Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nfunye Ebintu Ebirungi Bingi

Nfunye Ebintu Ebirungi Bingi

Nfunye Ebintu Ebirungi Bingi

Byayogerwa Arthur Bonno

GWALI mwaka gwa 1951. Nze ne mukyala wange, Edith, twali ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti ne tuwulira ekirango ekikwata ku lukuŋŋaana lw’abo abandyagadde okuweereza ng’abaminsani.

Nnagamba Edith nti, “Naffe tugende mu lukuŋŋaana olwo!”

Edith yanziramu nti, “Nedda Art, ffe tetusobola kufuuka baminsani!”

Nnamugamba nti, “Naawe Edie, tugende tuwulirize buwuliriza.”

Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, baatuwa foomu z’Essomero lya Gireyaadi.

Nnagamba Edith nti, “Tuzijjuze.”

Yanziramu nti, “Naye Art, bazadde baffe tunaabakola tutya?”

Nga wayise omwaka nga gumu n’ekitundu oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, twagenda mu Ssomero lya Gireyaadi era twasindikibwa okugenda okuweereza mu Ecuador, ekiri mu Amerika ow’ebukiika ddyo.

Nga bw’oyinza okukiraba mu mboozi eyali wakati wange ne mukyala wange ku lukuŋŋaana olwo, nnali muntu ayagala abalala bakolere ku ekyo kye njagala era alowooza nti buli kimu kisoboka. Naye ye Edith yali muntu mukkakkamu era nga mukwata mpola. Yakulira mu kabuga akatono akayitibwa Elizabeth, mu Pennsylvania, eky’omu Amerika, era yali tatuukangako mu bifo ebirala ebiri ewala okuva ewaabwe era nga tasisinkanangako bantu bava mu mawanga amalala. Tekyamwanguyira kuleka ba ŋŋanda ze. Wadde kyali kityo, yakkiriza okugenda okuweereza mu nsi endala. Mu 1954 twatuuka mu Ecuador gye tubadde tuweereza ng’abaminsani n’okutuusa leero. Tufunye ebintu ebirungi bingi mu myaka gye tumaze wano. Wandyagadde okumanya ebimu ku bintu ebyo?

Ebintu Bye Tutasobola Kwerabira

Twasooka kusindikibwa kuweereza mu kibuga ekikulu, Quito, ekiri mu nsozi za Andes. Kyatutwalira ennaku bbiri okuva e Guayaquil, ekibuga ekisangibwa ku lubalama lw’ennyanja, okutuuka e Quito nga tutambulira mu ggaali y’omukka n’emmotoka​—olugendo kati omuntu lw’atambulira eddakiika 30 zokka mu nnyonyi! Twamala emyaka ena mu Quito. Mu 1958, twafuna ekintu ekirala ekirungi: Nnatandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu nga ndi wamu ne mukyala wange.

Mu kiseera ekyo eggwanga lya Ecuador lyali lyawuddwamu ebitundu bibiri byokka. Ng’oggyeko okukyalira ebibiina, wiiki ezimu mu mwaka twazimalanga nga tubuulira mu bubuga obutono obwabeerangamu Abayindi, era ng’eyo tewaaliyo Mujulirwa wa Yakuwa n’omu. Obuyumba omuntu bwe yali asobola okupangisa mu bubuga obwo bwali nga bwa kisenge kimu ng’ate tekuliiko ddirisa era nga mulimu kitanda kyokka. Twalinanga ekibokisi eky’embaawo mwe twatwaliranga sitoovu, eseffuliya, amasowaani, ebbaafu, amasuuka, akatimba k’ensiri, engoye, empapula z’amawulire enkadde, n’ebintu ebirala. Twakozesanga empapula z’amawulire okuziba ebituli ebyabanga mu bisenge by’ennyumba okusobola okutangira emmese okuyingira.

