Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abasajja Abakristaayo—Musigire Omwoyo Muluubirire Enkizo!

Abasajja Abakristaayo—Musigire Omwoyo Muluubirire Enkizo!

Abasajja Abakristaayo​—Musigire Omwoyo Muluubirire Enkizo!

“Oyo asigira omwoyo alikungula obulamu obutaggwaawo.”​—BAG. 6:8.

1, 2. Ebigambo ebiri mu Matayo 9:37, 38 bituukiridde bitya leero, era kino kireeseewo bwetaavu ki mu kibiina?

 WALIWO ebintu ebikulu ennyo ebigenda mu maaso bye tulabako kati! Omulimu Yesu Kristo gwe yayogerako gukolebwa ku kigero eky’amaanyi ennyo. Yesu yagamba nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.” (Mat. 9:37, 38) Yakuwa Katonda ayanukudde okusaba kuno mu ngeri ey’ekitalo. Mu mwaka gw’obuweereza 2009, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna byeyongerako ebibiina ebirala 2,031, kati ne biba nga byonna awamu biri 105,298. Okutwalira awamu, abantu nga 757 be baabatizibwanga buli lunaku!

2 Olw’okukulaakulana okwo okuliwo, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda abalina ebisaanyizo okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza n’okulabirira ebibiina. (Bef. 4:11) Okumala emyaka mingi, Yakuwa abadde alonda abasajja abalina ebisaanyizo okulabirira endiga ze, era tuli bakakafu nti ajja kweyongera okukikola. Obunnabbi obuli mu Mikka 5:5 butukakasa nti mu nnaku ez’oluvannyuma, abantu ba Yakuwa bandibadde ‘n’abasumba musanvu’ era “n’abantu munaana ab’ekitiibwa,” ekiraga nti wandibaddewo abasajja bangi abandyetisse obuvunaanyizibwa mu kibiina.

3. Kitegeeza ki ‘okusigira omwoyo’?

3 Bw’oba oli musajja Omukristaayo eyeewaayo eri Yakuwa, kiki ekinaakuyamba okuluubirira enkizo z’obuweereza mu kibiina? Ekisookera ddala kwe ‘kusigira omwoyo.’ (Bag. 6:8) Kino okusobola okukikola, olina okweyisa mu ngeri esobozesa omwoyo omutukuvu okukukulembera. Weewale ‘okusigira omubiri.’ Tokkiriza bintu gamba ng’eby’amasanyu oba eby’obugagga kukulemesa kuweereza Katonda mu bujjuvu. Abakristaayo bonna basaanidde ‘okusigira omwoyo,’ era abasajja abakola batyo ekiseera bwe kigenda kiyitawo, basobola okutuukiriza ebisaanyizo ne baweebwa enkizo mu kibiina. Olw’okuba waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’abakadde n’abaweereza leero, ekitundu kino kikwata nnyo ku basajja Abakristaayo. N’olwekyo, ab’oluganda, tubakubiriza okufumiitiriza ennyo ku kitundu kino.

Luubirira Omulimu Omulungi

4, 5. (a) Abasajja ababatize bakubirizibwa kuluubirira nkizo ki mu kibiina? (b) Oyo aluubirira enkizo mu kibiina yeetaaga kukola ki?

4 Omusajja Omukristaayo teyeesanga bwesanzi ng’afuuse omulabirizi. Alina okuluubirira ‘omulimu guno omulungi.’ (1 Tim. 3:1) Kino kimwetaagisa okuba omwetegefu okuweereza bakkiriza banne ng’afaayo ku byetaago byabwe. (Soma Isaaya 32:1, 2.) Omusajja aluubirira enkizo mu kibiina ng’alina ekiruubirirwa ekirungi aba mugumiikiriza. Era aba teyeenoonyeza bibye, wabula aba ayagala kuweereza balala.

5 Oyo aluubirira okufuuka omuweereza oba omukadde mu kibiina kimwetaagisa okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebiragibwa mu Byawandiikibwa. (1 Tim. 3:1-10, 12, 13; Tit. 1:5-9) Bw’oba oli wa luganda mubatize, weebuuze: ‘Nfuba okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, era ne nnyamba n’abalala okukola kye kimu? Nfuba okuzimba bakkiriza bannange nga nfaayo ku mbeera zaabwe? Nfuba okusoma Ekigambo kya Katonda? Nfuba okulongoosa mu ebyo bye nziramu mu nkuŋŋaana? Nfuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obuba bumpeereddwa abakadde?’ (2 Tim. 4:5) Kikwetaagisa okulowooza ennyo ku bibuuzo ng’ebyo.

