Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakazi, Lwaki Musaanidde Okukkiriza Obukulembeze?

Abakazi, Lwaki Musaanidde Okukkiriza Obukulembeze?

Abakazi, Lwaki Musaanidde Okukkiriza Obukulembeze?

“Omutwe gw’omukazi ye musajja.”​—1 KOL. 11:3.

1, 2. (a) Omutume Pawulo yayogera ki ku nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

 YAKUWA yassaawo enteekateeka y’obukulembeze omutume Pawulo gye yayogerako bwe yagamba nti “omutwe gw’omusajja ye Kristo” era “n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Kol. 11:3) Ekitundu ekyayita kyalaga nti Yesu yakitwala nga kikulu nnyo okugondera Omutwe gwe, Yakuwa Katonda, era nti n’abasajja Abakristaayo balina Kristo ng’omutwe gwabwe. Kristo yali wa kisa, musaasizi, era nga teyeefaako yekka ng’akolagana n’abalala. N’abasajja abali mu kibiina basaanidde okukola kye kimu nga bakolagana n’abalala, naddala bakazi baabwe.

2 Ate kiri kitya ku bakazi? Ani mutwe gwabwe? Pawulo yawandiika nti: “Omutwe gw’omukazi ye musajja.” Abakazi basaanidde kutwala batya ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa? Kibeetaagisa okukolera ku musingi guno ne bwe baba nga balina abaami abatali bakkiriza? Abakazi okukkiriza obukulembeze bw’abasajja kitegeeza nti tebalina kubaako kye boogera nga waliwo ebisalibwawo mu maka? Omukazi ayinza kukola ki okusobola okutenderezebwa?

‘Ŋŋenda Kumukolera Omubeezi’

3, 4. Lwaki kikulu nnyo okugoberera enteekateeka y’obukulembeze mu bufumbo?

3 Katonda ye yassaawo enteekateeka y’obukulembeze. Oluvannyuma lw’okutonda Adamu, Yakuwa Katonda yagamba nti: “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n[a]amukolera omubeezi amusaanira.” Oluvannyuma lwa Kaawa okutondebwa, Adamu yasanyuka nnyo olw’okufuna omubeezi era omuyambi, bw’atyo yagamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange.” (Lub. 2:18-24) Adamu ne Kaawa baali baakuvaamu abantu abatuukiridde, abandibadde mu lusuku lwa Katonda emirembe gyonna nga basanyufu.

4 Olw’obujeemu bw’abazadde baffe abaasooka mu lusuku Adeni, kyali tekikyasoboka bantu kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwabwe mu nteekateeka y’obukulembeze. (Soma Abaruumi 5:12.) Wadde kyali kityo enteekateeka y’obukulembeze yasigalawo. Abafumbo bwe bagoberera obulungi enteekateeka eyo, bafuna essanyu n’emiganyulo mingi mu bufumbo bwabwe. Kino kibaleetera okusanyukira enteekateeka eyo, okufaananako Yesu eyasanyukira okugondera Omutwe gwe, Yakuwa. Nga tannajja ku nsi ng’omuntu, Yesu ‘yajagulizanga bulijjo mu maaso ga Yakuwa.’ (Nge. 8:30) Olw’okuba tebatuukiridde, abasajja tebasobola kukulembera maka gaabwe mu ngeri etuukiridde, era n’abakazi tebasobola kugondera babbaabwe mu ngeri etuukiridde. Kyokka, abaami n’abakyala bwe bakola kyonna ekisoboka okugoberera enteekateeka y’obukulembeze, basobola okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe mu kiseera kino.

5. Lwaki abafumbo basaanidde okukolera ku kubuulirira okuli mu Abaruumi 12:10?

5 Okusobola okufuna essanyu mu bufumbo, abafumbo kibeetaagisa okugoberera okubuulirira kuno: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka. Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” (Bar. 12:10) Era omwami n’omukyala balina okufuba ‘okubeera ab’ekisa buli omu eri munne, okusaasiragana, n’okusonyiwagana.’​—Bef. 4:32.

Nga Munno mu Bufumbo Si Mukkiriza

6, 7. Kiki ekiyinza okuvaamu singa omukazi Omukristaayo agondera bba atali mukkiriza?

6 Ate kiri kitya nga munno mu bufumbo si muweereza wa Yakuwa? Emirundi egisinga, omusajja y’atera obutaba mukkiriza. Mu mbeera ng’eyo, mukazi we asaanidde kumuyisa atya? Baibuli egamba nti: “Abakazi mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.”​—1 Peet. 3:1, 2.

