Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Olabirira Omuntu Wo Omulwadde

Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Olabirira Omuntu Wo Omulwadde

Sigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Olabirira Omuntu Wo Omulwadde

OLUVANNYUMA lw’okukeberebwa enkizi, abasawo baakizuula nti mwannyinaffe ayitibwa Kim yalina kkansa. * Steve, omwami we, agamba nti: “Oluvannyuma lw’okufuna obujjanjabi obw’amaanyi, Kim yanafuwa nnyo. Era yali takyasobola bulungi kutambula.”

Oyinza okuteebereza engeri Steve gye yali awuliramu ng’alaba omwagalwa we ali mu bulumi obw’amaanyi? Oboolyawo naawe olina omuntu wo ayolekagana n’obulwadde obw’amaanyi oba ayolekagana n’ebizibu ebijja olw’obukadde. (Mub. 12:1-7) Bwe kiba kityo, kimanye nti okusobola okulabirira omulwadde wo obulungi, naawe olina okwerabirira obulungi. Singa onafuwa mu by’omwoyo, kisobola okukosa enneewulira yo n’obulamu bwo ne kikulemesa okukola obulungi ku byetaago by’omulwadde wo. Kati olwo osobola otya okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo ng’olabirira omuntu wo omulwadde oba akaddiye? Abalala mu kibiina Ekikristaayo bayinza batya okuyamba mu kulabirira oyo aba alwadde?

Oyinza Otya Obutagwa Lubege?

Okusobola okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo era ng’oli mulamu bulungi ng’olabirira omulwadde wo, olina okukkiriza embeera eba ezzeewo n’okukozesa obulungi ebiseera byo n’amaanyi go. Engero 11:2 wagamba nti: “Amagezi gaba n’abeetoowaza.” Wano, ekigambo ‘okwetoowaza’ kitegeeza okumanya obusobozi bwo we bukoma. Okusobola okukakasa nti tokola kisukka ku busobozi bwo, kiyinza okukwetaagisa okwekenneenya ebintu by’okukola bulijjo awamu n’obuvunaanyizibwa bw’olina.

Steve yayoleka amagezi era n’akiraga nti yali amaanyi obusobozi bwe we bukoma bwe yakendeeza ku buvunaanyizibwa bwe yalina. Ng’oggyeko omulimu gwe yali akola, yali aweereza ng’omukwanaganya w’akikiiko k’abakadde era ng’akola ng’omulabirizi w’obuweereza mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa gye yali akuŋŋaanira mu Ireland. Ate era yali ne ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro mu kitundu kye. Steve agamba nti, “Kim teyeemulugunyaako wadde omulundi ogumu nti nnali musuuliridde nga ngezaako okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Naye nnali nkimanyi nti kye nnali nkola kyali kisukka ku busobozi bwange.” Steve yakwata atya embeera eyo? Agamba nti, “Oluvannyuma lw’okusaba ennyo nnasalawo okulekera awo okuweereza ng’omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Nnasigala nga nkyaweereza ng’omukadde, kyokka okukendeeza ku buvunaanyizibwa bwe nnalina mu kibiina kyannyamba okufuna ebiseera ebimala okulabirira Kim.”

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, embeera ya Kim yatereera. Steve ne Kim baddamu okutunula mu mbeera yaabwe, era olw’obuwagizi bwa mukyala we, Steve yasobola okuddamu okwetikka obuvunaanyizibwa bwe yalina mu kibiina. Steve agamba nti, “Ffembi tuyize okutuukana n’embeera eyajjawo olw’obulwadde. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’engeri gy’annyambyeemu era ne mukyala wange olw’obutemulugunya wadde ng’embeera y’obulamu bwe teyali nnungi.”

Ate lowooza ku Jerry, omulabirizi atambula, wamu ne mukyala we, Maria. Baali baalina okukola ekyukakyuka okusobola okulabirira bazadde baabwe abaali bakaddiye. Maria agamba nti, “Nze n’omwami wange twalina ekiruubirirwa eky’okuweereza ng’abaminsani mu nsi endala. Naye olw’okuba Jerry ye mwana yekka bazadde be gwe baalina, baali bamwetaaga okubalabirira. Bwe kityo, twasalawo okusigala mu Ireland okubalabirira. Ekyo kyatusobozesa okulabirira taata wa Jerry ng’ali ku kitanda okutuusa lwe yafa. Kati tufuba okuwuliza maama wa Jerry buli lunaku, era tumutuukako mu bwangu buli lw’aba atwetaaga. Ekibiina maama wa Jerry mw’akuŋŋaanira kiyambye nnyo mu kumulabirira, ekyo ne kisobozesa Jerry okusigala ng’aweereza ng’omulabirizi atambula.”

Engeri Abalala gye Basobola Okuyambamu

Ng’ayogera ku ngeri bannamwandu abakaddiye abali mu kibiina gye basaanidde okulabirirwamu, omutume Pawulo yagamba nti: “Singa omuntu yenna talabirira babe, naddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza era aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” Pawulo yajjukiza Bakristaayo banne nti omuntu okusobola ‘okukkirizibwa mu maaso ga Katonda,’ kimwetaagisa okulabirira bazadde be ne bajjajja be abakaddiye mu by’ensimbi. (1 Tim. 5:4, 8) Wadde kiri kityo, n’abalala mu kibiina balina okubaako kye bakolawo okuyamba.

Lowooza ku Hakan ne Inger, bannamukadde abafumbo ababeera mu Sweden. Hakan agamba nti, “Bwe kyazuulibwa nti mukyala wange alina kkansa, kyatukuba enkyukwe. Inger yali wa maanyi era nga tatera kulwalalwala. Kati nnalina okumutwalanga mu ddwaliro buli lunaku okujjanjabibwa, era obujjanjabi obw’amaanyi bwe yafuna bwamuleetera okugenda ng’anafuwa. Inger yali takyasobola kuva waka, era nnalina okubeerangawo okumulabirira.” Ekibiina Hakan ne Inger mwe baakuŋŋaaniranga kyabayamba kitya?

Abakadde mu kibiina baabakolera enteekateeka ne bayungibwa ku ssimu basobole okuganyulwa mu nkuŋŋaana. Okugatta ku ekyo, ab’oluganda baabakyaliranga, baabakubiranga amasimu, baabawandiikiranga amabaluwa, era baabaweerezanga ne bukaadi. Hakan agamba nti, “Twakakasa nti ab’oluganda bonna batwagala era nti ne Yakuwa yali atuwanirira. Ekyo kyatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Kya ssanyu nti Inger yawona, era kati tusobola okugenda mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka.” Bonna mu kibiina bwe bafuba okuyamba abalwadde ne bannamukadde, bakyoleka nti ‘ba mukwano abaagala mu biro byonna, era ab’oluganda abaazaalirwa obuyinike.’​—Nge. 17:17.

Yakuwa Asiima Nnyo Okufuba Kwo

Kyo kituufu nti okulabirira omuntu omulwadde si kyangu. Naye Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu,” gamba ng’omuntu omulwadde eyeetaaga obuyambi.​—Zab. 41:1.

Abo abalabirira abalwadde baweebwa batya omukisa? Engero 19:17 wagamba nti: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” Katonda ow’amazima afaayo nnyo ku baweereza be abeesigwa ababa balwadde, era awa omukisa abo abafuba okubalabirira. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda: ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw’alwala.” (Zab. 41:3) Tuli bakakafu nti oyo afuba okulabirira abalwadde naye bw’afuna ebizibu, Yakuwa ajja kumuyamba.

Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa Katonda asiima nnyo byonna bye tukola okusobola okulabirira abantu baffe abalwadde! Wadde nga kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okulabirira abalwadde, Ebyawandiikibwa bitukakasa nti “ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.”​—Beb. 13:16.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Sigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo era kkiriza obuyambi bw’abalala