6. Kiki ky’olina okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo okuweebwa enkizo mu kibiina?

6 Engeri endala gy’oyinza okutuukirizaamu ebisaanyizo okuweebwa enkizo mu kibiina kwe ‘kuba omunywevu mu ekyo ky’oli munda olw’amaanyi g’omwoyo gwa Katonda.’ (Bef. 3:16) Omuntu tamala galondebwa kuba muweereza oba mukadde mu kibiina Ekikristaayo. Enkizo eno agifuna ng’amaze kukulaakulana mu by’omwoyo. Kiki ekiyinza okukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo? Engeri emu kwe “kutambuliranga mu mwoyo” n’okufuba okukulaakulanya ekibala kyagwo. (Bag. 5:16, 22, 23) Bw’ofuba okukulaakulanya engeri ezeetaagisa okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa obusingawo era n’ossa mu nkola amagezi agakuweebwa, ‘okukulaakulana kwo kujja kweyoleka eri abantu bonna.’​—1 Tim. 4:15.

Weetaaga Okuba n’Omwoyo ogw’Okwefiiriza

7. Okuweereza abalala kizingiramu ki?

7 Okuweereza abalala kizingiramu okufuba ennyo n’okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza. Olw’okuba abalabirizi Abakristaayo bakola ng’abasumba, ebizibu by’ekisibo bibakwatako nnyo. Lowooza ku ngeri omutume Pawulo gye yakwatibwako olw’obuvunaanyizibwa bwe yalina obw’okulabirira ekisibo. Yagamba bakkiriza banne ab’omu Kkolinso nti: “Nnabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n’omutima gwange gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga, si lwa kwagala kubanakuwaza, naye musobole okumanya okwagala kwe nnina naddala gye muli.” (2 Kol. 2:4) Kyeyoleka bulungi nti Pawulo yeewaayo n’omutima gwe gwonna okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

8, 9. Waayo ebyokulabirako okuva mu Baibuli ebiraga engeri abasajja gye baafaayo ku byetaago by’abalala.

8 Okuva edda n’edda, abasajja ababadde beewaayo okuweereza abantu ba Yakuwa Katonda babadde booleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yali tasobola kugamba ba mu maka ge nti: ‘Bwe mumala okuzimba eryato mumbuulire nange mbeegatteko.’ Musa teyagamba Baisiraeri abaali mu Misiri nti: ‘Nja kubasanga ku Nnyanja Emmyufu. Mukole kyonna kye musobola okutuukayo.’ Yoswa teyagamba nti: ‘Ebisenge bya Yeriko bwe bimala okugwa mumbuulira.’ Era ne Isaaya teyasonga ku muntu mulala ng’agamba nti: ‘Wuuyo gw’oba otuma.’​—Is. 6:8.

9 Ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’omusajja eyaleka omwoyo gwa Katonda okumukulembera kye kya Yesu Kristo. Yakkiriza omulimu ogwamuweebwa ogw’okununula olulyo lw’omuntu. (Yok. 3:16) Omwoyo gw’okwefiiriza Yesu gwe yayoleka naffe tegwanditukubirizza okuba abeetegefu okwefiiriza? Ng’ayogera ku kwagala kw’alina eri ekisibo, omukadde omu amaze ebbanga ng’aweereza yagamba nti: “Ebigambo Yesu bye yagamba Peetero​—Lundanga endiga zange​—binkwatako nnyo. Emyaka bwe gizze giyitawo, nkizudde nti okwogera mu ngeri ey’ekisa n’okukola ebintu ebyoleka okwagala, ka bibe bitono bitya, kisobola okuzzaamu omuntu amaanyi. Okulunda ekisibo gwe mulimu ogunnyumira ennyo okukola.”​—Yok. 21:16.

10. Kiki ekiyinza okukubiriza abasajja Abakristaayo okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu kuweereza abalala?

10 Bwe kituuka ku kulabirira ekisibo kya Katonda, abasajja Abakristaayo basaanidde okuba n’endowooza ng’eya Yesu eyagamba nti: “Nnaabawummuza.” (Mat. 11:28) Okukkiriza kwe balina mu Katonda era n’okwagala kwe balina eri ekibiina bikubiriza abasajja Abakristaayo okuluubirira omulimu guno omulungi, nga tebakitwala nti gujja kubakaluubirira oba nti kujja kuba kwefiiriza kwa maanyi. Ate kiri kitya singa ow’oluganda tayagala kuluubirira nkizo mu kibiina? Kiki ekiyinza okuyamba ow’oluganda ng’oyo okwagala okuweereza mu kibiina?