7 Ekigambo kya Katonda kikubiriza omukazi okugondera bba atali mukkiriza. Empisa ze ennungi ziyinza okuleetera bba okwagala okumanya ekimuleetera okweyisa obulungi. Ekyo kiyinza okumusikiriza okwagala okumanya ebikwata ku nzikiriza ya mukazi we Omukristaayo era ne kimuleetera okukkiriza amazima.

8, 9. Omukazi Omukristaayo ayinza kukola ki singa bba atali mukkiriza amuziyiza?

8 Ate kiri kitya singa bba atali mukkiriza asalawo okumuziyiza? Ebyawandiikibwa bikubiriza abakyala abakkiriza okwoleka engeri ez’Ekikristaayo ekiseera kyonna, embeera ne bw’eba nzibu etya. Ng’ekyokulabirako, 1 Abakkolinso 13:4 wagamba nti: “Okwagala kugumiikiriza.” Omukazi Omukristaayo kiba kimwetaagisa okwoleka okwagala mu mbeera ng’eyo nga yeeyongera ‘okuba omuwombeefu, omukkakkamu, era omugumiikiriza.’ (Bef. 4:2) Katonda asobola okumuwa omwoyo gwe omutukuvu ne gumuyamba okwongera okwoleka engeri ez’Ekikristaayo ne bw’aba mu mbeera enzibu.

9 Pawulo yawandiika nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) Omwoyo gwa Katonda gusobola okuyamba Omukristaayo okwolekagana n’embeera yonna gy’atandisobodde kugumira mu maanyi ge. Ng’ekyokulabirako, omu ku bafumbo bwe yeeyisa obubi, kiyinza okuleetera munne okwagala okwesasuza. Kyokka Baibuli egamba Abakristaayo bonna nti: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. . . . Kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Yakuwa.’” (Bar. 12:17-19) Mu ngeri y’emu, 1 Abassessaloniika 5:15 wagamba nti: “Mulabe nti tewali n’omu asasula ekibi olw’ekibi, naye buli omu aluubirirenga okukolera munne ebirungi era abikolere n’abalala bonna.” Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gusobola okutuyamba okukola ebintu bye tutandisobodde kukola mu maanyi gaffe. N’olwekyo kikulu nnyo okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukulaakulanya engeri ezeetaagisa.

10. Yesu yakwata atya abantu abaamuyisa obubi?

10 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yakwatamu abantu abaamuyisa obubi. Mu 1 Peetero 2:23 wagamba nti: “Bwe yavumibwa ye teyavuma. Bwe yali abonaabona teyatiisatiisa, naye yeewaayo eri oyo asala omusango mu butuukirivu.” Naffe tukubirizibwa okukoppa ekyokulabirako kye ekirungi. Tusaanidde okwewala okusunguwala bwe wabaawo abatuyisizza obubi. Abakristaayo bonna bakubirizibwa ‘okusaasiragana, okuba abeetoowaze mu ndowooza zaabwe, obutakola muntu kibi olw’okuba aba abakoze ekibi, oba okuvuma oyo aba abavumye.’​—1 Peet. 3:8, 9.

Tebalina Kubaako Kye Boogera?

11. Nkizo ki ey’ekitalo abamu ku bakazi Abakristaayo gye baweereddwa?

11 Abakazi okukkiriza obukulembeze bw’abaami baabwe kitegeeza nti tebalina kubaako kye boogera nga waliwo ebisalibwawo mu maka oba ku bintu ebirala? Nedda. Okufaananako abasajja, n’abakazi Yakuwa abawa enkizo nnyingi. Lowooza ku nkizo ey’ekitalo abantu 144,000 gye balina ey’okuba bakabaka era bakabona awamu ne Kristo mu ggulu ng’afuga ensi eno! Mu abo mulimu n’abakazi. (Bag. 3:26-29) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa awadde abakazi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu nteekateeka ye ey’ebintu.

12, 13. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti abakazi baayogeranga obunnabbi.

12 Ng’ekyokulabirako, mu biseera bya Baibuli, abakazi baayogeranga obunnabbi. Yoweeri 2:28, 29 wagamba nti: “Ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula. . . . Ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange.”

13 Mu bayigirizwa ba Yesu 120 abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote 33 E.E. (Embala Eno) mwalimu abasajja n’abakazi. Katonda yafuka omwoyo gwe ku bonna abaali bakuŋŋaanye. Kino kyaleetera Peetero okujuliza obunnabbi bwa Yoweeri n’akiraga nti bwali bukwata ku basajja awamu n’abakazi. Peetero yagamba nti: “Kino kye kyayogerwa okuyitira mu nnabbi Yoweeri nti: ‘Mu nnaku ez’oluvannyuma,’ Katonda bw’agamba, ‘Ndifuka omwoyo gwange ku balina omubiri aba buli ngeri, era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi . . . ; ndifuka omwoyo gwange ku baddu bange n’abazaana bange mu nnaku ezo, era balyogera obunnabbi.’”​—Bik. 2:16-18.

