Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

‘Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!’

“Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nga tenoonyezeka, n’amakubo ge nga tegazuulika!”​—BAR. 11:33.

1. Kintu ki Abakristaayo ababatize kye basinga okutwala ng’eky’omuwendo?

 KINTU ki ekisingayo okuba eky’omuwendo kye wali ofunye? Oboolyawo oyinza okuba ng’osoose kulowooza ku buvunaanyizibwa bwe waweebwa mu kibiina oba ku kirabo kye wafuna ku ssomero oba ku mulimu. Naye ng’Abakristaayo ababatize, ekintu kye tusinga okutwala ng’eky’omuwendo ye nkolagana ey’okulusegere gye tulina ne Katonda ow’amazima, Yakuwa. Ekyo kituviiriddeko ‘okumanyibwa Katonda.’​—1 Kol. 8:3; Gal. 4:9.

2. Lwaki okuba nti tumanyi Yakuwa era nga naye atumanyi nkizo ya maanyi?

2 Lwaki okuba nti tumanyi Yakuwa era nga naye atumanyi nkizo ya maanyi? Kubanga Yakuwa y’asingayo okuba owa waggulu ennyo era akuuma abo abamwagala. Nnabbi Nakkumu yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw’okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.” (Nak. 1:7; Zab. 1:6) Mu butuufu, okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo tulina okumanya Katonda ow’amazima n’Omwana we, Yesu Kristo.​—Yok. 17:3.

3. Biki ebizingirwa mu kumanya Katonda?

3 Okumanya Katonda kisingawo ku kumanya obumanya erinnya lye. Tulina okumutwala nga Mukwano gwaffe, era n’okutegeera by’ayagala ne by’atayagala. Bwe tukolera ku kumanya okwo mu bulamu bwaffe kiba kiraga nti Katonda tumumanyi bulungi. (1 Yok. 2:4) Naye waliwo ekintu ekirala ekyetaagisa bwe tuba twagala okumanya obulungi Katonda. Twetaaga okumanya ebyo by’akoze, engeri gy’abikozeemu, n’ensonga lwaki abikoze. Gye tukoma okutegeera ebigendererwa bya Yakuwa, gye tukoma okwewuunya ‘amagezi ga Katonda ag’ebuziba.’​—Bar. 11:33.

Katonda ow’Ekigendererwa

4, 5. (a) Nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, ekigambo ‘ekigendererwa’ kitegeeza ki? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ekigendererwa gye kisobola okutuukibwako mu ngeri ezisukka mu emu.

4 Yakuwa ye Katonda ow’ekigendererwa, era Bayibuli eyogera ku “kigendererwa kye eky’olubeerera.” (Bef. 3:10, 11) Ebigambo bino bitegeeza ki? Nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, ekigambo ‘ekigendererwa’ kitegeeza okuba n’ekiruubirirwa naye nga waliwo engeri ezisukka mu emu ekiruubirirwa ekyo gye kisobola okutuukibwako.

5 Ng’ekyokulabirako: Omuntu ayinza okuba ng’aliko ekifo gy’ayagala okugenda. Okutuuka mu kifo ekyo kye kiba ekiruubirirwa kye, oba ekigendererwa kye. Okusobola okutuukayo, ayinza okukozesa entambula ez’enjawulo oba amakubo ag’enjawulo. Bw’aba mu kkubo ly’asazeewo okukozesa ng’agenda, ayinza okusanga ng’ekkubo eryo lyonoonese olw’embeera y’obudde, ayinza okusanga akalippagano k’ebidduka, oba okusanga ng’ekkubo eryo ligaddwa, ne kiba nga kimwetaagisa okukwata ekkubo eddala. Ka kibe nga kimwetaagisa kukola nkyukakyuka ki mu lugendo lwe, ku nkomerero ya byonna atuuka gy’alaga, bw’atyo n’aba ng’atuuse ku kiruubirirwa kye.

