Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusigala nga Tuli Beesigwa mu Nsi Omutali Bwesigwa

Okusigala nga Tuli Beesigwa mu Nsi Omutali Bwesigwa

Okusigala nga Tuli Beesigwa mu Nsi Omutali Bwesigwa

OBUTALI bwesigwa bubunye buli wamu ng’empewo gye tussa. Abantu balimba, baseera, babba, tebasasula mabanja, era beewaana olw’ebikolwa byabwe eby’obukumpanya. Okubeera mu bantu ng’abo kiyinza okutulemesa okusigala nga tuli beesigwa. Tuyinza tutya okusigala nga tuli beesigwa? Ka tulabeyo ebintu bisatu ebisobola okutuyamba: Okutya Yakuwa, omuntu ow’omunda omulungi, n’okuba abamativu.

Okutya Yakuwa

Nnabbi Isaaya yawandiika nti: “Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w’amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe.” (Is. 33:22) Okutegeera ekifo Yakuwa ky’alina kituleetera okumutya​—ekintu ekituyamba okufuba okuba abeesigwa. Engero 16:6 wagamba: “Okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.” Okutya okwogerwako wano si kwekwo kwe tuba nakwo olw’okutya okubonerezebwa Katonda, naye kwekwo kwe tuba nakwo olw’obutayagala kunyiiza Kitaffe ow’omu ggulu, oyo atufaako ennyo.​—1 Peet. 3:12.

Waliwo ekyokulabirako ekituyamba okulaba engeri okutya Katonda gye kituganyulamu. Ricardo ne mukyala we, Fernanda, baagenda mu bbanka okuggyayo ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 700. * Fernanda bwe baamukwasa ssente yaziteeka buteesi mu kasawo ke nga tasoose kuzibalamu. Bwe baatuuka awaka kyabeewuunyisa okulaba nga mu kasawo ka Fernanda mwalimu kumpi ssente z’ezimu ng’ezo ze baali baggye mu bbanka kyokka ng’ate ssente ezo baali bamaze okuzitoolako ne babaako amabanja ge basasula. Baagamba nti, “Kirabika bbanka yatuwadde ssente nnyingi okusinga ku ezo ze twasabye.” Mu kusooka baalowooza ku ky’obutazzaayo ssente ezaali ziyiseemu, kubanga baalina amabanja mangi ag’okusasula. Ricardo agamba nti: “Twasaba Yakuwa atuyambe okufuna obuvumu okuzzaayo ssente ezo. Olw’okuba twali twagala okumusanyusa nga bw’atukubiriza mu Engero 27:11, twasalawo okuzzaayo ssente ezo.”

Omuntu ow’Omunda Omulungi

Tusobola okutendeka omuntu waffe ow’omunda nga twesomesa Bayibuli era ne tufuba okukolera ku ebyo bye tuyiga. Bwe tukola bwe tutyo, ‘ekigambo kya Katonda ekiramu era eky’amaanyi,’ kijja kutuuka ku birowoozo byaffe n’omutima gwaffe. Kino kijja kutukubiriza “okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Beb. 4:12; 13:18.

Lowooza ku João. Yeewola ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 5,000. Kyokka, olw’okuba yali tayagala kusasula bbanja eryo, yasalawo okusengukira mu kibuga ekirala. Nga wayise emyaka munaana, João yayiga amazima, era omuntu we ow’omunda eyali atendekeddwa Bayibuli yamukubiriza okuddayo eri oyo eyali yamuwola ssente amusasule! Olw’okuba omulimu João gwe yali akola gwali gumusasula ssente ntono ate ng’alina omukyala n’abaana bana ab’okulabirira, oyo eyamuwola ssente yamukkiriza amusasule mpolampola okutuusa lwe yandizimazeeyo.

