Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olaba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi?

Olaba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi?

Olaba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi?

ABAISIRAERI baali tebalabangako kintu nga kino era n’Abamisiri baali tebakirabangako. Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri, waliwo empagi ey’ekire eyayimiriranga mu maaso gaabwe buli lunaku. Ekiro yafuukanga mpagi ya muliro. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyabawuniikirizanga nnyo! Naye empagi eyo yava wa? Lwaki yateekebwawo? Era kati nga wayise emyaka nga 3,500, kiki kye tuyigira ku ngeri Abaisiraeri gye baatwalangamu ‘empagi ey’omuliro n’ekire’?​—Kuv. 14:24.

Ekigambo kya Katonda kiraga wa empagi eyo gye yava n’ensonga lwaki yateekebwawo, nga kigamba nti: “Mukama n’agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey’ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey’omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n’ekiro.” (Kuv. 13:21, 22) Yakuwa Katonda yakozesa empagi ey’omuliro n’ekire okukulembera abantu be okuva e Misiri n’okubayisa mu ddungu. Baali balina okuba abeetegefu okugigoberera. Eggye ly’Abamisiri bwe lyali liwondera abantu ba Katonda era nga linaatera okubatuukako, empagi eyo yayimirira wakati w’Abaisiraeri n’Abamisiri, okusobola okukuma Abaisiraeri. (Kuv. 14:19, 20) Wadde ng’empagi eyo teyabayisa mu kkubo eryali lisingayo okuba ery’okumpi, baali balina okugigoberera okusobola okutuuka mu Nsi Ensuubize.

Empagi eyo yalaganga abantu ba Katonda nti Yakuwa yali wamu nabo. Yali ekiikirira Yakuwa, era ebiseera ebimu eddoboozi lye lyawulikikanga nga liva mu mpagi eyo. (Kubal. 14:14; Zab. 99:7) Era ekire ekyo kyalaga nti Musa y’oyo Yakuwa gwe yali alonze okukulembera eggwanga lya Isiraeri. (Kuv. 33:9) Ekire ekyo kyasembayo okwogerwako nga Yakuwa akakasa nti yali alonze Yoswa okudda mu bigere bya Musa. (Ma. 31:14, 15) Mu butuufu, olugendo lwabwe okusobola okubagendera obulungi, Abaisiraeri baalina okukiraba nti Katonda yali abawa obulagirizi era ne bafuba okubugoberera.

Baabuusa Amaaso Obukakafu Obwali Bulaga nti Katonda Yali Abawa Obulagirizi

Abaisiraeri bwe baalaba empagi eyo omulundi ogwasooka, bateekwa okuba nga baawuniikirira nnyo. Eky’ennaku kiri nti, wadde nga baalabanga ekyamagero ekyo buli lunaku, tekyabayamba kuteeka bwesige bwabwe bwonna mu Yakuwa. Emirundi mingi baagaana okugoberera obulagirizi bwa Katonda. Eggye ly’Abamisiri bwe lyali libawondera, Abaisiraeri baakiraga nti baali tebakkiriza nti Yakuwa yali asobola okubalokola. Baatuuka n’okunenya Musa, omuweereza wa Katonda, nti yali abaleese bafiire mu ddungu. (Kuv. 14:10-12) Nga bamaze okuyita mu Nnyanja Emmyufu, beemulugunya ku Musa, Alooni, ne Yakuwa nga bagamba nti baali tebalina mere wadde amazzi. (Kuv. 15:22-24; 16:1-3; 17:1-3, 7) Era nga waakayita wiiki ntono, baapikiriza Alooni abakolere ennyana eya zaabu. Kirowoozeeko! Ku luuyi olumu Abaisiraeri baali balaba empagi ey’omuliro n’ekire​—obukakafu obwali bulaga nti Katonda eyabaggya mu Misiri yali wamu nabo​—kyokka nga ku luuyi olulala bataddewo ennyana eya zaabu nga bali mu kugisinza nga bagamba nti: “Isiraeri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi y’e Misiri.” Ng’ebyo bye baakola byali ‘binyiiza nnyo’!​—Kuv. 32:4, NW; Nek. 9:18.