6. Yakuwa akiraze atya nti mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye?

6 Mu ngeri y’emu Yakuwa Katonda akoze enkyukakyuka ezitali zimu okusobola okulaba nti ekigendererwa kye eky’olubeerera kituukirira. Okuva bwe kiri nti yawa ebitonde bye ebitegeera eddembe ly’okwesalirawo, mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. Ng’ekyokulabirako, ka tulabe engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekigendererwa kye ekikwata ku Zzadde eryasuubizibwa. Yakuwa yagamba bazadde baffe abaasooka nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Lub. 1:28) Ekigendererwa kya Katonda ekyo kyagwa butaka oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda mu lusuku Adeni? N’akatono! Amangu ddala Yakuwa yatuukana n’embeera n’asalawo okukozesa “ekkubo” eddala okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. Yayogera ku ‘zzadde’ eryandisobodde okugonjoola ebizibu ebyandivudde mu bujeemu obwo.​—Lub. 3:15; Beb. 2:14-17; 1 Yok. 3:8.

7. Ekyo Yakuwa kye yeeyogerako mu Okuva 3:14 kituyigiriza ki?

7 Eky’okuba nti Yakuwa asobola okutuukana n’embeera yonna eba ezzeewo asobole okutuukiriza ekigendererwa kye, kyeyoleka bulungi mu bigambo bye yeeyogerako. Musa bwe yabuulira Yakuwa ebintu ebyali bimutiisa okukola omulimu gwe yali amuwadde, Yakuwa yamuzzaamu amaanyi ng’amugamba nti: “‘Nja kubeera ekyo kye nnaabeera.’ N’ayongera n’amugamba nti: ‘Bw’oti bw’onoogamba abaana ba Isirayiri, “Nja kubeera ekyo kye nnaabeera” y’antumye gye muli.’” (Kuv. 3:14, NW) Yee, Yakuwa asobola okubeera ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye! Kino kyeyolekera bulungi mu bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu ssuula 11 ey’ekitabo ky’Abaruumi. Mu ssuula eyo ayogera ku muzeyituuni ogw’akabonero. Okwekenneenya ekyokulabirako kino kijja kutuyamba okukiraba nti amagezi ga Yakuwa ga buziba, ka kibe nti tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kufuna bulamu obutaggwaawo wano ku nsi.

Ekigendererwa kya Yakuwa Ekikwata ku Zzadde Eryasuubizibwa

8, 9. (a) Bintu ki ebina ebijja okutuyamba okutegeera ekyokulabirako ky’omuzeyituuni? (b) Kibuuzo ki kye tugenda okwekenneenya, era eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kinaatuyigiriza ki ku Yakuwa?

8 Okusobola okutegeera obulungi ekyokulabirako ekikwata ku muzeyituuni, waliwo ebintu bina bye twetaaga okumanya ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa eky’ezzadde eryasuubizibwa. Ekisooka, Yakuwa yasuubiza Ibulayimu nti mu zzadde lye, oba mu bazzukulu be, “amawanga gonna ag’omu nsi mwe [gandiweereddwa] omukisa.” (Lub. 22:17, 18) Eky’okubiri, eggwanga lya Isiraeri eryava mu Ibulayimu lye lyali ery’okuvaamu “obwakabaka bwa bakabona.” (Kuv. 19:5, 6) Eky’okusatu, Abaisiraeri abasinga obungi bwe baagaana Masiya, Yakuwa aliko enkyukakyuka ze yakola okusobola okulaba nti wabaawo “obwakabaka bwa bakabona.” (Mat. 21:43; Bar. 9:27-29) N’ekisembayo, wadde nga Yesu ye zzadde ekkulu erya Ibulayimu, waliwo n’abalala abalina enkizo okubeera mu zzadde eryo.​—Bag. 3:16, 29.

9 Okugatta ku bintu ebyo ebina, ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti abantu 144,000 bajja kufugira wamu ne Yesu nga bakabaka era bakabona mu ggulu. (Kub. 14:1-4) Bano era boogerwako ‘ng’abaana ba Isiraeri.’ (Kub. 7:4-8) Naye, abantu abo bonna 144,000 Baisiraeri ab’omubiri, oba Bayudaaya? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa asobola okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Kati ka tulabe engeri ebbaluwa ya Pawulo eri Abaruumi gy’eyinza okutuyamba okufuna eky’okuddamu.

“Obwakabaka bwa Bakabona”

10. Nkizo ki ey’ekitalo eggwanga lya Isiraeri gye lyalina?

10 Nga bwe tulabye, eggwanga lya Isiraeri lye lyokka eryalina enkizo ey’okuvaamu abantu abandifuuse “obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.” (Soma Abaruumi 9:4, 5.) Naye kiki ekyandibaddewo ng’Ezzadde eryasuubizibwa lizze? Eggwanga lya Isiraeri lyandisobodde okuvaamu Abaisiraeri bonna ab’omwoyo 144,000, nga bano be balala abandibadde mu zzadde lya Ibulayimu?

