Okyajjukira?
Okyajjukira?
Wanyumirwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Abakristaayo ab’amazima erinnya lya Katonda balitwala ng’ekintu eky’okwekuumisa?
Abantu abamu balina ebintu bye batwala okuba nti bisobola okubawa obukuumi mu ngeri ey’ekyamagero, naye bo abantu ba Katonda si bwe batyo bwe batwala erinnya lya Katonda. Beesiga Yakuwa era bafuba okukola by’ayagala, mu ngeri eyo ne bafuula erinnya lye ekiddukiro kyabwe. (Zef. 3:12, 13)—1/15, olupapula 5-6.
• Lwaki Yakuwa yaggyako Kabaka Sawulo obwakabaka?
Sawulo yali alina okulinda nnabbi wa Katonda ajje aweeyo ssaddaaka, naye yajeema, ne yeetulinkiriza n’awaayo ssaddaaka. Oluvannyuma yagaana okugondera ekiragiro kya Katonda eky’okuzikiriza abalabe b’abantu be bonna.—2/15, olupapula 22-23.
• Tuyinza tutya okulaga nti tukyawa obujeemu?
Nga twewala okufugibwa omwenge, nga twewala eby’obusamize, era nga tukolera ku kulabula kwa Yesu okukwata ku kwewala ebintu eby’obugwenyufu. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu era n’endowooza enkyamu eziva mu kubiraba. (Mat. 5:27, 28) Era tusaanidde okwewala okukolagana n’abo ababa bagobeddwa mu kibiina.—2/15, olupapula 29-32.
• Mu ngeri ki Yeremiya gye yali ng’omuti “ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo”? (Yer. 17:7, 8)
Teyalekera awo kubala bibala; era teyakkiriza basekerezi kumumalamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, yanywerera ku Nsibuko y’amazzi ag’obulamu, ng’assaayo omwoyo ku bintu Katonda bye yamugambanga.—3/15, olupapula 14.
• Ebintu “ebyegombebwa” ebikuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga gonna bye biruwa? (Kag. 2:7)
Bano be bantu abaweereza Yakuwa olw’okuba bamwagala wadde nga tebatuukiridde. (Nge. 27:11) Abantu abo be boogerwako nga “ebyegombebwa” ebimuweesa ekitiibwa, era baasiima ennyo olw’okumwemalirako n’okumuweereza n’obunyiikivu.— 4/1, olupapula 11.
• Kiki ekyafuula Danyeri okuba ‘omwagalwa nnyo’ mu maaso ga Yakuwa? (Dan. 10:11, 19)
Danyeri yali munyiikivu mu kusoma Ebyawandiikibwa. (Dan. 9:2) Yanyiikiriranga nnyo okusaba. (Dan. 2:17, 18) Yafangayo nnyo ku kugulumizibwa kw’erinnya lya Yakuwa. (Dan. 2:20, 28; 9:19.)—4/1, olupapula 12-13.
• Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuba n’empisa ennungi?
Abazadde basaanidde okunnyonnyola abaana baabwe emitindo gy’empisa bo kwe batambulira. Basaanidde okwogera n’abaana baabwe ku nsonga ezikwata ku by’okwetaba. Ate era beetaaga okubayamba okumanya akabi akava mu butagoberera mitindo gya Yakuwa egy’empisa.—4/1, olupapula 19-20.
• Egimu ku misingi egy’omu Bayibuli egiyinza okutuyamba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku kukuba zzaala gye giruwa? (Bef. 5:17)
Mu maaso ga Katonda okukkiririza mu lukisakisa kuba kusinza bifaananyi. (Is. 65:11) Yakuwa akubiriza abaweereza be okwewala okwegomba. (Kuv. 20:17; Bar. 7:7) Abaweereza ba Katonda ssente ze bafuna baba bazikoleredde. (Bef. 4:28; 2 Bas. 3:10, 12)—4/1, olupapula 22-23.
• Ebigambo bya Yobu ebiri mu Yobu 14:13-15 bituyigiriza ki ku Yakuwa?
Yakuwa alina enkolagana ey’enjawulo n’abantu abeeteeka mu mikono gye ne bamukkiriza ababumbe bafuuke abantu abasiimibwa mu maaso ge. (Is. 64:8)—4/1, olupapula 31.
• Nnabbi Samwiri ‘yakola atya eby’obutuukirivu’? (Beb. 11:32, 33)
Samwiri yayamba abantu okukola ebintu ebirungi era ebisiimibwa mu maaso ga Katonda. Kino yasobola okukikola kubanga yalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza, ng’akola omulimu gwe n’obwesigwa wadde nga waaliwo ebintu ebyamumalangamu amaanyi.—4/1, olupapula 27.