Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaka Amakristaayo—‘Musigale nga Mutunula’

Amaka Amakristaayo—‘Musigale nga Mutunula’

Amaka Amakristaayo​—‘Musigale nga Mutunula’

“Tusigale nga tutunula era nga tutegeera bulungi.”​—1 BAS. 5:6.

1, 2. Kiki bonna mu maka kye balina okukola okuyamba amaka gaabwe okusigala nga gatunula mu by’omwoyo?

 BWE yali ayogera ku ‘lunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa,’ omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’e Ssessaloniika ng’agamba nti: “Ab’oluganda, temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibasangiriza nga bwe lwandisangirizza ababbi, kubanga mwenna muli baana ba kitangaala era baana ba misana. Tetuli ba kiro oba ba kizikiza.” Yagattako nti: “N’olwekyo, tuleme kwebaka ng’abalala bwe bakola, naye tusigale nga tutunula era nga tutegeera bulungi.”​—Yo. 2:31; 1 Bas. 5:4-6.

2 Okubuulirira kwa Pawulo eri Abassessaloniika kwa muganyulo nnyo naddala eri Abakristaayo abaliwo leero mu ‘kiseera kino eky’enkomerero.’ (Dan. 12:4) Ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu egenda esembera, Sitaani akola butaweera okulaba nti alemesa Abakristaayo ab’amazima okuweereza Katonda. N’olwekyo, kiba kya magezi okufuba okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okukwata ku kusigala nga tutunula mu by’omwoyo. Amaka Amakristaayo bwe gaba ag’okusigala nga gatunula mu by’omwoyo, buli omu mu maka alina okufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa. Kati olwo buvunaanyizibwa ki abaami, abakyala, n’abaana bwe balina okutukkiriza okusobola okuyamba amaka gaabwe ‘okusigala nga gatunula’?

Abaami—Mukoppe “Omusumba Omulungi”

3. Okusinziira ku 1 Timoseewo 5:8, obuvunaanyizibwa bw’omwami ng’omutwe gw’amaka buzingiramu ki?

3 Bayibuli egamba nti: “Omutwe gw’omukazi ye musajja.” (1 Kol. 11:3) Obuvunaanyizibwa bw’omwami ng’omutwe gw’amaka buzingiramu ki? Nga biraga obuvunaanyizibwa omutwe gw’amaka bwalina, Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Singa omuntu yenna talabirira babe, naddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza era aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” (1 Tim. 5:8) Mu butuufu, omusajja asaanidde okulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri. Kyokka, okusobola okuyamba ab’omu maka ge okusigala nga batunula mu by’omwoyo, alina okukola ekisingawo ku kubalabirira obulabirizi mu by’omubiri. Alina n’okuzimba ab’omu maka ge mu by’omwoyo, ng’ayamba bonna mu maka okunyweza enkolagana yaabwe ne Katonda. (Nge. 24:3, 4) Ekyo ayinza kukikola atya?

4. Kiki ekiyinza okuyamba omusajja okuzimba ab’omu maka ge mu by’omwoyo?

4 Okuva bwe kiri nti “omusajja gwe mutwe gwa mukazi we era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina,” omusajja omufumbo yeetaaga okutegeera obulungi engeri Yesu gy’akulemberamu ekibiina era n’afuba okumukoppa. (Bef. 5:23) Lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku nkolagana gye yalina n’abagoberezi be. (Soma Yokaana 10:14, 15.) Kintu ki ekikulu omusajja ayagala okuzimba ab’omu maka ge mu by’omwoyo ky’asaanidde okukola? Asaanidde okuyiga ku ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola ‘ng’omusumba omulungi,’ era n’afuba ‘okutambulira mu bigere bye.’​—1 Peet. 2:21.