Kulaakulanya Omwoyo gw’Okwagala Okuweereza

11. Omuntu ayinza atya okukulaakulanya omwoyo gw’okwagala okuweereza abalala?

11 Bw’oba owulira nti tolina bisaanyizo kwetikka buvunaanyizibwa mu kibiina, kiba kirungi n’osaba Katonda akuwe omwoyo gwe omutukuvu. (Luk. 11:13) Omwoyo gwa Yakuwa gujja kukuyamba okuvvuunuka okutya kwonna kw’oyinza okuba nakwo. Yakuwa y’ayamba abantu be okwagala okuweereza abalala, kubanga omwoyo gwe gwe gukubiriza ab’oluganda okuluubirira enkizo mu kibiina era gwe gubawa amaanyi okutuukiriza obuweereza bwabwe obutukuvu. (Baf. 2:13; 4:13) N’olwekyo, weetaaga okusaba Yakuwa akuyambe okufuna omwoyo gw’okwagala okuweereza abalala.​—Soma Zabbuli 25:4, 5.

12. Omuntu ayinza atya okufuna amagezi ageetaagisa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumukwasiddwa?

12 Omukristaayo bw’alowooza ku buvunaanyizibwa obw’amaanyi obuzingirwa mu kulabirira ekisibo, ayinza obutayagala kuluubirira nkizo mu kibiina. Oba ayinza okuwulira nti talina magezi geetaagisa kwetikka buvunaanyizibwa obwo. Bwe kiba kityo, asobola okufuna amagezi ng’afuba okusoma Baibuli awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola. Asaanidde okwebuuza, ‘Nfuba okweteerawo ebiseera okwesomesa Ekigambo kya Katonda, era nfuba okusaba Katonda ampe amagezi?’ Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’alangira; era gajja kumuweebwa.” (Yak. 1:5) Okkiriziganya n’ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa? Ng’addamu okusaba kwa Sulemaani, Katonda yamuwa “omutima omugezigezi era omutegeevu” ogwamuyamba okwawulawo ekirungi n’ekibi ng’asala emisango. (1 Bassek. 3:7-14) Kyo kituufu nti embeera ya Sulemaani yali ya njawulo. Naye tuli bakakafu nti Katonda awa amagezi abasajja abakwasiddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina okusobola okulabirira obulungi endiga ze.​—Nge. 2:6.

13, 14. (a) Nnyonnyola engeri Pawulo gye yakwatibwako “okwagala kwa Kristo.” (b) “Okwagala kwa Kristo” kutukwatako kutya?

13 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba okwagala okuweereza abalala kwe kulowooza ennyo ku ebyo byonna Yakuwa n’Omwana we bye batukoledde. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebiri mu 2 Abakkolinso 5:14, 15. (Soma.) “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza” kutya? Okwagala Kristo kwe yalaga bwe yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, nga Katonda bwe yali ayagala, kwa maanyi nnyo ne kiba nti kutukubiriza okwagala okuweereza abalala. Okwagala kwa Kristo kwakwata nnyo ku ngeri Pawulo gye yeeyisaamu. Kwamuyamba obuteerowoozaako yekka era ne kumuyamba okwemalira ku kuweereza Katonda ne bantu banne mu kibiina n’ebweru waakyo.

14 Okusiima kweyongera mu mitima gyaffe bwe tufumiitiriza ku kwagala Kristo kw’alina eri abantu. Okusiima okwo kutuleetera okukiraba nti tekiba kya magezi ‘kusigira mubiri’ nga twenoonyeza ebyaffe ku bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, tufuba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tusobole okukulembeza omulimu Katonda gw’atuwadde. Tufuba ‘okuweereza’ baganda baffe nga tukubirizibwa okwagala. (Soma Abaggalatiya 5:13.) Bwe tukitwala nti tuli baddu abaweereza abantu ba Yakuwa, tujja kuwa basinza bannaffe ekitiibwa. Era twewalira ddala omwoyo ogukubirizibwa Sitaani ogw’okuvumirira abalala n’okubasalira omusango.​—Kub. 12:10.

Ab’Omu Maka Kye Balina Okukola

15, 16. Ab’omu maka balina kukola ki omusajja bw’aba ow’okulondebwa ng’omuweereza oba omukadde?

15 Ow’oluganda bw’aba nga mufumbo era ng’alina n’abaana, embeera y’ab’omu maka ge erowoozebwako nnyo nga tannaba kulondebwa ng’omuweereza oba omukadde. Mu butuufu, embeera y’ab’omu maka ge ey’eby’omwoyo awamu n’enneeyisa yaabwe birowoozebwako nnyo nga tannaweebwa nkizo. Kino kiraga nti ab’omu maka bakola kinene mu kuwagira omwami era taata ayagala okuweebwa enkizo mu kibiina ng’omuweereza oba omukadde.​—Soma 1 Timoseewo 3:4, 5, 12.

