Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaka Amakristaayo—“Mubeere Beeteefuteefu”

Amaka Amakristaayo—“Mubeere Beeteefuteefu”

Amaka Amakristaayo​—“Mubeere Beeteefuteefu”

“Mubeere beeteefuteefu, kubanga ekiseera kye mutamusuubiriramu, Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.”​—LUK. 12:40.

1, 2. Lwaki tusaanidde okukolera ku kubuulirira kwa Yesu okukwata ku ‘kubeera abeeteefuteefu’?

 “OMWANA w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye” okwawula “abantu,” ggwe awamu n’ab’omu maka go munaasangibwa muyimiridde mutya? (Mat. 25:31, 32) Okuva bwe kiri nti kino kijja kubaawo mu kiseera mwe tutakisuubirira, nga kikulu nnyo okukolera ku kubuulirira kwa Yesu okukwata ku ‘kubeera abeeteefuteefu’!​—Luk. 12:40.

2 Ekitundu ekyayita kyalaga obuvunaanyizibwa buli omu mu maka bw’alina mu kuyamba amaka okusigala nga gatunula mu by’omwoyo. Kati ka twetegereze ebintu ebirala ebisobola okuyamba amaka okusigala nga gatunula mu by’omwoyo.

Mubeere n’Eriiso ‘Eriraba Awamu’

3, 4. (a) Kiki amaka Amakristaayo kye gasaanidde okwewala? (b) Kitegeeza ki okuba n’eriiso ‘eriraba awamu’?

3 Okusobola okuba abeeteefuteefu nga balindirira okujja kwa Kristo, bonna mu maka basaanidde okwewala ekintu kyonna ekiyinza okubawugula ne kibalemesa okwenyigira mu bujjuvu mu kusinza okw’amazima. Okuva bwe kiri nti amaka mangi gagudde mu katego ak’okwagala ebintu, kikulu okulowooza ennyo ku ekyo Yesu kye yayogera ku kuba n’eriiso ‘eriraba awamu.’ (Soma Matayo 6:22, 23.) Ng’ettabaaza bw’emulisa ekkubo mwe tutambulira ne tulema okwesittala, ebyo bye tuyingiza okuyitira mu ‘maaso ag’emitima’ gyaffe ag’akabonero bisobola okutuyamba okufuna ekitangaala, ekyo ne kitusobozesa okweyisa obulungi ne tuteesittala.​—Bef. 1:18.

4 Eriiso ly’omuntu okusobola okulaba obulungi ekintu, lirina okuba nga ddamu bulungi era ng’alitadde ku kintu ekyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku maaso ag’omutima. Okuba n’eriiso eriraba awamu kitegeeza okumalira ebirowoozo byaffe ku kigendererwa kimu kyokka. Ebirowoozo byaffe byonna tusaanidde okubimalira ku bintu eby’omwoyo mu kifo ky’okubimalira ku kwenoonyeza ebintu n’okweraliikirira ennyo engeri gye tuyinza okuyimirizaawo ab’omu maka gaffe. (Mat. 6:33) Kino kitegeeza nti tulina okuba abamativu n’ebyo Katonda by’atuwa n’okukulembeza obuweereza bwe mu bulamu bwaffe.​—Beb. 13:5.

5. Omuwala omu yalaga atya nti “eriiso” lye yali alitadde ku kuweereza Katonda?

5 Kikulu nnyo okutendeka abaana okuba n’eriiso eriraba awamu. Lowooza ku kyokulabirako ky’omuwala omu abeera mu Ethiopia. Yayita bulungi nnyo ebigezo bya siniya, bw’atyo n’aweebwa sikaala okweyongerayo okusoma. Olw’okuba eriiso lye yali alitadde ku buweereza bwe eri Yakuwa, yasalawo okugaana sikaala eyo. Nga waakayita ekiseera kitono, yaweebwa omulimu ogwandimusasudde ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 4,200 buli mwezi—ssente ezo nnyingi nnyo bw’ozigeraageranya ku ssente abakozi aba bulijjo ze basasulwa buli mwezi mu nsi eyo. Naye olw’okuba “eriiso” lye yali alitadde ku kuweereza nga payoniya, yagaana omulimu ogwo nga tasoose na kwebuuza ku bazadde be. Bazadde b’omuwala oyo baawulira batya bwe baamanya ekyo kye yali akoze? Baasanyuka nnyo era ne bamugamba nti baali bamwenyumiririzaamu nnyo!

6, 7. Kiki kye tusaanidde okwewala bwe tuba ab’okusigala nga ‘tutunula’?