11, 12. (a) Okulondebwa kw’abo abandibadde mu bwakabaka obw’omu ggulu kwatandika ddi, era Abayudaaya abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo baakola ki? (b) Kiki Yakuwa kye yakola okusobola okumalayo “omuwendo omujjuvu” ogw’abo abandibadde mu zzadde lya Ibulayimu?

11 Soma Abaruumi 11:7-10. Ng’eggwanga, Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baagaana okukkiriza Yesu. Bwe kityo, baafiirwa enkizo ey’okuba nti eggwanga lyabwe lye lyokka eryandivuddemu abo abandibadde mu zzadde lya Ibulayimu. Kyokka, waliwo Abayudaaya abamu abakkiriza Yesu era ne baweebwa enkizo eyo. Okulondebwa kw’abo abandibadde mu ‘bwakabaka bwa bakabona’ obw’omu ggulu kwatandika ku Pentekoote 33 E.E. Okuva bwe kiri nti Abayudaaya abakkiriza Yesu baali batono nnyo bw’obageraageranya ku bantu bonna abaali mu ggwanga eryo, baali ‘ng’ensigalira.’​—Bar. 11:5.

12 Kati olwo Yakuwa yandisobodde atya okukuŋŋaanya “omuwendo omujjuvu” ogw’abo abandifuuse ezzadde lya Ibulayimu? (Bar. 11:12, 25) Weetegereze ekyo omutume Pawulo kye yagamba: “Tekiri nti ekigambo kya Katonda kyalemererwa. Kubanga si bonna abava mu Isiraeri [ow’omubiri] nti ‘Baisiraeri’ ddala. Era eky’okuba nti bali zzadde lya Ibulayimu bonna tekibafuula baana . . . Abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda ddala, naye abaana ab’ekisuubizo be babalibwa ng’ezzadde.” (Bar. 9:6-8) N’olwekyo, abo Yakuwa b’alonda okuba mu zzadde tebalina kuba nga bava mu lunyiriri lwa Ibulayimu lwokka.

Omuzeyituuni ogw’Akabonero

13. Ebintu bino bikiikirira ki (a) omuzeyituuni, (b) ekikolo kyagwo, (c) enduli yaagwo, ne (d) amatabi gaagwo?

13 Omutume Pawulo agenda mu maaso n’ageraageranya abo abali mu zzadde lya Ibulayimu ku matabi g’omuzeyituuni ogw’akabonero. * (Bar. 11:21) Omuzeyituuni guno ogw’omu nnimiro gukiikirira okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku ndagaana gye yakola ne Ibulayimu. Ekikolo ky’omuti guno kitukuvu era kikiikirira Yakuwa oyo awa Isiraeri ow’omwoyo obulamu. (Is. 10:20; Rom. 11:16) Enduli y’omuti guno ekiikirira Yesu ezzadde ekkulu erya Ibulayimu. Amatabi g’omuti guno gonna awamu gakiikirira ‘omuwendo omujjuvu’ ogw’abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu.

14, 15. Baani ‘abaamenyebwa’ okuva ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro, era baani abaayungibwako?

14 Mu kyokulabirako ky’omuzeyituuni, Abayudaaya ab’omubiri abaagaana okukkiriza Yesu bageraageranyizibwa ku matabi g’omuzeyituuni ‘agaamenyebwako.’ (Bar. 11:17) Bwe kityo, baafiirwa enkizo ey’okuba mu abo abali mu zzadde lya Ibulayimu. Naye baani abandizze mu kifo kyabwe? Eri Abayudaaya ab’omubiri, abaali beetwala okuba ab’ekitalo olw’okuba baali bava mu lunyiriri lwa Ibulayimu, eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kyandibazibuwalidde okukkiriza. Naye Yokaana Omubatiza yali yamala dda okubalabula nti singa Yakuwa yali ayagadde, yandifunidde Ibulayimu abaana okuva mu mayinja.​—Luk. 3:8.