14. Abakazi baayamba batya mu kubunyisa Obukristaayo mu kyasa ekyasooka?

14 Mu kyasa ekyasooka, abakazi baayamba nnyo mu kubunyisa Obukristaayo. Baabuuliranga abantu ku Bwakabaka bwa Katonda era baakolanga n’ebintu ebirala bingi okuwagira omulimu gw’okubuulira. (Luk. 8:1-3) Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yayogera ku Feyibe ng’oyo eyali “aweereza mu kibiina ekiri mu Kenkereya.” Bwe yali alamusa bakozi banne, Pawulo yayogera ku bakazi abawerako abaali abeesigwa omwali “Terufayina ne Terufoosa, abakyala abakola ennyo mu Mukama waffe.” Era yayogera ne ku “Perusi omwagalwa waffe, kubanga yakola emirimu mingi mu Mukama waffe.”​—Bar. 16:1, 12.

15. Abakazi bayambye batya mu kubunyisa Obukristaayo mu kiseera kyaffe?

15 Mu kiseera kyaffe, abasinga obungi ku bantu abasukka mu bukadde omusanvu ababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna bakazi ab’emyaka egy’enjawulo. (Mat. 24:14) Bangi ku bo bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, baweereza ng’abaminsani, era n’abalala baweereza mu maka ga Beseri. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye [eddene].” (Zab. 68:11) Ng’ebigambo bino bituukiridde bulungi! Yakuwa asiima nnyo omulimu abakazi gwe bakola mu kulangirira amawulire amalungi ne mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye. Eky’okuba nti yeetaagisa abakazi Abakristaayo okukkiriza obukulembeze bw’abasajja tekitegeeza nti balina kusirika busirisi.

Abakazi Ababiri Abataasirika Busirisi

16, 17. Ekyokulabirako kya Saala kiraga kitya nti abakazi tebalina kusirika busirisi?

16 Bwe kiba nti Yakuwa awa abakazi enkizo nnyingi, abasajja tebandifubye okwebuuza ku bakazi baabwe nga baliko ebintu ebikulu bye basalawo? Kyandibadde kya magezi okubeebuuzaako. Ebyawandiikibwa byogera ku bakazi abawerako abaaliko bye baayogera oba bye baakola nga tebasoose kusabibwa babbaabwe. Lowooza ku byokulabirako bibiri.

17 Saala yagambanga bba Ibulayimu okugoba mukazi we ow’okubiri wamu n’omwana we olw’empisa zaabwe embi. Wadde ‘ng’ekigambo ekyo kyali kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu’​—si bwe kityo bwe kyali eri Katonda. Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: “Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw’omulenzi, n’olw’omuzaana wo; mu byonna Saala by’anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye.” (Lub. 21:8-12) Ibulayimu yagondera Yakuwa, n’awuliriza Saala, era n’akola ekyo Saala kye yamugamba.

18. Kiki Abbigayiri kye yakola nga tasoose kwebuuza ku bba?

18 Ate lowooza ku Abbigayiri, muka Nabali. Dawudi bwe yali adduka Kabaka Sawulo, yamala ebbanga ng’asiisidde okumpi n’endiga za Nabali. Mu kifo ky’okutwala ku ndiga z’omusajja oyo eyali omugagga, Dawudi n’abasajja be baazikuuma. Kyokka, Nabali “yali wa kkabyo era [nga] mubi mu bikolwa bye,” era yakambuwalira abasajja ba Dawudi. Yali muntu mubi era nga ‘musirusiru.’ Abasajja ba Dawudi bwe baamusaba okubawa ku bintu bye baali beetaaga, Nabali yagaana. Abbigayiri yakola ki oluvannyuma lw’okuwulira ebyo ebyali bibaddewo? Nga tasoose kutegeeza Nabali, Abbigayiri ‘yayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri n’ebita bibiri eby’omwenge n’endiga ttaano enfumbire ddala, n’ebigero bitaano eby’eŋŋaano ensiike, n’ebirimba kikumi eby’ezabbibu enkalu, n’ebitole ebikumi bibiri eby’ettiini’ n’abiwa Dawudi n’abasajja be. Ekyo Abbigayiri kye yakola kyali kituufu? Yee, ebyo ebyaliwo oluvannyuma biraga nti kye yakola kyali kituufu. Baibuli egamba nti: ‘Mukama yalwaza Nabali n’afa.’ Oluvannyuma Dawudi yawasa Abbigayiri.​—1 Sam. 25:3, 14-19, 23-25, 38-42.