Wadde ng’obuyumba bwe twasulangamu tebwali bulungi, tulina ebintu bingi ebirungi bye tujjukira bye twanyumyanga nga tutudde ku buliri, nga tulya emmere yaffe gye twafumbiranga ku sitoovu. Olw’okuba nnateranga okwogera nga sisoose kulowooza, oluusi mukyala wange yakozesanga akaseera ako okumbuulira engeri gye nsobola okulongoosaamu mu ngeri gye njogeramu n’ab’oluganda be twakyaliranga. Nnakoleranga ku magezi ge, era ab’oluganda beeyongera okuganyulwa mu kukyala kwaffe. Era, buli lwe nnayogeranga obubi ku w’oluganda yenna, mukyala wange yagaananga okwongerezaako. Ekyo kyanjigiriza okunoonyanga ebirungi mu b’oluganda. Naye okusingira ddala twanyumyanga ku bintu bye twabanga tusomyeko mu magazini ya Watchtower n’ebyo bye twabanga tusanze mu buweereza bw’ennimiro. Ng’ebintu ebyo byatuzzangamu nnyo amaanyi!

Engeri Gye Twafunamu Carlos

Twasabibwa okunoonya Carlos Mejía, eyali ayagala okuyiga Bayibuli, eyali abeera mu kibuga ky’e Jipijapa, ekiri mu bugwanjuba bwa Ecuador​—naye baali tebatuwadde ndagiriro ye. Twakeera ku makya ne tugenda okumunoonya, naye nga tetumanyi na wakutandikira. Olw’okuba enkuba yali etonnye nnyingi ekiro, twalina okutambula nga bwe twebalama ebinnya ebyali bijjudde ebisooto. Nze nnali nkulembeddemu, naye nnagenda okuwulira omuntu ampita nga bw’akaaba, “Art!” Nnakyuka nnentunula emabega, kwe kulaba Edie ng’ayimiridde mu bisooto nga bimukoma mu maviivi. Kaabula kata ntulike nseke, naye bwe nnamulaba ng’akaaba enseko zankalira ku matama.

Nnamusika mu bisooto, naye engatto ze ne zisigalayo. Waaliwo omuwala n’omulenzi abaali batulaba, ne mbagamba nti, “Nja kubawa ssente singa muggya engatto zaffe mu bisooto ebyo.” Okutemya n’okuzibula, baali bamaze okuziggyayo, naye Edie yali yeetaaga okunaaba ebigere. Ne maama w’abaana abo yali alaba ebigenda mu maaso era yatuyita tugende ewuwe, mukyala wange n’asobola okunaaba ebigere ng’eno abaana bwe balongoosa engatto ze. Bwe twali tetunnasimbula, waliwo ekintu ekirungi ekyabaawo. Nnabuuza omukyala oyo obanga yali amanyi omwami gwe bayita Carlos Mejía. Kyamwewuunyisa okulaba nti twali tumanyi Carlos era n’atugamba nti, “Oyo ye mwami wange.” Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bonna mu maka ago baayiga Bayibuli era ne babatizibwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, Carlos, mukyala we, awamu n’abaana baabwe babiri baafuuka bapayoniya ab’enjawulo.

Embeera Teyali Nnyangu​—Naye Ab’oluganda Baatulaga Okwagala

Omulimu gw’okukyalira ebibiina tegwali mwangu. Bwe twabanga tukyalira ebibiina, twalinyanga bbaasi, eggaali z’omukka, loole, amaato, n’ennyonyi. Lumu ow’oluganda John McLenachan, eyali aweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti, awamu ne mukyala we, Dorothy, baatuwerekerako nga tugenda okubuulira mu bitundu ebiri ku nsalo ya Colombia. Twatambulira mu lyato ettono erya yingini. Zirukwata ezaali zenkana n’eryato lye twalimu zaali ziwugira kumpi n’eryato lyaffe! Wadde ng’omugoba w’eryato lye twalimu yalina obumanyirivu, naye yatya zirukwata ezo era n’asalawo okuvugira eryato okumpi n’olukalu.

Wadde nga twasanga ebizibu bingi nga tukyalira ebibiina, waliwo ebintu bingi ebyatusanyusanga. Twasobola okumanya ab’oluganda bangi abaatulaganga okwagala. Ab’oluganda bangi be twakyaliranga baatuwanga emmere emirundi essatu olunaku, so ng’ate bo baalyanga omulundi gumu gwokka. Abamu baatusuzanga ku kitanda kyabwe, bo ne basalawo okusula wansi. Mukyala wange yateranga okugamba nti, “Ab’oluganda bano bannyambye okukiraba nti twetaaga ebintu bitono nnyo mu bulamu.”