16 Yakuwa asanyuka nnyo okulaba ng’abantu abali mu maka Amakristaayo bakolagana bulungi. (Bef. 3:14, 15) Omutwe gw’amaka okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kibiina era n’okufuga “obulungi” amaka ge, kimwetaagisa obutagwa lubege. Bwe kityo, kikulu nnyo omukadde oba omuweereza okusomera awamu Baibuli ne mukazi we n’abaana be, kiyambe bonna okuganyulwa mu Kusinza kw’Amaka okwa buli wiiki. Asaanidde okugendanga nabo mu buweereza bw’ennimiro obutayosa. Era n’ab’omu maka bonna basaanidde okukolaganira awamu n’omutwe gw’amaka ng’afuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

Oliddamu Okuweereza?

17, 18. (a) Ow’oluganda bw’aba takyatuukiriza bisaanyizo bya kuweereza, alina kukola ki? (b) Ow’oluganda eyali aweereza ng’omukadde oba ng’omuweereza alina kuba na ndowooza ki?

17 Oyinza okuba nga wali oweereza ng’omukadde oba ng’omuweereza mu kibiina naye nga kati tokyalina nkizo eyo. Yakuwa omwagala era oli mukakafu nti akyakufaako. (1 Peet. 5:6, 7) Wakubirizibwa okubaako enkyukakyuka z’okola? Kkiriza ekyakugambibwa era ofube okukikolako nga bw’osaba n’obuyambi bwa Katonda. Tosiba kiruyi. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Bwe yali ng’aggiddwako enkizo ye, omukadde omu eyali aweerezza okumala ebbanga ddene yagamba nti: “Nnamalirira okubangawo mu nkuŋŋaana, okwenyigiranga mu buweereza bw’ennimiro, era n’okusomanga Baibuli nga bwe nnali nkola nga nkyaweereza ng’omukadde​—ekyo nnasobola okukituukiriza. Olw’okuba waayitawo emyaka nga musanvu nga sinnaba kuddamu kuweereza nga mukadde, nnayiga okuba omugumiikiriza kubanga nnali ndowooza nti kyali kijja kuntwalira omwaka gumu oba ebiri okuddizibwa enkizo eyo. Mu myaka egyo gyonna, nnagambibwanga obutaggwamu maanyi wabula nneeyongere okuluubirira enkizo, era ekyo kyannyamba nnyo.”

18 Bw’oba oli wa luganda ali mu mbeera ng’eyo eyogeddwako waggulu, toggwaamu maanyi. Fumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’akuwadde mu buweereza bwo ne mu maka go. Fuba okuzimba ab’omu maka go mu by’omwoyo, lambula abalwadde, era fuba okuzzaamu amaanyi abanafuye. N’ekisinga byonna, siima enkizo gy’olina ey’okutendereza Katonda n’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. *​—Zab. 145:1, 2; Is. 43:10-12.

Tunula mu Mbeera Yo

19, 20. (a) Abasajja bonna ababatize bakubirizibwa kukola ki? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

19 Leero waliwo obwetaavu bwa maanyi nnyo obw’abalabirizi n’abaweereza okusinga bwe kyali kibadde. N’olwekyo, tukubiriza abasajja bonna ababatize okutunula mu mbeera zaabwe era beebuuze nti, ‘Bwe mba siri muweereza oba mukadde, kiki ekindobera okuluubirira enkizo eyo?’ Kkiriza omwoyo gwa Katonda gukuyambe okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nsonga eno enkulu.

20 Ab’oluganda bonna mu kibiina baganyulwa nnyo bakkiriza bannaabwe bwe booleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Bwe tufaayo ku balala era ne tubalaga ekisa, tufuna essanyu eriva mu kuweereza abalala n’okusigira omwoyo. Ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, tetulina kunakuwaza omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Ekyo tuyinza kukyewala tutya?

[Obugambo obuli wansi]

^ Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2009, olupapula 30-32.

Wandizzeemu Otya?

• Obunnabbi obuli mu Mikka 5:5 butukakasa ki?

• Okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza kizingiramu ki?

• Omuntu ayinza atya okukulaakulanya omwoyo gw’okwagala okuweereza abalala?

• Lwaki kikulu ab’omu maka okukolaganira awamu n’omusajja bw’aba ow’okuweebwa enkizo ey’okuba omuweereza oba omukadde mu kibiina?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Oyinza kukola ki okusobola okuluubirira enkizo mu kibiina?