Yamba Abaana Bo Okwolekagana n’Okugezesebwa
Yamba Abaana Bo Okwolekagana n’Okugezesebwa
ABAANA baffe boolekagana n’okupikirizibwa. Beetooloddwa abantu ababi era balina n’okulwanyisa “okwegomba okw’omu buvubuka.” (2 Tim. 2:22; 1 Yok. 5:19) Ate era, olw’okuba bafuba ‘okujjukiranga Omutonzi waabwe,’ basekererwa—oluusi ne bayigganyizibwa—abo abatakkiriziganya na nzikiriza yaabwe. (Mub. 12:1) Ng’akyali muto, ow’oluganda ayitibwa Vincent agamba nti: “Waaliwo omuntu eyanjigganyanga, n’ankyokoozanga, era ng’oluusi annyombesa olw’okuba ndi Mujulirwa. Ebiseera ebimu kyampitirirangako ne mpulira nga saagala na kugenda ku ssomero.” *
Ng’oggyeko okupikirizibwa kwe bafuna okuva mu nsi, abaana baffe era balina okulwanyisa okwegomba kwe bafuna olw’okwagala okufaanana bannaabwe. Cathleen, mwannyinaffe anaatera okuva mu myaka gy’obutiini agamba nti “Si kyangu kusigala ng’oli wa njawulo ku balala.” Ow’oluganda omuto ayitibwa Alan agamba nti, “Bayizi bannange baateranga
okunsaba nsanyukireko wamu nabo ku wiikendi, era mu butuufu ekyo nange nnali nkyagala.” N’ekirala, olw’okuba abaana baffe batera nnyo okwagala okwenyigira mu mizannyo egibeera ku masomero, kino kiyinza okubaviirako okufuna emikwano emibi. Mwannyinaffe omuto ayitibwa Tanya agamba nti: “Njagala nnyo emizannyo. Abatendesi ku ssomero bankubirizanga okweyunga ku ttiimu y’essomero. Kyanzibuwaliranga okugaana.”Oyinza otya okuyamba abaana bo okwolekagana n’okugezesebwa? Yakuwa yakwasa abazadde obuvunaanyizibwa obw’okuwa abaana baabwe obulagirizi. (Nge. 22:6; Bef. 6:4) Abazadde abatya Katonda baba n’ekigendererwa eky’okuyamba abaana baabwe okugondera Yakuwa okuviira ddala ku mitima gyabwe. (Nge. 6:20-23) Bwe kityo abaana baba basobola okwolekagana n’okupikirizibwa ne bwe kiba nti bazadde baabwe tebaliiwo.
Abazadde bayinza okukisanga nga kizibu okukwataganya obuvunaanyizibwa bwe balina ku mulimu, mu maka, ne mu kibiina. Abamu balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo nga bali bwannamunigina oba nga bayigganyizibwa munaabwe mu bufumbo atali mukkiriza. Wadde kiri kityo, Yakuwa yeetaagisa abazadde okufissaawo akadde bayambe abaana baabwe. Kati olwo oyinza okukola ki okuyamba abaana bo okwolekagana n’okupikirizibwa, okukemebwa, n’okuyigganyizibwa kwe bafuna buli lunaku?
Okufuna Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Okusookera ddala, abaana baffe balina okukitegeera nti Yakuwa Muntu wa ddala. Balina okuyambibwa ‘okulaba Oyo atalabika.’ (Beb. 11:27) Vincent, ayogeddwako waggulu, ajjukira engeri bazadde be gye baamuyamba okufuna enkolagana eyiye ku bubwe ne Yakuwa. Agamba nti: “Bannyamba okulaba obukulu bw’okusaba. Okuviira ddala mu muto, mbadde ntuukirira Yakuwa mu kusaba buli kiro nga sinneebaka. Yakuwa mbadde mmutwala nga muntu wa ddala.” Osabira wamu n’abaana bo? Ogezezzaako okuwuliriza bye bagamba Yakuwa mu saala zaabwe? Baddiŋŋana ebigambo bye bimu mu saala zaabwe? N’ekirala, bye boogera nga basaba, biraga nti baagala Yakuwa? Bw’ofuba okuwuliriza essaala z’abaana bo ojja kusobola okumanya obanga bakulaakulana mu by’omwoyo.
Ekintu ekirala ekisobola okuyamba abaana okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, kwe kuba n’enteekateeka eyaabwe ku bwabwe ey’okusoma Baibuli. Cathleen, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Okusoma Baibuli okuviira ddala nga nkyali muto kinnyambye nnyo. Nnali mukakafu nti abalabe ne bwe banjigganya, Yakuwa waali okunnyamba.” Abaana bo balina enteekateeka eyaabwe ku bwabwe ey’okusoma Baibuli?—Zab. 1:1-3; 77:12.