“Tetuyinza Kugaana Nkizo Yonna”

Mu 1960, waliwo ekintu ekirala ekirungi kye twafuna​—twayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi mu Guayaquil. Nze nnalina emirimu gye nnali nkola ku ttabi, ate nga ye Edith agenda okubuulira awamu n’ekibiina ekyali okumpi n’ettabi. Nnali sirowooza nti nsobola okukola emirimu gya ofiisi kubanga nnali mpulira nga sirina bumanyirivu. Naye nga Abebbulaniya 13:21 bwe walaga, Katonda atuwa “buli kintu ekirungi okusobola okukola by’ayagala.” Nga waakayita emyaka ebiri, nnayitibwa okugenda ku Beseri mu Brooklyn, New York okutendekebwa okumala emyezi kkumi. Mu kiseera ekyo, abakyala baasigalanga ng’abaami baabwe bagenze okutendekebwa. Mukyala wange yafuna ebbaluwa okuva e Brooklyn. Baamubuuza obanga yali asobola okukkiriza omwami we okumulekawo okumala emyezi kkumi.

Edith yawandiika ebbaluwa n’abaddamu nti: “Nkimanyi nti kino kye kintu ekikyasinzeeyo okumbeerera ekizibu okusalawo, naye ndi mukakafu nti Yakuwa asobola okutuyamba okuyita mu mbeera enzibu yonna. . . . Tetuyinza kugaana nkizo yonna gy’aba atuwadde oba omukisa gwonna gw’aba atuwadde okutusobozesa okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwaffe.” ­Ekiseera ­kyonna kye nnamala e Brooklyn, mukyala wange yampandiikiranga ebbaluwa buli wiiki.

Okukolera Awamu ne Bakkiriza Bannaffe Abeesigwa

Mu 1966, olw’okuba nnafuna obulwadde obw’amaanyi, twaddayo e Quito ne tuddamu okuweereza ng’abaminsani awamu n’ab’oluganda ab’omu kitundu ekyo. Ab’oluganda abo baali beesigwa nnyo!

Waaliwo mwannyinaffe omwesigwa eyalina omwami ataali mukkiriza, eyateranga okumukuba. Lumu awo nga ku ssaawa 12 ez’oku makya, waliwo omuntu eyajja ewaffe n’atugamba nti mwannyinaffe oyo omwami we yali amukubye. Nnasitukiramu ne ŋŋenda ewa mwannyinaffe oyo. Bwe nnamukubako eriiso, enviiri zanva ku mutwe. Yali agalamidde ku buliri nga yenna azimbye. Omwami we yali amukubye ng’akozesa ekiti ky’olweeyo okutuusa lwe kyamenyekamu. Bwe nnaddayo akawungeezi, nnasangayo omwami we ne mugamba nti ekikolwa kye yali akoze kyali kya butiitiizi. Yeetonda nnyo.

Ng’emyaka gya 1970 gyakatandika, embeera y’obulamu bwange yali erongooseemuko, bwe kityo twaddamu okukyalira ebibiina. Ekibuga Ibarra kye kimu ku bifo ebyali mu kitundu kye twakyaliranga. Ku mulundi gwe twasooka okugenda mu kibuga ekyo ng’emyaka gya 1950 ginaatera okuggwaako, waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa babiri bokka, omuminsani n’ow’oluganda enzaalwa y’omu kitundu ekyo. Bwe kityo, twali twesunga okulaba ku bantu abapya abaali beegasse ku kibiina.