Ebikolwa by’Abaisiraeri eby’obujeemu byalaga nti baali tebatwala bulagirizi Yakuwa bwe yali abawa ng’ekintu ekikulu. Tekiri nti Abaisiraeri baali tebalaba mpagi eyo naye baali beerabidde nti empagi eyo yali eraga nti Yakuwa yali abawa obulagirizi era nti baalina okubugoberera. Wadde ng’ebikolwa byabwe ‘byanyiiza Omutukuvu wa Isiraeri,’ Yakuwa yeeyongera okubawa obulagirizi ng’akozesa empagi okutuusa lwe batuuka mu Nsi Ensuubize.​—Zab. 78:40-42, 52-54; Nek. 9:19.

Laba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi Leero

Mu ngeri y’emu, ne leero Yakuwa awa abantu be obulagirizi. Nga bwe yali tasuubira Baisiraeri kwenoonyeza kkubo lyandibatuusizza mu Nsi Ensuubize, naffe tatusuubira kwenoonyeza kkubo erinaatutuusa mu nsi empya gye yasuubiza. Yesu Kristo ye Mukulembeze gw’alonze okukulembera ekibiina. (Mat. 23:10; Bef. 5:23) Yesu akozesa omuddu omwesigwa, ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta okukulembera ekibiina. Ekibiina ky’omuddu, nakyo kironda abalabirizi okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo.​—Mat. 24:45-47; Tit. 1:5-9.

Tuyinza tutya okutegeera ekibiina ky’omuddu omwesigwa, oba ekibiina ky’omuwanika? Weetegereze ekyo Yesu kye yagamba: “Ani muwanika omwesigwa era ow’amagezi, mukama we gw’alisigira abaweereza be okubawanga emmere ebamala mu kiseera ekituufu? Alina essanyu omuddu oyo mukama we bw’akomawo n’amusanga ng’akola bw’atyo!”​—Luk. 12:42, 43.

Ebigambo ebyo biraga nti, ekibiina ky’omuwanika ‘kyesigwa,’ tekiyinza kuva ku Yakuwa, ku Yesu, ku mazima ag’omu Bayibuli, wadde okwabulira abantu ba Katonda. Era olw’okuba ekibiina ky’omuwanika kya ‘magezi’ kisobola okuwa obulagirizi obulungi ennyo ku ngeri omulimu omukulu ogw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ n’okufuula “abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa” gye gulina okukolebwamu. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Ekibiina ky’omuwanika kigondera Yesu nga kiwa abantu be yakikwasa emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu.” Eky’okuba nti Yakuwa asiima ekibiina ky’omuwanika kyeyolekera mu ky’okuba nti omuwendo gw’Abakristaayo ab’amazima gweyongera buli lukya, ayambye abantu be okusalawo obulungi ku nsonga ezitali zimu, abayambye okutegeera obulungi amazima agali mu Bayibuli, abakuumye ne batamalibwawo balabe baabwe, era abasobozesezza okuba n’emirembe mu mutima.​—Is. 54:17; Baf. 4:7.