Kyo kituufu nti engeri abaana gye batwalamu obulagirizi bwa bazadde baabwe eyawukana, era n’okukulaakulana kwabwe mu by’omwoyo kuyinza okusinziira ku myaka gyabwe. Wadde kiri kityo, awatali bulagirizi, abaana bo kijja kubabeerera kizibu okukitegeera nti Yakuwa Muntu wa ddala. Abazadde balina okuyigiriza abaana baabwe Ekigambo kya Katonda kibayambe okusalawo nga Yakuwa bw’ayagala mu mbeera yonna gye boolekagana nayo. (Ma. 6:6-9) Abaana bo balina okukimanya nti Yakuwa abafaako kinnoomu.
Empuliziganya Ennungi
Kikulu okuba n’empuliziganya ennungi n’abaana bo bw’oba ow’okubayamba. Kino tekikoma ku kwogera bwogezi nabo, naye era kizingiramu okubabuuza ebibuuzo n’okuba omwetegefu okubawuliriza nga bakuddamu—ne bwe kiba nti bye bakuddamu si by’obadde osuubira okuwulira. Anne, maama alina abaana ababiri, agamba nti: “Mbabuuza ebibuuzo okutuusa lwe mpulira nti ntegeeredde ddala ekibali ku mutima oba ekizibu kye boolekagana nakyo.” Abaana bo bakiraba nti ddala obawuliriza? Tanya, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bazadde bange baampulirizanga era bajjukiranga ebyo bye twanyumyangako. Baali bamanyi amanya g’abayizi
bannange. Baambuuzanga ebibakwatako, oba kw’ebyo bye twali twayogerako emabegako.” Okuwuliriza obulungi n’okujjukira ebyo bye mwayogerako bikulu nnyo mu mpuliziganya.Mu maka mangi, ebiseera by’okulya bikozesebwa okunyumya emboozi ezizimba. Vincent agamba nti: “Yali mpisa yaffe okuliira awamu ng’amaka. Buli omu yali asuubirwa okubaawo ku ssaawa y’okulya buli lwe kyabanga kisobose. Essaawa y’okulya kasita yatuukanga, tewali yali akkirizibwa kulaba ttivi, kuwuliriza radiyo, oba kusoma. Olw’okuba emboozi gye twannyumyanga ebiseera ebisinga yali teyeetaagisa kukozesa nnyo bwongo, ekiseera ekyo kyannyambanga okuwummuza ku birowoozo okuva bwe kiri nti ku ssomero nnavangayo nga nkooye.” Agattako nti: “Olw’okuba nnali ntera okwogera ne bazadde bange nga tulya, kyannyanguyiranga okubabuulira ebizibu ebirala bye nnafunanga ne basobola okunnyamba.”
Weebuuze, ‘Mirundi emeka gye tuliirako awamu ng’amaka buli wiiki?’ Singa mufuba okuliirako awamu ng’amaka, olowooza tekiikuyambe kuteekawo mpuliziganya nnungi n’abaana bo?
Okwegezaamu Kikulu
Akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka nako kasobola okubawa akakisa okunyumya ku bintu ebizimba ne kiyambibwa abaana bo okwolekagana n’ebizibu bye bafuna. Alan, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Bazadde bange baakozesa ekiseera ky’okusoma kw’amaka okumanya ekituli ku mutima. Baatuyigirizanga ebintu ebituukana n’embeera gye twabanga twolekagana nayo.” Maama wa Alan agamba: “Bwe twabanga tusoma, twafunangayo akadde ne twegezaamu. Kino kyayamba abaana baffe okumanya engeri y’okulwanirira okukkiriza kwabwe n’okulaga nti kye bakkiriza kituufu. Era kyabawa obuvumu okwolekagana n’okugezesebwa kwe baafunanga.”
Mu butuufu, abaana bwe baba bapikirizibwa okukola ekintu, tekimala kugamba bugambi oyo aba abapikiriza nti nedda. Balina n’okuba nga basobola okuwa ensonga lwaki basazeewo okugaana ekintu ekimu. Balina okuba nga
bamanyi bulungi eky’okukola singa basekererwa olw’enzikiriza yaabwe. Bwe baba nga tebasobola kuwa bukakafu ku kye bakkiriza, kiyinza okubazibuwalira okunywerera ku kusinza okw’amazima. Bwe mwegezaamu, kibayamba okufuna obuvumu.Akasanduuko ku lupapula 18 kalaga ebimu ku bintu bye muyinza okukozesa nga mwegezaamu mu Kusinza kw’Amaka okw’akawungeezi. Nga mwegezaamu, gezaako okuwakanya eby’okuddamu abana bo bye bakuwa, nga bannaabwe bwe bandikoze. Osobola n’okukozesa ebimu ku byokulabirako ebiri mu Baibuli okubayigiriza. Ekyo kijja kuyamba abaana bo okusobola okwolekagana n’okugezesebwa kwe bafuna ku ssomero n’awalala wonna.
Awaka—Waliwo Emirembe?
