Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kalani Ekibuga Omwakolerwanga Emirimu Emingi

Kalani Ekibuga Omwakolerwanga Emirimu Emingi

Kalani Ekibuga Omwakolerwanga Emirimu Emingi

ERI abo abamanyi Ebyawandiikibwa, okwogera obwogezi ku Kalani kibajjukiza omusajja omwesigwa ow’edda Ibulayimu. Bwe yali ava e Uli ng’agenda mu nsi ya Kanani, ng’ali wamu ne mukyala we Saala, kitaawe Teera, ne Lutti omwana wa muganda we, Ibulayimu yabeerako e Kalani. Ng’ali eyo, yafuna eby’obugagga bingi. Kitaawe bwe yafa, Ibulayimu yeeyongerayo ku lugendo lwe olwamutuusa mu nsi Katonda ow’amazima gye yali amusuubizza. (Lub. 11:31, 32; 12:4, 5; Bik. 7:2-4) Oluvannyuma, Ibulayimu yasindika omuweereza we omukulu okugenda e Kalani oba mu kitundu ekiriraanyewo afunire Isaaka omukazi. Muzzukulu wa Ibulayimu, Yakobo naye yabeerako e Kalani okumala emyaka egiwerako.​—Lub. 24:1-4, 10; 27:42-45; 28:1, 2, 10.

Mu bbaluwa gye yawandiikira Kabaka Keezeekiya owa Yuda, Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli yayogera ku Kalani ng’emu ku ‘nsi’ ezaawambibwa bakabaka b’e Bwasuli. Mu kwogera ku “Kalani” yali tayogera ku kibuga kyokka wabula yali azingiramu n’essaza eririraanyewo. (2 Bassek. 19:11, 12) Mu bunnabbi bwa Ezeekyeri, Kalani kyogerwako ng’ekibuga ekyakolagananga ne Tuulo mu by’obusuubuzi, ekiraga nti Kalani kyali kibuga kikulu eky’eby’obusuubuzi.​—Ez. 27:1, 2, 23.

Mu kiseera kino, Kalani kabuga katono akasangibwa okumpi ne Şanlıurfa, mu buvanjuba bwa Butuluuki. Naye mu biseera by’edda ekibuga Kalani kyakolerwangamu emirimu mingi nnyo. Kalani kye kimu ku bibuga ebitono ennyo ebikyayitibwa erinnya lye byayitibwanga mu biseera bya Baibuli. Erinnya lyakyo Harranu mu Lusuuli litegeeza “Oluguudo” oba “Oluguudo lw’Ebigaali,” ekiraga nti Kalani kyali kisangibwa ku nguudo ezaakozesebwanga abasuubuzi abaagendanga mu bibuga ebinene. Okusinziira ku biwandiiko ebyayiikuulwa mu Kalani, maama wa Kabaka Nabonidasi owa Babulooni ye yali kabona omukazi asinga obukulu mu yeekaalu ya Sini, katonda ow’omwezi ow’e Kalani. Kigambibwa nti Nabonidasi yazzaawo yeekaalu eyo. Oluvannyuma, obwakabaka bungi bwajjanga ne bumala ne buvaawo naye nga Kalani kyo weekiri.

Leero, Kalani tekikyali nga bwe kyali edda. Kalani eky’edda kyali kibuga ekikulaakulanye ennyo era nga mu biseera ebimu kyakolerwangamu ebintu ebikulu bingi. Kyokka leero Kalani kabuga katono omusangibwa amayumba amangi agalina obusolya obulinga ebiswa, era nga keetooloddwa amatongo. Mu nsi ya Katonda empya, bangi ku bantu abaabeerako mu Kalani​—omuli Ibulayimu, Saala, ne Lutti​—bajja kuzuukizibwa. Bajja kutubuulira ebisingawo ebikwata ku Kalani, ekibuga eky’edda omwakolerwanga emirimu emingi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Amatongo ga Kalani

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Amayumba agalina obusolya obulinga ebiswa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Ekibuga Kalani nga bwe kifaanana leero