nti tusaanidde ‘okutwala obugumiikiriza bwa Mukama waffe ng’obulokozi.’​—2 Peet. 3:9, 15.

16. Lwaki eky’okuba nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa kituleetera essanyu lingi?

16 Mwetegefu Okusonyiwa. Ffenna tuli boonoonyi, era ffenna tusobya mu ngeri ezitali zimu. (Yak. 3:2; 1 Yok. 1:8, 9) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okuba nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiyira “ddala”! (Is. 55:7) Lowooza ku kino: Olw’okuba twazaalibwa nga tuli boonoonyi, tuwulira bulungi Katonda bw’atusonyiwa ensobi zaffe. (Zab. 51:5, 9, 17) Eky’okuba nti Yakuwa atusonyiwa ensobi zaffe kituleetera okwongera okumwagala n’okukoppa ekyokulabirako kye mu nkolagana yaffe n’abalala.​—Soma Abakkolosaayi 3:13.

Lwaki Ensi Eri mu Mbeera Mbi Nnyo?

17, 18. Mu ngeri ki obufuzi bwa Sitaani gye bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi?

17 Ebyafaayo biraze nti obufuzi bwa Sitaani bulemereddwa okutuuka ku buwanguzi. Nga basendebwasendebwa Sitaani, bazadde baffe abaasooka baasalawo okwefuga bokka mu kifo ky’okufugibwa Yakuwa. Bwe kityo, baatandikawo obufuzi obwali bujja okulemererwa. Ebizibu n’emitawaana abantu bonna bye balimu kabonero akalaga nti obufuzi bw’abantu buli mu mbeera mbi nnyo.

18 Obufuzi bwa Sitaani butumbula omwoyo gw’okwerowoozaako. Kyokka, okwerowoozaako tekulina bwe kusinga kwagala okweyolekera mu bufuzi bwa Yakuwa. Obufuzi bwa Sitaani bulemereddwa okuleeta obutebenkevu, obukuumi, n’essanyu. Kino kiraze bulungi nti Yakuwa y’agwanidde okufuga! Leero waliwo ekikakasa ekyo? Yee, nga bwe tunaalaba mu kitundu ekiddako.

Kiki Kye Tuyize ku Bufuzi mu Bye Tusomye mu . . .

Abaruumi 13:1, 2?

Engero 21:30?

Yeremiya 10:23?

Abakkolosaayi 3:13?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Obufuzi bwa Sitaani tebuganyulangako bantu

[Ensibuko y’Ebifaananyi]

U.S. Army photo

WHO photo by P. Almasy

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Yakuwa alina amaanyi okuzuukiza abafu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Okwagala kwa Yakuwa n’obwenkanya bwe byeyolekera mu ssaddaaka y’Omwana we