6 Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:22, 23 era bisobola okutuyamba okulaba akabi akali mu kuba ab’omululu. Weetegereze nti Yesu yalaga nti omuntu atalina liiso “liraba wamu” aba ‘n’eriiso ebbi.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ebbi” kiyinza okutegeeza okwegomba oba omululu. (Mat. 6:23) Yakuwa atwala atya okwegomba oba omululu? Bayibuli egamba nti: “Obwenzi n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu [oba, “okwegomba”] tebirina na kwogerwako mu mmwe.”​—Bef. 5:3.

7 Kyangu okulaba nti abalala balina omululu, naye ffe bwe tuba nagwo kiyinza obutatubeerera kyangu kukiraba. Bwe kityo, kiba kya magezi okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri.” (Luk. 12:15) Ekyo kiba kitwetaagisa okwekebera okulaba kiki ddala emitima gyaffe kwe gyemalidde. Amaka Amakristaayo gasaanidde okulowooza ennyo ku biseera ne ssente bye gamalira ku by’okwesanyusamu, awamu n’ebiseera bye gamalira mu kunoonya ebintu.

8. Bwe kituuka ku kugula ebintu, tuyinza tutya okusigala nga ‘tutunula’?

8 Ng’oggyeko okuba ne ssente ezigula ekintu, waliwo ebintu ebirala bye weetaaga okulowoozaako nga tonnasalawo kukigula. Nga tonnaba kugula kintu sooka weebuuze: ‘Nnaafuna obudde obumala okukikozesa n’okukirabirira obulungi? Kinantwalira bbanga ki okuyiga okukikozesa obulungi?’ Mmwe abavubuka, temukkiriza kutwalirizibwa bulango abatunda ebintu bwe bakuba kubaleetera kulowooza nti mulina okugula engoye ez’ebbeeyi na buli kintu ekiri ku mulembe. Muyige okwefuga. Ate era musaanidde okwebuuza obanga okugula ebintu ng’ebyo kinaayamba amaka gammwe okwetegekera okujja kw’Omwana w’omuntu. Mubeere n’okukkiriza mu kisuubizo kya Yakuwa kino: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”​—Beb. 13:5.

Mufube Okuba n’Ebiruubirirwa eby’Omwoyo

9. Bonna mu maka baganyulwa batya bwe baba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo?

9 Ekintu ekirala ekiyinza okuyamba bonna mu maka okuba n’okukkiriza okw’amaanyi era n’okusigala nga batunula mu by’omwoyo kwe kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne bafuba okubituukako. Kino kisobola okubayamba okulaba wa we bayimiridde mu by’omwoyo era n’okumanya ebintu bye basaanidde okukulembeza mu bulamu bwabwe.​—Soma Abafiripi 1:10.

10, 11. Ng’amaka, biruubirirwa ki eby’omwoyo bye mufuba okutuukako, era biruubirirwa ki bye mwagala okutuukako mu biseera eby’omu maaso?

10 N’okweteerawo ebiruubirirwa ebitonotono buli omu mu maka by’asobola okutuukako kisobola okuvaamu emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, musobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okusomera awamu ekyawandiikibwa ekya buli lunaku. Ebyo ab’omu maka bye baddamu bisobola okuyamba omutwe gw’amaka okumanya wa okwagala kwabwe eri Yakuwa awamu n’amazima we kutuuse. Bwe mweteerawo ekiruubirirwa eky’okusomera awamu Bayibuli obutayosa, kisobola okuyamba abaana okuyiga okusoma obulungi era kisobola okubayamba okutegeera obulungi Ebyawandiikibwa. (Zab. 1:1, 2) Era tusaanidde okweteerawo ekiruubirirwa eky’okulongoosa mu ssaala zaffe. Tusobola n’okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwongera okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo. (Bag. 5:22, 23) Ate era tusaanidde okufuba okulaba engeri ezitali zimu mwe tuyinza okulagira nti tufaayo ku bantu be tubuulira. Bwe tufuba okukola bwe tutyo ng’amaka, kisobola okuyamba abaana okukulaakulanya obusaasizi, era kisobola okubayamba okwagala okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba ng’abaminsani.

11 Lwaki tolowooza ku biruubirirwa ggwe awamu n’ab’omu maka go bye muyinza okweteerawo? Musobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwongera ku biseera bye mumala mu kubuulira? Musobola okwemanyiiza okubuulira nga mukozesa essimu, okubuulira ku nguudo, oba okubuulira mu bifo ebikolerwamu bizineesi? Ate kiri kitya ku kuweerezaako mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako? Waliwo mu maka asobola okuyiga olulimi olulala asobole okubuulira abantu abava mu mawanga amalala?