15 Kati olwo kiki Yakuwa kye yakola okusobola okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira? Pawulo yagamba nti amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko gaayungibwa ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro ne gadda mu kifo ky’ago agaamenyebwako. (Soma Abaruumi 11:17, 18.) Bwe kityo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta Ab’amawanga, gamba ng’abo abaali mu kibiina ky’e Rooma, mu ngeri ey’akabonero baayungibwa ku muzeyituuni ogw’akabonero. Mu ngeri eyo, baafuuka abamu ku abo abali mu zzadde lya Ibulayimu. Mu kusooka, baali ng’amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko, nga tebalina ssuubi lyonna lya kuba mu ndagaano Katonda gye yakola ne Ibulayimu. Naye Yakuwa yabaggulirawo ekkubo okufuuka Abayudaaya ab’omwoyo.​—Bar. 2:28, 29.

16. Omutume Peetero yannyonnyola atya engeri eggwanga eriggya ery’omwoyo gye lyatandikibwawo?

16 Ng’ayogera ku Isiraeri ow’omwoyo, nga muno mw’otwalidde n’Abakristaayo Ab’amawanga, omutume Peetero agamba nti: “[Yesu Kristo] wa muwendo gye muli kubanga muli bakkiriza; naye eri abo abatakkiriza ‘ejjinja lyennyini abazimbi lye baagaana lye lifuuse ekkulu ery’oku nsonda,’ era ‘ejjinja eryesittalwako n’olwazi oluviirako okugwa.’ . . . Kubanga mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde, musobole okulangirira obulungi’ bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo. Mu kusooka temwali ggwanga, naye kati muli ggwanga lya Katonda; mwali abo abatasaasirwa, naye kati musaasiddwa.”​—1 Peet. 2:7-10.

17. Mu ngeri ki ekyo Yakuwa kye yakola gye ‘kitaali kya buzaaliranwa’?

17 Yakuwa yakola ekintu bangi kye baali batasuubira. Pawulo alaga nti ekyo Yakuwa kye yakola kyali ‘kintu ekitali kya buzaaliranwa.’ (Bar. 11:24) Lwaki yagamba bw’atyo? Kubanga tekiba kya bulijjo okuddira ettabi ly’omuti ogw’omu nsiko n’oliyunga ku muti ogw’omu nnimiro; naye ekintu ekyo abalimi abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka baakikolanga. * Mu ngeri y’emu, Yakuwa yakola ekintu ekitaali kya bulijjo. Okusinziira ku ndowooza Abayudaaya gye baalina, Ab’amawanga baali tebasobola kubala bibala birungi. Wadde kyali kityo, Yakuwa yasobozesa Ab’amawanga nabo okuba mu ‘ggwanga’ eribala ebibala eby’Obwakabaka. (Mat. 21:43) Koluneeriyo ye Munnagwanga ataali mukomole eyasooka okufukibwako amafuta mu 36 E.E., era okuva olwo, ekkubo lyaggulibwawo eri Ab’amawanga abataali bakomole okuyungibwa ku muzeyituuni ogw’akabonero.​—Bik. 10:44-48. *

18. Kakisa ki Abayudaaya ab’omubiri ke baalina oluvannyuma lw’omwaka gwa 36 E.E.?

18 Ekyo kitegeeza nti oluvannyuma lw’omwaka gwa 36 E.E., Abayudaaya ab’omubiri tebandizzeemu kufuna kakisa kuba mu abo abali mu zzadde lya Ibulayimu? Nedda. Pawulo agamba nti: “[Abayudaaya ab’omubiri] nabo bwe batandika okubeera n’okukkiriza bajja kugattibwako; kubanga Katonda asobola okuddamu okubagattako. Bwe kiba nti wasalibwa ku muzeyituuni ogw’omu nsiko n’ogattibwa ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro, ekintu ekitali kya buzaaliranwa, nga kiriba kyangu nnyo amatabi agaakulira ku muzeyituuni okuzzibwa ku muti gwago!” *​—Bar. 11:23, 24.

“Isiraeri Yenna Ajja Kulokolebwa”

19, 20. Ng’ekyokulabirako ky’omuzeyituuni ogw’akabonero bwe kiraga, kiki Yakuwa ky’atuukiriza?