Okuba Abamativu

Omutume Pawulo yawandiika nti: “Okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba. . . . Bwe tunaaba n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Tim. 6:6-8) Okufumiitiriza ku bigambo ebyo kijja kutuyamba okwewala ebikolwa eby’obukumpanya nga tukola bizineesi awamu n’omwoyo ogw’okwagala okugaggawala amangu. (Nge. 28:20) Ate era okukolera ku bigambo bya Pawulo ebyo kijja kutuyamba okukulembeza Obwakabaka nga tuli bakakafu nti Katonda ajja kukola ku byetaago byaffe.​—Mat. 6:25-34.

Kyokka, okuva bwe kiri nti ‘obugagga bulimba,’ tetusaanidde kulowooza nti ffe tetusobola kutwalirizibwa mwoyo ogw’okululunkanira ebintu. (Mat. 13:22) Jjukira ekyo ekyatuuka ku Akani. Yali omu ku Baisiraeri abaayita mu Mugga Yoludaani mu ngeri ey’ekyamagero. Wadde kyali kityo, olw’okuba yalina omululu, Akani yabba ffeeza, zaabu, n’ekyambalo ku munyago ogw’omu kibuga Yeriko. Kino kyamuviirako okufiirwa obulamu bwe. (Yos. 7:1, 20-26) N’olwekyo tekyewuunyisa nti nga wayiseewo enkumi n’enkumi z’emyaka, Yesu yagamba nti: “Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri”!​—Luk. 12:15.

Okuba Abeesigwa ku Mirimu

Kati ka twetegerezeeyo ezimu ku mbeera eziyinza okutulemesa okuba abeesigwa mu bintu byonna. Okubeera omwesigwa ku mulimu kizingiramu okwewala ‘okubba’​—wadde ng’abantu abasinga obungi babba. (Tit. 2:9, 10) Jurandir, akolera mu kitongole kya gavumenti ekimu, yayoleka obwesigwa ng’ayogera ssente entuufu ze yabanga asaasanyizza ku ntambula. Kyokka bakozi banne bo baasabanga ssente nnyingi okusinga ku ezo ze baabanga bakozesezza. Ekyo baakikolanga olw’okuba mukama waabwe yattiranga ku liiso abakozi abataali beesigwa. Mukama waabwe oyo, yatuuka n’okuvumirira Jurandir olw’okuba omwesigwa era n’alekera awo okumutumanga okugenda okukola emirimu gy’ekitongole ekyo. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera ebitabo by’ekitongole ekyo byabalirirwa era Jurandir yasiimibwa nnyo olw’okubeera omukozi omwesigwa, bw’atyo n’akuzibwa ku mulimu.

André, akola nga kitunzi wa kampuni emu, mukama we yamulagira okuggya ku bakasitoma ssente ezikubisaamu emirundi ebiri ezo ze baalina okusasula olw’okuddukanya akawunta zaabwe. Muganda waffe oyo yasaba Yakuwa amuyambe okuba omuvumu asobole okunywerera ku misingi gya Bayibuli. (Zab. 145:18-20) Yagezaako n’okunnyonnyola mukama we ensonga lwaki yali tasobola kukolera ku ekyo kye yali amugambye​—naye Mukama we nga tamuwuliriza. André yasalawo okuleka omulimu ogwo wadde nga gwali gumusasula bulungi. Kyokka, nga waakayita omwaka gumu gwokka, mukama we yamuyita akomewo ku mulimu era n’amukakasa nti bakasitoma baabwe baali tebakyaggibwako ssente nnyingi kusukka ezo ze baalina kusasula. André yakuzibwa ku mulimu n’afuuka maneja.

Sasula Amabanja

Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo banne nti: “Temubanga na bbanja eri omuntu yenna.” (Bar. 13:8) Bwe tuba twewoze ssente ku muntu omugagga, oluusi tuyinza okulowooza nti tewaba mutawaana ne bwe tutamusasula okuva bwe kiri nti alina ssente nnyingi. Kyokka Bayibuli egamba nti: “Omubi yeewola, n’atasasula.”​—Zab. 37:21.