12. Kiki emitwe gy’amaka kye basobola okukola okuyamba amaka gaabwe okukulaakulana mu by’omwoyo?

12 Ng’omutwe gw’amaka, lowooza ku bintu ebitali bimu amaka go bye gayinza okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. Oluvannyuma, teekawo ebiruubirirwa ebinaabayamba okukulaakulana. Musaanidde okweteerawo ebiruubirirwa ebituukagana n’embeera yammwe awamu n’obusobozi bwammwe. (Nge. 13:12) Kya lwatu nti ebiruubirirwa ebimu byetaaga ekiseera ekiwerako okusobola okubituukako. Bwe kityo, kiba kirungi okukendeeza ku biseera bye mumala nga mulaba ttivi musobole okukozesa ebiseera ebyo ku bintu eby’omwoyo. (Bef. 5:15, 16) Mufube nnyo okulaba nti mutuuka ku biruubirirwa bye mweteerawo ng’amaka. (Bag. 6:9) Amaka agafuba okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo, okukulaakulana kwago ‘kweyoleka eri abantu bonna.’​—1 Tim. 4:15.

Mube n’Okusinza kw’Amaka Obutayosa

13. Nkyukakyuka ki eyakolebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina eza buli wiiki, era bibuuzo ki bye twetaaga okwebuuza?

13 Ekimu ku bintu ebikulu ebisobola okuyamba bonna mu maka ‘okubeera abeeteefuteefu’ nga bwe balindirira okujja kw’Omwana w’omuntu ye nkyukakyuka eyakolebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina eza buli wiiki okuva nga Jjanwali 1, 2009. Tetukyaba na lukuŋŋaana olwali luyitibwa Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina ku lunaku lwa njawulo. Naye kati tuba nalwo ku lunaku lwe lumu lwe tuba n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda awamu n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Enkyukakyuka eno yakolebwa okusobozesa amaka Amakristaayo okweteerawo akawungeezi okusinziza awamu ng’amaka buli wiiki, kibayambe okuba abanywevu mu by’omyoyo. Kati nga wayiseewo ekiseera okuva enkyukakyuka eyo lwe yakolebwa, kiba kirungi okwebuuza: ‘Nkozesa bulungi ekiseera ekyo okuba n’Okusinza kw’Amaka oba okwesomesa Bayibuli? Nfuba okulaba nti ntuuka ku kigendererwa ekyateekesaawo enteekateeka eno?’

14. (a) Nsonga ki enkulu eyanditukubirizza okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka oba okwesomesa Bayibuli obutayosa? (b) Lwaki kikulu nnyo okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka?

14 Ekigendererwa ekikulu eky’okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka oba okwesomesa Bayibuli kwe kutuyamba okweyongera okusemberera Katonda. (Yak. 4:8) Bwe tusoma Bayibuli obutayosa ne tweyongera okufuna okumanya okukwata ku Mutonzi waffe, tweyongera okunyweza enkolagana yaffe naye. Gye tukoma okusemberera Yakuwa, gye tukoma okumwagala ‘n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna.’ (Mak. 12:30) Ekyo kitukubiriza okugondera Katonda n’okufuba okumukoppa. (Bef. 5:1) N’olwekyo, okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kintu kikulu nnyo ekisobola okuyamba ab’omu maka gaffe bonna ‘okubeera abeeteefuteefu’ mu by’omwoyo nga bwe tulindirira “ekibonyoobonyo ekinene.” (Mat. 24:21) Bwe tuba ab’okuwonawo, kikulu nnyo okuba n’Okusinza kw’Amaka obutayosa.

15. Amaka gaganyulwa gatya mu kuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka?

15 Enteekateeka ey’Okusinza kw’Amaka erina ekigendererwa ekirala—okuyamba bonna mu maka okwongera okunyweza enkolagana yaabwe. Akaseera ab’omu maka ke bamala awamu buli wiiki nga boogera ku bintu eby’omwoyo kabayamba okwongera okwagalana. Omwami n’omukyala bwe babaako ebintu bye bayigidde awamu okuva mu Bayibuli, ekyo kibayamba okweyongera okuba obumu. (Soma Omubuulizi 4:12.) Abazadde bwe bakuŋŋaana awamu n’abaana baabwe okusinza Yakuwa, baba basobola okugattibwa awamu mu kwagala, ekintu ‘ekinywereza ddala obumu.’​—Bak. 3:14.