‘Omukazi Atenderezebwa’

19, 20. Kiki ekireetera omukazi okutenderezebwa?

19 Ebyawandiikibwa byogera bulungi ku bakazi abakola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Ekitabo kya Baibuli eky’Engero kitendereza “omukazi omwegendereza,” nga kigamba nti: “Omuwendo gwe gusing[ir]a wala amayinja amatwakaavu. Omutima gwa bba gumwesiga, so taabulwenga magoba. Amukola bulungi so si bubi, ennaku zonna ez’obulamu bwe.” Ate era, “ayasam[y]a akamwa ke n’amagezi; n’etteeka ery’ekisa liba ku lulimi lwe. Alabirira nnyo empisa ez’ab’omu nnyumba ye, so talya mmere ya kugayaala. Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; ne bba, n’amutendereza.”​—Nge. 31:10-12, 26-28.

20 Kiki ekireetera omukazi okutenderezebwa? Engero 31:30 wagamba nti: “Okuganja kulimba n’obulungi tebuliiko kye bugasa: naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.” Okutya Yakuwa kizingiramu okukkiriza enteekateeka ey’obukulembeze gye yateekawo. “Omutwe gw’omukazi ye musajja,” ‘n’omutwe gw’omusajja ye Kristo,’ era “n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”​—1 Kol. 11:3.

Siima Ekirabo Ekiva eri Katonda

21, 22. (a) Nsonga ki ezandireetedde Abakristaayo abafumbo okusiima ennyo Katonda olw’ekirabo ky’obufumbo kye yabawa? (b) Lwaki tusaanidde okukkiriza enteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze? (Laba akasanduuko ku lupapula 17.)

21 Abakristaayo abafumbo balina ensonga nnyingi ezandibaleetedde okusiima Katonda! Omwami n’omukyala bayinza okuba nga bali wamu mu ssanyu. Basiima nnyo Katonda olw’ekirabo ky’obufumbo ekibasobozesa okuyambagana era n’okutambula ne Yakuwa. (Luus. 1:9; Mi. 6:8) Oyo eyatandikawo obufumbo amanyi bulungi ekyetaagisa abafumbo okusobola okufuna essanyu. Abafumbo bulijjo mufube okukola ebintu nga bw’ayagala, bwe kityo ‘essanyu lya Yakuwa lijja kuba maanyi gammwe’ ne mu nsi eno erimu emitawaana.​—Nek. 8:10.

22 Omusajja Omukristaayo ayagala mukazi we nga bwe yeeyagala afuba okwoleka ekisa n’obusaasizi ng’amukulembera. N’omukazi atya Katonda, ayagalibwa nnyo bba olw’okuba aba amuwagira era ng’amussaamu ekitiibwa. N’ekisinga byonna, obufumbo bwabwe buweesa ekitiibwa Yakuwa Katonda, Oyo agwanidde okutenderezebwa.

Ojjukira?

• Nteekateeka ki ey’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo?

• Lwaki abafumbo balina okussiŋŋanamu ekitiibwa?

• Omukazi Omukristaayo asaanidde kuyisa atya omwami we atali mukkiriza?

• Lwaki abaami basaanidde okwebuuza ku bakazi baabwe nga tebannasalawo ku nsonga enkulu?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 17]

Lwaki Twandikkirizza Enteekateeka y’Obukulembeze?

Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obukulembeze mu bitonde bye ebitegeera. Kino yakikola ku lw’obulungi bw’ebitonde bye eby’omwoyo ne ku lw’abantu. Enteekateeka eyo ewa ebitonde bye akakisa okwesalirawo era n’okuwa Katonda ekitiibwa nga bimuweereza nga biri bumu, era nga bitabaganye.​—Zab. 133:1.

Ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kikkiriza obukulembeze bwa Yesu Kristo. (Bef. 1:22, 23) Ng’agondera obuyinza bwa Yakuwa, oluvannyuma “Omwana naye alissibwa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.” (1 Kol. 15:27, 28) Ng’abantu abeewaddeyo eri Katonda, kikulu nnyo okukkiriza enteekateeka y’obukulembeze mu kibiina era ne mu maka. (1 Kol. 11:3; Beb. 13:17) Bwe tukola tutyo, tusiimibwa Yakuwa era tufuna n’emikisa gye.​—Is. 48:17.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Okusaba kusobola okuyamba omukazi Omukristaayo okwoleka engeri ennungi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Yakuwa asiima nnyo omulimu abakazi gwe bakola mu kuwagira Obwakabaka