Ate kiri kitya singa ‘ebintu ebigwawo obugwi’ bituleetera okulemererwa okusasula oyo aba yatuwola? (Mub. 9:11) Francisco yeewola ku Alfredo ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 7,000. Naye olw’okuba bizineesi ya Francisco yagootaana, yalemererwa okusasula ssente ezo mu budde. Yagenda ewa Alfredo n’amunnyonnyola obuzibu bwe yali afunye, era Alfredo yamukkiriza amusasule mpolampola.

Weewale Okuwa Abalala Ekifaananyi Ekitali Kituufu

Lowooza ku kyokulabirako ekibi ekya Ananiya ne Safira, abafumbo abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Oluvannyuma lw’okutunda ennimiro yaabwe, baakwekako ssente ezimu, ezaasigalawo ne bazireetera abatume ate ne bagamba nti zonna baali bazireese. Baali baagala okuwa abalala ekifaananyi nti baali bagabi nnyo. Kyokka omutume Peetero, ng’aliko omwoyo gwa Katonda, yayanika obulimba bwabwe, era Yakuwa n’abatta.​—Bik. 5:1-11.

Obutafaananako Ananiya ne Safira abataali beesigwa, abawandiisi ba Bayibuli bo baali beesimbu era nga beesigwa. Musa, mu bwesimbu, yawandiika ku bunafu bwe yayoleka bwe yalemererwa okufuga obusungu bwe ekyamuviirako okugaanibwa okuyingira mu Nsi Ensuubize. (Kubal. 20:7-13) Mu ngeri y’emu, Yona teyakweka bunafu bwe yayoleka bwe yali tannagenda kubuulira bantu b’e Nineeve ne bwe yali amaze okubabuulira. Mu kifo ky’ekyo, yabuwandiikako.​—Yon. 1:1-3; 4:1-3.

Awatali kubuusabuusa, kyetaagisa okuba omuvumu okusobola okwogera amazima ne bwe kiba nga kirina kye kiyinza okutufiiriza. Lowooza ku kyokulabirako kya Nathalia omuwala ow’emyaka 14. Bwe yali yeetegereza olupapula lwe lwe baali bamaze okugolola, yakizuula nti omusomesa we yali amugolodde ekintu ekitaali kituufu. Nathalia yasalawo okubuulira omusomesa we, wadde nga yali akimanyi nti ekyo kyandimuleetedde okufiirwa obubonero. Yagamba nti, “Nkuze bazadde bange bankubiriza okuba omwesigwa nsobole okusanyusa Yakuwa. Omuntu wange ow’omunda yandinnumirizza singa ekyo nnali sikibuulidde musomesa wange.” Omusomesa yasiima nnyo Nathalia olw’okubeera omwesigwa.

Obwesigwa​—Engeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa

Omuwala ow’emyaka 17 ayitibwa Giselle, yalonda akasawo akaalimu ebiwandiiko awamu ne ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 35. Akasawo ako yakatwalira abakulu b’essomero bazuule nnannyini ko. Nga wayise omwezi gumu, omumyuka w’omukulu w’essomero yasoma ebbaluwa mu maaso g’abaana bonna eyali yeebaza Giselle olw’okubeera omwesiga era ng’esiima bazadde be olw’okumutendeka obulungi n’okumukulizaamu eddiini. ‘Ebikolwa bye ebirungi’ byaweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Mat. 5:14-16.

Kyetaagisa okufuba okw’amaanyi okusobola okusigala nga tuli beesigwa mu nsi eno omuli abantu ‘abeeyagala bokka, abaagala ennyo ssente, abeepanka, ab’amalala, n’abatali beesigwa.’ (2 Tim. 3:2) Wadde kiri kityo, okutya Yakuwa, okuba n’omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli, era n’okuba abamativu, kijja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa mu nsi eno omuli abantu abatali beesigwa. Ate era kijja kutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa, Katonda ‘omutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu.’​—Zab. 11:7.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Okutya Yakuwa kituyamba okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Bwe tubeera abeesigwa tuweesa Yakuwa ekitiibwa