Mu lukuŋŋaana lwaffe olwasooka nga tutuuseeyo, Ow’oluganda Rodrigo Vaca alina ekitundu kye yakubiriza ekyalimu okukubaganya ebirowoozo. Buli lwe yabuuzanga ekibuuzo, ng’ab’oluganda bagamba nti “Yo, yo!” (“Nze, nze!”) mu kifo ky’okuwanika emikono. Nze ne Edith buli omu yatunula ku munne nga tusobeddwa. Nneebuuza, ‘Kiki ekigenda mu maaso?’ Oluvannyuma twakitegeera nti Ow’oluganda Vaca yali muzibe w’amaaso naye yali asobola okutegeera amaloboozi g’ab’oluganda mu kibiina. Ow’oluganda oyo musumba ategeera obulungi endiga ze! Kino kyanzijjukiza ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 10:3, 4, 14 ebikwata ku Musumba Omulungi amanyi obulungi endiga ze era nga nazo zimumanyi bulungi. Leero ekibuga Ibarra kirimu ebibiina mukaaga ebyogera Olusipanisi, ekibiina kimu ekyogera Olukwicwa, n’ekibiina ekikozesa olulimi lwa bakiggala. N’okutuusa leero, Ow’oluganda Vaca akyaweereza ng’omukadde era nga payoniya ow’enjawulo. *

Twebaza Yakuwa olw’Obulungi Bwe

Mu 1974 Yakuwa yeeyongera okwoleka obulungi bwe gye tuli bwe twayitibwa okuddamu okuweereza ku Beseri. Oluvannyuma lw’ekiseera nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Edith yasookera mu ffumbiro, oluvannyuma n’atandika okukola emirimu gya ofiisi ng’akola ku mabaluwa. N’okutuusa leero, akyakola emirimu egyo.

Mu myaka gino gyonna gye tumaze nga tuweereza, tufunye omukisa okwaniriza ebikumi n’ebikumi by’abaminsani abayambye ab’oluganda mu bibiina okukulaakulana n’okuba abanyiikivu. Era waliwo ab’oluganda bangi ne bannyinaffe okuva mu nsi ezisukka mu 30 abazze okuweereza naffe mu Ecuador abatuzizzaamu ennyo amaanyi. Boolese omwoyo ogw’okwefiiriza! Abamu baatunda amayumba gaabwe ne bizineesi zaabwe okusobola okujja okuweereza mu bitundu omuli obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Baagula emmotoka okusobola okubuulira mu bitundu ebyesudde, baatandikawo ebibiina, era baayambako mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Bannyinaffe bangi abali obwannamunigina bavudde mu nsi ezitali zimu ne bajja okuweereza nga bapayoniya​—bannyinaffe bano boolese obunyiikivu obw’ekitalo!

Mu butuufu nfunye ebintu ebirungi bingi mu myaka gye mmaze nga mpeereza Katonda. Ekisinga obukulu ku byo ye nkolagana ey’okulusegere gye nnina ne Yakuwa. Era ndi musanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa yampa “omubeezi.” (Lub. 2:18) Bwe ndowooza ku myaka 69 gye mmaze ne mukyala wange, ekyo kinzijukiza ebigambo ebiri mu Engero 18:22, awagamba nti: “Alaba omukazi [omulungi] okumufumbirwa alaba ekirungi.” Emyaka gino gyonna gye mmaze nga ndi ne Edith, anzizizzaamu nnyo amaanyi. Annyambye mu ngeri ezitali zimu. Ate era yayoleka okwagala okw’amaanyi eri maama we. Okuva lwe twatuuka mu Ecuador, mukyala wange yaweerezanga nnyina ebbaluwa buli wiiki okutuusa nnyina lwe yafa mu 1990, nga wa myaka 97.

Kati nnina emyaka 90 ate ye Edith alina emyaka 89. Tufunye essanyu lingi okuyamba abantu nga 70 okutegeera Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo okuba nti twajjuza foomu z’Essomero lya Gireyaadi emyaka 60 egiyise. Ekyo kye twasalawo okukola kituviiriddemu ebintu ebirungi bingi.

[Obugambo obuli wansi]

^ Ebyafaayo by’Ow’oluganda Vaca, byafulumira mu Awake! eya Ssebutemba 8, 1985.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Mu 1958, nga tuli mu kisaawe ky’e Yankee mu New York n’abaminsani be twali nabo mu Ssomero lya Gireyaadi

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Nga tuliko amaka ge tukyalidde, bwe twali tukyalira ebibiina mu 1959

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Nga tuli ku ttabi mu Ecuador, mu 2002