5. Okumanya Omusumba Omulungi kw’alina ku kibiina kwenkana wa?

5 Okumanya n’obwesige bintu bikulu nnyo omusumba bw’aba ow’okukolagana obulungi n’endiga ze. Omusumba aba amanyi bulungi endiga ze, era n’endiga ziba zimanyi bulungi omusumba waazo era nga zimwesiga. Ziba zimanyi bulungi eddoboozi lye era zimugondera. Yesu yagamba nti: “Mmanyi endiga zange, nazo zimmanyi.” Yesu amanyi bulungi ekibiina. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “mmanyi” kirina amakulu “ag’okutegeera obulungi ekintu.” Yee, Omusumba Omulungi ategeera bulungi buli emu ku ndiga ze. Amanyi ebyetaago bya buli ndiga, obunafu bwayo, n’ebyo by’esobola okukola. Omusumba waffe amanyi kalonda yenna akwata ku ndiga ze. Era n’endiga zimanyi bulungi omusumba waazo era zikkiriza obukulembeze bwe.

6. Abaami bayinza batya okukoppa Omusumba Omulungi?

6 Omwami bw’aba ow’okukoppa Kristo ng’akulembera amaka ge, asaanidde okwetunuulira ng’omusumba ate abo b’alabirira n’abatunuulira ng’endiga. Alina okufuba okutegeera obulungi ab’omu maka ge. Ddala omwami asobola okutegeera obulungi ab’omu maka ge? Yee, asobola okubategeera singa ateekawo empuliziganya ennungi n’ab’omu maka ge bonna, abawuliriza nga baliko kye bamugamba, ateekawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yeeyisaamu, era ng’ayoleka endowooza ennuŋŋamu bwe kituuka ku bintu, gamba ng’okusinza kw’amaka, okugenda mu nkuŋŋaana, okubuulira, n’okwesanyusaamu. Singa omusajja Omukristaayo amanya bulungi Ekigambo kya Katonda era n’ategeera bulungi ab’omu maka ge, ab’omu maka ge bajja kukkiriza obukulembeze bwe era ajja kufuna essanyu okulaba nga banyweredde ku kusinza okw’amazima.

7, 8. Omwami ayinza atya okukoppa Omusumba Omulungi bwe kituuka ku kulaga ab’omu maka ge okwagala?

7 Omusumba omulungi era aba ayagala nnyo endiga ze. Ebyo bye tusoma mu bitabo by’Enjiri ebikwata ku bulamu bwa Yesu awamu n’obuweereza bwe bituyamba okukiraba nti yali ayagala nnyo abayigirizwa be. Mu butuufu, yatuuka ‘n’okuwaayo obulamu bwe ku lw’endiga.’ Abaami basaanidde okukoppa Yesu nga nabo booleka okwagala okw’amaanyi eri ab’omu maka gaabwe. Mu kifo ky’okunyigiriza mukyala we, omwami ayagala okusiimibwa Katonda afuba okumwagala “nga Kristo bwe yayagala ekibiina.” (Bef. 5:25) Asanidde okuwa mukyala we ekitiibwa ng’ayogera naye mu ngeri ey’ekisa era eraga nti amufaako.​—1 Peet. 3:7.

8 Bw’aba atendeka abaana be, omutwe gw’amaka asaanidde okunywerera ku misingi gya Katonda. Naye asaanidde okwoleka okwagala eri abaana be. Asaanidde okubakangavvula mu ngeri ey’okwagala. Alina okukitegeera nti abaana abamu balwawo okutegeera ekyo ekiba kibasuubirwamu. Taata asaanidde okwoleka obugumiikiriza eri abaana ng’abo. Abaami bwe bafuba okugoberera ekyokulabirako kya Yesu, ab’omu maka gaabwe bawulira nga balina obukuumi. Amaka gaabwe gabaamu obukuumi obw’eby’omwoyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayogerako.​—Soma Zabbuli 23:1-6.

9. Okufaananako Nuuwa, abaami Abakristaayo balina buvunaanyizibwa ki, era kiki ekiyinza okubayamba okubutuukiriza obulungi?