19 Yee, ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku “Isiraeri wa Katonda” kituukirizibwa mu ngeri ey’ekitalo. (Bag. 6:16) Nga Pawulo bwe yagamba, “Isiraeri yenna ajja kulokolebwa.” (Bar. 11:26) Mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, “Isiraeri yenna”—kwe kugamba, omuwendo omujjuvu ogw’Abaisiraeri ab’omwoyo—ajja kuweereza nga bakabaka era bakabona mu ggulu. Tewali kintu kyonna kisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye!

20 Nga bwe kyalagulwa, ezzadde lya Ibulayimu—Yesu Kristo awamu ne 144,000—lijja kuleetera “ab’amawanga” emikisa. (Bar. 11:12; Lub. 22:18) Bwe kityo, abantu ba Katonda bonna baganyulwa mu nteekateeka eno. Mazima ddala, bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekigendererwa kye eky’olubeerera, kituleetera okwewuunya ‘amagezi ga Katonda n’okumanya kwe eby’obuziba.’​—Bar. 11:33.

[Obugambo obuli wansi]

^ Kya lwatu nti omuzeyituuni tegukiikirira Baisiraeri ab’omubiri. Wadde nga mu ggwanga lya Isiraeri mwalimu bakabaka ne bakabona, eggwanga eryo teryafuuka bwakabaka bwa bakabona. Amateeka gaali tegakkiriza bakabaka mu Isiraeri kufuuka bakabona. Bwe kityo, omuzeyituuni tegusobola kuba nga gukiikirira Abaisiraeri ab’omubiri. Pawulo alaga engeri ekigendererwa kya Katonda eky’okuteekawo “obwakabaka bwa bakabona” gye kyandituukiriziddwamu okuyitira mu Isiraeri ow’omwoyo. Kino kyeyongera okutangaaza ku ebyo ebyafulumira mu magazini ya Watchtower eya Agusito 15, 1983, olupapula 14-19.

^ Laba akasanduuko “Lwaki Amatabi g’Omuzeyituuni ogw’Omu Nsiko Gaayungibwangako?”

^ Kino kyaliwo ku nkomerero y’emyaka essatu n’ekitundu Abayudaaya ab’omubiri mwe baali baweereddwa akakisa okukkiriza okuba mu ggwanga eriggya ery’omwoyo. Era kino kyali kyayogerwako mu bunnabbi obukwata ku wiiki 70 ez’emyaka.​—Dan. 9:27.

^ Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘ennimiro’ mu Abaruumi 11:24 kiva mu kigambo ekitegeeza “ekirungi” oba “ekirungi ennyo.” Okusingira ddala ekigambo ekyo kikozesebwa ku bintu ebituukiriza obulungi ekigendererwa ekyabiviirako okukolebwa.

Ojjukira?

• Engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekigendererwa kye etuyigiriza ki?

• Mu Abaruumi essuula 11, ebintu bino bikiikirira ki?

Omuzeyituuni.

Ekikolo kyagwo.

Enduli yaagwo.

Amatabi gaagwo.

• Lwaki okuyunga amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko ku muzeyituuni ogw’omu nnimiro kyali ‘kintu ekitali kya buzaaliranwa’?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Lwaki Amatabi g’Omuzeyituuni ogw’Omu Nsiko Gaayungibwangako?

▪ Lucius Junius Moderatus Columella eyaliwo mu kyasa ekyasooka E.E. yali musirikale w’Abaruumi era nga mulimi. Amanyiddwa nnyo olw’ebitabo bye 12 bye yawandiika ebikwata ku bulamu bw’ekyalo ne ku by’obulimi.

Mu kitabo kye eky’okutaano, ayogera ku lugero luno olw’edda: “Oyo akoola omuzeyituuni, agusaba ebibala; oyo aguteekako ebigimusa, agulagira okumuwa ebibala; oyo agusalira, agukaka okumuwa ebibala.”

Bw’amala okwogera ku miti egirabika obulungi kyokka nga tegibala bulungi bibala, awa amagezi gano: “Kiba kirungi okugiwummulamu ebituli era mu bituli ebyo n’oteekamu amatabi g’omuzeyituuni ogw’omu nsiko; n’ekivaamu emiti egyo giba ng’egifunyisiddwa olubuto, era bwe gityo ne gyeyongera okubala ebibala.”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Otegeera bulungi ekyokulabirako ky’omuzeyituuni ogw’akabonero?