16. Bannyinnaffe basatu baganyuddwa batya mu kuba n’akawungeezi ak’okusomera awamu Bayibuli?

16 Lowooza ku ngeri bannyinnaffe bannamukadde basatu gye baganyuddwa mu kuba n’akawungeezi ak’okusoma Bayibuli. Wadde nga si ba luganda mu mubiri, bannamwandu bano abasatu babeera mu kibuga kye kimu era babadde ba mukwano okumala emyaka mingi. Olw’okuba baali baagala okwongera ku biseera bye bamala nga baliko wamu era nga baagala n’okuzziŋŋanamu amaanyi mu by’omwoyo, baasalawo okufunayo akawungeezi okusomerako awamu Bayibuli. Baatandikira ku kitabo “Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom. Omu ku bo agamba nti, “Tunyumirwa nnyo okusoma kwaffe era ebiseera ebimu tusussa ne mu ssaawa emu nga tusoma. Tugezaako okufumiitiriza ku mbeera ab’oluganda abaaliwo mu kyasa ekyasooka gye baayitamu era tukubaganya ebirowoozo ku ekyo kye twandikoze singa twesanga mu mbeera y’emu. Era ebyo bye tuba tuyize mu kusoma kwaffe tufuba okubikozesa mu buweereza bw’ennimiro. Kino kituyambye okwongera okunyumirwa omulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa era kituyambye okwongera okugufunamu ebibala.” Ng’oggyeko okubanyweza mu by’omwoyo, enteekateeka eno eyambye ab’omukwano bano abasatu okwongera okunyweza enkolagana yaabwe. Bagamba nti, “Enteekateeka eno tugitwala nga ya muwendo nnyo.”

17. Bintu ki ebifuula Okusinza kw’Amaka okuba okw’omuganyulo?

17 Ate kiri kitya eri mmwe? Muganyuddwa mutya mu kuba n’akawungeezi ak’okusinziza awamu ng’amaka oba ak’okwesomesa Bayibuli? Bwe kiba nti mutera okwosaayosa, temujja kusobola kutuuka ku bigendererwa by’enteekateeka eno. Buli omu mu maka asaanidde okuba omwetegefu okwenyigira mu kusinza kw’amaka mu kiseera kye mwateekawo. Mufube okulaba nti munywerera ku nteekateeka yammwe. Ate era mufube okulaba nti ebintu bye musoma biganyula bonna mu maka. Ng’omutwe gw’amaka, kiki ky’oyinza okukola okulaba nti okusoma kw’amaka kuba kunyuvu? Fuba okuyigiriza obulungi, era kakasa nti okusoma kwammwe kuba kwa mirembe era nga kusibwamu ekitiibwa.​—Yak. 3:18. *

‘Musigale nga Mutunula’ era “Mubeere Beeteefuteefu”

18, 19. Okukimanya nti Omwana w’omuntu anaatera okujja kyandikuleetedde kukola ki awamu n’ab’omu maka go?

18 Embeera embi ennyo eriwo mu nsi leero eraga bulungi nti okuva mu mwaka 1914, ennaku ez’oluvannyuma ez’ensi ya Sitaani eno embi zaatandika. Tewali kubuusabuusa nti Kalumagedoni ali kumpi. Omwana w’omuntu anaatera okujja okuzikiriza abantu abatatya Katonda. (Zab. 37:10; Nge. 2:21, 22) Okumanya ebintu ebyo tekyandikuleetedde okubaako ky’okolawo awamu n’ab’omu maka go?

19 Ofuba okukolera ku bigambo bya Yesu ebikwata ku kuba n’eriiso ‘eriraba awamu’? Wadde ng’abantu abasinga obungi mu nsi leero baagala nnyo eby’obugagga, ettutumu, oba obuyinza, ggwe awamu n’ab’omu maka go mufuba okuluubirira ebintu eby’omwoyo? Mulina enteekateeka ey’Okusinza kw’Amaka oba ey’okwesomesa Bayibuli? Mufuba okutuuka ku bigendererwa by’enteekateeka eyo? Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ng’omwami, omukyala, oba omwana, ofuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yakuwa, kisobozese amaka gammwe ‘okusigala nga gatunula’ mu by’omwoyo? (1 Bas. 5:6) Bwe kiba bwe kityo, mujja ‘kubeera beeteefuteefu’ nga mulindirira okujja kw’Omwana w’omuntu.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku Kusinza kw’Amaka, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2009, olupapula 29-31.

Kiki ky’Oyize?

• Abo abali mu maka Amakristaayo basobola batya ‘okubeera abeeteefuteefu’ bwe kituuka ku . . .

kuba n’eriiso ‘eriraba awamu.’

kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okufuba okubituukako.

kuba n’Okusinza kw’Amaka obutayosa.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Okuba n’eriiso ‘eriraba awamu’ kijja kutuyamba okwewala okuwugulibwa ebintu ebiri mu nsi