9 Nuuwa yaliwo mu kiseera ng’ensi ey’omu kiseera kye eneetera okuzikirizibwa. Naye Yakuwa yamuwonyaawo awamu “n’abalala musanvu, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda.” (2 Peet. 2:5) Nuuwa yalina obuvunaanyizibwa okuyamba ab’omu maka ge okuwona Amataba. Emitwe gy’amaka Abakristaayo nabo balina obuvunaanyizibwa obufaananako ng’obwo mu nnaku zino ez’oluvannyuma. (Mat. 24:37) N’olwekyo, beetaaga okuyiga ebikwata ku “musumba omulungi” era ne bafuba okumukoppa!

Abakyala—‘Muzimbe Ennyumba Zammwe’

10. Kitegeeza ki omukyala okugondera omwami we?

10 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Abakazi bagonderenga abaami baabwe nga bwe bagondera Mukama waffe.” (Bef. 5:22) Ebigambo ebyo tebitegeeza nti abakyala basaanidde okuyisibwamu amaaso. Bwe yali tannatonda mukazi eyasooka, Kawa, Katonda yagamba nti: “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n’amukolera omubeezi [“omuyambi,” NW] amusaanira.” (Lub. 2:18) Obuvunaanyizibwa “omuyambi” bw’alina—okuwagira omwami we asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe—bwa muwendo nnyo.

11. Omukyala ateekawo ekyokulabirako ekirungi ‘azimba atya ennyumba ye’?

11 Omukyala ateekawo ekyokulabirako ekirungi ebintu byonna by’akola abikola ku lw’obulungi bw’amaka ge. (Soma Engero 14:1.) Obutafaananako omukyala omusirusiru, atassa kitiibwa mu mwami we, omukyala ow’amagezi afuba okussa ekitiibwa mu mwami we. Mu kifo ky’okuba n’omwoyo ogw’obujeemu awamu n’omwoyo ogwa kyetwala oguli mu nsi eno, afuba okugondera omwami we. (Bef. 2:2) Omukyala omusirusiru asobola okwogera obubi ku mwami we, so ng’ate omukyala ow’amagezi afuba okwogera ku mwami we mu ngeri ereetera abaana be n’abantu abalala okumuwa ekitiibwa. Omukyala ow’amagezi yeewala okufeebya omwami we, okumubeeba ng’aliko ky’ayagala, oba okuwakana naye. Ate kiri kitya bwe kituuka ku kukozesa ssente? Omukyala omusirusiru ayonoona ssente ezandiyambye okukola ku byetaago by’amaka ge. Naye omukyala ow’amagezi ye takola bw’atyo. Akolagana bulungi n’omwami we bwe kituuka ku ngeri y’okukozesaamu ssente. Akozesa ssente mu ngeri ey’amagezi era afuba okuzikekkereza. Ate era tawaliriza mwami we kukola kisukkiridde.

12. Kiki omukyala ky’ayinza okukola okuyamba ab’omu maka ge ‘okusigala nga batunula’?

12 Omukyala ateekawo ekyokulabirako ekirungi ayamba ab’omu maka ge ‘okusigala nga batunula,’ ng’ayamba omwami we mu kuyigiriza abaana baabwe amakubo ga Yakuwa. (Nge. 1:8) Afuba okuwagira enteekateeka ey’Okusinza kw’Amaka. Ate era omwami we bw’awabula abaana baabwe oba bw’abakangavvula, omukyala ng’oyo amuwagira. Ng’omukyala oyo aba wa njawulo nnyo ku mukyala omusirusiru, atayamba baana be mu by’omubiri ne mu by’omwoyo!

13. Lwaki omukyala asaanidde okuwagira omwami we ng’aliko obuvunaanyizibwa bw’aweereddwa mu kibiina?

13 Omukyala awagira omwami we awulira atya bw’amulaba ng’aliko obuvunaanyizibwa bw’aweereddwa mu kibiina? Aba musanyufu nnyo! Omwami we k’abe muweereza mu kibiina, mukadde, oba ng’ali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro oba ng’ali ku Kakiiko Akakola ku by’Okuzimba, omukyala ng’oyo aba musanyufu nnyo olw’enkizo omwami we gy’aba nayo. Aba mwetegefu okumuwagira mu bigambo ne mu bikolwa. Aba akimanyi nti omwami we bw’aba n’ebintu bingi eby’okukola mu mulimu gw’Obwakabaka, ekyo kiba kiyamba amaka gaabwe okusigala nga gatunula mu by’omwoyo.