Kkiriza Obulagirizi Katonda bw’Atuwa

Tuyinza tutya okulaga nti tukkiriza obulagirizi Katonda bw’atuwa? Omutume Pawulo yagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.” (Beb. 13:17) Kino oluusi tekiba kyangu. Okugeza: Kuba akafaananyi ng’oli omu ku Baisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Musa. Oluvannyuma lw’okumala ennaku eziwerako nga mutambula, empagi eyimirira. Eneemalawo bbanga ki? Lunaku lumu? Wiiki emu? Oba myezi egiwerako? Otandika okwebuuza, ‘Nsumulule emigugu gyange gyonna?’ Mu kusooka, oyinza okuggyamu ebintu ebitonotono bye weetaaga okukozesa. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, okoowa okukeberanga mu migugu gyo ng’oliko by’onoonya, era osalawo okugisumulula gyonna. Naye oba omaliriza bw’oti okugisumulula, ogenda okulaba ng’ekire kitandika okutambula​—era nga kikwetaagisa okuddamu okugisiba! Ekyo tekiba kyangu kukola era kiyinza n’okukukaluubirira. Wadde kyali kityo, Abaisiraeri baalinanga okusitula amangu ago ‘ne batambula.’​—Kubal. 9:17-22.

Tweyisa tutya singa waliwo obulagirizi Katonda bw’atuwadde? Tufuba okubukolerako ‘mu bwangu ddala nga bwe kisoboka,’ oba tugenda mu maaso okukola ebintu nga bwe tubadde tubikola? Tufuba okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ku bintu, gamba ng’okuyigiriza abantu Bayibuli, okubuulira abantu aboogera olulimi olugwira, okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, okukolagana n’Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro, ne ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tugenze mu nkuŋŋaana zaffe ennene? Tulaga nti tukkiriza obulagirizi Katonda bw’atuwa nga tukolera ku magezi agatuweebwa. Bwe tubaako ebintu ebikulu bye tusalawo, tetukolera ku magezi gaffe naye tugoberera amagezi agava eri Yakuwa awamu n’ekibiina kye. Ng’omwana omuto bw’addukira eri bazadde be okusobola okufuna obukuumi nga waliwo obuzibu, naffe tuddukira mu kibiina kya Yakuwa nga tufunye ebizibu.

Kya lwatu nti, okufaananako Musa, abo abatwala obukulembeze mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda tebatuukiridde. Wadde nga Musa yali tatuukiridde, empagi yalaganga nti ye musajja Katonda gwe yali alonze era gwe yali asiima. Weetegereze nti Abaisiraeri si be beesalirangawo ddi lwe baalinanga okutandika okutambula. Mu kifo ky’ekyo, baalinanga okukolera ku ‘kiragiro kya Yakuwa mu mukono gwa Musa.’ (Kubal. 9:23) Bwe kityo Musa, oyo Katonda gwe yayitirangamu okuwa abantu be obulagirizi, alabika ye yabalaganga nti ekiseera kituuse okusitula.

Leero, ekibiina ky’omuwanika nakyo kitulaga ddi lwe tusaanidde okusitula. Kino omuwanika akikola atya? Akikola okuyitira mu bitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, okuyitira mu bitabo, n’okuyitira mu mboozi ze tufuna mu nkuŋŋaana ennene. Ate era awa ebibiina obulagirizi okuyitira mu balabirizi abatambula, okuyitira mu mabaluwa, n’okuyitira mu masomero agatendeka ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina.

Olaba obukakafu obulaga nti Katonda awa abantu be obulagirizi? Yakuwa akozesa ekibiina kye okuwa abantu be obulagirizi basobole okuyita mu ‘ddungu’ ery’ennaku zino ez’oluvannyuma ez’ensi ya Sitaani. Ekyo kitusobozesezza, okuba obumu, okuba nga twagalana, era n’okuba n’obukuumi.

Abaisiraeri bwe batuuka mu Nsi Ensuubize, Yoswa yabagamba nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde.” (Yos. 23:14) Mu ngeri y’emu, ekisuubizo kya Katonda eky’okutuusa abantu be mu nsi empya tekijja kulema kutuukirira. Kyokka, kikulu nnyo okugondera obulagirizi bwa Katonda bwe tuba ab’okutuuka mu nsi empya. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okulaba obukakafu obulaga nti katonda awa abantu be obulagirizi!

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Leero Yakuwa atuwa obulagirizi ng’ayitira mu kibiina kye

Ebitabo ebifulumizibwa

Amasomero agategekebwa

Olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira