Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okutendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera

Weeyongere Okutendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera

Weeyongere Okutendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera

NGA kisanyusa okulaba omuzannyi w’emizannyo atendekeddwa obulungi ng’azannyisa omubiri gwe mu ngeri ey’ekikugu! Baibuli ekubiriza Abakristaayo okutendeka obusobozi bwabwe obw’okutegeera ng’omuzannyi w’emizannyo bw’atendeka omubiri gwe.

Mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya, omutume Pawulo yawandiika nti: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu, abo abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera ne babutendeka [ng’omuzannyi w’emizannyo] okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Beb. 5:14) Lwaki Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okutendeka obusobozi bwabwe obw’okulowooza ng’omuzannyi w’emizannyo bw’atendeka omubiri gwe? Tuyinza tutya okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera?

“Mwandibadde Bayigiriza”

Bwe yali ayogera ku kifo kya Yesu nga ‘kabona asinga obukulu nga Merukizeddeeki bwe yali,’ Pawulo yagamba nti: “Tulina bingi bye tuyinza [okwogera ku Yesu] era bizibu okunnyonnyola, kubanga mutegeera mpola. Mazima ddala, wadde nga mwandibadde bayigiriza olw’ekiseera ekiyiseewo mukyetaaga nate omuntu okubayigiriza okuva ku ntandikwa ebintu ebisookerwako eby’ebigambo bya Katonda ebitukuvu, era mufuuse abo abeetaaga amata so si emmere enkalubo.”​—Beb. 5:10-12.

Kya lwatu nti abamu ku Bakristaayo Abayudaaya mu kyasa ekyasooka baali balemereddwa okukulaakulana mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, kyabazibuwalira okulaba ekitangaala ekyagenda kyeyongerayongera ekikwata ku Mateeka ne ku kukomolebwa. (Bik. 15:1, 2, 27-29; Bag. 2:11-14; 6:12, 13) Abamu kyabazibuwalira okulekeraawo okukuza Ssabbiiti n’Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi. (Bak. 2:16, 17; Beb. 9:1-14) Bwe kityo Pawulo yabakubiriza okutendeka obusobozi bwabwe obw’okutegeera kibayambe okwawulawo ekituufu n’ekikyamu era yabakubiriza ‘okufuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba abakulu.’ (Beb. 6:1, 2) Okubuulirira okwo kuteekwa okuba nga kwaleetera abamu okulowooza ennyo ku ngeri gye baali bakozesaamu obusobozi bwabwe obw’okulowooza ekyo ne kibayamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Ate kiri kitya eri ffe?

Tendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera

Tuyinza tutya okutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza okusobola okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo? Nga Pawulo bwe yagamba, ‘nga tubukozesa.’ Okufaananako omuzannyi w’emizannyo atendeka omubiri gwe okusobola okuguzannyisa mu ngeri ey’ekikugu, naffe tusaanidde okutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza okusobola okwawula ekituufu n’ekikyamu.

John Ratey, profesa mu ttendekero ly’abasawo abakola ku bwongo erya Harvard, agamba nti, “Ekintu ekisingayo obulungi ky’osobola okukolera obwongo bwo kwe kubutendeka okulowooza.” Ate ye Gene Cohen, akulira ekitongole ekitendeka abantu abakola ku bannamukadde mu yunivasite y’e George Washington, agamba nti, “Buli lwe tukola ebintu ebyetaagisa okulowooza ennyo, obwongo bwaffe budda buggya ne butandika okulowooza ku kigero ekya waggulu.”

N’olwekyo, kiba kya magezi okufuba ennyo okutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza era n’okwongera ku kumanya kwe tulina okw’Ekigambo kya Katonda. Okukola ekyo, kijja kutuyamba okutegeera ‘ekyo Katonda ky’ayagala era ekituukiridde.’​—Bar. 12:1, 2.

Olina Okwagala Okulya “Emmere Enkalubo”

Bwe tuba twagala “okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuba abakulu,” twetaaga okwebuuza: ‘Nfuba okweyongera okutegeera amazima agali mu Baibuli? Abalala bakiraba nti nkuze mu by’omwoyo?’ Maama kimusanyusa nnyo okuwa omwana we omuwere amata era n’okumuwa emmere y’abaana ng’akyali muto. Kyokka lowooza ku ngeri maama gy’ayinza okuwuliramu singa omwana we akula naye n’alemererwa okulya emmere enkalubo. Mu ngeri y’emu, kitusanyusa okulaba ng’omuntu gwe tuyigiriza Baibuli akulaakulana n’atuuka n’okwewaayo era n’abatizibwa. Ate kiri kitya singa omuntu oyo oluvannyuma alemererwa okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekyo tekitumalaamu maanyi? (1 Kol. 3:1-4) Omuyigiriza aba asuubira nti oluvannyuma lw’ekiseera omuyigirizwa omupya naye ajja kufuuka omuyigiriza.

Okukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza kizingiramu okufumiitiriza, era ekyo kyetaagisa okufuba ennyo. (Zab. 1:1-3) Tetulina kukkiriza bintu gamba nga ttivi oba emizannyo egitunyumira kutulemesa kufumiitiriza ku bintu ebikulu. Okusobola okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okulowooza, kitwetaagisa okwagala ennyo okusoma Baibuli n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) Ng’oggyeko okusoma Baibuli obutayosa, kikulu nnyo okuteekawo ebiseera okusinziza awamu ng’amaka era n’okusoma ku bintu eby’obuziba ebiri mu Baibuli.

Jerónimo, omulabirizi atambula ow’omu Mexico, agamba nti afuba okusoma buli Watchtower efuluma amangu ddala nga yakagifuna. Era afuna ebiseera okusomerako awamu ne mukyala we. Jerónimo agamba nti, “Nze ne mukyala wange tufuba okusomera awamu Baibuli buli lunaku, era tukozesa n’ebitabo ebirala gamba nga brocuwa ‘Ensi Ennungi.’” Omukristaayo ayitibwa Ronald agamba nti yeeteekerateekera okusoma kwa Baibuli okwa buli wiiki. Ate era afunayo ensonga ng’emu oba bbiri z’anoonyerezaako okumala ebbanga. Ronald agamba nti, “Bwe mbaako ensonga gye mba nnoonyerezaako kindeetera okwesunga okusoma okuddako.”

Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tufuna obudde obumala okwesomesa Baibuli n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda? Tufuba okutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza ne kituyamba okufuna obumanyirivu mu kukozesa emisingi gya Baibuli nga tulina kye tusalawo? (Nge. 2:1-7) Ka ffenna tufube okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, abalina okumanya n’amagezi ebiba n’abo abatendese obusobozi bwabwe obw’okutegeera okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu!

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Tutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza ‘nga tubukozesa’