14. (a) Buzibu ki omukyala awagira omwami we bw’ayinza okufuna, era ayinza atya okwaŋŋanga obuzibu obwo? (b) Omukyala ayinza atya okuyamba amaka ge okubaamu essanyu?

14 Kyokka oluusi omukyala kiyinza obutamwanguyira kuwagira mwami we bwe kiba nti ekyo omwami we ky’aba asazeewo awulira nga takkiriziganya nakyo. Ne mu mbeera ng’eyo, omukyala ayoleka “omwoyo omuteefu era omuwombeefu” ng’awagira ekyo omwami we ky’aba asazeewo. (1 Peet. 3:4) Omukyala omulungi afuba okukoppa abakyala ab’edda abaali batya Katonda, gamba nga Saala, Luusi, Abbigayiri, ne maama wa Yesu, Maliyamu. (1 Peet. 3:5, 6) Era akoppa ebyokulabirako by’abakyala abakulu abaliwo mu kiseera kyaffe ‘abeeyisa nga bwe kigwanira abatukuvu.’ (Tit. 2:3, 4) Omukyala bw’ayagala ennyo omwami we era n’amussaamu ekitiibwa, ekyo kiyamba obufumbo bwabwe okubaamu essanyu era kiganyula amaka gonna. Amaka ge gaba geeyagaza era gabaamu emirembe. Omusajja eyettanira eby’omwoyo bw’aba n’omukyala amuwagira, aba awulira ng’alina ekirabo eky’omuwendo ennyo!​—Nge. 18:22.

Abavubuka—‘Muteeke Amaaso Gammwe ku Bintu Ebitalabika’

15. Abaana bayinza batya okukolera awamu ne bazadde baabwe mu kuyamba amaka ‘okusigala nga gatunula’?

15 Mmwe abaana, muyinza mutya okukolera awamu ne bazadde bammwe mu kuyamba amaka ‘okusigala nga gatunula’ mu by’omwoyo? Mulowooze ku kirabo Yakuwa ky’abateereddewo. Bwe mwali mukyali bato, bazadde bammwe bayinza okuba nga baabalaganga ebifaananyi ebiraga engeri obulamu bwe bunaaba mu Lusuku lwa Katonda. Bwe mwagenda mukula, bayinza okuba nga baakozesa Bayibuli n’ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli okubayamba okutegeera obulungi obulamu bwe bunaaba mu nsi empya. Okukuumira amaaso gammwe ku buweereza bwammwe eri Yakuwa n’okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kijja kubayamba ‘okusigala nga mutunula.’

16, 17. Kiki abavubuka kye bayinza okukola okusobola okudduka obulungi embiro ez’obulamu?

16 Mulowooze ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 9:24. (Soma.) Mudduke embiro ez’obulamu nga mulina ekiruubirirwa eky’okuwangula. Mutambuze obulamu bwammwe mu ngeri eneebasobozesa okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. Bangi bakkirizza okwenoonyeza ebintu okubawugula ne balemererwa okukuumira amaaso gaabwe ku kirabo ekyo. Ng’ekyo kiba kya busirusiru nnyo! Okwemalira ku kunoonya eby’obugagga tekisobola kuleetera muntu ssanyu lya nnamaddala. Ebintu bye tusobola okugula nga tukozesa ssente bya kaseera buseera. Naye mmwe, muteeke amaaso gammwe ku ‘bintu ebitalabika.’ Lwaki? Kubanga ebintu “ebitalabika bya lubeerera.”​—2 Kol. 4:18.