Abaana bo baba beesunga okudda awaka buli lunaku ng’okusoma kuwedde? Singa awaka wabaawo emirembe, kijja kuyamba abaana bo okwolekagana n’okugezesebwa kwe bafuna buli lunaku. Mwannyinaffe aweereza ku Beseri agamba nti: “Bwe nnali nkyali muto, ekimu ku bintu ebyannyamba kwe kuba nti awaka waalingawo emirembe. Ne bwe nnafunanga ebizibu eby’amaanyi nga ndi ku ssomero, nnakimanyanga nti bwe nadda eka nja kufuna obuweerero.” Mbeera ki eri mu maka go? Mutera kubaamu bikolwa bya ‘busungu, mpaka, na kweyawulamu’ oba gamanyiddwa ng’amaka omuli ‘okwagala, essanyu, n’emirembe’? (Bag. 5:19-23) Bwe kiba nti temuli mirembe, olina ky’okozeewo okusobozesa amaka go okuba ekifo abaana bo mwe bafunira emirembe?
Engeri endala gy’oyinza okuyambamu abaana bo okwolekagana n’okugezesebwa, kwe kubayamba okufuna emikwano emirungi. Osobola okukikola ng’osaba ab’oluganda mu kibiina abafaayo ennyo ku by’omwoyo babeegatteko nga mugenda okwesanyusaamu ng’amaka oba ng’oyaniriza omulabirizi atambula oba ow’oluganda yenna ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna ku kijjulo awaka wo. Olinayo abaminsani oba Ababeseri b’omanyi, nga basobola okufuuka mikwano gy’abaana bo, gamba nga babawandiikira amabaluwa, oba nga babakubira ku ssimu? Emikwano ng’egyo gisobola okuyamba abaana bo okutereeza amakubo gaabwe n’okweteerawo ebiruubirirwa by’omwoyo. Lowooza ku ngeri Pawulo gye yayambamu Timoseewo. (2 Tim. 1:13; 3:10) Olw’okuba yali mukwano gwa Timoseewo, Pawulo yamuyamba okweteerawo ebiruubirirwa by’omwoyo.—1 Kol. 4:17.
Siima Abaana Bo
Yakuwa asanyuka nnyo okulaba abaana baffe nga banywerera ku kituufu wadde nga boolekagana n’okugezesebwa okuva mu nsi ya Sitaani. (Zab. 147:11; Nge. 27:11) Awatali kubuusabuusa naawe kikusanyusa okulaba ng’abaana baffe basalawo mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 10:1) Abaana bo bategeeze engeri gy’owuliramu bwe beeyisa obulungi, era beebaze. Yakuwa yateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi. Nga Yesu yakabatizibwa, Yakuwa yamugamba nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.” (Mak. 1:11) Ng’ebigambo bya Kitaawe ebyo birina okuba nga byamuzzaamu nnyo amanyi, ne kimuyamba okwolekagana n’okugezesebwa kwe yafuna! Mu ngeri yemu, ka abaana bo bakimanye nti obaagala era nti osiima bye bakola.
Kituufu nti tosobola kutangira baana bo kugezesebwa, kuyigganyizibwa, oba okusekererwa. Naye osobola okubaako ky’okola okubayamba. Otya? Bayambe okufuna enkolagana eyaabwe ku bwabwe ne Yakuwa. Teekawo embeera ekusobozesa okunyumya nabo. Kakasa nti bye musoma mu Kusinza kw’Amaka okw’akawungeezi bituukana n’embeera gye boolekagana nayo era fuula amaka go ekifo eky’emirembe. Ekyo kijja kuyamba abaana bo okuba abeetegefu okwolekagana n’okugezesebwa.
[Obugambo obuli wansi]
^ Amannya agamu gakyusiddwa.
[Akasanduuko\Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
OKWEGEZAAMU KIYAMBA
Zino ze zimu ku mbeera abaana bo ze boolekagana nazo. Lwaki temukozesa ezimu ku zo okwegezaamu mu Kusinza kw’Amaka okw’akawungeezi?
▸ Omutendesi wa ttiimu y’essomero asaba muwala wo okwegatta ku ttiimu y’essomero.
▸ Omwana wo apikirizibwa okunywa sigala ng’ava ku ssomero.
▸ Abalenzi abamu batiisatiisa okukuba mutabani wo singa baddamu okumulaba ng’abuulira.
▸ Muwala wo asisinkana muyizi munne ng’abuulira nnyumba ku nnyumba.
▸ Ng’ali mu maaso g’ekibiina, muwala wo asabibwa okunnyonnyola ensonga lwaki takubira bbendera saluti.
▸ Omulenzi omu atera okusekerera mutabani wo olw’okuba Mujulirwa wa Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Abaana bo balina enteekateeka eyaabwe ku bwabwe ey’okwesomesa Baibuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Otera okusaba ab’oluganda abafaayo ennyo ku by’omwoyo okubeegattako nga mugenda okwesanyusaamu ng’amaka?