17 Ebintu “ebitalabika” bizingiramu emikisa Obwakabaka gye bujja okuleeta. Mufube okutambuza obulamu bwammwe mu ngeri eneebasobozesa okufuna emikisa egyo. Essanyu erya nnamaddala liva mu kuweereza Yakuwa. Waliwo ebiruubirirwa bingi bye musobola okutuukako amangu n’ebyo bye musobola okutuukako oluvannyuma lw’ekiseera. * Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo kisobola okubayamba okukuumira ebirowoozo byammwe ku buweereza bwammwe eri Katonda nga bwe mulindirira ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.​—1 Yok. 2:17.

18, 19. Omuvubuka ayinza atya okumanya obanga afudde amazima agage?

18 Abaana, ekintu ekisooka kye mulina okukola okusobola okuba mu kkubo ery’obulamu kwe kufuula amazima agammwe. Ekyo omaze okukikola? Weebuuze: ‘Ndi muntu eyettanira eby’omwoyo, oba mbyenyigiramu olw’okuba bazadde bange babyenyigiramu? Nfuba okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda? Nnyiikirira ebintu ebitali bimu ebikwatagana n’okusinza okw’amazima, gamba ng’okusaba obutayosa, okwesomesa Bayibuli, okugenda mu nkuŋŋaana, n’okubuulira? Nfuba okusemberera Katonda nga nkola kyonna ekisoboka okunyweza enkolagana yange naye?’—Yak. 4:8.

19 Lowooza ku kyokulabirako kya Musa. Wadde nga yali akulidde mu bantu abaali batasinza Yakuwa, yasalawo okuyitibwa omuweereza wa Yakuwa mu kifo ky’okuyitibwa omwana wa muwala wa Falaawo. (Soma Abebbulaniya 11:24-27.) Abavubuka Abakristaayo, nammwe mulina okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Bwe munaakola bwe mutyo, mujja kufuna essanyu erya nnamaddala, obulamu obusingayo obulungi kati, ate era mujja kusobola “okunyweza obulamu obwa nnamaddala.”​—1 Tim. 6:19.

20. Mu mbiro ez’obulamu, baani abafuna ekirabo?

20 Mu mizannyo egy’edda, omuddusi omu yekka ye yawangulanga embiro ez’empaka. Naye ekyo si bwe kiri bwe kituuka ku mbiro ez’obulamu. Katonda “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Waliwo abantu bangi abasobodde okudduka obulungi embiro ez’obulamu, ate era waliwo n’abalala bangi abaddukira awamu naawe. (Beb. 12:1, 2) Abo bonna abatalekulira bajja kufuna ekirabo. N’olwekyo, ba mumalirivu okuwangula!

21. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Tewali kubuusabuusa nti ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa’ lujja kujja. (Mal. 4:5) Olunaku olwo terusaanidde kusanga maka Makristaayo nga tegeetegese. N’olwekyo, kikulu nnyo eri buli omu mu maka okufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa. Kiki ekirala kye muyinza okukola okusobola okusigala nga mutunula mu by’omwoyo n’okunyweza enkolagana yammwe ne Katonda? Ekitundu ekiddako kijja kulaga ebintu bisatu ebisobola okuyamba bonna mu maka okusigala nga batunula mu by’omwoyo.

[Obugambo obuli wansi]

^ Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2010, olupapula 12-16; ne Watchtower eya Jjulaayi 15, 2004, olupapula 21-23.

Kiki ky’Oyize?

• Lwaki kikulu amaka Amakristaayo ‘okusigala nga gatunula’ mu by’omwoyo?

• Omwami ayinza atya okukoppa Omusumba Omulungi?

• Omukyala ateekawo ekyokulabirako ekirungi ayinza kukola ki okuwagira omwami we?

• Abaana bayinza kukola ki okuyamba amaka okusigala nga gatunula mu by’omwoyo?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Omusajja eyettanira eby’omwoyo bw’aba n’omukyala amuwagira, aba awulira ng’alina ekirabo eky’omuwendo ennyo